ﯶ
surah.translation
.
ﰡ
ﭑﭒ
ﰀ
1. Owange ggwe eyeebikkirira (olwokutya okwakutuukako bwewafuna obubaka okuva ku Malayika Jiburilu omulundi ogwasoka).
2. Golokoka osaale ekiro mpozzi lekayo akaseera katono.
3. Oyinza okusaala ekitundu kye kiro oba okukendezaako katono.
4. Oba oyinza okwongerako era bwoba osoma Kur'ani giwoomese.
5. Mazima ffe tujja kukutikka e kigambo ekizito.
6. Anti e sswala enzuukukire y'esinga okubuulirira omuntu (olw'okwerekereza otulo) era nga nebisomerwamu byebisinga okusomwa munsoma ennambulukufu.
7. Anti obudde obwemisana oleebukana nnyo (mu bintu ebirala).
8. Kale nno tendereza erinnya lya Mukama Katondawo, e kiseera kyonna okimuwe.
9. Mukama Katonda omufuziwo buvanjuba n'obugwanjuba tewali kirala kyonna kisaanye kusinzibwa okugyako yye, kale nno gwoba wesigamako.
10. Era ogumikirize kw'ebyo bye boogera era obaveeko mu ngeri e nnungi.
11. Naye ndekera abalimbisa, abagagga fugge, era balindirize akaseera katono.
12. Mazima tulina empingu n'omuliro Jahiim.
13. N'ebyokulya ebitamirika n'ebibonerezo ebiruma.
14. Ebiribaawo ku lunaku e nsi n'ensozi lw'ebirikankana e nsozi ne zifuuka entuumo z'omusenyu ogufuumuka.
15. (Okuwona ebyo mukozese omukisa gwokuba nti) mazima ffe twabatumira omubaka nga yajja okubawaako obujulizi okufaananako nga bwe twatumira Firawo omubaka.
16. Wabula Firawo yajeemera omubaka, kyetwava tumukwata olukwata olwamanyi.
17. Kakati bwe mujeema muliwona mutya olunaku olulifuula abaana abato abakadde.
18. Ate nga eggulu ligenda kuyulikamu olwebiribaawo ku lunaku olwo, nga ate Katonda kyalagaanyisa kiteekwa okutuukirira.
19. (Bwekiba nga bwekityo bwekiri), mazima ddala muteekwa mutwale Kur'ani nga kyakwebuulirira. N'olwekyo ayagala okuwona ateekeddwa okukwata ekkubo erimuzza eri Katonda we.
20. Mazima Katonda wo akimanyi nti oyimirira ekiro ng'osaala emirundi egimu kumpi bibiri byakusatu byekiro, oluusi kimu kyakubiri nga n'olundi kimu kyakusatu era nga naabamu ku bakkiriza abali naawe bwebatyo bwe bakola nga ate Katonda yaawa ebiragiro ebikola ekiro n'emisana, era nga amanyi nti temuyinza kumalayo kiro kyonna nga mukola Ibaada kye yava abawa ekisonyiwo, kale nno musome kyemuba musobodde mu Kur'ani nga musaala ekiro anti amanyi nti mu mmwe mulimu abalwadde nga n'abalala bagenda kubeera mu safari nga batambudde mu nsi olwokunoonya ebigabwa bya Katonda nga nabandi bagenda kubeera mu ntabaalo z'okuweereza mu kkubo lya Katonda n'olwekyo musome ekyo kye muba musobodde mu Kur'ani nga musaala e sswala ya tahajjudi era muyimirizeewo e sswala eza faradha mutoole ne zzaka mu ngeri y'emu muwole Katonda oluwola olulungi nga muwaayo saddaaka. Akalungi konna kemweterekera mugenda ku kasanga mu maaso ga Katonda. Okukola ekyo kirungi era kyekirimu empeera ennene era musabe Katonda ekisonyiwo mazima Katonda musonyiyi oweekisa.