ﯛ
surah.translation
.
ﰡ
ﮑ
ﰀ
1. Ha Miim.
2. Okussa kwe kitabo (Kur’ani) kwava wa Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
3. Tetwatonda eggulu omusanvu ne nsi nebyo ebiri wakati wa byombi wabula mu butuufu (nga bwe kisaana okuba nga ddala Katonda yaabikoze), era nga byakubeerawo okumala ekiseera ekigere, wabula bo abakaafuwala besamba ebyo bye batiisibwa (bye babulirirwa) nabyo.
4. Bagambe nti mulaba ebyo bye musaba nemuleka Katonda, kale mundage biki bye baatonda ku nsi oba balina omugabo (gw'okutonda) ebyo ebiri mu ggulu omusanvu (bwe kiba bwe kityo) kale mundeetere ekitabo ekyaliwo oluberyeberye lwa kino (Kur’ani), oba ebisigala bya yirimu yonna bwe muba nga mwogera mazima!.
5. Ani mubuze okusinga oyo alekawo Katonda naasaba oyo atasobola kumwanukula okutuusa ku lunaku lw’enkomerero! nga nabo (be basaba) tebalina kye bamanyi ku kusaba kwabwe.
6. Ng’ate abantu bwe balikunganyizibwa (be baasaba nga) bagenda kuba balabe baabwe era bagenda kwewakana okuba nti ba basinzanga.
7. Ebigambo byaffe bwe bibasomerwa nga binnyonnyofu, abo abawakanya amazima bwe gabajjira bagamba nti lino ddogo lyeyolefu.
8. Oba bagamba nti Nabbi Muhammad ye yajigunjaawo (Kur’ani)! bagambe nti bwemba najigunjaawo temulina kintu kye muyinza kumponya ku Katonda, yye yaasinga okumanya bye muwolompokamu. Ye amala okuba nga mujulizi wakati wange nammwe era yye ye musonyiyi omusaasizi ennyo.
9. Bagambe nti si nze nsoose mu babaka era simanyi kinankolebwa wadde kye munakolebwa, sirina kyengoberera okugyako obubaka obumpebwa era siri nze okugyako omutiisa ow'olwatu.
10. Bagambe nti abaffe mulaba nti singa (Kur’ani) eva wa Katonda ate mmwe nemugiwakanya, naye nga omujulizi mu baana ba Israil yajulira ku kiringa yo (nti kiva wa Katonda) olwo nno yye) nakkiriza ate mmwe ne mwekuluntaza (olwo mu mbeera eyo kiba kitya), mazima bulijjo Katonda talungamya bantu beeyisa bubi.
11. Abo abaakafuwala nebagamba abo abakkiriza nti (Muhammad byagamba) singa bibadde birungi (abo) tebanditusoose kugenda gyebiri, naye olwokuba tebalungama nayo, bajja kugamba nti Kur’ani kugunja okwedda.
12. Nga noluberyeberye lwayo (waliyo) ekitabo kya Musa nga kyagobererwa nga kya kusaasira n'ekitabo kino (Kur’ani kyajja nga) kikakasa (ebyakulembera) nga kiri mu lulimi luwarabu, kibe nga kirabula abo abeeyisa obubi era nga kya kusanyusa eri abalongoosa.
13. Mazima abo abagamba nti Mukama omulabirizi waffe ye Katonda, oluvanyuma ne babeera beesimbu (mu ddiini) tebagenda kutuukwako kutya era tebagenda kunakuwala.
14. Abo be ba nannyini jjana, ba kugituulamu obugenderevu nga yempeera olwebyo bye baali bakola.
15. Omuntu twamulagira okuyisa obulungi bakaddebe, nnyina yamwetikka (yali lubuto lwe) mu buzibu era namuzaala mu buzibu, nga olubuto lwe (n'okumuyonsa) n'okumujja ku mabeere emyezi makumi asatu, okutuusa lwatuuka okukakata kwe naaweza emyaka amakumi ana (omuntu mulamu) agamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nsobozesa okwebaza ebyengera byo ebyo bye wangabira ,ne bye wagabira bakadde bange bombi era mbe nga nkola emirimu emirongoofu gyosiima, era nongooseza ezzadde lyange mazima nze nenenyezza nenzira gyoli era mazima nze ndi wa mu basiraamu.
16. Abo beebo betukkiriza okuva gye bali ebirungi ebyo bye baakola era netusonyiwa ebisobyo byabwe (era ba mu bantu) ba mu jjana (era eyo) ye ndagaano eyamazima gye baali baalaganyisibwa.
17. Nooyo yenna agamba bakadde be nti mutwale eri, muntiisatiisa nti nja kuzuukizibwa, so ng’ate emirembe mingi egiyiseewo oluberyeberye lwange (ani yali azuukidde), nga bakadde bombi basaba Katonda abayambe, era nga bamugamba (omwana) nti obula! (kyolina okukola) kkiriza, mazima endagaano ya Katonda ya mazima. Olwo nno yye (omwana) agamba nti ebyo tebiri okugyako okuba enfumo za baakulembera.
18. Abo beebo abaakakatwako ekigambo (ekyokubonerezebwa) mu bibiina ebyayita oluberyeberye lwabwe nga baava mu majinni ne mu bantu mazima bo be bafafaganirwa.
19. Era buli omu alina amadaala okusinziira kwebyo bye bakola era ddala (Katonda) agenda kubawa empeera etuukana n'emirimu gyabwe era bo ssi ba kuyisibwa bubi.
20. Era (mulowooze) ku lunaku abo abaakafuwala lwe balyanjulwa eri omuliro (baligambwa nti) ebirungi bya mmwe mwabimalira mu bulamu bwa mmwe obwensi, ne mweyagala nabyo, kale nno olwaleero mugenda kusasulwa ebibonerezo ebinyoomesa olwengeri gye mwali mwekuluntazaamu mu nsi awatali nsonga ne ku lwebyo bye mwali mwonoona.
21. Era bajjukize (ggwe Nabbi Muhammad) muganda wa A’di (Hudu) bwe yalabula abantu be abaali mu bifo ebijjuddemu entuunu z'omusenyu (gyoli nti nsozi) era nga okulabula kungi okwayita oluberyeberye lwe n'oluvanyuma lwe, (nga ababaka bonna baali bagamba nti) temusinzanga okugyako Katonda (era) mazima nze ntya okuba nga mutuukwako ebibonerezo by'olunaku oluzito.
22. Nebagamba nti abaffe otujjidde otuwugule ku ba Katonda baffe! (bwekiba bwe kityo), kale tutuuseeko kyotulagaanyisa bwoba nga oli mu boogera amazima.
23. Naabagamba nti mazima okumanya (ddi? lwe kiribatuukako) kuli eri Katonda era (nze) mbatusaako ebyo bye natumwa nabyo, naye mazima nze mbalaba nga muli bantu abatamanyi.
24. Naye bwe baakiraba nga (kire) ekyetimbye (ku ggulu), nga kyolekedde ensenyi zaabwe, baagamba nti ekyo ekire ekyetimbye kigenda kutuwa nkuba, wabula nedda kyo kyekyo kye mubadde musaba kibatuukeko mangu (kyo) mpewo (kikungunta) erimu e bibonerezo e biruma ennyo.
25. Ejja kuzikiriza buli kintu kyonna okusinziira ku kiragiro kya Mukama omulabirizi waayo, olwo nno nebatuuka okuba nga tewali kirabwa okugyako amayumba gaabwe, bwetutyo bwe tusasula abantu abonoonyi.
26. Mazima twabawa obusobozi (abantu ba Huudu) kwebyo bye tutaabawa mmwe (abe Makkah) busobozi ku byo, era nga twabawa amatu n'amaaso n'emitima kyokka amatu gaabwe tegaabagasa kintu kyonna wadde amaaso gaabwe wadde emitima gyabwe okuva lwe baali nga bawakanya ebigambo bya Katonda era nebibamalawo ebyo bye bajeejanga.
27. Era mazima twazikiriza ebitundu ebyo ebibeetolodde, era netunyonyola ebigambo oba olyawo nebadda (nebaleka okukaafuwala).
28. Kale singa baabataasa abo abaaleka Katonda ne beteerawo ebisinzibwa ebirala ebibasembeza ewa Katonda (ssi bwegwali) wabula baabula era (endowooza yaabwe) eyo kwali kutemerera kwa bwe era nga byali ebyo bye bagunjaawo.
29. Jjukira (gwe Nabbi) bwe twakuleetera ekibinja kya majinni negaba nga gawuliriza Kur’ani, bwe gaatuuka weyali esomerwa ne gagamba nti muwulirize, bwe yamala okusomwa ne gakyusa okudda eri gannaago nga gagalabula (akabi akali mu kujeemera Katonda).
30. Negagamba nti abange bannaffe, mazima ffe tuwulidde ekitabo ekyassibwa oluvanyuma lwa Musa nga kikakasa ebyo ebya kikulembera (nga ddala) kirungamya eri amazima n'eri ekkubo eggolokofu.
31. Abange bannaffe mwanukule omukowooze wa Katonda, era mumukkirize (Katonda), agya kubasonyiwa ebyonoono bya mmwe era abawonye ebibonerezo ebiruma ennyo.
32. Oyo yenna atayanukula mukowooze wa Katonda siwakulemesa Katonda ku nsi, era talina nga oggyeko Katonda bakuumi (basobola kumuwonya) abo, bali mu bubuze obweyolefu.
33. Abaffe mazima Katonda, oyo eyatonda eggulu omusanvu ne nsi, era nga teyakoowa olwokubitonda tebalaba nti asoboleraddala okulamusa abafu! Wewaawo (asobolera ddala, anti) mazima yye muyinza ku buli kintu.
34. Ate olunaku abo abakaafuwala lwe balireetebwa eri omuliro (baligambwa nti) abaffe kino ssi kya mazima!, baligamba nti wewaawo tulayidde Mukama omulabirizi waffe, (Katonda) aligamba nti kale mukombe ku bibonerezo olwebyo bye mwali muwakanya.
35. N’olwekyo (gwe omubaka) gumikiriza nga ababaka abavumu bwe bagumukiriza era tobasabira bibonerezo ku batuukako mangu, naye olunaku lwe baliraba bye balaganyisibwa baliba nga abatawangaala okugyako akaseera katono mu budde obwemisana, (ebyo byonna ebibabuuliddwa) bubaka obutuusiddwa gye muli ate olwo balizikirizibwa okugyako abantu abonoonyi?.