ﰡ
                                                                                        
                    
                                                                                    1. Gamba nti, nsaba obukuumi ewa Katonda afuga okukya kw’obudde.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    2. Mu bubi bw’ebyo bye yatonda.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    3. Ne mu bubi bw’ekiro nga kikutte.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    4. Ne mu bubi bw’abakazi abalogo abasiba   ebifundikwa (ne babifuuwamu nga   balaamiriza).
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    5. Ne mu bubi obuva mu mukozi   wensaalwa ng'akoze ensaalwa.