ﰂ
surah.translation
.
ﰡ
1. Ndayira e ggulu eririmu ebifo omutambulira e munyeenye (nga mwe muli e njuba n’omwezi).
ﭟﭠ
ﰁ
2. Era ndayira olunaku olwalagaanyisibwa (olunaku lw’enkomerero)
ﭢﭣ
ﰂ
3. Era ndayira oyo aliwa obujulizi n’oyo gwe balibuwaako (ku lunaku lw’enkomerero).
4. Katonda yagoba mu kusaasirakwe abo abaasima agannya.
5. Gebaakumamu omuliro ogubumbujja.
6. Bwe baatuula awo ku mabbali waagwo.
7. Nga bo (bennyini) balaba buli kyonna kyebakola ku bakkiriza.
8. Tebaalina kye baali babavunaana okugyako okukkiriza Katonda oweekitiibwa atenderezebwa.
9. Oyo, obufuzi bwe ggulu omusanvu n'ensi bwonna bubwe. Era Katonda alaba buli kintu.
10. Mazima abo abaawalagganya abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi ate ne bateenenya, bakutuukibwako e bibonerezo by’omuliro Jahannama era balina e bibonerezo by’omuliro ogwokya ennyo.
11. Mazima abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi bajja kufuna e jjana nga mukulukutira muyo emigga. Okwo nno kwe kwesiima okwannamaddala.
12. Mazima okukwata kwa Mukamaawo kwamaanyi nnyo.
13. Kubanga yye ye mutandisi wa buli kintu era yewookubizzaawo.
14. Era musonyiyi nnyo, era abaagala nnyo.
15. Yye ye nannyini Arishi, Oweekitiibwa.
16. Akola buli ky’aba ayagadde.
17. Wali owulidde ku byafaayo by’amagye.
ﯪﯫ
ﰑ
18. Aga Firawo n’abantu ba Thamuud?
19. Wabula abo abatakkiriza bali mu kulimbisa.
20. So nga Katonda abeetoolodde.
21. Wabula yo Kur'ani (eyassibwa ku Nabbi Muhammad) ya kitiibwa.
22. Eri mu ggwandiikiro erikuumwa obutiribiri.