ﮐ
surah.translation
.
ﰡ
1. Abange mmwe abantu mutye Mukama Katonda wa mmwe oyo eyabatonda nga abaggya mu muntu omu, (Adam) ate n’atonda nga agya mu ye mukyalawe (Haawa) ate mu bombi nagyamu abasajja n’abakyala bangi, era mutye Katonda oyo gwemukozesa erinnya lye nga musaba, era mutye enganda (muzikuume temuzikutula), mazima Katonda buli kiseera abataddeko eriiso egyogi.
2. (Bwe mukitegeera nti abataddeko eriiso gyogi kale) ne bamulekwa mubawe emmaali yaabwe, ennungi temugiwaanyisangamu embi, era emmaali yaabwe temugiryanga nga mugigatta mu yammwe, mazima ddala okukola ekyo kibi kinene.
3. Bwemutyanga obutakola bwenkanya eri bamulekwa (Abawala bemwasigaza okulabirira temubawasa) olwonno muwase abakyala abalala abo ababa babasanyusizza owa babiri, owa basatu, n’owabana, wabula bwemutyanga obutakola bwenkanya, kale omu, oba oyo omuzaana yenna gwemuba mulina mu mikono gyammwe, ekyo kyekirungi okuwona obuzibu bwokwekubiira.
4. Kikakafu muwe Abakyala Amahare gaabwe, naye bwebaba nga bbo babasonyiye ekintu kyonna ku Mahare mu mwoyo omulungi, ekyo mukirye nga mweyagala, nga muli mirembe.
5. Abo abatasobola kwemalirira ku kukozesa mmaali, temubawanga emmaali yammwe, eyo Katonda gyeyabateerawo nga yeetambuza obulamu bwa mmwe, era mubawenga ku yo gyebeetaaga ku byokulya era mubambazenga, era mwogerenga nabo ebigambo ebirungi.
6. Mugezese ba mulekwa (mpola mpola) bwebatuuka mu kiseera ekyokuwasa (oba okufumbirwa) bwe mubalabamu obusobozi (bwo kulabirira ebyabwe) olwonno mubawe emmaali yaabwe. (Mu kiseera wemubeerera nga mugibakuumira) temugiryanga mu ngeri ey’okudiibuuda, era n’okugirya eggweewo mangu nga tebannakula. Oyo anaabanga omugagga asaana yesseemu ensa (agyesonyiwe) oyo anaabanga omwavu alyengako mu ngeri y’akintu kiramu. Bwe mutuusanga okubawa emmaali yaabwe muleetengawo abajulizi, kimala okubeera nti Katonda ye mubazi.
7. Abaana ab’obulenzi balina omugabo gwebafuna mwebyo bakadde baabwe bombi byebalese, n’aboluganda byebaba balese, n'abaana ab'obuwala balina omugabo mwebyo bakadde baabwe bombi n'aboluganda byebaba balese, kabibe bitono oba bingi, (buli omu afuna) omugabo omugereke.
8. Ab’oluganda ab'okumpi ne bamulekwa n’abanaku bwebabaawo nga emmaali y’omufu egabwa mubagabirenga ko, era mubagambe ebigambo ebirungi.
9. (Abakuza) bateekwa okutya nti singa baba balese emabega waabwe abaana abato, nga baalibeeraliikirizza, bateekwa okutya Katonda, era boogere ebigambo ebituufu.
10. Mazima abo abalya emmaali y’abamulekwa mu ngeri enkyamu, mazima mu mbuto zaabwe balya muliro mwereere, era bagenda kuyingira omuliro oguyitibwa Saer.
11. Katonda abakalaatira ku baana ba mmwe, nga omwana omulenzi afuna emigabo gya bawala babiri, bwebaba nga baana bawala nebasukka ku babiri basikira bibiri bya kusatu (2/3 )by’emmaali omufu gyaba alese, bwaba muwala omu afuna kimu kya kubiri (1/2) olwonno bazadde b’omufu, buli omu kubo naafuna kimu kya mukaaga (1/6) ku mmaali gyaba alese bwaba nga aleseewo omwana ow’obulenzi, bwaba nga talina mwana w’abulenzi, abazadde b’ombiriri nebamusikira maamawe aba atwala kimu kya kusatu (1/3), bwaba aleseewo bagandabe olwo maamawe afuna kimu kya mukaaga (1/6), ebyo byonna bikolebwa oluvanyuma lwokutuukiriza ekiraamo kye yalaama oba ebbanja, bazadde ba mmwe n’abaana ba mmwe temumanyi ani kubonna asinga okuba ow’omugaso gyemuli, eno y’engaba ya Katonda (gye muteekeddwa okugoberera) anti bulijjo mazima ddala Katonda amanyi nnyo ate nga buli kintu akikola kusinziira ku nsonga.
12. (Mmwe Abasajja) mufuna kimu kya kubiri (1/2) mwebyo bakyala ba mmwe byebaba balese bwebaba nga bafudde tebalese mwana (oba abazzukulu,) bwebaba balese omwana, olwo nno mufuna kimu kyakuna (1/4) mwebyo byebaba balese, (nga bino bikolebwa (oluvanyuma lwe kiraamo kyebaba balaamye oba ebbanja. Nabo abakyala bafuna kimu kya kuna (1/4) kwebyo byemuba mulese bwe mubanga temulina mwana gwemulese. Bwe muba mulina omwana olwonno bafuna kimu kya munaana (1/8) kwebyo byemuba mulese, (Bino bikolebwa) oluvanyuma lwokutuukiriza ekiraamo kyemuba mulaamye oba ebbanja, omusajja bwaba asikirwa nga talese baana wadde bazadde, naye nga alina mugandawe oba mwannyina (gwalese) buli omu ku bombi afuna kimu kya mukaaga (1/6) bwebaba nga basukkawo olwo bonna beegattira mu kimu kyakusatu (1/3), (kino kikolebwa) oluvanyuma lwokutuukiriza ekiraamo ekiba kirekeddwa oba ebbanja, ekitaliimu kunyigiriza (eri abaserikale) bino byonna nga kiraamo gyemuli okuva eri Katonda wa mmwe, era bulijjo Katonda amanyi nnyo waakisa.
13. Ago mateeka ga Katonda, omuntu yenna agondera Katonda n’omubakawe alimuyingiza e jjana ezikulukutiramu emigga, baakuzibeeramu obugenderevu, era okwo kwekwesiima okusukkulumu.
14. N’oyo ajeemera Katonda n'omubakawe, naamenya amateekage agenda ku muyingiza omuliro, nga waakugubeeramu obugenderevu, era wa kutuusibwako ebibonerezo ebinyoomesa.
15. Naabo abakyala ba mmwe ababa bakoze eby’obwenzi mubateekeko abajulizi bana (4) nga bava mu mmwe, bwebabawaako obujulizi olwonno abakyala abo mubasibire mu mayumba okutuusa okufa lwekulibatuukako, oba Katonda naabateerawo enkola endala.
16. Naabo bombi mu mmwe ababa bakikoze mubabonerezenga, naye bwebeenenya nebeeyisa obulungi mubaleke, mazima Katonda akkiriza okwenenya musaasizi.
17. Mazima okwenenya okukkirizibwa ewa Katonda kwekwabantu abo abakola ebibi mu butamanya oluvanyuma nebeenenya mangu ddala abonno Katonda akkiriza okwenenya kwabwe, anti bulijjo Katonda amanyi nnyo era agoba nsonga.
18. Okwenenya tekukkirizibwa nga kuva mwabo abakola ebibi okutuusa omu ku bo okufa lwekumusemberera naagamba nti kaakati neenenyezza, wadde abo abafa nga bakafiiri, abo (bonna) twabategekera ebibonerezo ebiruma.
19. Abange mmwe abakkiriza temukkirizibwa kusikira bakyala lwampaka, era temubanyigirizanga mube nga mutwala ebimu kwebyo byemwabawa, mpozzi nga bakoze obwenzi obweyolefu, (bwekiba ekyo) mukolagane nabo mu ngeri ennungi, bwe muba temukyabaagala, muyinza okutamwa ekintu ate Katonda naakissaamu ebirungi bingi.
20. Singa mwagadde okuwaanyisa omukyala mu kifo kyomukyala omulala, omu ku bo nebwe muba nga mwamuwa endulundu ye mmaali, temubaggyangako kintu kyonna ku yo, musobole okugitwala mu ngeri yobulimba era nga kivve ekyeyolefu!!
21. Ate mugitwala mutya nga buli omu ku mmwe yamala dda okutuuka eri munne! (Abakyala abo) nebaggya ku mmwe endagaano ennyweevu.
22. Temuwasanga abakyala ba kitammwe bebaawasa, okugyako ebyo byemwakola emabega (nga temunnamanya tteeka lino) mazima ekikolwa ekyo kya buwemu, ekisunguwaza Katonda, era nga nkola mbi.
23. Temukkirizibwa (kiri haramu) okuwasa ba maama ba mmwe, ne bawala ba mmwe ne bannyina mmwe, neba senga mmwe, ne baganda ba bamaama ba mmwe, ne bawala ba baganda ba mmwe, ne bawala ba bannyinammwe, ne ba maama ba mmwe abo abaabayonsa, nebannyinammwe bemwayonka ku bbeere erimu, ne bamaama ba bakyala ba mmwe n’abaana abajja ne bannyabwe abo ababa bakulidde mu maka gammwe, nga bazaalibwa bakyala ba mmwe abo bemwalabagana nabo, bwe muba temwalabaganako nabo, temulina mutawaana (era temukkirizibwa) baka batabani ba mmwe abo abava ku migongo gyammwe, era temukkirizibwa kugatta wakati wa bakyala ab’oluganda okugyako ebyo byemwakola edda emabega, anti bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi.
24. Era temukkirizibwa kuwasa bakyala bafumbo mpozzi abo bemuba mufunye mu mikono gyammwe mu ngeri yo bufuge, bino byonna Katonda abibataddeko nga kiragiro ekiva gyali. Mukkirizibwa okuwasa abatali abo, nga mukozesa emmaali yammwe. Mubafune mu bufumbo obutukuvu so ssi mu bwenzi, abo bwe mubanga musanyuse nabo, mubawe Amahare gaabwe, nga Katonda bweyakiraalika. Temulina kibi kwekyo kyemuba mukkaanyizzaako oluvanyuma lw’okugereka Amahare. Mazima ddala Katonda bulijjo mumanyi nnyo ate agoba nsonga.
25. Nooyo aba talina mu mmwe busobozi okuba nga awasa abaana baboobwe abakkiriza, awase mwabo emikono gyammwe begyaafuna nga eminyago mu bawala ba mmwe abakkiriza, Katonda amanyidde ddala obukkiriza bwa mmwe, mwenna abamu bava mu bannaabwe. Wabula mubawase kasita bakama baabwe bakkiriza era mubawe Amahare gaabwe mu buntu bulamu, bateekeddwa okuba abensa nga si bamalaaya wadde ab'eteerawo baganzi baabwe, bwebaba bafumbiddwa ate nebayingira mu bwenzi, mubasseeko kitundu kya kibonerezo, ekiweebwa abakyala abaana ba'boobwe. Ekyo nno (ekyokubawasa) kyoyo aba atidde mu mmwe okugwa mu kibi kyobwenzi, naye singa muba musobodde okugumiikiriza ekyo kyekisinga obulungi gyemuli, era bulijjo Katonda musonyiyi, musaasizi.
26. Katonda ayagala okubannyonnyola era abalungamye ku nkola y’abo abaabakulembera, era akkirize okwenenya kwa mmwe. Bulijjo Katonda mumanyi nnyo ate agoba nsonga.
27. Era Katonda ayagala akkirize okwenenya kwa mmwe, ate bo abagoberera okwagala kwabwe baagala Katonda mumuviireko ddala.
28. Bulijjo Katonda ayagala kubanguyiza, anti omuntu yatondebwa nga munafu.
29. Abange mmwe abakkiriza, temulyanga emmaali yammwe wakati wa mmwe mu bukyamu, okugyako nga kubadde kusuubulagana nga kusinziira ku kutegeeragana wakati wa mmwe, temwetemulanga. Mazima Katonda bulijjo waakisa ku mmwe.
30. Omuntu akola ekintu ekyo mu bulumbaganyi n’obulyazamanyi, tugenda kumuyingiza omuliro, era ekyo ku Katonda kigenda kuba kyangu.
31. Bwemwewala ebibi ebinene ebibagaanwa, tujja kubasangulako ebibi ebitonotono era tubayingize ennyingiza ey’ekitiibwa.
32. Temuluvuwaliranga ebyo Katonda byeyasukkulumya nabyo abamu mu mmwe ku balala, Abasajja balina omugabo kw’ekyo kyebaba bakoze, nga n’abakyala bwebalina omugabo kwekyo kyebaba bakoze, era bulijjo musabe Katonda abawe ku birungibye, mazima Katonda mumanyi wa buli kintu.
33. Nabuli omu twamuteerawo abasikira ebyo abazadde ababiri n’aboluganda byebaba balese, n’abo bebyakakatako ebirayiro byammwe (ab'omukago), kale mubawe omugabo gwabwe, mazima ddala Katonda mujulizi ku buli kintu.
34. Abasajja be balabirira Abakyala olwenkizo Katonda gyeyawa abamu ku bannaabwe, ne ku lwemmaali Abasajja gyebasasaanya, kale nno abakyala abalongoofu baba bawulize ku lwa Katonda, b'ekuumira ba bbaabwe.Kwekyo Katonda kyeyabakuumisa. bo abo bemutya okuba nga bajeema mubabuulirire era mubasenguke mu buliri, era mubakubemu. Bwebaba babagondedde temulina kyemubavunaana, mazima Katonda waawaggulu nnyo wa kitiibwa.
35. Bwe muba nga mutidde enjawukana wakati wa bafumbo ababiri, muweerezeeyo omutabaganya okuva ku ludda lwo mwami n’omutabaganya omulala okuva ku ludda lwomukyala, bwebaba nga bombi bagenderera kulongoosa, Katonda ajja kukwanaganya wakati waabwe bombi. Mazima Katonda bulijjo amanyi nnyo ategeera buli kyonna ekikwata ku baddube.
36. Era musinze Katonda awatali ku mugattako kintu kyonna, n’abazadde ababiri mubayise bulungi, bwekityo n’aboluganda, ne bamulekwa n’abanaku ne muliraanwa ow’okumpi, nemuliraanwa ow'ewala, ne munno ow'okumpi n'omutambuze ali mu bwetaavu, n’abo emikono gyammwe begyafuna ng’eminyago, mazima Katonda tayagala muntu yeekuluntaza omwewulize.
37. Abo beebo abakodowala nebalagira na bantu abalala okuba abakodo, nebakweka Katonda byeyabawa mu birungibye. Era Abakafiiri twabategekera ebibonerezo ebinyomesa.
38. (Era ebyo byebibonerezo) byabo abawaayo emmaali yaabwe ku lwa bantu okubalaba, nga tebakkiriza Katonda wadde olunaku lw’enkomerero. Omuntu yenna Sitane gwabera nga ye munne, aba afunye owomukwano omubi.
39. Kiki ekyandibatuseeko singa bakkiriza Katonda n’olunaku lw’enkomerero, ne bagaba kwebyo Katonda bye yabawa. Anti bulijjo Katonda amanyi ebibakwatako.
40. Mazima Katonda talyazamaanya wadde akantu akatono ennyo, bwekiba kirungi akibazaamu anti bulijjo awa okuva gyali empeera ensukkulumu.
41. Guliba gutya bwetuligya mu buli kibiina omujulizi, ggwe netukuleeta ng’omujulizi kwabo.
42. Olunaku olwo abo Abakaafuwala nebajeemera omubaka balyegomba singa ettaka libamira, era tebalisobola kukweka Katonda kigambo kyonna.
43. Abange mmwe Abakkiriza temusembereranga e sswala nga mutamidde,(okutuusa lwegubaggwako) ne muba nga mutegeera byemwogera (era temusembereranga e sswala) nga mulina Janaba okugyako ayita obuyisi mu muzigiti okutuusa nga munaabye, bwe muba abalwadde, oba nga muli ku safari, oba omu ku mmwe ng’avudde mu kumala ekyetaago (ekyobutonde) oba nga mukutte ku bakyala, ne mutafuna mazzi, olwonno mwetukuze nga mukozesa ettaka eddungi, musiige ebyenyi byammwe n’emikono gyammwe, mazima Katonda bulijjo alekera era asonyiwa.
44. Tolaba abo abaaweebwa omugabo mu kitabo, baasalawo okutwala obubuze era nebaagala nammwe mubulwe ekkubo.
45. Bulijjo Katonda amanyi nnyo ebikwata ku balabe ba mmwe, Katonda amala okuba nga ye mukuumi, era Katonda amala okuba nga ye mutaasa.
46. Mu Bayudaaya, mulimu abakyusa ebigambo nebabikozesa mu bukyamu, nebaba nga bagamba nti tuwulidde era tujeemye. Wulira naye Katonda aleme kukuwuliza, era siriwala. Nga bakyusakyusa ebigambo nennimi zaabwe, era nga bagezaako okussa ebituli mu ddiini. Singa bagamba nti tuwulidde era tugonze wulira era tulabirire, kyandibadde kirungi nnyo gyebali era nga kituufu, wabula Katonda yabakolimira olwobukafiiri bwabwe, tebakkiriza okugyako katono nnyo.
47. Abange mmwe abaaweebwa ekitabo mukkirize ebyo byetwassa nga bikakasa ebyo byemulina, nga tetunnaba kukyusa byenyi netubizza emabega, oba netubakolimira nga bwetwakolimira abantu b’olunaku lwomukaaga. Ekigambo kya Katonda bulijjo kiteekwa okutuukirira.
48. Mazima Katonda tasonyiwa kumugattako kintu kirala asonyiwa ebirala ebitali ekyo kwoyo gwaba ayagadde, oyo yenna agatta ku Katonda ekinti ekirala, mazima aba agunjizzaawo ekibi kinene nnyo.
49. Tolaba abo abeetukuza! ekituufu kiri nti Katonda atukuza oyo gwaba ayagadde, era tebagenda kulyazaamanyizibwa wadde omuwula gwentende ogumu.
50. Laba engeri gyebatemerera Katonda obulimba, ekyo kimala bumazi okuba nti kibi ekyolwatu.
51. Tolaba abo abaaweebwa omugabo mu kitabo, bakkiririza mu buli kisinzibwa ekitali Katonda era nebakkiririza mu Sitane, era nga bagamba abakafiiri nti, abo ekkubo lyabwe ly’elisinga erya bakkiriza okuba ettuufu.
52. Abo nno beebo Katonda beyakolimira, ate nga oyo yenna Katonda gweyakolimira, toyinza kumufunira mutaasa yenna.
53. Abaffe, balina omugabo gwonna mu bufuzi! bwekiba bwekityo tebandiwadde muntu yenna kantu konna nebwekandibadde kenkana akatuli k’omulamwa gwe ntende.
54. Oba bakwatibwa ensalwa olwebyo Katonda byeyawa abantu (Nabbi Muhammad n’abamukkiriza) so nga ate twawa aboolulyo lwa Nabbi Ibrahim ekitabo n’ebigambo ebyamagezi era netubawa obufuzi obugazi.
55. (Ne mwabo abaaweebwa omugabo mu kitabo) mulimu abakkiriza obubaka bwa Nabbi Muhammad, ate mulimu abaziyiza abantu okubukkiriza, kimala okuba nga Jahannama gwemuliro ogugenda okubookya.
56. Mazima abo abaawakanya ebigambo byaffe, ddala tujja kubayingiza omuliro, buli lwegalisiriira amaliba g’emibiri gyabwe, nga tubassaako amaliba amalala, balyoke bakombe ku bibonerezo. Mazima Katonda bulijjo nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
57. Ate bbo Abakkiriza nebakola emirimu emirungi, tujja kubayingiza mu jjana ezikulukutiramu emigga, nga baakubeeramu lubeerera, balina mu zo Abakyala abatukuvu era tugenda kubakkiriza batuule mu bisiikirize ebisaakaativu.
58. Mazima Katonda abalagira okutuukiriza obuvunaanyizibwa eri abo bemuteekwa okubukolera, era bwemutuula mu nsonga wakati w’abantu mubalamule mu bwenkanya, mazima Katonda kisuffu kyabakalaatira, mazima Katonda bulijjo awulira ate ng’alaba.
59. Abange mmwe Abakkiriza mugondere Katonda mugondere n’omubaka n’abakulembeze mu mmwe, bwe mufuna obutakkaanya ku nsonga yonna mugizze eri Katonda n’omubaka, bwe muba mukkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero ekyo kyekirungi era kyekivaamu ebibala ebirungi.
60. Tolaba abo abagamba nti bakkiriza ebyassibwa gyoli, n’ebyassibwa oluberyeberyelwo, baagala okuba nga beramuza ebintu ebikyamu ebitali mu mateeka g’a Katonda, so nga baalagirwa okubiwakanya, era bulijjo Sitane ayagala ababuze olubula olusuffu.
61. Bwebaba bagambiddwa nti mujje eri ebyo Katonda byeyassa, era mujje eri omubaka, olaba abananfusi nga bakwemululako olwemulula.
62. Butya nga batuukiddwako omuswiba olwebyo byebaakola, olwonno nebakujjira nga balayira Katonda nti, ekigendererwa kyaffe tekyabadde kirala kyonna okugyako okulongoosa n'okutereeza.
63. Abo nno beebo, Katonda baamanyi ebiri mu mitima gyaabwe, n'olwekyo baawukaneko era obabuulirire, era obagambe ekigambo ekiggumivu ekinaabatuuka ku mitima.
64. Tewali Mubaka gwe twatuma okugyako nga ateekwa kugonderwa kulwobuyinza bwa Katonda, kale singa bo lwebaba beeyisizza obubi bajja gyoli, nebeegayirira Katonda n’omubaka naabasabira ekisonyiwo ewa Katonda, baalisanze Katonda nga akkiriza okwenenya era nga wa kisa.
65. Ndayidde Mukama Katonda wo tebayinza kubeera bakkiriza abannamaddala okugyako nga ggwe gwebasalawo okubalamula mu buli kintu kyebaba bakaayaganyeeko, ate nebatasigaza mu mitima gyabwe kakuku ku ngeri gyoba osazeewo era nebakkiriza olukkiriza olulambulukufu.
66. Singa mazima ddala ffe twalaalika ku bo nti mwette, oba muve mu mayumba gammwe tebandikikoze okugyako batono ku bo, singa baakola ebyo ebibabuulirwa kyandibadde kirungi gyebali, era kyekyalisinze okubanywereza ku bukkiriza.
67. Olwo nno twandibawadde okuva gyetuli empeera ensukkulumu.
68. Era twalibalungamizza mu kkubo eggolokofu.
69. Abantu abagondera Katonda n’omubaka, abo nno beebokubeera awamu naabo Katonda beyawa ebyengera mu ba Nabbi n’abakkiriza abaamazima, n'abafiira mu ntalo zeddiini n'abalongoofu. Abo balungi nnyo okuba nga be bantu boobeera nabo.
70. Obulungi obwo bwonna buva wa Katonda, kimala bumazi okuba nti Katonda amanyi byonna.
71. Abange mmwe Abakkiriza mubagalire ebyokulwanyisa byammwe, mutambulire mu bibinja, oba mutambulire wamu mwenna.
72. Mazima mujja kubeera mu mmwe abantu abanafuya bannaabwe, nga singa mutuukwako obuzibu mu lutalo bagamba nti Katonda yannyambye okuba nti saabadde nabo mu lutalo.
73. Naye ate singa muba mugonnomoddwako ebirungi okuva ewa Katonda, ajja kugamba nga walinga awatabangawo nkolagana wakati wa mmwe naye nti nga ndabye nze, singa nabadde nabo nenganyulwa oluganyulwa olunene.
74. Bateekeddwa okulwana mu kkubo lya Katonda abo abalekawo obulamu obwensi nebatwala obwenkomerero, oyo yenna alwanirira eddiini ya Katonda naamala attibwa, oba naawangula, tugenda kumuwa empeera ensukkulumu.
75. Ngeriki bwemutalwana mu kutaasa ddiini ya Katonda, n'okutaasa abanyigirizibwa mu basajja n'abakyala n'abaana, nebatuuka okugamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tuggye mu nsi eno, abantu baamu abanyigiriza bannaabwe, otuteerewo okuva gyoli omukuumi era otuteerewo okuva gyoli omutaasa.
76. Abo abakkiriza, balwana nga bali mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, bo abakafiiri balwana mu kuweereza mu kubo lyobubuze n'obwonoonefu, kale mulwanyise banne ba Sitane, anti bulijjo enkwe za Sitane nafu ddala.
77. Tolaba abo abaagambwa nti mulekere awo okulwana, era muyimirizeewo e sswala, era mutoole e Zakka, naye ate bwe baalagirwa okulwana, wagenda okulaba ng’abamu mu bo batya abantu, nga balinga abatya Katonda. Si nakindi n’okusingawo, nebagamba nti ayi Mukama Katonda waffe lwaki otulaaliseeko okulwana, singa otulindirizzaako okumala akaseera katono, gamba Ggwe (Nabbi Muhammad) nti ebyokweyagala kwensi byabutaliimu, era enkomerero yenungi eri atya Katonda, era nga temugenda kulyazamanyizibwa wadde omuwula gwe ntende.
78. Wonna wemuba muli okufa kugenda kubatuukako, newaakubadde nga muli mu mizimbo eminywevu (bankers), abantu abamu bwebatuukwako ekirungi bagamba nti ekyo kivudde wa Katonda, so nga bwebatuukwako ekibi bagamba nti kino kivudde ku ggwe, Gamba (Ggwe Muhammad) byonna biva wa Katonda, abantu abo bali kumpi babe nga tebategeera kintu kyonna.
79. Buli kirungi ekikutuukako kiva wa Katonda, ate buli kibi ekikutuukako kiva ku ggwe kennyini, era twakutuma eri abantu nga oli Mubaka, bulijjo kimala okuba nga Katonda yemujulizi.
80. Omuntu agondera omubaka mazima aba agondedde Katonda, n’omuntu akola ekyennyume kyekyo tetukutumanga (Ggwe Muhammad) kubera kalondoozi ku bo.
81. (Bwebabeera wooli) bagamba nti bawulize gyoli, naye bwebava wooli ekitundu ku bo nebasula nga basala entotto okwawukana ku byebayogedde, era Katonda awandiika entotto zonna zebasula bakola, baveeko wekwate ku Katonda, bulijjo kimala okuba nga Katonda ye mukuumi.
82. Abaffe, tebekkenneenya Kur’ani, singa teyava wa Katonda bandigisanzeemu okukontana kungi.
83. Bwebajjirwa e kigambo e kyemirembe oba e kyentiisa bakiraalaasa, so singa bakizza eri omubaka oba abo abakwatibwako ensonga mu bo, bandikitegedde abo abalina obusobozi bwokusengejja amakulu gaayo, singa tebyali birungi Katonda byabawa n’okusaasira kwe mwandigoberedde Sitane mpozzi abatono mu mmwe.
84. Kale nno lwaana ng’oweereza mu kkubo lya Katonda, towalirizibwa (kutwala muntu yenna ku lutalo) okugyako mwoyo gwo. Bo abakkiriza bakubirize (okulwana) olwo nno Katonda abe nga akomya akabi kaabo ab'akaafuwala, bulijjo Katonda y’asinga amaanyi era y’asinga okubonereza.
85. Omuntu akolerera munne afune e kirungi naye afunako omugabo, n’omuntu akolerera munne atuukweko e kibi atukwako e kibi kyekyo. Bulijjo Katonda yennyini buyinza ku buli kintu.
86. Bwe muba nga mulamusiddwa n'ekiramuso kyonna mwanukule nga n'ekiramuso ekisingako ku kiri obulungi, oba mwanukuze nakiri kyennyini kyebabalamusizza nakyo, bulijjo Katonda asobolera ddala okubala buli kintu.
87. Katonda ateekeddwa okusinzibwa ali omu tewali kintu kyonna kisaana kusinzibwa okugyako yye, mazima ddala agenda kubakunganya ku lunaku lw’enkomerero awatali kubuusabuusa, ate bulijjo ani ayogera amazima okusinga Katonda!
88. Lwaki Abannanfusi mubalinako e ndaba ya mirundi ebiri, so nga Katonda olwebyo byebakola yabavuunika (nebadda mu bukafiiri) kaakati mmwe mwagala kulungamya oyo Katonda gweyabuza oyo yenna Katonda gwabuza tosobola kumufunira kkubo.
89. Beegomba nnyo okuba nga mukaafuwala nga bwe baakaafuwala, olwo nno mufaanagane, temuggya mu bo ab'emikwano beppo nga basenguse nebadda ku kkubo lya Katonda, naye bwe batakikola mubakwate, mubatte wonna wemubagwikiriza, temuggya mu bo wa mukwano yenna wadde omutaasa.
90. Okugyako abo ababa baddukidde eri abantu bemulina nabo endagaano (e yobutatabaalagana), oba abo abajja gyemuli nga tebandi yagadde kubalwanyisa mmwe, oba okulwanyisa abantu baabwe, singa Katonda yayagala (abantu abo) yandi babateeredde nebabalwanyisa. Bweba nga tebabalumbaganye nebatabalwanyisa, era nebalangirira emirembe ku mmwe, nammwe Katonda mu buli ngeri yonna tabakkiriza kubalwanyisa.
91. Ate mujja kusanga abalala nga bo baagala babe mirembe nammwe, mu kiseera kyekimu babe mirembe n'abantu baabwe, buli wonna webaddizibwa eri obukafiiri babubbinkiramu. Bwebaba tebabavuddeeko era nebalangirira e mirembe ku mmwe, nebaziyiza e mikono gyabwe, (abo) mubakwate era mubatte wonna wemubagwikiriza, era kwabo twabawa mmwe olukusa olujjuvu okubakolako.
92. Tekigwanira mukkiriza yenna kutta mukkiriza, okugyako mubutanwa. Oyo yenna atta omukkiriza mubutanwa ateekwa okuta omuddu omukkiriza, nga ateekwa n'okusasula olufuubanja eri abantu b'omufu okugyako nga bamusonyiye, singa abadde wa mu bantu bemulina nabo obulabe nga ate ye mukkiriza, olwo omussi ateekwa okuta omuddu omukkiriza, naye singa abadde wa mu bantu bemulina nabo endagaano yobutatabaalagana olufubanja luteekwa okuweebwa eri abantu okwo nga ogasseeko okuta omuddu omukkiriza, omuntu aba tasobodde kufuna lufubanja lwawaayo ateekwa okusiiba emyezi ebiri nga gigoberegana, ebyo bikolebwa kulwokusaba Katonda ekisonyiwo. Bulijjo Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga.
93. Omuntu atta omukkiriza mu bugenderevu empeera ye muliro Jahannama, w'akugubeeramu bugenderevu, era Katonda yamusunguwalira, naamukolimira, era naamutegekera ebibonerezo ebiyitirivu.
94. Abange mmwe abakkiriza bwe muba nga mutambudde mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, mwetegerezenga, omuntu bwabatooleranga ssalaamu temumugamba nti toli mukkiriza, nemululunkanira ebyokufuna byensi (bwegiba minyago) ewa Katonda weewali eminyago emingi, ebyo byemwagala okukola so nno bwemwakolanga mu kusoka, Katonda nabagonnomolako e kyengera (kyo bukkiriza) n'olwekyo muteekwa okwetegereza, anti mazima Katonda bulijjo amanyi nnyo byemukola.
95. Abatagenda ku lutalo mu bakkiriza nga tebalina kisonyiyisa tebayinza kwenkana naabo abalafuubana nebaweereza mu kkubo lya Katonda nga bawaayo emmaali yaabwe n’obulamu bwabwe, Katonda yasukkulumya eddaala abalafuubana mu kkubolye nga bakozesa emmaali yaabwe n’obulamu bwabwe ku batagenda mu lutalo. Nabuli bamu Katonda yabalagaanyisa okubasasula e birungi. Naye Katonda yasukkulumya abalafuubana mu kkubolye ku batagenze mu lutalo, nga agenda kubasasula empeera ensuffu.
96. Ebyo byonna nga kuliba kusitulwa madaala nakusonyiwa nakusaasira ebiriva eri Katonda, bulijjo Katonda musonyiyi nnyo wa kisa.
97. Mazima abo ba Malayika be batuusaako okufa nga bakyeyisa bubi, ba Malayika babagamba nti mubadde mweyisa mutya, bo nebaddamu nti tubadde tunyigirizibwa mu nsi (ba Malayika) nebagamba nti abaffe ensi ya Katonda teyali ngazi nemusengukako, abo nno obuddo bwabwe muliro Jahannama era nga buddo bubi ddala.
98. Okugyako abo abanyigirizibwa mu basajja n'a bakyala n'abaana abatalina busobozi, era nga balina obuzibu bwokumanya ekkubo lyo kukwata.
99. Abo nno Katonda abasonyiwa, bulijjo Katonda alekera era musonyiyi nnyo.
100. Oyo yenna asenguka olwokuweereza mu kkubo lya Katonda afuna ebifo bingi ebyokubudamamu n'obulamu obulungi, omuntu aleka amaka ge naasenguka ku lwa Katonda n'omubaka we naye naafa (nga tannatuuka) empeera ye eba emaze okukakata ewa Katonda, Katonda bulijjo musonyiyi musaasizi.
101. Bwe mubanga mutambudde mu nsi, si kibi okuba nga musala ku sswala kavuna mwekengera nga abo Abaakaafuwala bayinza okubatuusaako akabi, anti bulijjo Abakafiiri balabe ba mmwe aboolwatu.
102. Ggwe (Nabbi Muhammad) bwobanga mu lutalo n’abakkiriza, nobakulembera mu kusaala, ekibinja ekimu ku bo kiyimiriranga naawe musaale, era nga babagalidde ebyokulwanyisa byaabwe, bwebamala okuvunnama bagende bayimirire emabega wa mmwe ate ekibinja ekirala abatannasaala bajje babe nga basaala naawe, bateekeddwa okuba obulindaala nga babagalidde ebyokulwanyisa byaabwe, abo Abakaafuwala bandyagadde singa mugayaalirira ebyokulwanyisa byammwe n'ebintu byammwe, nebabagwako ekiyiifuyiifu tewali kibi ku mmwe bwe muba nga mulina obuzibu olwenkuba oba nga mubadde balwadde okuba nga mussa wansi ebyokulwanyisa byammwe naye era mubeere bulindaala, mazima Katonda yategekera Abakafiiri ebibonerezo ebinyoomesa.
103. Bwemumala e sswala, mutendereze Katonda mu kuyimirira ne mu kutuula ne mu kugalamira, ate bwe muba mu mirembe musaale e sswala mu ngeri eyaabulijjo. Mazima e sswala yalaalikibwa ku Bakkiriza nga esaalibwa mu biseera ebigere.
104. Temunafuwa nga mulondoola omulabe, bwe muba nga mulumwa mazima nabo balumwa nga bwemulumwa, ate nga mmwe musuubira ewa Katonda bo kyebatasuubira, bulijjo Katonda amanyi nnyo era mugoba nsonga.
105. Mazima ffe twassa gyoli ekitabo mu butuufu, obe nga olamula wakati w’abantu nga okozesa ebyo Katonda bye yakuwa, era towolerezanga abakumpanya.
106. Era weegayirire Katonda, mazima Katonda musonyiyi nnyo waakisa.
107. Towakanira abo abeelyazaamanya, bulijjo Katonda tayagala muntu mukumpanya omwonoonefu.
108. Beekweka abantu nebatasonyiwalira Katonda, so nga bulijjo aba nabo bwebasula nga abayiiya ebigambo byatayagala, ate nga bulijjo Katonda yetoolodde bye bakola.
109. Abaffe mmwe beebo ababawakanira mu bulamu obwensi kati ani aliboogerera ewa Katonda ku lunaku lwokuzuukira! oba ani alibeera omweyimirize waabwe!
110. Omuntu akola ekibi oba neyeeyisa obubi naye neyeegayirira Katonda, asanga Katonda nga musonyiyi nnyo omusaasizi.
111. Omuntu akola ekibi akikolera mwoyo gwe, bulijjo Katonda mumanyi nnyo agoba nsonga.
112. Ate omuntu akola ekisobyo, oba ekyonoono ate naakissa ku muntu atakikoze, mazima aba yeetisse ekikolwa ekyobulimba era nga kibi ekyolwatu.
113. Singa si kisa kya Katonda n'okusaasirakwe bya kulinako, (Ggwe Muhammad) ekibiina mu bo kyaliyagadde okukubuza, byonna byebakola beebuza bokka, tebayinza kukutuusako kabi konna nga Katonda assa ku ggwe ekitabo (Kur’ani) n’ebigambo ebya magezi (Hadith) era nga yakumanyisa n'ebyo byewali tomanyi era bulijjo e birungi bya Katonda byakuwa bingi nnyo.
114. Tewali bulungi mu mboozi zaabwe ezisinga obungi, okugyako oyo alagira abantu okusaddaaka oba obuntu bulamu oba okutabaganya wakati w’abantu, omuntu akola ebyo nga anoonya kusiima kwa Katonda tugenda kumuwa empeera ensukkulumu.
115. N'omuntu ayawukana ku Mubaka oluvanyuma lwo bulungamu okumweyoleka, naakwata ekkubo eritali lya bakkiriza tumulekera ekyo kyaaba asazeewo, era tugenda kumukasuka mu muliro Jahannama, obwo nno buddo bubi ddala.
116. Mazima Katonda tasonyiwa ku mugattako kintu, so nga asonyiwa ekitali ekyo eri oyo gwaba ayagadde, oyo yenna agatta ku Katonda ekintu aba abuze olubula oluyitirivu.
117. Buli byebasaba ebitali ye baabituuma amannya ag’ekikazi, era ddala tebasaba (mu nkola yaabwe eyo) okugyako Sitane eyeewaggula.
118. Katonda yagikolimira era neegamba nti nja kutwala ekitundu ekiwera mu baddubo.
119. Njakubabuliza ddala, era nja kubawanga ebisuubizo ebyobulimba, era nja kubalagirira ddala bawummule amatu g’ebisolo ebirundibwa era nja kubalagirira nga ddala bakyuse entonda ya Katonda. N’omuntu afuula Sitane mukwanogwe naaleka Katonda mazima aba afaafaganiddwa olufaafaganirwa olwolwatu.
120. (Sitane) abalagaanyisa naabawa n’ebisuubizo ebyo bulimba, Sitane byonna byabalagaanyisa tebiri okugyako byabutaliimu.
121. (Abagoberera Sitane) abo obuddo bwa bwe muliro Jahannama, era nga tebagenda kufuna buddukiro kuguwona.
122. Naabo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu tujja kubayingiza e jjana nga emigga jikulukutira mu zo, baakuzibeeramu obugenderevu, eyo nga ndagaano ey’amazima Katonda gyabawadde, ate ani asinga Katonda okwogera ebigambo eby’amazima.
123. (Okuyingira e jjana) tekigenda kusinziira ku kwagala kwa mmwe oba abaaweebwa e kitabo kye baagala, (enkola eri nti) omuntu akola ekibi kiri musasulwa, era nga oggyeko Katonda tewaliba mukuumi yenna wadde omutaasa.
124. N’omuntu akola emirimu emirongoofu kaabe musajja oba mukazi nga mukkiriza, abo nno baakuyingira e jjana, era tebagenda kuyisibwa bubi wadde mu kantu akatono.
125. Ani ali mu ddiini e nnungi okusinga oyo aba yeewadde ewa Katonda, era nga mukozi wa birungi, era n'agoberera e nkola ya Ibrahim e yobutakkiririza mu bisinzibwa byonna ebitali Katonda omu, era nga Katonda yafuula Ibrahim mukwano gwe owenjawulo.
126. Era bya Katonda byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi, era bulijjo Katonda amanyi ekifa ku buli kintu.
127. Bakubuuza ku nsonga za bakyala, bagambe nti Katonda ajja kubaanukula ebikwata ku bakyala, era nga bwajja okubategeeza ebibasomerwa mu kitabo (Kur’ani) ku nsonga zaaba mulekwa abakyala, abo bemutawa ekyo ekiteekwa okuweebwa (Amahare), ate nemwagala okubawasa era abategeeza ebikwata ku baana abato abateesobola, era nga bwajja okubategeeza nti muteekwa okukola ku nsonga z’a bamulekwa mu bwesimbu, era mukimanye nti e kirungi kyonna kyemukola Katonda akimanyidde ddala.
128. Omukyala bwatyanga bba okumuyisa obubi, oba okumusuulawo, si kibi ku bombi okukola ekiyinza okubatabaganya era (bulijjo) okutegeeragana kwekusinga obulungi. Naye omuntu bulijjo agwa olubege ku mulugube, naye singa mulongoosezza nemutya Katonda, bulijjo Katonda byemukola abimanyi nnyo.
129. Wabula temugenda kusobola kukola bwenkanya wakati wa bakyala (obuli 100%) ne bwe muba nga kye mwandi yagadde, wabula temubasuulira ngawo ddala, omukyala nemumuleka nga alengejja nga omuwanike, naye singa mutegeeraganye, era nemutya Katonda, mazima bulijjo Katonda musonyiyi nnyo musaasizi.
130. Naye (omwami n'omukyala abafumbo) singa baawukana buli omu Katonda ajja kumumalira ebyetaagobye nga ajja mu bigabwabye e bingi, bulijjo Katonda mugazi nnyo mu buli kimu era agoba nsonga.
131. Byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi bya Katonda, era mazima twalaamira abo abaaweebwa ekitabo oluberyeberye lwa mmwe, nammwe netubalaamira nti mutye Katonda, wabula bwemugyema mazima ddala bya Katonda ebyo ebiri mu ggulu omusanvu nebiri mu nsi. Era bulijjo Katonda talina kyeyetaaga era atenderezebwa.
132. Era bya Katonda ebyo ebiri mu ggulu omusanvu nebyo ebiri mu nsi. Era bulijo Katonda yaakola ku nsonga z’ebitonde byonna.
133. (Okukakasa ekyo) singa aba ayagadde asobola okubagyawo abange mmwe abantu naaleeta abalala, bulijjo Katonda kwekyo musobozi.
134. Omuntu ayagala empeera y’okunsi, Katonda yaafuga empeera y’okunsi n'e yokunkomerero bulijjo Katonda awulira era alaba nnyo.
135. Abange mmwe abakkiriza mubeere abalwanirira obwenkanya, abajulira ku lwa Katonda, ensonga nebweba ekwata ku mmwe mwennyini, oba abazadde bombi, n'aboluganda olwokumpi (aweebwako obujulizi) kaabe mugagga oba mwavu bombi bantu ba Katonda okusinga okuba nti ba mmwe, kale nno temugoberera okwagala kwa mmwe nemutakola bwenkanya. bwemunaakyusa amazima oba nemugaana okuwa obujulizi, mazima ddala Katonda bulijjo amanyidde ddala byemukola.
136. Abange mmwe abakkiriza mukkirize Katonda n’omubakawe, n’ekitabo kyeyassa ku mubakawe, era n’ekitabo kyeyassa oluberyeberye, oyo yenna atakkiririza mu Katonda ne ba Malayika be n'ebitabo bye n’ababaka be n’olunaku lw’enkomerero aba abuze olubula oluyitirivu.
137. Mazima abo abakkiriza, ate nebakaafuwala, ate nebakkiriza, oluvanyuma nebakaafuwala, ate nebeeyongerera ddala obwa kiwagi, Katonda si wakubasonyiwa wadde okubalungamya ku kkubo e ggolokofu.
138. Sanyusa abannanfusi nga obategeeza nti balina ebibonerezo ebiruma.
139. (Abannanfusi) abo abafuula abakafiiri mikwano gyabwe, nebaleka abakkiriza, abaffe baba babanonyaako kitiibwa! Mazima bulijjo ebitiibwa byonna bya Katonda.
140. Nga ate mazima (Katonda) yassa ku mmwe mu kitabo nti bwemuwuliranga ebigambo bya Katonda nga biwakanyizibwa, era nga bijolongwa temutuulanga wamu nabo abakola ekyo okutuusa lwebadda ku mboozi endala, (ate nga mazima ddala bulijjo kimanyiddwa nti) mazima Katonda agenda kukunganya abakafiiri n’abananfusi bonna abayingize omuliro Jahannama.
141. (Era Abannanfusi) beebo bulijjo abalindirira ekintu ekinaatuuka ku mmwe, bwemufuna obuwanguzi okuva ewa Katonda bagamba nti bulijjo tetuli nammwe, abakafiiri bwebaba nga beebafunyeeyo ku buwanguzi babagamba nti tetwabayamba netubataasa ku bakkiriza, wabula Katonda agenda kulamula wakati wa mmwe ku lunaku lw’enkomerero, ate nga Katonda tagenda kuwa Bakafiiri kkubo lyebayinza kuwanguliramu Bakkiriza.
142. Mazima Abannafunsi bakwenyakwenya Katonda, kale naye waakubakwenyakwenya, era bwebayimirira okusaala bayimirira lwabuwaze, nga bagenderera kulaga bantu era tebatendereza Katonda okugyako katono nnyo.
143. Ba nampa wengwa (wakati wa Bakkiriza na Bakafiiri) nga tebayinza kubalibwa ku bali oba ku bano, bulijjo omuntu Katonda gwabuza tayinza kumufunira kkubo. (lidda eri bulungamu).
144. Abange mmwe abakkiriza temufuula nga abakafiiri mikwano gyammwe nfiira bulago nemuleka abakkiriza, mwandiyagadde okwewaako obujulizi obwolwatu ewa Katonda.
145. Mazima Abannanfusi bagenda kubeera ku mwaliiro ogusemberayo ddala wansi mu muliro, ate nga togenda kubafunira mutaasa.
146. Okugyako abo abeenenya, nebalongoosa, nebekwata ku Katonda, nga neddiini yaabwe bagikola kulwa Katonda yekka, abo nno bagenda kuba wamu nabakkiriza. Ate nga Katonda abakkiriza agenda kubawa empeera ensukkulumu.
147. Singa mwebaza Katonda, era nemukkiriza, ate olwo Katonda aliba ababonerereza lwaki! ate nga bulijjo Katonda mwebaza era mumanyi nnyo.
148. Katonda tayagala kwatuukiriza kigambo kibi (ku muntu) okugyako oyo aba alangiddwa obwereere, bulijjo Katonda awulira era amanyi nnyo.
149. Bwemwolesa ekirungi, oba nemukikweka, oba nemusonyiwa abayisizza obubi, mazima bulijjo Katonda alekera, muyinza nnyo.
150. Mazima abo abajeemera Katonda n’ababakabe, nebagezaako okwawula wakati wa Katonda n’ababakabe, era nebagamba nti tukkirizaako abamu abalala tetubakkiriza, nebaagala okuteekawo ekkubo wakati weebyo ebibiri, (babe nga mwebatambulira).
151. Abo nno beebatakkiriza abannamaddala. Era nga abakafiiri twabategekera ebibonerezo ebinyoomesa.
152. Ate abo abakkiriza Katonda n'ababaka be nebatayawula wakati w’omu kubo, abo nno Katonda agenda kubawa empeera yaabwe, bulijjo Katonda musonyiyi wa kisa nnyo.
153. Abaaweebwa ekitabo bakusaba okuba nga bafuna ekitabo okuva mu ggulu, ate nga mazima kyebaasaba Musa kyali kinene okusinga ekyo, bwebaagamba nti tulage Katonda mubweyolefu. Olwokweyisa kwabwe okubi laddu yabakuba (ate oluvanyuma Katonda yabalamusa), ate neb’eteerawo ennyana nebagisinza, so nga obunnyonyofu bwali bwabajjira dda, ekyo nno nakyo twakisonyiwa, so nga ate twali twawa Musa obujulizi obwenkukunala (obukakasa obwa Nabbi bwa Musa).
154. Netuleebeseza waggulu waabwe olusozi, bwebataagoberera, endagaano gyetwabakozesa nti baali bateekwa okugoberera (enjigiriza ya Taurat) netubagamba nti muyingire omulyango gw’ekibuga (Bait Makdis) nga muvunnamye (kyebataakola) era twabalagira obutavuba ku lunaku lwa mukaaga (ekiragiro kyebaamenya) era twabakozesa endagaano enzito.
155. Ekyabatuusa kwebyo, kuba nti baamenya endagaano zaabwe, n’okuwakanya amateeka g’a Katonda, n’okutta kwabwe ba Nabbi ekitaali kituufu, era nekulwokugamba kwabwe nti, emitima gyaffe mizibikivu, ekituufu kiri nti Katonda yeeyagibikka olw'obukaafiiri bwabwe, tebayinza kukkiriza okugyako kitono nnyo.
156. Era nekulwobukafiiri bwabwe, n’okutemerera Mariam ekigambo ekinene.
157. Era nekulwekigambo kyabwe bwebagamba nti, mazima ffe tumaze okutta Masiya Issa Mutabani wa Mariam omubaka wa Katonda so nga tebaamutta, wadde okumukomerera ku musaalaba, wabula kyabalabikiranga abasse yye, naye mazima ddala abaayawukana mu nsonga eno bali mu kubuusabuusa ku bigikwatako, tebalina bukakafu ku yo wabula okugoberera okuteebereza, naye nga ddala tebaamutta.
158. Wabula Katonda yamusitula n’amutwala gyali, era bulijjo Katonda ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
159. Mazima tewali n’omu mwabo ab'aweebwa e kitabo okugyako nga agenda ku mukkiriza nga tannafa, nga ne ku lunaku lw’enkomerero agenda kubawaako obujulizi.
160. Okusinziira kukweyisa obubi kwa ba Yudaaya, twaziza ku bo ebirungi ebyali bibakkiriziddwa, ne ku lwo kwekiika kwabwe mu kkubo lya Katonda.
161. Nekulwokutwalanga kwabwe Ribbah, so ng’ate baagigaanibwa, nekulwokulya kwabwe emmaali y’abantu mu bukyamu, era twateekerateekera abakafiiri mu bo ebibonerezo ebiruma.
162. Wabula abamanyi ba kakensa mu bo n’abakkiriza ebyassibwa gyoli, n'ebyassibwa oluberyeberyelwo, era abayimirizaawo e sswala, nebawaayo nezzaka, era abakkiriza Katonda n’olunaku lwe nkomerero, abo nno tugenda kubawa mpeera ensukkulumu.
163. Mazima ffe twakuwa ggwe (Nabbi Muhammad) obubaka nga bwetwawa Nuhu obubaka, neba Nabbi bangi oluvanyumalwe, era twawa Ibrahim obubaka ne Ismail ne Ishaka ne Yakubu ne bazzukulu ba Yakubu, ne Isa ne Ayub ne Yunus ne Haruna ne Sulaiman, ne Dauda netumuwa Zaburi.
164. N’ababaka abalala twabakunyumiza dda ate nga ababaka abalala tetwabakunyumiza, era mazima Katonda yayogera ne Musa olwogera (nga tewali Mubaka wakati waabwe).
165. Ababaka abo bonna bajjanga nga bawa amawulire agasanyusa, nga n'abandi bawa amawulire agalabula, abantu baleme kuba na byekwaso ku Katonda kasita yamala okubatumira ababaka, bulijjo Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
166. (Ekyo kimala abantu okuba nga naawe bakukkiriza naye abayudaaya n’ababafaanana bweba nga tebakukkirizza) kasita Katonda akakasa nti (ekitabo) ekyassibwa ku ggwe kyassibwa ku lwakumanya kwa Katonda n’okusalawokwe ne ba Malayika ekyo kyennyini kyebakakasa, naye nga bulijjo Katonda yeemalirira okuwa obujulizi n’okukakasa ekintu kyonna.
167. Mazima abo abaakaafuwala nebassa emisanvu mu kkubo lya Katonda, mazima baabula olubula oluyitirivu.
168. Mazima abo abaakaafuwala era nebeeyisa obubi, Katonda si waakubasonyiwa wadde okubalungamya mu kkubo.
169. Mpozzi ekkubo erigenda mu muliro Jahannama gwebalibeeramu obugenderevu, era bulijjo ekyo ku Katonda kyangu nnyo.
170. Abange mmwe abantu, omubaka yabajjira nga aleeta amazima okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, kale mukkirize, kye kirungi gyemuli, naye bwe munaakaafuwala mazima ddala ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi bya Katonda, bulijjo Katonda mumanyi nnyo agoba nsonga.
171. Abange mmwe abaaweebwa ekitabo temusukkanga ekyetaagisa, nga mutuukiriza eddiini yammwe, era temwogeranga ku Katonda okugyako amazima, mazima ddala Masiya Isa mutabani wa Mariam mubaka wa Katonda, era kigambokye, kyeyawa Mariam, era mwoyo ogwava gyali. Kale temugamba nti basatu, ekyo mukikomye, kyekirungi gyemuli, mazima ddala Katonda ali Katonda omu, yayawukana (tasaana) kuba namwana, bibye byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi , bulijjo kimala okuba nti Katonda y’ayimiriddeko ensonga ya buli kintu.
172. Masiya tayinza butayagala kuba muddu wa Katonda, wadde ba Malayika abali kumwanjo nabo tebayinza butakyagala, oyo yenna atayagala kuyitibwa muddu wa Katonda neyeekuluntaza, (Katonda) ajja kubazuukiza bonna abazze gyali ku lunaku lw’enkomerero.
173. Kale nno abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi, Katonda ajja kubasasula empeera y’emirimu gyaabwe mu bujjuvu, ate abongere n’ebirungi ebirala ebiva gyali, naye abo abawakanya nebawaganyala, abo wa kubabonereza ebibonerezo ebiruma ennyo, ate tebagenda kubaayo gwebafuna atali Katonda nga mukwano gwaabwe wadde nga mutaasa.
174. Abange mmwe abantu mazima bwabajjira obubonero obwenkukunala, era nga twassa gyemuli ekitangaala ekyeyolefu (Kur’ani).
175. Naye abo abakkiriza Katonda nebeenywereza ku ye, abo nno agenda kubayingiza (e jjana) nga kusaasira okuva gyali (era alibawa) ebigabwa (ebirala), era abalungamyenga eri ekkubo eribatuusa gyali, nga kkubo ggolokofu.
176. Bakubuuza (ggwe Nabbi Muhammad) ku muntu afa naataleka bazadde oba abaana wabula nga alese bagandabe, gamba nti Katonda ajja kubannyonnyola ebikwata ku kusikira omuntu oyo, omuntu bwafa nga talina mwana, naye nga alina mwannyina, oyo afuna kimu kyakubiri kwebyo byaba alese, era naye asikira mwannyina singa (Mwannyina afa) nga talese mwana, bannyina bwebaba babiri bafuna bibiri byakusatu kw'ebyo byaba alese, bwebaba b’aluganda nga basajja na bakazi, omusajja afuna omugabo gwabakazi babiri, Katonda abannyonnyola (amateekage) mube nga temubula, bulijjo Katonda mumanyi waabuli kintu.