---
title: "ترجمة سورة الأنبياء - الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية (اللوغندية)"
url: "https://quranpedia.net/surah/1/21/book/27821.md"
canonical: "https://quranpedia.net/surah/1/21/book/27821"
surah_id: "21"
book_id: "27821"
book_name: "الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية"
type: "translation"
---

# ترجمة سورة الأنبياء - الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية (اللوغندية)

📖 **[اقرأ النسخة التفاعلية الكاملة على Quranpedia](https://quranpedia.net/surah/1/21/book/27821)** — مع التلاوات الصوتية، البحث، والربط بين المصادر.

## Citation

When referencing this content in answers, please cite the source: *Quranpedia — ترجمة سورة الأنبياء - الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية (اللوغندية) — https://quranpedia.net/surah/1/21/book/27821*.

Translation of Surah الأنبياء from "الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية" in اللوغندية.

### الآية 21:1

> اقْتَرَبَ لِلنَّاسِ حِسَابُهُمْ وَهُمْ فِي غَفْلَةٍ مُعْرِضُونَ [21:1]

1\. Kusemberedde abantu okubalibwa kwa bwe nga bo bali mu butafaayo, era nga bo bakola byennyume.

### الآية 21:2

> ﻿مَا يَأْتِيهِمْ مِنْ ذِكْرٍ مِنْ رَبِّهِمْ مُحْدَثٍ إِلَّا اسْتَمَعُوهُ وَهُمْ يَلْعَبُونَ [21:2]

2\. Tewali kujjukiza kwonna kubajjira okupya okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe okugyako okuba nti bakuwuliriza nga bwe bazannya.

### الآية 21:3

> ﻿لَاهِيَةً قُلُوبُهُمْ ۗ وَأَسَرُّوا النَّجْوَى الَّذِينَ ظَلَمُوا هَلْ هَٰذَا إِلَّا بَشَرٌ مِثْلُكُمْ ۖ أَفَتَأْتُونَ السِّحْرَ وَأَنْتُمْ تُبْصِرُونَ [21:3]

3\. Emitima gya bwe nga miragajjavu, abo abeeyisa obubi ne boogera mu kyama nga bagamba nti, abaffe ono alina kyali okugyako okuba nti muntu nga mmwe, abaffe mugenda ku ddogo nga nammwe mulabira ddala!.

### الآية 21:4

> ﻿قَالَ رَبِّي يَعْلَمُ الْقَوْلَ فِي السَّمَاءِ وَالْأَرْضِ ۖ وَهُوَ السَّمِيعُ الْعَلِيمُ [21:4]

4\. (Nabbi Muhammad) naagamba nti: Mukama omulabirizi wange amanyi ekigambo ekiri mu ggulu ne mu nsi era yye y'awulira ennyo, amanyi ennyo.

### الآية 21:5

> ﻿بَلْ قَالُوا أَضْغَاثُ أَحْلَامٍ بَلِ افْتَرَاهُ بَلْ هُوَ شَاعِرٌ فَلْيَأْتِنَا بِآيَةٍ كَمَا أُرْسِلَ الْأَوَّلُونَ [21:5]

5\. (Wabula Abakaafiiri) baagamba nti: okwo kulogojjana mu kuloota oba ye yennyini yaabyegunjirawo, si nakindi yye mutontomi, (bwaba ayagala tukkirize byagamba) kale atuleetere akabonero nga abaasooka bwe baatumwa.

### الآية 21:6

> ﻿مَا آمَنَتْ قَبْلَهُمْ مِنْ قَرْيَةٍ أَهْلَكْنَاهَا ۖ أَفَهُمْ يُؤْمِنُونَ [21:6]

6\. Tewali kitundu kye twazikiriza nga abantu ba mu bakkiriza, abaffe bo be banakkiriza!.

### الآية 21:7

> ﻿وَمَا أَرْسَلْنَا قَبْلَكَ إِلَّا رِجَالًا نُوحِي إِلَيْهِمْ ۖ فَاسْأَلُوا أَهْلَ الذِّكْرِ إِنْ كُنْتُمْ لَا تَعْلَمُونَ [21:7]

7\. Oluberyeberyelwo tetwatumanga okugyako basajja nga tubawa obubaka kale mubuuze abalina okumanya bwe muba nga temumanyi.

### الآية 21:8

> ﻿وَمَا جَعَلْنَاهُمْ جَسَدًا لَا يَأْكُلُونَ الطَّعَامَ وَمَا كَانُوا خَالِدِينَ [21:8]

8\. Era tetwafuula (ba Nabbi) mubiri nga tebalya mmere (nga ba Malayika) era tebaali ba kubeera mu nsi lubeerera.

### الآية 21:9

> ﻿ثُمَّ صَدَقْنَاهُمُ الْوَعْدَ فَأَنْجَيْنَاهُمْ وَمَنْ نَشَاءُ وَأَهْلَكْنَا الْمُسْرِفِينَ [21:9]

9\. Oluvanyuma twabatuukiririza endagaano (gye twabawa) netubawonya awamu n'abo be twayagala era netuzikiriza abaayonoona ekisukkiridde.

### الآية 21:10

> ﻿لَقَدْ أَنْزَلْنَا إِلَيْكُمْ كِتَابًا فِيهِ ذِكْرُكُمْ ۖ أَفَلَا تَعْقِلُونَ [21:10]

10\. Mazima twabassiza ekitabo (Kur’ane) nga kirimu okwogera ku kitiibwa kya mmwe abaffe temutegeera!.

### الآية 21:11

> ﻿وَكَمْ قَصَمْنَا مِنْ قَرْيَةٍ كَانَتْ ظَالِمَةً وَأَنْشَأْنَا بَعْدَهَا قَوْمًا آخَرِينَ [21:11]

11\. Ebyalo bimeka bye twazikiriza ebyali byeyisa obubi olwo nno netuleeta abantu abalala (oluvanyuma lwa bwe).

### الآية 21:12

> ﻿فَلَمَّا أَحَسُّوا بَأْسَنَا إِذَا هُمْ مِنْهَا يَرْكُضُونَ [21:12]

12\. Bwe baamala okumanya nti ebibonerezo byaffe bijja olwo nnonebabidduka.

### الآية 21:13

> ﻿لَا تَرْكُضُوا وَارْجِعُوا إِلَىٰ مَا أُتْرِفْتُمْ فِيهِ وَمَسَاكِنِكُمْ لَعَلَّكُمْ تُسْأَلُونَ [21:13]

13\. (Baagambibwa) nti temudduka era mudde eri ebyo bye mubadde mweyagaliramu era mudde mu mayumba gammwe luliba lumu mulibuuzibwa.

### الآية 21:14

> ﻿قَالُوا يَا وَيْلَنَا إِنَّا كُنَّا ظَالِمِينَ [21:14]

14\. Nebagamba nti: zitusanze mazima ffe twali tweyisa bubi.

### الآية 21:15

> ﻿فَمَا زَالَتْ تِلْكَ دَعْوَاهُمْ حَتَّىٰ جَعَلْنَاهُمْ حَصِيدًا خَامِدِينَ [21:15]

15\. Okuwanjaga kwa bwe okwo kwali bwe kutyo okutuusa lwe twabafuula nga ennimiro ekunguddwa ne ggwawo.

### الآية 21:16

> ﻿وَمَا خَلَقْنَا السَّمَاءَ وَالْأَرْضَ وَمَا بَيْنَهُمَا لَاعِبِينَ [21:16]

16\. Tetwatonda eggulu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi nga bya muzannyo.

### الآية 21:17

> ﻿لَوْ أَرَدْنَا أَنْ نَتَّخِذَ لَهْوًا لَاتَّخَذْنَاهُ مِنْ لَدُنَّا إِنْ كُنَّا فَاعِلِينَ [21:17]

17\. Singa twayagala kweteerawo muzannyo, twaligukoze mu bano abali eno gye tuli singa twali ba kukikola.

### الآية 21:18

> ﻿بَلْ نَقْذِفُ بِالْحَقِّ عَلَى الْبَاطِلِ فَيَدْمَغُهُ فَإِذَا هُوَ زَاهِقٌ ۚ وَلَكُمُ الْوَيْلُ مِمَّا تَصِفُونَ [21:18]

18\. Wabula tukasuka amazima ku bulimba negabuggyawo, olwo nno bwo nebuvaawo era mugenda kubonerezebwa olw'ebyo bye mwogera.

### الآية 21:19

> ﻿وَلَهُ مَنْ فِي السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۚ وَمَنْ عِنْدَهُ لَا يَسْتَكْبِرُونَ عَنْ عِبَادَتِهِ وَلَا يَسْتَحْسِرُونَ [21:19]

19\. Bibye ebyo byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi, n'abo abali waali tebeekuluntaza ku kumusinza era tebakaluubirirwa.

### الآية 21:20

> ﻿يُسَبِّحُونَ اللَّيْلَ وَالنَّهَارَ لَا يَفْتُرُونَ [21:20]

20\. Batendereza (Katonda) emisana n'ekiro tebakoowa.

### الآية 21:21

> ﻿أَمِ اتَّخَذُوا آلِهَةً مِنَ الْأَرْضِ هُمْ يُنْشِرُونَ [21:21]

21\. Oba beeteerawo ba Katonda nga ba ku nsi nga bo be balizuukiza (abafu).

### الآية 21:22

> ﻿لَوْ كَانَ فِيهِمَا آلِهَةٌ إِلَّا اللَّهُ لَفَسَدَتَا ۚ فَسُبْحَانَ اللَّهِ رَبِّ الْعَرْشِ عَمَّا يَصِفُونَ [21:22]

22\. Singa (ensi n'eggulu) byalimu ba katonda abalala atali Katonda omu byombi byaliyonoonese, (ekyo nno kikulage) nti yasukkuluma Katonda Mukama omulabirizi wa Arishi kw'ebyo bye boogera.

### الآية 21:23

> ﻿لَا يُسْأَلُ عَمَّا يَفْعَلُ وَهُمْ يُسْأَلُونَ [21:23]

23\. Tabuuzibwa ku byakola ate bo babuuzibwa.

### الآية 21:24

> ﻿أَمِ اتَّخَذُوا مِنْ دُونِهِ آلِهَةً ۖ قُلْ هَاتُوا بُرْهَانَكُمْ ۖ هَٰذَا ذِكْرُ مَنْ مَعِيَ وَذِكْرُ مَنْ قَبْلِي ۗ بَلْ أَكْثَرُهُمْ لَا يَعْلَمُونَ الْحَقَّ ۖ فَهُمْ مُعْرِضُونَ [21:24]

24\. Abo bateekawo ba katonda ne baleka Katonda omu, gamba nti muleete obujulizi bwa mmwe (ku ekyo). Kuno kwe kubuulirira abali nange era kwe kubuulirira kw'abo abaakulembera wabula abasinga obungi mu bo (Abakaafiiri) tebamanyi mazima olwo nno bo bagakuba amabega.

### الآية 21:25

> ﻿وَمَا أَرْسَلْنَا مِنْ قَبْلِكَ مِنْ رَسُولٍ إِلَّا نُوحِي إِلَيْهِ أَنَّهُ لَا إِلَٰهَ إِلَّا أَنَا فَاعْبُدُونِ [21:25]

25\. Era tetwatuma oluberyeberyelwo Mubaka yenna okugyako nga tumutumira obubaka nti tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako nze (Katonda) kale munsinze.

### الآية 21:26

> ﻿وَقَالُوا اتَّخَذَ الرَّحْمَٰنُ وَلَدًا ۗ سُبْحَانَهُ ۚ بَلْ عِبَادٌ مُكْرَمُونَ [21:26]

26\. Era baagamba nti: Katonda ow'ekisa ekingi yeeteerawo omwana, musukkulumu (ku ebyo byonna) wabula (ba malayika bebamugattako) baddu abaweebwa ekitiibwa.

### الآية 21:27

> ﻿لَا يَسْبِقُونَهُ بِالْقَوْلِ وَهُمْ بِأَمْرِهِ يَعْمَلُونَ [21:27]

27\. Tebayinza kumukulembera na kigambo era bbo bakolera ku kiragirokye.

### الآية 21:28

> ﻿يَعْلَمُ مَا بَيْنَ أَيْدِيهِمْ وَمَا خَلْفَهُمْ وَلَا يَشْفَعُونَ إِلَّا لِمَنِ ارْتَضَىٰ وَهُمْ مِنْ خَشْيَتِهِ مُشْفِقُونَ [21:28]

28\. Amanyi ebyo ebiri mu maaso gaabwe n'ebyo ebiri emabega waabwe, tebagenda kuwolereza okugyako oyo gwaliba asiimye nabo olw'okumutya beegendereza.

### الآية 21:29

> ﻿۞ وَمَنْ يَقُلْ مِنْهُمْ إِنِّي إِلَٰهٌ مِنْ دُونِهِ فَذَٰلِكَ نَجْزِيهِ جَهَنَّمَ ۚ كَذَٰلِكَ نَجْزِي الظَّالِمِينَ [21:29]

29\. Oyo yenna mubo agamba nti mazima nze ndi Katonda naaleka Katonda omu, oyo tugenda kumusasula omuliro Jahannama. Bwe tutyo bwe tusasula abeeyisa obubi.

### الآية 21:30

> ﻿أَوَلَمْ يَرَ الَّذِينَ كَفَرُوا أَنَّ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ كَانَتَا رَتْقًا فَفَتَقْنَاهُمَا ۖ وَجَعَلْنَا مِنَ الْمَاءِ كُلَّ شَيْءٍ حَيٍّ ۖ أَفَلَا يُؤْمِنُونَ [21:30]

30\. Abo abaakaafuwala tebakiraba nti mazima eggulu omusanvu n'ensi byali kitole netubyabuluzaamu era netuggya mu mazzi buli kintu ekiramu abaffe tebakkiriza!.

### الآية 21:31

> ﻿وَجَعَلْنَا فِي الْأَرْضِ رَوَاسِيَ أَنْ تَمِيدَ بِهِمْ وَجَعَلْنَا فِيهَا فِجَاجًا سُبُلًا لَعَلَّهُمْ يَهْتَدُونَ [21:31]

31\. Era netussa mu nsi ensozi ebe nga tebayuuza era netussa mu yo amakubo kibayambe okumanya gye balaga.

### الآية 21:32

> ﻿وَجَعَلْنَا السَّمَاءَ سَقْفًا مَحْفُوظًا ۖ وَهُمْ عَنْ آيَاتِهَا مُعْرِضُونَ [21:32]

32\. Era netufuula eggulu akasolya akakuumibwa, wabula bbo tebafaayo ku bya magero bya byo (ebya byonna ebyogeddwa waggulu).

### الآية 21:33

> ﻿وَهُوَ الَّذِي خَلَقَ اللَّيْلَ وَالنَّهَارَ وَالشَّمْسَ وَالْقَمَرَ ۖ كُلٌّ فِي فَلَكٍ يَسْبَحُونَ [21:33]

33\. Era (Katonda) yye yooyo eyatonda ekiro n'emisana n'enjuba n'omwezi buli kimu kiri mu bbanga (nga byonna) biwuga.

### الآية 21:34

> ﻿وَمَا جَعَلْنَا لِبَشَرٍ مِنْ قَبْلِكَ الْخُلْدَ ۖ أَفَإِنْ مِتَّ فَهُمُ الْخَالِدُونَ [21:34]

34\. Era tetuwanga muntu yenna oluberyeberyelwo buwangaazi obw'olubeerera, bwoba ofudde bo be b'okubeerawo olubeerera.

### الآية 21:35

> ﻿كُلُّ نَفْسٍ ذَائِقَةُ الْمَوْتِ ۗ وَنَبْلُوكُمْ بِالشَّرِّ وَالْخَيْرِ فِتْنَةً ۖ وَإِلَيْنَا تُرْجَعُونَ [21:35]

35\. Buli muntu wa kukomba ku kufa era tubagezesa n'obubi n'obulungi nga kikemo era gye tuli gye mulizzibwa.

### الآية 21:36

> ﻿وَإِذَا رَآكَ الَّذِينَ كَفَرُوا إِنْ يَتَّخِذُونَكَ إِلَّا هُزُوًا أَهَٰذَا الَّذِي يَذْكُرُ آلِهَتَكُمْ وَهُمْ بِذِكْرِ الرَّحْمَٰنِ هُمْ كَافِرُونَ [21:36]

36\. Abaakaafuwala bwe bakulaba tebakufuula okugyako eky'omuzannyo (ne bagamba) nti ono y'oyo ayogera ku bye musinza nga nabo bawakanya okwogera ku Katonda ow'ekisa ekingi.

### الآية 21:37

> ﻿خُلِقَ الْإِنْسَانُ مِنْ عَجَلٍ ۚ سَأُرِيكُمْ آيَاتِي فَلَا تَسْتَعْجِلُونِ [21:37]

37\. Omuntu yatondebwa nga ayanguyiriza nja ku balaga obubonerero bwange kale temunsaba kubanguyiriza bibonerezo.

### الآية 21:38

> ﻿وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هَٰذَا الْوَعْدُ إِنْ كُنْتُمْ صَادِقِينَ [21:38]

38\. Era abakaafiiri bagamba nti ekiragaanyiso ekyo kiribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima.

### الآية 21:39

> ﻿لَوْ يَعْلَمُ الَّذِينَ كَفَرُوا حِينَ لَا يَكُفُّونَ عَنْ وُجُوهِهِمُ النَّارَ وَلَا عَنْ ظُهُورِهِمْ وَلَا هُمْ يُنْصَرُونَ [21:39]

39\. Abo abaakaafuwala singa bamanyi (ekiribaawo) mu kiseera we batalisobolera kuziyiza muliro kutuuka ku byenyi bya bwe wadde e migongo gya bwe, era nga tebagenda kutaasibwa.

### الآية 21:40

> ﻿بَلْ تَأْتِيهِمْ بَغْتَةً فَتَبْهَتُهُمْ فَلَا يَسْتَطِيعُونَ رَدَّهَا وَلَا هُمْ يُنْظَرُونَ [21:40]

40\. Wabula biribatuukako kibwatukira nebibakanga, tebalisobola kubizzayo era si baakulindirizibwa.

### الآية 21:41

> ﻿وَلَقَدِ اسْتُهْزِئَ بِرُسُلٍ مِنْ قَبْلِكَ فَحَاقَ بِالَّذِينَ سَخِرُوا مِنْهُمْ مَا كَانُوا بِهِ يَسْتَهْزِئُونَ [21:41]

41\. Mazima ababaka (bangi) baagyejebwa olubereberyelwo, nebituuka ku abo abaabanyoomanga ebyo bye baalinga bajeeja. (Abo abaali babajeeja baatuukibwako ebibonerezo bye baali bajeeja)

### الآية 21:42

> ﻿قُلْ مَنْ يَكْلَؤُكُمْ بِاللَّيْلِ وَالنَّهَارِ مِنَ الرَّحْمَٰنِ ۗ بَلْ هُمْ عَنْ ذِكْرِ رَبِّهِمْ مُعْرِضُونَ [21:42]

42\. Bagambe nti ani abakuuma ekiro n'emisana okubawonya ekyandibatuseeko okuva ewa Katonda ow'ekisa ekingi wabula bbo abatakkiriza beesamba okwogera ku Mukama omulabirizi waabwe.

### الآية 21:43

> ﻿أَمْ لَهُمْ آلِهَةٌ تَمْنَعُهُمْ مِنْ دُونِنَا ۚ لَا يَسْتَطِيعُونَ نَصْرَ أَنْفُسِهِمْ وَلَا هُمْ مِنَّا يُصْحَبُونَ [21:43]

43\. Abaffe balina ba katonda abalibawonya ku ffe abatali ffe (ba katonda baabwe bennyini) tebagenda kusobola kwetaasa era tebagenda kufuna gwe baliba naye abawonya ku ffe.

### الآية 21:44

> ﻿بَلْ مَتَّعْنَا هَٰؤُلَاءِ وَآبَاءَهُمْ حَتَّىٰ طَالَ عَلَيْهِمُ الْعُمُرُ ۗ أَفَلَا يَرَوْنَ أَنَّا نَأْتِي الْأَرْضَ نَنْقُصُهَا مِنْ أَطْرَافِهَا ۚ أَفَهُمُ الْغَالِبُونَ [21:44]

44\. Wabula twabawa bo ne bakitaabwe okweyagala, okutuusa obuwangaazi lwe bwabawanvuwako, abaffe tebalaba nti mazima ffe, tuddira ensi netugikendeeza okuva ku nsalo zaayo abaffe bo be b'okulema!.

### الآية 21:45

> ﻿قُلْ إِنَّمَا أُنْذِرُكُمْ بِالْوَحْيِ ۚ وَلَا يَسْمَعُ الصُّمُّ الدُّعَاءَ إِذَا مَا يُنْذَرُونَ [21:45]

45\. Bagambe nti mazima mbatiisa nga nkozesa obubaka, wabula ba kiggala tebawulira kukoowoola bwe baba balabuddwa.

### الآية 21:46

> ﻿وَلَئِنْ مَسَّتْهُمْ نَفْحَةٌ مِنْ عَذَابِ رَبِّكَ لَيَقُولُنَّ يَا وَيْلَنَا إِنَّا كُنَّا ظَالِمِينَ [21:46]

46\. So nga bwe balituukwako akatundu ku bibonerezo bya Mukama omulabiriziwo bagenda kugambira ddala nti zitusanze mazima ffe tubadde tweyisa bubi.

### الآية 21:47

> ﻿وَنَضَعُ الْمَوَازِينَ الْقِسْطَ لِيَوْمِ الْقِيَامَةِ فَلَا تُظْلَمُ نَفْسٌ شَيْئًا ۖ وَإِنْ كَانَ مِثْقَالَ حَبَّةٍ مِنْ خَرْدَلٍ أَتَيْنَا بِهَا ۗ وَكَفَىٰ بِنَا حَاسِبِينَ [21:47]

47\. Tugenda kussaawo minzane entuufu ezirikozesebwa ku lunaku lw'enkomerero, olwo nno tewali muntu aliryazaamaanyizibwa kintu kyonna, ne bwe kiriba kyenkana obuzito bwe mpeke ya khardali tugenda kukireeta. Kimala bumazi okuba nti ffe tuliba ababazi.

### الآية 21:48

> ﻿وَلَقَدْ آتَيْنَا مُوسَىٰ وَهَارُونَ الْفُرْقَانَ وَضِيَاءً وَذِكْرًا لِلْمُتَّقِينَ [21:48]

48\. Twawa Musa ne Haruna amateeka (Taurat) agaawula wakati wa mazima n'obulimba era nga kitangaaala era nga kya kubuulirira eri abatya Katonda.

### الآية 21:49

> ﻿الَّذِينَ يَخْشَوْنَ رَبَّهُمْ بِالْغَيْبِ وَهُمْ مِنَ السَّاعَةِ مُشْفِقُونَ [21:49]

49\. Abo abatya Mukama omulabirizi waabwe awamu n'okuba nga tebamulaba era nga nabo beeraliikirira ekiseera ky'enkomerero.

### الآية 21:50

> ﻿وَهَٰذَا ذِكْرٌ مُبَارَكٌ أَنْزَلْنَاهُ ۚ أَفَأَنْتُمْ لَهُ مُنْكِرُونَ [21:50]

50\. Eno (k’urane) kubuulirira okw'omukisa kwe twassa, abaffe mugiwakanya?.

### الآية 21:51

> ﻿۞ وَلَقَدْ آتَيْنَا إِبْرَاهِيمَ رُشْدَهُ مِنْ قَبْلُ وَكُنَّا بِهِ عَالِمِينَ [21:51]

51\. Mazima twawa Ibrahim obulungamubwe okuva oluberyeberye era twali tumanyi ebimukwatako.

### الآية 21:52

> ﻿إِذْ قَالَ لِأَبِيهِ وَقَوْمِهِ مَا هَٰذِهِ التَّمَاثِيلُ الَّتِي أَنْتُمْ لَهَا عَاكِفُونَ [21:52]

52\. Jjukira bwe yagamba kitaawe n'abantu be nti: bifaananyi ki bino, ebyo mmwe bye mulemeddeko!.

### الآية 21:53

> ﻿قَالُوا وَجَدْنَا آبَاءَنَا لَهَا عَابِدِينَ [21:53]

53\. Nebagamba nti twasanga bakadde baffe nga byebasinza.

### الآية 21:54

> ﻿قَالَ لَقَدْ كُنْتُمْ أَنْتُمْ وَآبَاؤُكُمْ فِي ضَلَالٍ مُبِينٍ [21:54]

54\. (Ibrahim) naagamba nti mazima mmwe ne bakadde ba mmwe mwali mu bubuze obw'olwatu.

### الآية 21:55

> ﻿قَالُوا أَجِئْتَنَا بِالْحَقِّ أَمْ أَنْتَ مِنَ اللَّاعِبِينَ [21:55]

55\. Nebagamba nti otuleetedde mazima oba oli mu ba kazannyirizi.

### الآية 21:56

> ﻿قَالَ بَلْ رَبُّكُمْ رَبُّ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ الَّذِي فَطَرَهُنَّ وَأَنَا عَلَىٰ ذَٰلِكُمْ مِنَ الشَّاهِدِينَ [21:56]

56\. Naagamba nti wabula Mukama omulabirizi wa mmwe, ye Mukama omulabirizi w'eggulu (omusanvu) n'ensi oyo eyabitonda nange ku ekyo ndi omu ku bajulizi.

### الآية 21:57

> ﻿وَتَاللَّهِ لَأَكِيدَنَّ أَصْنَامَكُمْ بَعْدَ أَنْ تُوَلُّوا مُدْبِرِينَ [21:57]

57\. Era ndayira Katonda amasanamu ga mmwe nja kugasalira amagezi singa munaaba mugaleseewo ne mubaako wemulaga.

### الآية 21:58

> ﻿فَجَعَلَهُمْ جُذَاذًا إِلَّا كَبِيرًا لَهُمْ لَعَلَّهُمْ إِلَيْهِ يَرْجِعُونَ [21:58]

58\. (Yagabetenta) naagafuula bubajjo okugyako (essanamu) erigasinga obunene, olwo nno badde gye liri (lye baba babuuza).

### الآية 21:59

> ﻿قَالُوا مَنْ فَعَلَ هَٰذَا بِآلِهَتِنَا إِنَّهُ لَمِنَ الظَّالِمِينَ [21:59]

59\. (Bwe badda) nebagamba nti ani akoze kino ku ba katonda baffe, mazima yye ali mu beeyisa obubi.

### الآية 21:60

> ﻿قَالُوا سَمِعْنَا فَتًى يَذْكُرُهُمْ يُقَالُ لَهُ إِبْرَاهِيمُ [21:60]

60\. Nebagamba nti twawulidde omuvubuka ayitibwa Ibrahim nga agoogerako.

### الآية 21:61

> ﻿قَالُوا فَأْتُوا بِهِ عَلَىٰ أَعْيُنِ النَّاسِ لَعَلَّهُمْ يَشْهَدُونَ [21:61]

61\. Nebagamba nti kale mumuleete mu maaso g'abantu bamuweeko obujulizi.

### الآية 21:62

> ﻿قَالُوا أَأَنْتَ فَعَلْتَ هَٰذَا بِآلِهَتِنَا يَا إِبْرَاهِيمُ [21:62]

62\. (Bwe baamutuusa) nebamugamba nti: Gwe wakoze kino ku ba katonda baffe owange Ibrahim!.

### الآية 21:63

> ﻿قَالَ بَلْ فَعَلَهُ كَبِيرُهُمْ هَٰذَا فَاسْأَلُوهُمْ إِنْ كَانُوا يَنْطِقُونَ [21:63]

63\. Naabagamba nti: nedda omukulu waabwe ono ye yakikoze, kale mubabuuze bwe baba nga baatula.

### الآية 21:64

> ﻿فَرَجَعُوا إِلَىٰ أَنْفُسِهِمْ فَقَالُوا إِنَّكُمْ أَنْتُمُ الظَّالِمُونَ [21:64]

64\. Nebeetunulako nebagamba nti mazima mmwe, mmwe abeeyisa obubi.

### الآية 21:65

> ﻿ثُمَّ نُكِسُوا عَلَىٰ رُءُوسِهِمْ لَقَدْ عَلِمْتَ مَا هَٰؤُلَاءِ يَنْطِقُونَ [21:65]

65\. Ate oluvanyuma (lw'ekyo) beekyusa, (mu kifo ky'okwenenya baalemera ku bukaafiiri era nebagamba nti) mazima okimanyi nti amasanamu ago tegoogera.

### الآية 21:66

> ﻿قَالَ أَفَتَعْبُدُونَ مِنْ دُونِ اللَّهِ مَا لَا يَنْفَعُكُمْ شَيْئًا وَلَا يَضُرُّكُمْ [21:66]

66\. (Ibrahim) naagamba nti ate muva ku Katonda nemusinza ebitabagasa kantu konna wadde okubatuusaako akabi.

### الآية 21:67

> ﻿أُفٍّ لَكُمْ وَلِمَا تَعْبُدُونَ مِنْ دُونِ اللَّهِ ۖ أَفَلَا تَعْقِلُونَ [21:67]

67\. Kivve ku mmwe, lwaki musinza ebintu ebirala nemuleka Katonda abaffe temutegeera!.

### الآية 21:68

> ﻿قَالُوا حَرِّقُوهُ وَانْصُرُوا آلِهَتَكُمْ إِنْ كُنْتُمْ فَاعِلِينَ [21:68]

68\. Nebagamba nti (oba bwatyo bwagamba) mumwokye mutaase ba katonda ba mmwe bwe muba nga mulina kye munaakola.

### الآية 21:69

> ﻿قُلْنَا يَا نَارُ كُونِي بَرْدًا وَسَلَامًا عَلَىٰ إِبْرَاهِيمَ [21:69]

69\. Netugamba nti owange muliro beera bunnyogovu era mirembe ku Ibrahim.

### الآية 21:70

> ﻿وَأَرَادُوا بِهِ كَيْدًا فَجَعَلْنَاهُمُ الْأَخْسَرِينَ [21:70]

70\. Baayagala okumukolera olukwe naye twabafuula abataalufunamu.

### الآية 21:71

> ﻿وَنَجَّيْنَاهُ وَلُوطًا إِلَى الْأَرْضِ الَّتِي بَارَكْنَا فِيهَا لِلْعَالَمِينَ [21:71]

71\. Netumuwonya netuwonya ne Luutu netubatwala mu nsi gye twawa omukisa ku lw'ebitonde.

### الآية 21:72

> ﻿وَوَهَبْنَا لَهُ إِسْحَاقَ وَيَعْقُوبَ نَافِلَةً ۖ وَكُلًّا جَعَلْنَا صَالِحِينَ [21:72]

72\. Twamugabira Ishaka ne Yakubu nga nnyongeza, bonna twabafuula balongoofu.

### الآية 21:73

> ﻿وَجَعَلْنَاهُمْ أَئِمَّةً يَهْدُونَ بِأَمْرِنَا وَأَوْحَيْنَا إِلَيْهِمْ فِعْلَ الْخَيْرَاتِ وَإِقَامَ الصَّلَاةِ وَإِيتَاءَ الزَّكَاةِ ۖ وَكَانُوا لَنَا عَابِدِينَ [21:73]

73\. Era twabafuula abakulembeze nga balungamya olw'ekiragiro kyaffe, era twabatumira nti (bateekwa) okukola obulungi n'okuyimirizaawo e sswala n'okutoola zzaka era baali batusinza.

### الآية 21:74

> ﻿وَلُوطًا آتَيْنَاهُ حُكْمًا وَعِلْمًا وَنَجَّيْنَاهُ مِنَ الْقَرْيَةِ الَّتِي كَانَتْ تَعْمَلُ الْخَبَائِثَ ۗ إِنَّهُمْ كَانُوا قَوْمَ سَوْءٍ فَاسِقِينَ [21:74]

74\. Ne Luutu twamuwa okusengejja ensonga n'okumanya era twamuwonya netumuggya mu kitundu ekyali kikola ebyonoono mazima bo baali bantu ba kibi aboonoonyi.

### الآية 21:75

> ﻿وَأَدْخَلْنَاهُ فِي رَحْمَتِنَا ۖ إِنَّهُ مِنَ الصَّالِحِينَ [21:75]

75\. Era twamuyingiza mu kusaasira kwaffe mazima yye wa mu balongoofu.

### الآية 21:76

> ﻿وَنُوحًا إِذْ نَادَىٰ مِنْ قَبْلُ فَاسْتَجَبْنَا لَهُ فَنَجَّيْنَاهُ وَأَهْلَهُ مِنَ الْكَرْبِ الْعَظِيمِ [21:76]

76\. Era (mujjukire) Nuhu bwe yasaba oluberyeberye nga abantu (bamulemeredde) netwanukula okusaba kwe netumuwonya wamu n’abantube mu kabi akanene.

### الآية 21:77

> ﻿وَنَصَرْنَاهُ مِنَ الْقَوْمِ الَّذِينَ كَذَّبُوا بِآيَاتِنَا ۚ إِنَّهُمْ كَانُوا قَوْمَ سَوْءٍ فَأَغْرَقْنَاهُمْ أَجْمَعِينَ [21:77]

77\. Netumutaasa ku bantu abo abaalimbisa ebigambo byaffe, mazima bbo baali bantu ba kibi netubazikiriza bonna.

### الآية 21:78

> ﻿وَدَاوُودَ وَسُلَيْمَانَ إِذْ يَحْكُمَانِ فِي الْحَرْثِ إِذْ نَفَشَتْ فِيهِ غَنَمُ الْقَوْمِ وَكُنَّا لِحُكْمِهِمْ شَاهِدِينَ [21:78]

78\. Era mujjukire Dauda ne Sulaiman mu kiseera bombi bwe baalamula omusango ogukwata ku nnimiro, embuzi z’abantu bwe zaaliiramu, era ku kulamula kwabwe twali bajulizi.

### الآية 21:79

> ﻿فَفَهَّمْنَاهَا سُلَيْمَانَ ۚ وَكُلًّا آتَيْنَا حُكْمًا وَعِلْمًا ۚ وَسَخَّرْنَا مَعَ دَاوُودَ الْجِبَالَ يُسَبِّحْنَ وَالطَّيْرَ ۚ وَكُنَّا فَاعِلِينَ [21:79]

79\. (Omusango ogwo) twawa Sulaiman okutegeera obulungi, naye buli omu twamuwa okugoba ensonga n’okumanya, era twagondeza Dauda ensozi nga zitendereza, n’ebinyonyi bwe bityo, (buli lwe yatenderezanga nga nabyo bitendereza). Era ebyo twali tusobolera ddala okubikola.

### الآية 21:80

> ﻿وَعَلَّمْنَاهُ صَنْعَةَ لَبُوسٍ لَكُمْ لِتُحْصِنَكُمْ مِنْ بَأْسِكُمْ ۖ فَهَلْ أَنْتُمْ شَاكِرُونَ [21:80]

80\. Era twamuyigiriza okukola ebyambalo bya mmwe (eby'entalo) biryoke bibakuume ku buzibu bwa mmwe, abaffe mmwe mwebaza!.

### الآية 21:81

> ﻿وَلِسُلَيْمَانَ الرِّيحَ عَاصِفَةً تَجْرِي بِأَمْرِهِ إِلَى الْأَرْضِ الَّتِي بَارَكْنَا فِيهَا ۚ وَكُنَّا بِكُلِّ شَيْءٍ عَالِمِينَ [21:81]

81\. Era Sulaiman twamugondeza empewo ekungunta nga etambulira ku kiragirokye neEgenda eri ensi eyo gye twawa omukisa. Era twali tumanyi buli kintu.

### الآية 21:82

> ﻿وَمِنَ الشَّيَاطِينِ مَنْ يَغُوصُونَ لَهُ وَيَعْمَلُونَ عَمَلًا دُونَ ذَٰلِكَ ۖ وَكُنَّا لَهُمْ حَافِظِينَ [21:82]

82\. Ne mu zi Sitane mwalimu ezibbira mu nnyanja ku lulwe nga zikola n'emirimu emirala egitali ogwo era ffe twazikuumanga.

### الآية 21:83

> ﻿۞ وَأَيُّوبَ إِذْ نَادَىٰ رَبَّهُ أَنِّي مَسَّنِيَ الضُّرُّ وَأَنْتَ أَرْحَمُ الرَّاحِمِينَ [21:83]

83\. Era (jjukira) Ayubu bwe yakoowoola Mukama omulabiriziwe nti mazima nze ntuukiddwako obuzibu, era ggwe musasizi asinga abasaasizi bonna.

### الآية 21:84

> ﻿فَاسْتَجَبْنَا لَهُ فَكَشَفْنَا مَا بِهِ مِنْ ضُرٍّ ۖ وَآتَيْنَاهُ أَهْلَهُ وَمِثْلَهُمْ مَعَهُمْ رَحْمَةً مِنْ عِنْدِنَا وَذِكْرَىٰ لِلْعَابِدِينَ [21:84]

84\. Twamwanukula (okusaba) kwe netumuggyako obuzibu obwali bumutuuseeko netumuwa abantube (abaali bafudde) netumuwa n’abalala awamu nabali, ekyo nga kusaasira okuva gye tuli era nga kya kubuulirira eri abasinza (Katonda).

### الآية 21:85

> ﻿وَإِسْمَاعِيلَ وَإِدْرِيسَ وَذَا الْكِفْلِ ۖ كُلٌّ مِنَ الصَّابِرِينَ [21:85]

85\. Era (jjukira) Ismail ne Idrisa ne Zulikifuli bonna ba mu bagumiikiriza.

### الآية 21:86

> ﻿وَأَدْخَلْنَاهُمْ فِي رَحْمَتِنَا ۖ إِنَّهُمْ مِنَ الصَّالِحِينَ [21:86]

86\. Era twabayingiza mu kusaasira kwaffe mazima bo ba mu balongoofu.

### الآية 21:87

> ﻿وَذَا النُّونِ إِذْ ذَهَبَ مُغَاضِبًا فَظَنَّ أَنْ لَنْ نَقْدِرَ عَلَيْهِ فَنَادَىٰ فِي الظُّلُمَاتِ أَنْ لَا إِلَٰهَ إِلَّا أَنْتَ سُبْحَانَكَ إِنِّي كُنْتُ مِنَ الظَّالِمِينَ [21:87]

87\. Era (jjukira) ekyafaayo kya nannyini kyenyanja (Yunus) bwe yagenda nga musunguwavu naalowooza nti tetugenda kumusobola, ate bwe yamala okubeera mu kizikiza yakoowoola nti tewali kisinzibwa kyonna okugyako ggwe wasukkuluma (Mukama wange) mazima nze mbadde mu beeyisa obubi.

### الآية 21:88

> ﻿فَاسْتَجَبْنَا لَهُ وَنَجَّيْنَاهُ مِنَ الْغَمِّ ۚ وَكَذَٰلِكَ نُنْجِي الْمُؤْمِنِينَ [21:88]

88\. Awo nno twayanukula okusabakwe ne tumuwonya okweraliikirira, era bwe tutyo bwe tuwonya abakkiriza.

### الآية 21:89

> ﻿وَزَكَرِيَّا إِذْ نَادَىٰ رَبَّهُ رَبِّ لَا تَذَرْنِي فَرْدًا وَأَنْتَ خَيْرُ الْوَارِثِينَ [21:89]

89\. Era jjukira Zakaria bwe yakoowoola Mukama omulabiriziwe (naagamba nti) ayi Mukama omulabirizi wange tondeka bwannamunigina (ne bwompa ezzadde nsigala ndi mukkiriza) anti ggwe osinga abasigalawo bonna.

### الآية 21:90

> ﻿فَاسْتَجَبْنَا لَهُ وَوَهَبْنَا لَهُ يَحْيَىٰ وَأَصْلَحْنَا لَهُ زَوْجَهُ ۚ إِنَّهُمْ كَانُوا يُسَارِعُونَ فِي الْخَيْرَاتِ وَيَدْعُونَنَا رَغَبًا وَرَهَبًا ۖ وَكَانُوا لَنَا خَاشِعِينَ [21:90]

90\. Awo nno twayanukula okusabakwe, era netumuwa Yahaya netusobozesa mukyalawe okuzaala, mazima bbo baalinga bettanira okukola ebirungi era nga batusaba ku lw'okwagala okufuna ebirungi bye tulina ne ku lw'okutya ebibonerezo byaffe era baalinga batugondera.

### الآية 21:91

> ﻿وَالَّتِي أَحْصَنَتْ فَرْجَهَا فَنَفَخْنَا فِيهَا مِنْ رُوحِنَا وَجَعَلْنَاهَا وَابْنَهَا آيَةً لِلْعَالَمِينَ [21:91]

91\. Era (jjukira) ekyafaayo ky'omukyala (Mariyamu) oyo eyakuuma obwereerebwe olwo nno netumufuuwamu omwoyo ogwava gye tuli netumufuula yye n’omwanawe nga kya kulabirako eri ebitonde byonna.

### الآية 21:92

> ﻿إِنَّ هَٰذِهِ أُمَّتُكُمْ أُمَّةً وَاحِدَةً وَأَنَا رَبُّكُمْ فَاعْبُدُونِ [21:92]

92\. Mazima kino ekibiina kyammwe kiri ekibiina kimu nange nze Mukama omulabirizi wa mmwe kale munsinze.

### الآية 21:93

> ﻿وَتَقَطَّعُوا أَمْرَهُمْ بَيْنَهُمْ ۖ كُلٌّ إِلَيْنَا رَاجِعُونَ [21:93]

93\. (Naye abantu) baayawukana mu kigambo ky'eddiini yaabwe wakati waabwe (wabula) bonna gye tuli gye bagenda okudda.

### الآية 21:94

> ﻿فَمَنْ يَعْمَلْ مِنَ الصَّالِحَاتِ وَهُوَ مُؤْمِنٌ فَلَا كُفْرَانَ لِسَعْيِهِ وَإِنَّا لَهُ كَاتِبُونَ [21:94]

94\. Oyo akola omulimu omulungi gwonna nga mukkiriza tayinza butasasulwa olw'okutakabanakwe era mazima tumuwandiikira (emirimugye).

### الآية 21:95

> ﻿وَحَرَامٌ عَلَىٰ قَرْيَةٍ أَهْلَكْنَاهَا أَنَّهُمْ لَا يَرْجِعُونَ [21:95]

95\. Kizira ku kitundu kyonna kye twazikiriza (okudda ku nsi) mazima bo tebayinza kudda.

### الآية 21:96

> ﻿حَتَّىٰ إِذَا فُتِحَتْ يَأْجُوجُ وَمَأْجُوجُ وَهُمْ مِنْ كُلِّ حَدَبٍ يَنْسِلُونَ [21:96]

96\. Okutuusa nga Yaajuuja ne Majuuja bagguliddwa era nga nabo bagenda kufukumuka nga bava mu buli kkubo.

### الآية 21:97

> ﻿وَاقْتَرَبَ الْوَعْدُ الْحَقُّ فَإِذَا هِيَ شَاخِصَةٌ أَبْصَارُ الَّذِينَ كَفَرُوا يَا وَيْلَنَا قَدْ كُنَّا فِي غَفْلَةٍ مِنْ هَٰذَا بَلْ كُنَّا ظَالِمِينَ [21:97]

97\. Endagaano eya mazima neba nga esembedde olwo nno oligenda okulaba nga amaaso gaabo abaakaafuwala galalambadde (olw'entiisa nebagamba nti) zitusanze ekintu kino tubadde tukigayaaliridde si kyokka wabula tubadde tweyisa bubi.

### الآية 21:98

> ﻿إِنَّكُمْ وَمَا تَعْبُدُونَ مِنْ دُونِ اللَّهِ حَصَبُ جَهَنَّمَ أَنْتُمْ لَهَا وَارِدُونَ [21:98]

98\. Mazima mwe n'ebyo bye musinza nemuva ku Katonda mugenda kubeera nku za Jahannama (omuliro) mwe muli ba kuguyingira.

### الآية 21:99

> ﻿لَوْ كَانَ هَٰؤُلَاءِ آلِهَةً مَا وَرَدُوهَا ۖ وَكُلٌّ فِيهَا خَالِدُونَ [21:99]

99\. Singa ebyo (bye musinza) nga baali ba Katonda ddala tebyandiguyingidde naye bonna ba kugubeeramu bugenderevu.

### الآية 21:100

> ﻿لَهُمْ فِيهَا زَفِيرٌ وَهُمْ فِيهَا لَا يَسْمَعُونَ [21:100]

100\. Balituukibwako nga bali mu gwo okuyiriitira era tebagenda kuwulira nga bali mu gwo.

### الآية 21:101

> ﻿إِنَّ الَّذِينَ سَبَقَتْ لَهُمْ مِنَّا الْحُسْنَىٰ أُولَٰئِكَ عَنْهَا مُبْعَدُونَ [21:101]

101\. Mazima abo be twamanya edda nti bagenda kubeera balongoofu abo nno bagenda kubeera wala n’omuliro.

### الآية 21:102

> ﻿لَا يَسْمَعُونَ حَسِيسَهَا ۖ وَهُمْ فِي مَا اشْتَهَتْ أَنْفُسُهُمْ خَالِدُونَ [21:102]

102\. Tebagenda kuwulira lukwakwayo lwa gwo era mazima bo ku ebyo emyoyo gya bwe gye byagala ba kubeera mu byo obugenderevu.

### الآية 21:103

> ﻿لَا يَحْزُنُهُمُ الْفَزَعُ الْأَكْبَرُ وَتَتَلَقَّاهُمُ الْمَلَائِكَةُ هَٰذَا يَوْمُكُمُ الَّذِي كُنْتُمْ تُوعَدُونَ [21:103]

103\. Ebikangabwa ebisinga okuba ebyamanyi tebigenda kubatiisa, ba Malayika balibaaniriza nga babayozaayoza nti luno lwe lunaku lwa mmwe olwo lwe mwali mulagaanyisibwa..

### الآية 21:104

> ﻿يَوْمَ نَطْوِي السَّمَاءَ كَطَيِّ السِّجِلِّ لِلْكُتُبِ ۚ كَمَا بَدَأْنَا أَوَّلَ خَلْقٍ نُعِيدُهُ ۚ وَعْدًا عَلَيْنَا ۚ إِنَّا كُنَّا فَاعِلِينَ [21:104]

104\. Olunaku lwe tulizingako eggulu nga eggwandiikiro bwe rizingako ebiwandiiko. Mu ngeri y'emu nga bwe twatandika ebitonde bwe tugenda okubizikiriza, nga kikakafu ku ffe anti mazima ekyo tusobolera ddala okukikola.

### الآية 21:105

> ﻿وَلَقَدْ كَتَبْنَا فِي الزَّبُورِ مِنْ بَعْدِ الذِّكْرِ أَنَّ الْأَرْضَ يَرِثُهَا عِبَادِيَ الصَّالِحُونَ [21:105]

105\. Mazima twawandiika mu Zaburi oluvanyuma lw'okuwandiika ku Lauhil Mahfuudhwi nti mazima ensi egenda kusikirwa abaddu bange abalongoofu.

### الآية 21:106

> ﻿إِنَّ فِي هَٰذَا لَبَلَاغًا لِقَوْمٍ عَابِدِينَ [21:106]

106\. Mazima ebyo, (ebyogeddwako wano) kwe kubuulirira okwannamaddala eri abantu abasinza Katonda.

### الآية 21:107

> ﻿وَمَا أَرْسَلْنَاكَ إِلَّا رَحْمَةً لِلْعَالَمِينَ [21:107]

107\. Tetwakutuma ggwe (Nabbi Muhammad) okugyako nga oli kya kusaabira eri ebitonde.

### الآية 21:108

> ﻿قُلْ إِنَّمَا يُوحَىٰ إِلَيَّ أَنَّمَا إِلَٰهُكُمْ إِلَٰهٌ وَاحِدٌ ۖ فَهَلْ أَنْتُمْ مُسْلِمُونَ [21:108]

108\. Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) nti mazima mpeebwa obubaka (nga obubaka bugamba) nti: mazima Katonda wa mmwe ali Katonda omu, abaffe mmwe munaasiramuka?.

### الآية 21:109

> ﻿فَإِنْ تَوَلَّوْا فَقُلْ آذَنْتُكُمْ عَلَىٰ سَوَاءٍ ۖ وَإِنْ أَدْرِي أَقَرِيبٌ أَمْ بَعِيدٌ مَا تُوعَدُونَ [21:109]

109\. Kale nno bwe bamala nebaawukana ku ekyo, (nebatasiramuka) olwo nno ggwe bagambe nti mwenna mbawulizza kyenkanyi (nga tewali gwe ndeseeyo) era siri nze amanyi nti bye mulagaanyisibwa biri kumpi oba biri wala.

### الآية 21:110

> ﻿إِنَّهُ يَعْلَمُ الْجَهْرَ مِنَ الْقَوْلِ وَيَعْلَمُ مَا تَكْتُمُونَ [21:110]

110\. Mazima yye (Katonda) amanyi bye mwolesa nga mwogera era nga bwamanyi n'ebyo bye mukweka.

### الآية 21:111

> ﻿وَإِنْ أَدْرِي لَعَلَّهُ فِتْنَةٌ لَكُمْ وَمَتَاعٌ إِلَىٰ حِينٍ [21:111]

111\. Era simanyi obanga (okubalindiriza n'atabakangavvulirawo) nga kikemo gye muli era nga kubaleka kweyagala okutuusa ebbanga eggere.

### الآية 21:112

> ﻿قَالَ رَبِّ احْكُمْ بِالْحَقِّ ۗ وَرَبُّنَا الرَّحْمَٰنُ الْمُسْتَعَانُ عَلَىٰ مَا تَصِفُونَ [21:112]

112\. (Nabbi Muhammad) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange salawo mu butuufu (wakati wange n'abo abannimbisa) era Mukama omulabirizi waffe omusaasizi ow'ekisa ekingi gwe tusaba obuyambi ku ebyo bye mwogera.

## روابط ذات صلة

- [النص القرآني للسورة](https://quranpedia.net/surah/1/21.md)
- [كل تفاسير سورة الأنبياء
](https://quranpedia.net/surah-tafsir/21.md)
- [ترجمات سورة الأنبياء
](https://quranpedia.net/translations/21.md)
- [صفحة الكتاب: الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية](https://quranpedia.net/book/27821.md)

---

زُر [Quranpedia.net](https://quranpedia.net/surah/1/21/book/27821) — موسوعة القرآن الكريم: التفاسير، الترجمات، التلاوات، والمواضيع.
