ﰡ
1. Tendereza erinnya ly’omulabiriziwo owa waggulu.
2. Oyo eyatonda n'atereeza.
3. Era eyateekateeka buli kintu n'akyenkanyankanya.
4. Era oyo ameza omuddo oguliibwa e bisolo.
5. Oluvanyuma agufuula omukalu.
6. Tujja kukusomesa (Kur'ani) obeere nga teweerabira.
7. Okugyako ebyo Katonda by’anaaba ayagadde okukwerabiza. Katonda y’amanyi ebyogerwa mu lwatu ne mu kyama.
8. Tujja kukwanguyiza amateeka gabeere mangu.
9. Kale buulirira, okubuulirira bwe kuba nga kunaagasa.
10. Anaaganyulwa oyo atya Katonda.
11. Omwonoonyi ajja ku kwesamba (okubuulirira okwo).
12. Oyo alyesogga omuliro ogwamaanyi.
13. Ng’amaze (okusonsekebwa mu muliro ogwo), tagenda kufa wadde okufuna obulamu (obwesiimisa).
14. Mazima yeesiimye omuntu e yeetukuza.
15. N’ayogera ku linnya ly’omuleziwe olwo nno n’asaala.
16. Wabula mmwe musukkulumya obulamu obw’ensi.
17. So nga obulamu obw'enkomerero bwe businga obulungi era bwe bwo kusigalawo.
18. Mazima bino biri mu biwandiiko ebyasooka.
19. Ebiwandiiko bya Ibrahim ne Musa.