ﰡ
1. Ndayira e ggulu ne munyeenye ezirabika e kiro.
2. Naye omanyi e munyeenye ezirabika ekiro kye ki?
3. Z’emunyeenye ezaaka ennyo ekitangaala kyazo ne kiyita mu nzikiza ne kituuka ku nsi.
4. Buli muntu yenna aliko abakuumi (Ba Malayika).
5. Kale nno omuntu yalibadde atunuulira kye yatondebwamu.
6. Yatondebwa ng’aggyibwa mu mazzi agasambattuka.
7. Nga gava wakati w’omugongo gw'omusajja n’amasaabiro g'omukazi.
8. Mazima ddala oyo (Katonda) asobolera ddala okumuzzaawo.
9. Ku lunaku ebyama byonna lwe biribikkulwa.
10. Omuntu tagenda kuba na maanyi gonna yadde omutaasa.
11. Era ndayira e ggulu ewava e nkuba etonnya nga e ddingana.
12. Ne ndayira n’ettaka eryeyasa olw’okumeza e bimera.
13. Mazima ddala yo (Kur'ani) kigambo ekyawula wakati w’amazima n’obulimba.
14. Kur'ani si ya lusaago.
15. Mazima abatakkiriza basala e nkwe.
16. Nange nenkola enteekateeka (zange).
17. Abatakkiriza balindirize, nange mbawadde akaseera katono.