ﯣ
surah.translation
.
ﰡ
1. Enkomerero esembedde n'omwezi ne gubejjukamu.
2. Bwe balaba ekya magero bakyawukanamu ne bagamba nti lino ddogo eritakoma.
3. Olwo nno ne balimbisa era ne bagoberera okwagala kwabwe, so nga buli kigambo kirina engeri gye kirina okubaamu (nungi oba mbi).
4. Ate nga ddala gaabatuukako amawulire ago agaalimu okukanga (okwandibamaze ne batya Katonda).
5. (Kur’ani eno) ejjudde amagezi etuukira ddala wala omuntu, (ekyekitalo) okutiisa kwokka tekumala (kwetagisaako okulungamya kwa Katonda).
6. Kale baveeko (olindirire) olunaku omukowooze lwalikowoola (abantu) kugenda eri ekintu ekitayagalwa.
7. Amaaso gaabwe nga gatunudde wansi, baliva mu kabburi nga balinga ensenene ezisasaanye.
8. Balisaayirira okugenda eri omukowooze nga abakafiiri bwe bagamba nti, luno lunaku luzito.
9. Oluberyeberye lwabwe, abantu ba Nuhu balimbisa, olwo nno nebalimbisa omuddu waffe ne bagamba mbu muguwaddalu ate naatiisibwatiisibwa.
10. Kyeyava asaba Mukama omulabirizi we nti mazima nze nemerdeddwa n’olwekyo nziruukirira.
11. Olwo nno netuggulawo emiryango gya waggulu ne tumuwa amazzi agafukumuka.
12. Era ettaka netulifukumulamu ensulo amazzi (ag’emirundi ebiri) ne gasisinkana okusinziira ku kiragiro ekyagerwa edda.
13. Netumusitulira na bonna abali naye mu lyato eryakolwa mu mbawo ne misumaali.
14. Nga liddukira (ku mazzi ago) ku lwa buyinza bwaffe, ekyo nga kusasula eri oyo eyali awakanyizibwa.
15. Mazima (ekyafaayo ekyo) twakireka nga kya kuyiga, abaffe waliwo eyeebuliridde?.
16. (Nebalaba nti) ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya!.
17. Mazima Kur’ani twagifuula nyangu ebeere nga ebuulirira, abaffe waliyo eyebuuliridde.
18. Abeekika kya Aadi baalimbisa naye ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya.
19. Mazima ffe twabasindikira kikungunta omukambwe, mu lunaku olwe kikwa ekitaasalako olunaku lwonna.
20. Eyasikulanga abantu (okuva ku ttaka) nga bagwa nga ebikonge by'emitende ebisiguddwa.
21. Naye ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya.
22. Mazima Kur’ani twagifuula nyangu ebeere nga ebuulirira, abaffe waliyo eyebuuliridde.
23. Abeekika kya Thamud baalimbisa okutiisa kwa (Nabbi waabwe Swaleh).
24. Olwo nno ne bagamba nti abaffe omuntu obuntu omu mu ffe, gwetuba tugoberera (netumala tukikola) olwo nno mazima ffe tujja kuba mu bubuze na bugwi bwa ddalu.
25. Mu ffe fenna ye yaweereddwa obubaka! Nedda ssi bwekiri yye mulimba alina kyalubirira.
26. Enkya bajja kumanya ani mulimba omwerazi.
27. (Anti) mazima ffe tujja kuweereza engamiya nga kikemo gye bali, olwo nno batunuulire nkaliriza era ogumikirize (ku nneeyisa yaabwe embi).
28. Era bategeeze nti (okuva engamiya lwezze) ddala amazzi ga kugabanyizibwa wakati waabwe nayo, nga buli luwalo lutuukirizibwa, (nyinirwo yaalina okufuna amazzi keebe ngamiya oba bantu).
29. Olwo nno baakowoola mu nnaabwe neyeesowolayo naafumita (engamiya).
30. Naye ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya.
31. (Anti) mazima twabasindikira olubwatuka lumu, olwo nno ne baba nga ebisubi ebigwa okuva ku lugo (lwo muntu agenderera okukuuma ebisolo bye).
32. Mazima Kur’ani twagifuula nyangu, ebeere nga ebuulirira abaffe waliyo eyebuuliridde.
33. Abantu ba Luutu baalimbisa obubaka.
34. Mazima ffe twabasindikira kibuyaga owa mayinja (eyabasanyaawo bonna) okugyako abantu b’o mu maka ga Luutu, twabawonya mu ttumbi.
35. Ekyo kyengera okuva gye tuli bwe tutyo nno, bwe tusasula oyo eyeebaza.
36. Mazima (Luutu) yabeekesa okukwata kwaffe wabula nebabuusabuusa okulabula (kwe).
37. Mazima baagezaako okumusendasenda abawe abagenyi be (babasiyage) olwo nno netuziba amaaso gaabwe, ne bakomba ku bibonerezo byange n'okulabula kwange.
38. Era mazima ebibonerezo ebitasalako bya bazinda mu matulutulu.
39. Olwo nno nebakomba ku bibonerezo byange n’okulabula kwange.
40. Mazima Kur’ani twagifuula nyangu ebeere nga ebuuririra abaffe waliyo eyebuuliridde.
41. Mazima okulabula kwajjira abantu ba Firawo.
42. Baalimbisa ebigambo byaffe byonna, olwo nno netubakwata enkwata ya Nantakubwa ku mukono, nannyini buyinza.
43. Abakafiiri ba mmwe be balungi okusinga abo! oba (ekibayinula) mulina akalagaane ku butavunaanwa nga kawandiikibwa mu bitabo ebitukuvu ebyasooka.
44. Oba (ekibayinula lwakuba) bagamba nti ffe tuli bangi nga twegasse tusobola okwetaasa.
45. (Zibasanze) ekibiina (ekyo) kijja kuwangulwa era bakubeyo amabega (badduke).
46. (Byonna bye baliko temuli) wabula olunaku lw’enkomerero ye ndagaano yaabwe era olunaku lw’enkomerero lwelusinga obukalubo n’obukaawu.
47. Mazima abonoonyi bali mu bubuze na bugwi bwa ddalu.
48. (Bandibadde bajjukira) olunaku lwe baliwalulwa ku byenyi byabwe mu muliro (nga bwe bagambibwa nti) mukombe ku bulumi bw’omuliro Sakara.
49. Mazima ffe buli kintu twakitonda mu ngeri nga bwe kisaana okuba.
50. (Ate mu kukola ebintu byonna) ekiragiro kyaffe tekiri okugyako kimu nga kiringa lutemya lwa liiso.
51. Era ddala twazikiriza abafaanana nga mmwe, abaffe waliyo eyebuuliridde.
52. Na buli kintu kyonna kye baakola kiri mu kitabo.
53. Era buli kitono n'ekinene kyawandiikibwa.
54. Mazima abatya Katonda balibeera mu jjana n’emigga (egiriba gikulukutira wansi waazo).
55. Mu kifo ekya mazima ew’omufuzi nannyini buyinza.