ﮑ
surah.translation
.
ﰡ
1. Abange mmwe Abakkiriza mutuukirizenga endagaano, mukkirizibwa okulya ennyama y’ebisolo ebiriibwa byonna okugyako e binaabasomerwa, ate nga temukkirizibwa kuyigga nga muli mu mizizo gya (Hijja oba Umurah) mazima Katonda asalawo kyaaba ayagadde.
2. Abange mmwe abakkiriza temufuulanga Halaali ebyo Katonda byeyabalambira nti biri Haramu, era nga bwemutaasanye kukyusa myezi gya mizizo nemugifuula egyokulwaniramu, era temwekiikanga mu kkubo lyebirabo ebiba bireetebwa e Makkah wadde ensolo ennambe nga z’abirabo, wadde abantu abagenda okulambula e nyumba ey’emizizo, ababa bagenda okunoonya obulungi n’okusiima okuva ewa Katonda waabwe, naye bwe muba musumulukuse okuva mu mizizo gya (Hijja ne Umurah) olwonno muyiggenga. Olwokuba nti abantu baabaziyiza okutuuka ku muzikiti ogw’emizizo, tekibatuusanga okubayisa obubi, era muyambaganenga ku kukola obulungi n’okutya Katonda, so temuyambagananga ku kukola ebibi n’obulumbaganyi, era mutye Katonda, mazima Katonda muyitirivu w’abibonerezo.
3. Muziyiziddwa okulya ennyamanfu n’omusayi (Kafece) nennyama y’embizzi n’ekyo ekiba kyogereddwako eritali linnya lya Katonda nga kisalibwa, n’ekifudde olw’okukubwa, n’ekifudde olwokugwa, n’ekitomeddwa kinnakyo, n’ekiriiriddwako ensolo enkambwe, okugyako byemuba mwanguyidde nemubisala, era muziyiziddwa okulya ennyama y’ebisolo ebiba bisaliddwa olwokubiwongera atali Katonda omu ateekwa okusinzibwa, era muziyiziddwa okweraguza nga mukozesa obusaale. Okukola ekimu kwebyo, buba bugyemu, olwaleero abo abakaafuwala tebakyalina ssuubi kubalemesa ddiini yammwe, kale temubatya, mutye nze. Olwaleero mbajjulizza eddiini yammwe, era nembajjuliza ebyengera byange, era nembasalirawo obusiramu okuba nga yeddiini (yammwe) kale nno omuntu eyeesanga mu buzibu obwenjala, so ssi lwakugenderera kumenya tteeka (naamala alya ku bigaaniddwa), mazima Katonda musonyiyi wa kisa.
4. Bakubuuza ggwe (Nabbi Muhammad) ebibakkirizibwa (okulya), gamba nti mukkirizibwa okulya ebirungi, era (mukkirizibwa okulya) n’okulya ebyo ebikwatiddwa ebiyigga byemutendese nemuyigiriza ddala okusinziira nga Katonda bweyabayigiriza, bweguba gutyo mulye ebyo bye bibakwatira, era mubyogerereko erinnya lya Katonda (nga mubisindika okugenda okukwata ensolo) era mutye Katonda, anti mazima Katonda mwangu wa kubala.
5. Olwaleero mukkirizibwa okulya e birungi, nga era n'ennyama esaliddwa abaaweebwa ekitabo bwekkiriziddwa gyemuli, n'ennyama yammwe ekkiriziddwa gye bali, era mukkirizibwa okuwasa ab'ensa mu bakyala abakkiriza nga bwemukiriziddwa abakyala abensa mwabo abaaweebwa ekitabo oluberyeberye lwa mmwe, kavuna mubawa Amahare gaabwe nga mubawasa mu bufumbo obutukuvu, so ssi mu bwenzi wadde okuba nti mubatwala nga bakyala ba mmwe abebbali, n'omuntu atakolera ku mateeka g’abukkiriza emirimu gye giba gimufudde, nga naye ku lunaku lw’enkomerero agenda kubeera mu bafaafaganiddwa.
6. Abange mmwe abakkiriza bwe muba mugenda okusaala muteekeddwa okunaaza ebyenyi byammwe, n’emikono gyammwe okutuusa mu nkokola, era musiige ku mitwe gyammwe, munaaze n’ebigere byammwe okutuuka ku bukongovule, bwe muba nga mulina Janaba muteekeddwa okunaaba naye bwe mubanga abalwadde, oba nga muli ku safari, oba omu ku mmwe nga avudde mukumala ekyetaago ekyobutonde, oba nemukwata ku bakyala (mumbera ezo zonna) nemutafuna mazzi, kale nno, mutayammame, nga mukozesa ettaka eddungi, (ekyo mukikola) nga musiiga ku byenyi byammwe n’emikono gyammwe, Katonda tayagalangako kubateerawo bukalubo bwonna, naye ayagala kubatukuza era abajjulize ekyengerakye musobole okubeera nga mwebaza.
7. Era mujjukire e kyengera kya Katonda kyeyabawa n'endagaanoye gyeyabakozesa bwemwagamba nti tuwulidde era tugonze. Era mutye Katonda, anti mazima Katonda amanyidde ddala ebyo ebiri mu bifuba.
8. Abange mmwe abakkiriza mubeere beesimbu ku lwa Katonda, nga muwa obujulizi mubwenkanya, abantu okuba abalabe ba mmwe, tekibawugulanga nemutakola mazima, bulijjo mukole obwenkanya, kyo kyekiri okumpi n'okutya Katonda, era mutye Katonda, mazima Katonda amanyidde ddala byemukola.
9. Katonda yalagaanyisa abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi, nti balina ekisonyiwo nempeera ensukkulumu.
10. Ate abo ab'akaafuwala nebalimbisa ebigambo byaffe, abo nno be bantu b’omumuliro.
11. Abange mmwe abakkiriza mujjukire ekyengera kya Katonda kye yabawa, abantu abamu bwe baayagala okugolola e mikono gyaabwe (babalwanyise), n'aziyiza e mikono gyaabwe ku mmwe, era bulijjo mutye Katonda, Katonda yekka abakkiriza gwebateekeddwa okwesiga.
12. Mazima Katonda yakozesa abaana ba Israil endagaano, era netuggya mu bo abakulembeze kkumi nababiri, Katonda naagamba nti mazima njakuba wamu nammwe, bwe munaayimirizaawo e sswala, nemutoola Zzaka, nemukkiriza ababaka bange, era nemubawagira, era nemuwola Katonda oluwola olulungi, njakubasonyiwa ebyonoono byammwe, mbayingirize ddala e jjana ezikulukutiramu emigga, naye oyo yenna alikaafuwala mu mmwe oluvanyuma lwekyo, aliba abuze okuva ku kkubo ettuufu.
13. Kulwokumenya kwabwe endagaano twabakolimira, emitima gyaabwe netugifuula emikakanyavu nebaba nga bakyusa ebigambo okubijja ku makulu gaabyo amatuufu, nebasuula ekitundu kinene kw'ebyo ebyabayigirizibwa, bulijjo ojja kugwanga ku nkwe zaabwe okugyako abatono mu bo, kale basonyiwe era olekere, anti bulijjo mazima Katonda ayagala abakozi b’obulungi.
14. Era twakozesa endagaano abamu kwaabo abeeyita Abanaswara, era nabo baasuula ekitundu kinene kweebyo ebyabayigirizibwa, netussa wakati waabwe obulabe n’obukyayi okutuusa olunaku lw’enkomerero, olwo nno Katonda alyoke abategeeze byonna byebaakolanga.
15. Abange mmwe abaaweebwa ekitabo, mazima omubaka waffe yabajjira abategeeze bingi byemwaali mukweka mu kitabo, mu ngeri yeemu asonyiwe bingi, mazima kyabajjira ekitangaala n’ekitabo ekyeyolefu okuva eri Katonda.
16. Katonda alungamya nakyo mu kkubo e ry'emirembe oyo aba agoberedde okusiimakwe, era naabajja mu bizikiza nga abazza eri ekitangaala kulwokwagalakwe, era n'abalungamya ku kkubo eggolokofu.
17. Mazima baakaafuwala abaagamba nti ddala Masiya mutabani wa Mariam ye Katonda, gamba (Ggwe Muhammad) ani ayinza okukolawo ekintu kyonna singa Katonda aba asazeewo okuzikiriza Masiya mutabani wa Mariam ne maamawe, n’abantu bonna abali ku nsi, obufuzi bweggulu omusanvu ne nsi nabyonna ebiri wakati wa byombi, bwa Katonda, atonda kyaba ayagadde, era Katonda bulijjo muyinza wa buli kintu.
18. Era Abayudaaya n'aba Krisitayo bagamba nti ffe tuli baana ba Katonda era mikwanogye, bagambe ate lwaki alibabonereza olwebyonoono byammwe, ekituufu kiri nti mmwe muli bantu nga abalala beyatonda, asonyiwa gwaba ayagadde, era naabonereza gwaba ayagadde, era obufuzi bweggulu omusanvu ne nsi nabyonna ebiri wakati wa byombi bya Katonda, ate nga gyali yeeri obuddo.
19. Abange mmwe abaweebwa ekitabo, mazima abagyidde omubaka waffe nga abayigiriza oluvanyuma lwokuyitawo akaseera nga tewali mubaka, muleme kugamba nti tetwajjirwa atuwa mawulire ga ssanyu ag’ejjana oba okututiisa omuliro, ekituufu kiri nti abawa amawulire agessanyu, era nga abatiisa n’omuliro yabajjira. Bulijjo Katonda muyinza waabuli kintu.
20. Era mujjukire Musa bweyagamba abantu be nti abange, bantu bange, mujjukire ekyengera Katonda kye yabawa bwe yabassaamu ba Nabbi (abangi), era mmwe n'abawa obuyinza era n'abawa ebintu byataawa muntu mulala yenna mu bitondebye.
21. Abange bantu bange (mulwane) muyingire ensi entukuvu eyo Katonda gyeyabalagaanyisa, temukyukanga nemukubayo amabega (nemudduka) nemufuuka abafaafaganiddwa.
22. Nebagamba nti owange Musa mazima ensi eyo, erimu abantu bakirimaanyi, era mazima tetuyinza kuyingira mpozzi nga bagifulumye, bwebagifuluma olwo ffe nga tuyingira.
23. Abasajja babiri mwabo abatya Katonda, nga era Katonda yabawa ekyengera kyobukkiriza nebagamba nti, mubalumbe nga muyita ku mulyango omunene, kemuyingira mazima ddala mujja kuwangula, naye Katonda yekka gwemuba mwekwatako, bwe muba nga muli bakkiriza.
24. Nebagamba nti owange Musa, mazima ffe tetujja kukiyingira ebbanga lye banaamala nga bakyakirimu, ggwe ne Katonda wo mugende mulwane ffe tusigadde wano.
25. (Musa) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze sifuga okugyako omwoyo gwange ne muganda wange, lamula wakati waffe ne wakati w’abantu abonoonyi.
26. Katonda (n’alamula) wakati waabwe naagamba nti ekyokuyingira kibagaaniddwa okumala emyaka ana, gyebaamala nga babulubuutira mu nsi, n’olwekyo tewennyamira olwabantu abajeemu.
27. Era basomere mu bulambulukufu ebikwata ku baana ba Adam ababiri bwe baawa ewa Katonda Saddaka, ey’omu nekkirizibwa, ate ey’omulala n’etakkirizibwa, kwekugamba nti nja kukuttira ddala (ye oli) naagamba nti mazima ddala Katonda akkiriza mirimu gyabo abamutya.
28. (Naye) bwonongalulira omukono gwo onzite, nze sigenda ku kugalulira mukono gwange ku kutta, mazima nze ntya Katonda omulabirizi w’ebitonde.
29. Mazima nze njagala ogende n’ekibi kyange n’ekikyo (singa onzita), olwo nno obeere mu bantu bo mu muliro, era nga bulijjo eyo ye mpeera y’abantu abeeyisa obubi.
30. Omwoyo gwe omubi negumusalirawo okutta muganda we, era n'amutta naabeera mu baafaafaganirwa.
31. Olwonno Katonda n’asindika Namungoona eyajja nga asima ettaka olwonno amulage engeri gyanaaziikamu omulambo gwa mugandawe, naagamba nti mbadde ki nze? nemeddwa okukola nga Namungoona bwakoze, mbe nga nziika omulambo gw’a muganda wange, awo naatandika okubeera mu bejjusa.
32. Okusinziira ku ekyo twassa etteeka ku baana ba Israil nti mazima oyo atta omuntu atatemudde muntu, oba atakoze bwonoonefu mu nsi, mazima ddala aba nga asse abantu bonna., ate ataasa obulamu bw'omuntu omu aba nga ataasizza obulamu bwa bantu bonna, (ebyo abayudaaya baalibadde babitegeera) anti mazima ababaka baffe babaleetera amateeka amannyonnyofu, naye ate oluvanyuma lwekyo mazima bangi ku bo baasigala beeyisa bubi mu nsi.
33. Mazima ddala empeera y’abo abalwanyisa Katonda n’omubaka we nebasaasaanya obwonoonefu mu nsi, (ekibonerezo kyabwe) kuttibwa, kukomererwa ku musaalaba, oba emikono na magulu gaabwe kutemwaako mu ngeri y’okuwaanyisibwa (nga bwebamutemako omukono ogwa dddyo, okugulu bamutemako kwa kkono) oba bawangangusibwe okuva mu nsi yaabwe, ekyo nno nga kubakkakkanya kuno ku nsi era nga ne ku lunaku lw’enkomerero bagenda kutuusibwako ebibonerezo ebikakali.
34. Okugyako abo abeenenya nga temunabakwata, era mumanye nti mazima ddala Katonda musonyiyi nnyo omusaasizi.
35. Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda era munoonye ekkubo erituuka gy'ali, era munyiikire nnyo mu kuweereza mu kkubo lye, ekiribayamba okubeera mu balituuka ku buwangizi (ku lunaku lw’enkomerero).
36. Mazima abo abaakaafuwala singa mazima byonna ebiri mu nsi n’ebiringa byo nga obitadde wamu nebaagala okwenunula nabyo okuwona ebibonerezo by’olunaku lw’enkomerero, tebyandikkiriziddwa okuva gyebali, era baakussibwako e bibonerezo e biruma e nnyo.
37. Baliyagala okufuluma mu muliro ng’ate sibaakugufuluma, bagenda kutuukwako ebibonerezo e byolubeerera.
38. Omubbi omusajja n'omubbi omukazi mubatemeko emikono gyaabwe bombi, nga mpeera (kibonerezo) yeekyo kyebakoze, era nga kyakulabirako ekyassibwawo Katonda ekikanga abalala, bulijjo Katonda ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
39. Oyo yenna eyeenenya oluvanyuma lwokweyisa kwe obubi naalongoosa, mazima Katonda akkiriza okwenenya kwe, anti bulijjo mazima Katonda musonyiyi musaasizi.
40. Tomanyi nti mazima ddala obufuzi bweggulu omusanvu ne nsi bwa Katonda, abonereza gwaba ayagadde ate naasonyiwa gwaba ayagadde, bulijjo Katonda muyinza ku buli kintu kyonna.
41. Owange ggwe omubaka, tebakunakuwazanga abo abavuganya mu kuwakanya(obwannabbi bwo), mu abo abagamba n'emimwa gyaabwe nti tukkirizza so nga e mitima gyabwe tegikkiriza. Ne mu Bayudaaya abakkiriza e bigambo byobulimba, era abawuliriza kulwa bantu abalala ababa tebazze mu nkungaanazo nebakyusa e bigambo okubiggya mu bifo byabyo nga bagamba (bannaabwe nti), bwemuweebwa kino mukitwale, bwekitabaweebwa mwekeke, naye Katonda gwaba ayagadde okugezesa toyinza kumuyamba mu kintu kyonna ewa Katonda, abo beebo Katonda baatayagala kutukuza mitima gyaabwe, obuswaavu buli ku bo kuno ku nsi, era ne ku lunaku lw’enkomerero bagenda kussibwaako ebibonerezo ebikambwe.
42. Bawuliriza ebigambo ebyobulimba, balya emmaali gyebafuna mu makubo aga haramu, singa bajja gyoli (Ggwe Muhammad) lamula wakati waabwe oba baveeko, bwoba obavuddeko tebagenda kukutuusaako kabi, naye bwobanga osazeewo okubalamula, lamula wakati waabwe n'obwenkyanya, anti bulijjo Katonda ayagala abakola obwenkanya.
43. Naye lwaki basalawo ggwe obalamule, nga ate balina Taurat erimu okulamula kwa Katonda, ate oluvanyuma nebagikuba amabega, abo sibakkiriza (naakatono).
44. Mazima ffe twassa Taurat nga erimu obulungamu nekitangaala, bannabbi ba bayudaaya era bulijjo abamanyiddwa nti beewaayo eri Katonda, nga gyebakozesa okulamula abayudaaya, nga ne banna ddiini n'abakugu mu ddiini nga gyebalamuza olwobwesigwa obwabakwasibwa nga buva mu Kitabo kya Katonda babe nga bakuuma Taurat, era ku ekyo baali bajulizi kale nno temutyanga abantu mutye nze, ebigambo byange temubiwanyisangamu omuwendo omutono, oyo yenna atalamuza ebyo Katonda byeyassa, abo nno be bakaafiiri abannamaddala.
45. Era (mu Taurat eyo) twabalaalikako nti mazima omuntu attibwa olwokutta omuntu, n’eriiso liggyibwamu olw’okugyamu eriiso, nennyindo esalwako olwokusala ennyindo y'omulala, n'okutu kusalwako olwokusala okutu kw'omuntu, n'erinnyo balikulamu olwokukuula erinnyo lyomuntu, n'ebiwundu bisasulwa. Wabula omuntu akisonyiwa kimubeerera e nsonga yo kumusonyiwa e bibibye. Era bulijjo omuntu yenna atalamuza Katonda bye yassa abo nno be bantu abeeyisa obubi.
46. Mu buwufu bwabwe (Abayudaaya) twagoberezaako Isa Mutabani wa Mariam ng’akakasa ebyo ebyamukulembera ebiri mu Taurat, era yajja nga bulungamu, era ekyokubuulirira eri abo abatya Katonda.
47. Kale nno abantu benjiri bateekeddwa okulamuza ebyo Katonda byeyassa mu yo, omuntu yenna atalamuza ebyo Katonda byeyassa abo nno bo be bonoonyi.
48. Era twassa gyoli (Ggwe Muhammad) ekitabo, mu bulambulukufu nga kikakasa e bitabo byonna e byakikulembera era nga kye kibisukkulumye. Kale lamula wakati waabwe nga okozesa e byo Katonda byeyassa togezaako okugoberera okwagala kwa bwe obe nga oleka amazima agakujjidde, buli bamu mu mmwe twabawa amateeka n'enkola singa Katonda yayagala yaalibafudde ekibiina kimu naye yayagala okubakema olwebyo byeyabawa, kale nno muvuganye mu kukola e birungi, anti eri Katonda yeeri obuddo bwa mmwe mwenna, gyalibategeereza ebyo byemwayawukanamu.
49. Era lamula wakati waabwe ng’okozesa ebyo Katonda byeyassa, togobereranga okwagala kwa bwe era beegendereze baleme kukuggya ku bimu ku ebyo Katonda byeyassa gyoli, bwebaba nga bakoze e kyennyume kyekyo, manya nti mazima Katonda ayagala okubavunaana olw'ebimu ku byonoono byabwe, wabula nga bulijjo abantu abasinga obungi bonoonyi.
50. Ennamula y’ebiseera byobutamanya gyebaagala okukozesa! ani ayinza okuwa okulamula okulungi okusinga okuva ewa Katonda eri abo abakozesa amagezi gaabwe mu butuufu!.
51. Abange mmwe abakkiriza temuufulanga abayudaaya n'abakrisitayo mikwano gyammwe ab'omunda, anti abamu ffa nfe w’abalala, yenna abafuula mikwano gye mu mmwe, mazima yye aba afuuse wa mu bo, anti mazima Katonda talungamya bantu beeyisa bubi.
52. Ojja kulaba abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe nga babeeyunira nga bagamba nti (ekitukozesa kino) tutya okuba nga tutuukibwako ekitutuusaako obuzibu, naye lumu Katonda agenda kuleeta obuwanguzi oba ekintu kyonna okuva gyali, balikeesa enkya nga bejjusa olwebyo bye baakweeka mu mitima gyabwe.
53. Ate bbo abakkiriza baligamba nti abo beebo abaalayira Katonda nga bakakasa ebirayiro byabwe!, bwebaagamba nti mazima ddala bo bali wamu nammwe, byebakola byonna byafa togge, olwo nno nebaba nga bafaafaganiddwa.
54. Abange mmwe abakkiriza oyo yenna ava mu ddiini ye akimanye nti Katonda agenda kuleeta abantu (abalala) abamwagala nga naye abaagala, abakkakkamu mu maaso ga bakkiriza, nga beegulumiza mu maaso ga bakaafiiri, nga beewaayo mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, era nga tebatya kunenya kwa munenyi yenna, ebyo birungi bya Katonda abiwa gwaba ayagadde, bulijjo Katonda mugazi mu buli kintu, mumanyi nnyo.
55. Mazima mukwano gwa mmwe ow’omunda Katonda, n’omubaka we naabo abakkiriza, abo abayimirizaawo e sswala nebatoola zzaka, era nga bakutama ku maviivi (nga basaala).
56. Oyo yenna asalawo mukwano gwe ow’omunda okuba Katonda n'omubaka we, n'abo abakkiriza, anti bulijjo e kibiina kya Katonda bo be b'okuwangula.
57. Abange abakkiriza temufuula abemikwano egyomunda gyemuli abo abafuula eddiini yammwe e kyokusaagirako era e kyokuzannyisa, mu abo abaaweebwa e kitabo oluberyeberye lwa mmwe, n’abakaafiiri. Bulijjo bulijjo mutye Katonda bwe muba nga muli bakkiriza.
58. (Mmwe) bwemukowoola abantu okujja okusaala bakitwala nga kyakusaaga era nga kyamuzannyo, bakola batyo lwakuba nti ddala bbo bantu abatategeera.
59. Gamba nti: abange mmwe abaaweebwa e kitabo, abaffe waliwo kyemutunyiigira okugyako okuba nti tukkiriza Katonda n'ebyo e byassibwa gyetuli, n'ebyo e byassibwa oluberyeberye era nga na lwakuba nti abasinga mu mmwe boonoonyi.
60. Gamba nti abaffe mbategeeze oyo alifuna empeera esinga okuba embi ewa Katonda? be bantu Katonda beyakolimira nabasunguwalira, abamu ku bo nabafuula enkobe ne mbizzi n’abamu nebasinza Sitane, abo nno beebalina ekifo ekisinga obubi era beebasinga okubula okuva ku kkubo ettuufu.
61. Bwe bajja gyemuli bagamba nti tukkiriza naye mazima bayingira n’obukaafiiri era nebafuluma nabwo, Katonda amanyi nnyo byonna bye bakweka.
62. Ogenda noolaba nga bangi mu bo banguyirira nnyo okukola ekibi nobulumbaganyi n’okulya kwabwe ebya Haramu, kibi nnyo kyebakola.
63. Waakiri singa ba nnaddiini n'abakugu mu kumanya e ddiini babakomako ku bigambo e bibi n’okulya e mmaali eya Haramu, kibi nnyo kyebakola.
64. Abayudaaya baagamba nti omukono gwa Katonda mu kolige, emikono gyabwe gye gyakoligibwa, ne bakolimirwa olwebyo byebayogera, e kituufu kiri nti e mikono gye gyombiriri myanjulukufu agaba nga bwayagala, e byo ebyassibwa gyoli okuva ewa Katonda wo bijja kwongerera ddala bangi mu bo obubuze nobukafiiri, era twassa wakati waabwe obulabe n'obukyayi okutuusa ku lunaku lw'enkomerero, buli lwonna lwe bakoleeza omuliro gw’olutalo nga Katonda aguzikiza, era basaasaanya mu nsi obwonoonefu, naye bulijjo Katonda tayagala boonoonyi.
65. So singa ddala abaaweebwa e kitabo bakkiriza nebatya Katonda twandibasonyiye e byonoono byabwe, era twandibayingizza e jjana ey’ebyengera.
66. Era mazima singa bo bayimirizaawo Taurat ne Enjili na byonna e byassibwa gye bali okuva ewa Katonda waabwe, bandiridde okuva waggulu waabwe ne wansi w'ebigere byabwe, mu bo mulimu Abantu abeesimbu naye abangi mu bo byebakola bibi.
67. Owange Ggwe omubaka tuusa gyebali ebyo e byassibwa gyoli okuva ewa Katondawo, bwotakikole ojja kuba totuukirizza bubakabwe (totya) Katonda ajja kukuuma ku Bantu, mazima Katonda talungamya kibiina kya bakaafiiri.
68. Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) nti temulina kyemuliko okugyako nga muyimirizzaawo Taurat ne Enjili na byonna e byassibwa gyemuli okuva ewa mukama omulabirizi wa mmwe. ebyo e byassibwa gyoli okuva ewa Mukama omulabirizi wo bijja kwongera bangi mu bo obubuze n'obukaafiiri, tonakuwala olwa bantu abakaafiiri.
69. Mazima abo abakkiriza, na Bayudaaya ne ba Swabi-uuna (be bantu abataasinza bintu bitali Katonda omu so nga ate tebaalina ddini ya mu ggulu yonna gyebaaliko) n'abakrisitayo, oyo yenna eyakkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero naakola e mirimu e mirungi (abo) tebalina kutya era tebagenda kunakuwala.
70. Twakozesa abaana ba Israil endagaano era netubatumira ababaka wabula buli lweyabajjiranga omubaka n’ebyo emyoyo gyaabwe byegitayagala nga ekitundu bakirimbisa nga ate abalala babatta.
71. Baalowooza nti ekyo tekijja kuvaako mutawaana, naye nebafuuka ba muzibe era bakiggala, oluvanyuma Katonda yakkiriza okwenenya kwaabwe, ate bangi mu bo baddamu nebafuuka ba muzibe era bakiggala, Katonda bulijjo alaba byebakola.
72. Mazima baakaafuwala abo abagamba nti ddala Katonda ye Masiya mutabani wa mariam, nga ate Masiya yagamba nti abange abaana ba Israil musinze Katonda Mukama wange era nga ye Mukama wa mmwe, mazima ddala oyo agatta ku Katonda ekintu ekirala Katonda yamuziyizaako okuyingira e jjana, nga n’obuddobwe muliro. Era abeeyisa obubi tebagenda kuba namutaasa yenna.
73. Mazima baakaafuwala abo abagamba nti mazima ddala Katonda yoomu ku basatu (abakola Katonda omu) ekituufu kiri nti tewali Katonda yenna okugyako Katonda omu era bwe bateekomeko ku bye boogera, abo abaakafuwala mu bo bajja kutuukwako e bibonerezo e biruma.
74. Abaffe, tebayinza kwenenyeza Katonda nebamusaba ekisonyiwo. Ate nga bulijjo Katonda musonyiyi waakisa.
75. Masiya mutabani wa Mariam tali kintu kirala kyonna okugyako okuba nti Mubaka wa Katonda era nga ddala ababaka bangi abaamukulembera, ne Maama we yali Mukazi omukkiriza ow'amazima bombi baalyanga emmere, tunula olabe engeri gyetubannyonnyolamu ebigambo ate tunula olabe engeri gyebawugulwa.
76. Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) nti abaffe musinza ebintu ebitali Katonda, ebitayinza kubatuusaako kabi konna wadde ekirungi, era Katonda yye bulijjo awulira era amanyi nnyo.
77. Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo temusukkanga ekigero ekyetaagisa nga mukola eddiini yammwe ebyobutaliimu, era temugobereranga okwagala kw’abantu, mazima bo basooka nebabula era nebabuza n’abantu bangi, era nebabulira ddala okuva ku kkubo eggolokofu.
78. Baakolimirwa abo Abaakaafuwala mu baana ba Israil ku lulimi lwa Dauda ne Issa Mutabani wa Mariam, ekyo nno kulwakujeema kwaabw,e era nga bulijjo baasukkanga (Amateeka g’a Katonda).
79. Tebeekomangako ku mize gyebaakolanga, kibi ddala ekyo kyebaakolanga.
80. Olaba bangi mu bo nga bafuula abakaafiiri mikwano gyaabwe egyomunda, kibi nnyo emyoyo gyaabwe gyekyabasalirawo ekyatuusa Katonda okubasunguwalira era nga baakutuula bugenderevu mu bibonerezo.
81. Singa baali bakkiriza Katonda ne Nabbi n’ebyassibwa gyali tebandibafudde mikwano gyaabwe egyomunda, naye bangi mu bo boonoonyi.
82. Ojja kukirabira ddala nti abasinga okuba ab'obulabe eri abo abakkiriza be bayudaaya naabo abagatta ku Katonda ebintu ebirala era ojja kukirabira ddala nti abasinga okuba ab'omukwano ogw'okumpi eri abo abakkiriza beebo abagamba nti mazima ffe tuli ba Kristayo, ekyo nno lwakuba nti mazima ddala mu bo mulimu abayivu mu bye ddiini, na Basosorodoti era nalwakuba nti bo tebeekuluntaza.
83. Bwebaba bawulidde e byassibwa ku Mubaka, olaba amaaso gaabwe nga gakulukusa amaziga olwamazima gebaba bategedde nebagamba nti ayi Mukama Katonda waffe tukkirizza tuwandiike mu bajulizi.
84. Tuyinza tutya obutakkiriza Katonda ku mazima gano agamaze okutujjira! ate nga era tuyaayaanira okuba nga Mukama omukuumi waffe atuyingiza e jjana awamu n'abantu abalongoofu.
85. Olwo nno Katonda naabasasula ku lw'ebyo bye bayogera (n'abayingiza) e jjana e zikulukutiramu e migga, mwebalibeera olubeerera era eyo y'empeera y’abakozi b’obulungi.
86. N'abo abaakaafuwala nebalimbisa e bigambo byaffe, abo be bantu bo muliro.
87. Abange mmwe abakkiriza temufuulanga Haramu e birungi ebyo Katonda bye yabakkiriza, mu ngeri y'emu temusukkanga e nsalo z'ebyo Katonda bye yabagaana, bulijjo mazima Katonda tayagala basukka nsalo (z’amateekage).
88. Era mulye Katonda bye yabagabirira, kavuna biba nga byakkirizibwa ate nga birungi, era mutye Katonda oyo mwe gwemukkiriza.
89. Katonda tabavunaana olwebirayiro byammwe byemulayira mu kusaaga, naye abavunaana lwebyo byemuba mukakasizza. (E kilayiro omuntu kyalayira ng’akakasa bwakimenya), omutango gw'akyo kuliisa abanaku kkumi nga baliisibwa e mmere gyemuliisa abantu abo mu daala eryo mu makati, (mu kitundu kyammwe) oba okubambaza, oba okuta omuddu. Omuntu aba tafunye e kimu ku ebyo ateekwa okusiiba ennaku ssatu. Ogwo nno gw’emutango gw’ebirayiro byammwe byemunalayiranga, mwegendereze nnyo okulayira kwa mmwe. Bwatyo Katonda bw'abannyonnyola e bigambobye, musobole okubeera abeebaza.
90. Abange mmwe abakkiriza mazima ddala omwenge ne zzaala, namasanamu n’okweraguza, n’obusaale bibi bya mu bikolwa bya Sitane, muteekwa okubyewala kibayambe okuba mu balituuka ku buwanguzi (ku lunaku lw’enkomerero).
91. Mazima ddala Sitane ayagala okussa wakati wa mmwe obulabe n’obukyayi olw’omwenge ne zzaala, era ebawugule ku kutendereza Katonda n’okusaala, abaffe e bikolwa e byo munaabireka.
92. Era mugondere Katonda, mugondere n’omubaka mwewalire ddala e bikolwa e bibi, bwemutakola mutyo olwo nno mumanye nti mazima ddala omubaka waffe kyateekwa okukola, kyekyokutuusa obubaka mulwatu.
93. Abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi tebavunaanwa ku lwebyo bye baalya oba bye baanywa e dda, kavuna batya Katonda ne bakkiriza, ne bakola e mirimu e mirungi ate ne batya Katonda ne bakkiriza ate ne batya Katonda era ne beeyisa bulungi, bulijjo Katonda ayagala abeeyisa obulungi.
94. Abange mmwe abakkiriza (bwe munaabeeranga mu mikolo gya Hijja ne Umrah) Katonda ajja kubagezesa n’ensonga y’okuyigga ebisolo nga mubikwata n’emikono gyammwe, era nga mubifumita n'amafumu gammwe olwo nno Katonda alyoke amanye oyo amutya mu mmwe, awamu n’okuba nti tamulabako, oyo yenna an’amenya e tteeka lino oluvanyuma lw’okumanya bino agenda kutuusibwako e bibonerezo e biruma e nnyo.
95. Abange mmwe abakkiriza temuyigganga, nga muli mu mizizo gya Hijja oba Umrah, oyo yenna mu mmwe atta e kisolo kyo muttale nga agenderedde, ateekwa okuwa omutango, nga awaayo mu nsolo e zirundibwa e yenkana neeri gyeyasse, (nga ekyo okukituukako), kisalibwawo abantu babiri abeesimbu mu mmwe, ekyo nga kirabo e kiteekwa okutuusibwa ku Kaaba. Bwekitaba ekyo, ateekwa okuwa omutango gwokuliisa abanaku, oba okusiiba e nnaku ezenkana omutango ogwo, ebyo byonna biri bwebityo alyoke abe nga akomba ku bukaawu bwekikolwa kye yetantala. Byo e byakulembera Katonda yabisonyiwa, naye oyo addamu Katonda agenda kumubonereza, bulijjo Katonda nantakubwa ku mukono asobola okubonereza oyo gwaba asazeewo okubonereza.
96. Mukkirizibwa okuvuba n'okulya e biva mu nnyanja ku lw'okuyimirizaawo obulamu bwa mmwe, n'obwabatambuze naye mugaaniddwa okuyigga ku lukalu ebbanga lyemumala nga muli mu mizizo gya Hijja ne Umrah, bulijjo mutye Katonda oyo gyali gye mulikunganyizibwa.
97. Katonda yassaawo Kaaba e nyumba e y'emizizo nga y’eyimiriddeko e ntambuza y’ebintu byonna e bikwata ku bantu era nateekawo e myezi e gyemizizo n’ebisolo e bitonebwa, nebisolo e birekebwa nga birambiddwa e byo byonna bibayambe okumanya nti mazima ddala Katonda amanyi ebyo byonna e biri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi, era nti mazima ddala Katonda bulijjo amanyidde ddala ebikwata ku buli kintu.
98. Muteekeddwa okumanya nti mazima Katonda muyitirivu wabibonerezo era nga ddala bulijjo Katonda musonyiyi wa kisa.
99. Omubaka talina kyavunaanwa, okugyako okubatuusaako obubaka, era bulijjo Katonda amanyi byemukola mulwatu ne bye mukweka.
100. Gamba (ggwe Nabbi Muhammad nti) e kibi n'ekirungi tebifaanana newaakubadde nga oluusi osikirizibwa obungi bw'ekibi, kale mutye Katonda abange mmwe abalina amagezi agakola obulungi mulyoke mube mu balituuka ku buwanguzi (ku lunaku lw'enkomerero).
101. Abange mmwe abakkiriza temubuuzanga e bikwata ku bintu, nga singa bibategeezeddwa byandibasudde mu ntata, anti singa mubibuuza nga Kur’ani e kyakka bijja kubategeezebwa (ate bibakaluubirire), so nga Katonda teyabisiinyaako, anti bulijjo Katonda musonyiyi wa kisa.
102. Mazima abantu b'ebibiina e byabakulembera baabibuuzanga ate oluvanyuma byabakaafuwaza.
103. Katonda ssi ye yateekawo (e byokulondobamu ebisolo e bimu e birundibwa n’ebiweebwa amasanamu) nga okusalako okutu kw’ensolo bweba e zadde e nzaalo e ziwera, wadde eyo gyebaawulako nga y’alubaale, wadde e kyokwevuma ensolo e zaala e nkazi zokka, wadde e kyokwekwasa seddume w'e ngamiya e zaazisizza e ngamiya e nnyingi. Naye mazima ddala abo abaakaafuwala (mu kuwanuuza kwa bwe okwo), batemerera Katonda, wabula bulijjo bangi mu bo tebategeera.
104. Bwe baba bagambiddwa nti mujje eri e byo Katonda byeyassa, era mujje eri omubaka, bagamba nti bye twasangako bakadde baffe bitumala (abaffe bagamba batyo) wadde nga bakadde baabwe baali tebamanyi kintu kyonna era nga tebayinza kulungama.
105. Abange mmwe abakkiriza mwefeeko. Oyo e yabula tayinza kubatuusaako kabi kavuna mmwe mulungama, ewa Katonda mwenna yeeri obuddo bwa mmwe, olwo nno alyoke abategeeze byonna byemwali mukola.
106. Abange mmwe abakkiriza omu ku mmwe bwawulira, nga ayinza okuba nga asemberedde okufa, mussengawo abajulizi babiri abeesimbu mu mmwe nga akola ekiraamo, oba abalala babiri abatali ba mu mmwe. Bwe mubanga ku safari nemutuukibwako ekizibu kyokufa (abajulizi ababiri) mubatuuza oluvanyuma lw’esswala nebalayira ku linnya lya Katonda, ekyo mukituukako bwe muba nga mufunye okubuusabuusa (era bateekeddwa okugamba nti) tetugenda kukkiriza kukyusa kiraamo kino olwekintu kyonna, newaakubadde nga gwetuwaako obujulizi wa luganda lwaffe olw,okumpi, era tetugenda kukweka bujulizi bwa Katonda anti bwetukikola tubeera mu boonoonyi.
107. Bwekizuulwa nti abajulizi beekobanye nebakola ekibi ku nsonga y’obujulizi, olwo mangu ddala musseewo abalala babiri badde mu kifo kyabwe bombi, nga baggyibwa mu bantu bali ababiri mwe baggyibwa, nebalayira Katonda (era nebagamba nti) obujulizi bwaffe bwa maanyi okusinga obwa bali ababiri era tetugenderedde kubaweebuula anti bwetukola ekyo, tuba tugudde mu luse lwa beeyisa obubi.
108. Okukola ekyo, kye kisinga obulungi ku kuyamba okuba nga bawa obujulizi mu butuufu bwa bwo, oba batye e birayiro (byabwe) okugobwa oluvanyuma lw'okulayira kwabwe, mutye Katonda era muwulire, bulijjo Katonda talungamya bantu bajeemu.
109. Mujjukire olunaku Katonda lwalikunganya ababaka nagamba nti abantu baabaanukula batya, ne bagamba nti: tetumanyi bye baagamba anti mazima bulijjo ggwe omanyidde ddala e bikusike.
110. Era mufumiitirize Katonda bwaligamba nti owange Isa mutabani wa Mariam, jjukira e byengera byange bye nnakuwa ne bye nnawa Maamawo, bwe nnakuwagira ne mwoyo mutukuvu n'oyogera n’abantu ng’okyali mu kibaya, ne bwe wasajjakula, era jjukira bwennakuyigiriza okuwandiika n’okukozesa amagezi ne Taurat ne Injili, era jjukira bwe wasobola okubumba mu ttaka e kibumbe kye kinyonyi ku lw’okukkiriza kwange, n’okifuuwamu ne kiba e kinyonyi ku lw'okukkiriza kwange, era n’osobola okuwonya ba Muzibe n’abolukeke, byonna lwa kukkiriza kwa nge, era jjukira bwe wasabiranga abafu ne bazuukira olw'okukkiriza kwange, era jjukira bwe nnakuwonya abaana ba Israil bwe wabajjira n’obunnyonnyofu, abaakaafuwala mu bo ne bagamba nti bino byaleese si kirala okugyako ddogo e ryeyolefu.
111. Era jjukira bwe nnatumira abayigirizwabo nti munzikirize n’omubaka wange ne bagamba nti tukkirizza, era naawe julira okakase nti mazima ddala tuli basiramu.
112. Era jjukira abayigirizwa bwe baagamba Isa mutabani wa Mariam nti abaffe Katondawo asobola okutussiza ekijjulo okuva mu ggulu, naagamba nti mutye Katonda bwe muba nga ddala muli bakkiriza.
113. Nebagamba nti twagala tukiryeko, era e mitima gyaffe gitebenkere, era tumanye nti wewaawo byo tugamba byonna bya mazima, era naffe tufuuke abajulizi ku ekyo.
114. Isa mutabani wa Mariam naagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tussize e kijjulo okuva mu ggulu, kibe e mbaga gyetuli eri abaliwo muffe n’abalijja oluvanyuma, era nga bujulizi okuva gyoli, era tukusaba otugabirire. Ggwe mugabi asinga.
115. Katonda naagamba nti mazima nze nja kukibassiza naye oyo yenna anaakaafuwala oluvanyuma lw’okujja kwakyo, mazima ddala ngenda kumubonereza olubonereza lwe ssigenda kubonereza muntu mulala yenna.
116. Era jjukira Katonda bwe yagamba nti owange Isa Mutabani wa Mariam ggwe wagamba abantu nti nze ne Mmange ffembi mutufuule ba Katonda, muve ku Katonda. Naagamba nti Mukama omulabirizi wange oli musukkulumu, siyinza kwetantala kwogera kitali kyange, mu butuufu, bwe mba nakyogera mazima wakimanya, anti omanyi byonna ebiri mu nze atenga nze simanyi biri mu ggwe, (ekireeta e njawulo eyo) anti mazima ddala ggwe omanyi e byekusifu.
117. Ssaabagamba okugyako kye wandagira, e ky’okubagamba nti: musinze Katonda mukama omulabirizi wange era nga ye mukama omulabirizi wa mmwe, era nali mujulizi ku byonna bye baakolanga e bbanga lye nnamala nga ndi nabo, naye bwe wantwala, ggwe wasigala omanyi byonna bye bakola. Anti bulijjo ggwe osobola okumanya e bikwata ku buli kintu.
118. Bwoba wa kubabonereza, mazima bo baddu bo, naye bw'obasonyiwa, mazima ddala ggwe nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
119. (Ku lunaku olwo) Katonda agenda kugamba nti, luno lunaku abaayogera amazima, amazima gaabwe gagenda kubagasa, balina e jjana e zikulukutiramu e migga, bagenda kuzibeeramu olubeerera, Katonda yabasiima nabo nebeeyanza, okwo nno kwe kwesiima okusukkulumu.
120. Obufuzi bwe ggulu omusanvu ne nsi n'ebirimu bwa Katonda, era bulijjo Katonda musobozi wa buli kintu.