ﮦ
ترجمة معاني سورة الشعراء
باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
.
ﰡ
ﭑ
ﰀ
1. Twaa Siin Miim.
2. Ebyo bye bigambo by'ekitabo ekinnyonnyola.
3. Olabika nga ayagala okwetta olw'okuba bagaanye okuba abakkiriza.
4. Singa twagadde twandissizza ku bo okuva mu ggulu akabonero, ensingo zaabwe nezikugondera olubeerera.
5. Tewali bubaka bwonna bupya kuva wa Katonda Omusaasizi ennyo wabula bo babuwakanya.
6. Nebaba nga mazima balimbisa, bigenda kubajjira ebigambo ebyo bye baali bajeeja
7. Abaffe tebatunuulira nsi ne balaba bimeka bye twameza mu yo mu buli mutindo oguvaamu emigaso.
8. Mazima mu ekyo ddala mulimu akabonero (akalaga obuyinza bwaffe), wabula bangi mu bo tebakkiriza.
9. Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi ennyo.
10. Era jjukira ekiseera Mukama omulabiriziwo bwe yakoowoola Musa (naamulagira) nti: genda eri abantu abeeyisa obubi.
11. Abantu ba Firaawo (obagambe nti) abaffe tebatya Katonda!.
12. (Musa) naagamba nti: mazima nze ntya okuba nga bannimbisa.
13. Ekifuba kyange ne kifunda olulimi lwange ne rutayatula, n'olwekyo lagira Haruna (annyambeko).
14. Ate banninako omusango, ntya nti bayinza okunzita.
15. (Katonda) naagamba nti nedda mugende n'obubonero bwaffe mazima ffe tuli wamu na mmwe tuwulira (tugoberera buli ekigenda mu maaso).
16. Mugende ewa Firaawo mumugambe nti mazima ffe tutumiddwa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
17. (Atugambye nti) tuwe abaana ba Israil tugende nabo.
18. (Firaawo) naagamba nti tetwakukuliza mu ffe okuva nga oli mwana muto, era nga wawangaalira mu ffe emyaka mingi ku buwangaazibwo.
19. Era nookola ekikolwakyo ekyo kye wakola e kyakufuula okuba mu batasiima bye bakolerwa.
20. (Musa) naagamba nti nnakikola bwe nnali nkyali mu babuze.
21. Olwo nno nembadduka bwe nnabatya, awo Mukama omulabirizi wange nangabira okumanya e nsonga era nanteeka mu babaka.
22. Ne'kyo e kyengera (eky'okundera n'okukulira mu mmwe) okindalaasaako naye nga ggwe abaana ba Israil wabafuula abaddu.
23. Firaawo naagamba nti Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna gwoyogerako yaani?.
24. Musa naagamba nti Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi bwe muba nga mwetegereza ebintu.
25. (Firaawo) kwe kugamba abaali naye awo nti: abaffe temuwulira (nga bwabijweteka).
26. (Musa) naagamba nti ye Mukama omulabirizi wa mmwe, era Mukama omulabirizi wa bakadde ba mmwe abaasooka.
27. (Firaawo) naagamba nti: mazima omubaka wa mmwe oyo eyatumiddwa gye muli mulalu.
28. (Musa) naagamba nti (ye) Mukama omulabirizi w'ebuvanjuba n'ebugwanjuba n'ebyo ebiri wakati wa byombi singa mubadde mutegeera.
29. (Firaawo) naagamba nti mazima singa oteekawo Katonda omulala atali nze nja kukuteera ddala mu b'okusibwa.
30. (Musa) naagamba nti ne bwennaaba nkuleetedde ekintu ekyeyolefu (ekiraga obutuufu bw'ebyo bye ngamba).
31. (Firaawo) naagamba nti kale kireete bwoba nga oli mu boogera amazima.
32. Awo nno Musa naasuula omuggogwe, okugenda okulaba nga musota omweyolefu.
33. Era naggyayo omukonogwe okugenda okulaba nga ggwo gwakaayakanira abalabi.
34. (Firaawo) naagamba abo abaali batudde waali nti mazima ono mulogo kafulu.
35. Ayagala kubaggya mu nsi yammwe ku lw'eddogolye kati mugamba ki.
36. Ne bagamba nti mulagaanyise ne Mugandawe (ddi na wwa) aw'okubasisinkana era otume mu bitundu eby'enjawulo abakungaanya abalogo.
37. Bajja kukuleetera buli mulogo kakensa.
38. Olwo nno abalogo ne bakungaanyizibwa mu kiseera ekiragaane ku lunaku olumanyiddwa.
39. Abantu baagambibwa nti abaffe mmwe munajja.
40. Sikulwa nga tunaagoberera abalogo bwe banaaba bo nga be bawangudde.
41. Abalogo bwe bajja baagamba Firaawo nti mazima tuteekwa okuweebwa empeera bwe tunaaba nga ffe tuwangudde.
42. (Firaawo) naagamba nti weewaawo era mazima mmwe singa kinaaba bwe kityo mujja kubeera ba ku lusegere.
43. Musa naabagamba nti kale mwanje kye mwanja.
44. Nebasuula e miguwa gya bwe n'emiggo gya bwe era ne bagamba nti ku lw'ekitiibwa kya Firaawo mazima ffe tujja okuwangula.
45. Olwo nno Musa naasuula omuggogwe okugenda okulaba nga gwo gumira buli kye baali bagunjizzaawo.
46. Awo nno abalogo ne beeyala nga bavunnama.
47. Nebagamba nti tukkirizza Mukama Omulabirizi w'ebitonde.
48. Mukama omulabirizi wa Musa ne Haruna.
49. Firaawo naagamba nti: mukkirizza byagamba nga sinnaba kubawa lukusa, (kirabika) nti mazima yye ye mukulu wa mmwe oyo eyabayigiriza eddogo, kale nno mujja kukitegeera, nja ku bakutulako e mikono gya mmwe n'amagulu ga mmwe nga bwe nkuggyako okugulu okwa ddyo, omukono nkuggyako gwa kkono, era ddala mwenna nja ku bakomerera ku musaalaba.
50. Ne bagamba nti ekyo tekiriimu buzibu, (anti) mazima ffe tujja kuba tudda eri Mukama omulabirizi waffe.
51. Mazima ffe tululunkanira okuba nga Mukama omulabirizi waffe atusonyiwa ebyonoono byaffe bwe tuba nga ffe abakkiriza abasooka.
52. Era netutumira Musa nti tambula ekiro n'abaddu bange, mazima mmwe mujja kulondoolwa.
53. Firaawo naatuma mu bibuga abakungaanya (eggye era naagamba nti).
54. Mazima abo kabiina ka bantu batono.
55. Era mazima bbo batunyiizizza.
56. Era nga bulijjo mazima ffe nga tukolera wamu tuli abantu abeekengera.
57. (Okusinziira ku nteekateeka zaabwe ne bye bakola ate) twabaggya mu malimiro ne nsulo ezikulukuta.
58. N'amawanika n'ebifo eby'ekitiibwa.
59. Bwe tutyo nno ne tubisikiza abaana ba Israil.
ﰏﰐ
ﰻ
60. Olwo nno nebabagoberera nga busaasaana.
61. Ebibinja byombi bwe byalengeragana abantu ba Musa baagamba nti mazima ffe bajja kutukwata (batutte).
62. (Musa) naagamba nti nedda mazima Mukama omulabirizi wange ali nange ajja kundaga eky'okukola.
63. Awo nno ne tutumira Musa nti kuba omuggogwo ku nnyanja, olwo neebajjukamu, buli kibajjo ne kiba nga olusozi olunene.
64. Netusembeza awo abalala (Firaawo ne ggyerye nabo ne bayingira e kkubo Musa lye yakuba ku nnyanja).
65. Netuwonya Musa n'abaali naye bonna.
66. Oluvanyuma ne tuzikiriza abasigadde.
67. Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebaali bakkiriza.
68. Era mazima Mukama omulabiriziwo yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi.
69. Era basomere ebigambo ebikwata ku Ibrahim.
70. Bwe yagamba kitaawe n'abantu be nti musinza biki.
71. Nebagamba nti tusinza amasanamu tubeera we gali era ne tugawa ebiseera bingi mu kugasinza.
72. (Ibrahim) naagamba nti abaffe bwe musaba gabawulira.
73. Oba gabagasa oba gasobola okubatuusaako akabi.
74. Nebagamba nti nedda wabula bwe tutyo bakadde baffe bye twasanga bakola.
75. Naagamba nti mulaba ebyo bye musinza.
76. Mmwe ne bakadde ba mmwe abaabakulembera.
77. Mazima byo balabe bange, okugyako Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
78. Oyo eyantonda, yye y'annungamya.
79. Era yye yooyo andiisa nannyweesa.
80. Era bwe ndwala yye y'amponya.
81. Era yooyo anzita ate nampa obulamu.
82. Era yye gwe ndulunkanira abe nga ansonyiwa ebyonoono byange ku lunaku lw'okusasulwa.
83. Ayi Mukama omulabirizi ngabira okumanya ensonga era onsisinkanye abalongoofu.
84. Era onteerewo okwogerwako obulungi mu balijja oluvanyuma.
85. Era onteeke mu balisikira e jjana ey'ebyengera.
86. Era sonyiwa Kitange mazima yye yali mu babuze.
87. Era tonswazanga olunaku lwe balizuukizibwa.
88. Olunaku emmaali n'abaana lwe bitaligasa.
89. Okugyako (aliganyulwa) yooyo alijja ewa Katonda n'omutima omuyonjo.
90. E jjana erisembezebwa eri abatya Katonda.
91. N'omuliro ne gulagibwa eri ababuze.
92. Era bagenda kugambibwa nti biriwa ebyo bye mwasinzanga.
93. Ne muleka Katonda, abaffe bisobola okubataasa oba byo bisobola okwetaasa.
94. Olwo nno ne bakasukibwa mu gwo bo n'ababuze.
95. Na bonna abali muggye lya Ibuliisu.
96. Baligamba nga bali mu gwo nga bakaayagana (nti).
97. Tulayira Katonda nti mazima ddala twali mu bubuze obw'olwatu.
98. Bwe twabenkanya (mmwe) ne Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
99. Era tewali yatubuza okugyako aboonoonyi.
100. N'olwekyo tetulina bawolereza.
101. Wadde ow'omukwano alumirwa.
102. Naye singa tubadde tulina omukisa (okudda ku nsi) ne tuba mu bakkiriza.
103. Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza.
104. Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaazizi.
105. Abantu ba Nuhu baalimbisa ababaka.
106. Mu kiseera muganda waabwe Nuhu we yabagambira nti abaffe temutya (Katonda).
107. Mazima nze gye muli ndi mubaka omwesigwa.
108. Kale mutye Katonda era mungondere.
109. Era sikibasabirako mpeera, empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
110. Kale mutye Katonda era mungondere.
111. Nebagamba nti abaffe tukukkirize nga abakugoberedde be ba wansi.
112. Naagamba nti: mmanya ntya bye baali bakola.
113. Okubalibwa kwa bwe tekuli okugyako kuli ku Mukama omulabirizi wange singa mubadde mumanyi.
114. Ate nze siri wa kugoba bakkiriza (olw'okuba ba wansi).
115. Nze siri okugyako omutiisa ow'olwatu.
116. Nebagamba nti: owange Nuhu bwo teekomeko ojja kubeerera ddala mu b'okukubwa amayinja.
117. Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima abantu bange bannimbisizza.
118. Kale salawo wakati wange nabo olusalawo olwannamaddala, era omponye owonye n'abakkiriza bendi nabo.
119. Ne tumuwonya n'abo abaali naye mu lyato eryali lijjudde.
120. Oluvanyuma twazikiriza abaasigala.
121. Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza.
122. Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi.
123. Abantu ba A’di baalimbisa ababaka.
124. Mu kiseera muganda waabwe Hudu lwe yabagamba nti abaffe temutya (Katonda)!.
125. Mazima nze gye muli ndi mubaka omwesigwa.
126. Kale mutye Katonda era mungondere.
127. Era sikibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
128. Abaffe muzimba ku buli katunnumba ekijjukizo nga muzannya buzannyi.
129. Era nemweteerawo amayumba amagundiivu nga mulinga abalibeerawo olubeerera.
130. Ate bwe mukwata (abalabe ba mmwe) mukwata enkwata eya ba kirimaanyi (abanyigiriza bannaabwe).
131. Kale mutye Katonda era mungondere.
132. Era mutye oyo abagabirira ebyo bye mumanyi.
133. Abagabirira ebisolo ebirundibwa era n'abaana.
ﰂﰃ
ﲅ
134. N'amalimiro n'emigga.
135. Mazima nze ku lwa mmwe ntya ebibonerezo by'olunaku oluzibu.
136. Nebagamba nti kyekimu obuuliridde oba toli mu babuulirira.
137. Tekiri kino (eky'okubuulirira kwokola) okugyako nkola ya baasooka.
138. Era ffe tetuli ba kubonerezebwa.
139. Nebamulimbisa olwo nno ne tubazikiriza, mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza.
140. Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi.
141. Abantu ba Thamud baalimbisa ababaka.
142. Mu kiseera muganda waabwe Swalehe we yabagambira nti abaffe temutya (Katonda)!.
143. Mazima nze gye muli ndi mubaka mwesigwa.
144. Kale mutye Katonda era mungondere.
145. Era sikibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
146. (Mulowooza nti) mujja kulekebwa mirembe mu bintu ebiri wano.
147. (Nga muli) mu malimiro n'emigga.
148. N'ebimera n'emitende egiweese enkota enzito.
149. Era nemukola amayumba mu nsozi mu ngeri y'ekikugu.
150. Kale mutye Katonda era mungondere.
151. Era temugondera ekigambo ky'abasukka e nsalosalo za Katonda.
152. Abo aboonoona mu nsi nebatalongoosa.
153. Nebagamba nti mazima ggwe oli wa mu baloge.
154. Toli ggwe okugyako muntu nga ffe, kale leeta akabonero bwoba nga oli mu boogera amazima.
155. Naagamba nti engamiya yiino, erina okunywa (ku lunaku lwayo) nammwe munywe ku lunaku olumanyiddwa.
156. Temugituusangako kabi ne bibakwata e bibonerezo by'olunaku oluzito.
157. Wabula baagifumita (neefa) olwo nno ne baba nga bejjusa.
158. Ebibonerezo ne bibatuukako mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga, naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza.
159. Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi.
160. Abantu ba Luutu baalimbisa ababaka.
161. Mu kiseera Muganda waabwe Luutu we yabagambira nti abaffe temutya (Katonda)!.
162. Mazima nze gye muli ndi mubaka omwesigwa.
163. Kale mutye Katonda era mungondere.
164. Era ssi kibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
165. Abaffe mu bitonde byonna ne mwagalamu basajja!.
166. Ne muleka ekyo Mukama omulabirizi wa mmwe kye yabatondera mu abo be mwafumbiriganwa nabo, wabula mmwe muli bantu abasukka ebikomo.
167. Nebagamba nti owange Luutu bwoteekomeko ojja kubeerera ddala mu bafulumizibwa (ne bagobwa mu nsi eno).
168. Naagamba nti mazima ndi omu ku batamwa ekikolwa kya mmwe (eky'ebisiyaga).
169. Ayi Mukama omulabirizi wange mponya n'abantu bange mu ebyo bye bakola.
170. Netumuwonya n'abantu be bonna.
171. Okugyako omukazi omukadde omu eyali mu baasigala.
172. Oluvanyuma twazikiriza abalala (bonna).
173. Netubatonnyesaako enkuba, mazima yali mbi nnyo enkuba y'abo abaalabulwa (ne bateebuulirira).
174. Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga kinene naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza.
175. Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi.
176. Abantu b'o mu kitundu eky'ekibira baalimbisa ababaka.
177. Mu kiseera Swaibu bwe yabagamba nti abaffe temutya (Katonda)!.
178. Mazima gye muli ndi Mubaka omwesigwa.
179. Kale mutye Katonda era mungondere.
180. Era sikibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
181. Era mutuukirizenga okupima temubeera mu abo abafiiriza abalala.
182. Mupimisenga ebipimo ebituufu.
183. Temukendeerezanga abantu ebintu bya bwe, temukolanga ebibi mu nsi ne muba aboonoonyi.
184. Era mutye oyo eyabatonda n'atonda n'emirembe egyasooka.
185. Nebagamba nti mazima ggwe oli mu baloge.
186. Toli ggwe okugyako muntu nga ffe, era tukulowooza okuba nti oli mu balimba.
187. Kale nno tusuuleko ekibajjo okuva waggulu bwoba nga oli mu boogera amazima.
188. Naagamba nti Mukama omulabirizi wange yaasinga okumanya ebyo bye mukola.
189. Wabula baamulimbisa ne bibakwata ebibonerezo ku lunaku ekire lwe kyabasiikiriza. Mazima kyo kyali kibonerezo kya lunaku oluzito.
190. Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza.
191. Era mazima Mukama omulabiriziwo, ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi.
192. Era mazima yyo (Kur’ani) yassibwa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
193. Yakka nayo mwoyo omwesigwa (Jiburilu).
194. (Naagissa) ku mutima gwo olyoke obe mu batiisa (abantu okukola ebibi).
195. Nga eri mu lulimi oluwarabu olutegeerekeka.
196. Era mazima yo eyogerwako mu bitabo eby'edda ebyasooka.
197. Abaffe tekibamala kuba bujulizi okuba nti bagimanyi abayivu b'abaana ba Israil.
198. Singa twagissa ku bamu mu batali bawarabu.
199. Olwo nno (omu kubo) naagibasomera tebandigikkirizza.
200. Bwe kityo twagiyingiza mu mitima gy'aboonoonyi.
201. Tebagenda kugikkiriza okutuusa lwe baliraba ebibonerezo ebiruma.
202. Ebiribajjira ekibwatukira nga bo tebategedde.
203. Olwo nno bagambe nti abaffe tusobola okulindirizibwa.
ﯽﯾ
ﳋ
204. Abaffe ebibonerezo byaffe bye basaba okubaleetera amangu?.
205. Okiraba nti singa tubawangaazizza emyaka (egiwera).
206. Oluvanyuma ne bibajjira ebyo bye balagaanyisibwa.
207. Tebiyinza kubayamba ebyo bye baaweebwa okweyagaliramu.
208. Tewali kitundu kye twazikiriza okugyako nga kimaze kufuna batiisa (ba Nabbi).
209. (Kyabanga bwe kityo) lwa kubabuulirira, tetubangako balyazaamaanyi.
210. Era Sitane ssi ze zaajissa (Kur’ani).
211. Era tekizisaanira era nga tezikisobola.
212. (Ku lw'ensonga nti) mazima zaaziyizibwa okuwulira ebifa mu ggulu.
213. (N'olwekyo) bwoba osinza Katonda tomugattako kintu kirala (anti bwokikola) obeera wa mu balibonerezebwa.
214. Era tiisa ab'oluganda lwo ab'okumpi.
215. Era kakkanya ekiwawaatiro kyo (weewombeke) eri oyo aba akugoberedde mu bakkiriza.
216. Wabula bwe bakujeemera gamba nti mazima nze nnesambye ebyo bye mukola.
217. Era weekwate ku nantakubwa ku mukono omusaasizi.
218. Oyo akulaba woobeerera nga oyimiridde (mu kusaala).
219. Era n'alaba okwekyusakyusakwo mu bavunnama.
220. Mazima yye y'awulira ennyo omumanyi.
221. Abaffe mbategeeze Sitane zikka ku ani.
222. Zikka ku buli musazi w'abigambo omwonoonyi.
223. Abo abasaasaanya bye bawulira naye nga abasinga obungi mu bo balimba.
224. Era abatontomi, ababuze be babagoberera.
225. Abaffe tolaba nti babulubuutira mu buli lusenyi.
226. Era nti mazima bbo boogera bye batakola.
227. Okugyako abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi ne boogera nnyo ku Katonda era ne baba nga beetaasa oluvanyuma lw'okuba nti bayisibwa bubi, era mazima abo abeeyisa obubi bagenda kumanya buddo ki gye balidda.