ﯭ
surah.translation
.
ﰡ
1. Ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna bitenda Katonda, obufuzi bwonna n'amatendo gonna bibye, anti ye muyinza wa buli kintu.
2. Yye yooyo eyabatonda nga mu mmwe mulimu abakafiiri na bandi bakkiriza. Lubeerera Katonda alaba bye mukola.
3. Yatonda eggulu n'ensi lwa nsonga. Ekifaananyi kye yabatonderako kye kisingira ddala okuba ekirungi. Era gyali gye mugenda okudda.
4. Amanyi ebiri mu ggulu ne mu nsi, era nga bwa manyi bye mukweka ne bye mwolesa. Anti Katonda amanyi ebiri mu bifuba.
5. Abaffe amawulire gaabo abaakafuwala oluberyeberye lwa mmwe tegaabatuukako, ekyabaviirako okuba nga bakomba ku bukaawu bwo bukafiri bwabwe. Era bagenda kutuukwakwo e bibonerezo ebiruma.
6. Olwe'nsonga nti ababaka baabwe baabaleeteranga obubaka obujjudde obunnyonnyofu, bo ne bagamba nti omuntu obuntu yajja atulungamye! ekyo ne kibakaafuwaza, ne baba nga tebakyayagala kuwulira kikwata ku bubaka, ne Katonda naaba nga takyabeetaaga. Anti Katonda bulijjo talina kye yataaga, era nga bulijjo atenderezebwa.
7. Abatakkiriza Katonda beerimba nga bagamba nti tebagenda kuzuukizibwa. Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad (ﷺ)) nti ssi bwekiri. Ndayira Katonda omulezi wange ddala mujja kuzuukizibwa, oluvanyuma mujja kutegeezebwa ddala ebyo bye mwakola, nekyo nno kyangu nnyo ku Katonda.
8. Kale nno mukkirize Katonda n'omubakawe n'ekitangaala (Kur'ani) kye twassa, ne Katonda bulijjo mumanyi nnyo weebyo bye mukola.
9. Mujjukire olunaku Katonda lwa libakunganya ku lunaku lwe kiyaama, olwo lwe lunaku oluliraga okufaafaganirwa (eri abakafiiri), oyo yenna akkiriza Katonda naakola e mirimu emirungi, Katonda amusangulako ebibibye, era agenda kumuyingiza e jjana ezikulukutiramu e migga, nga baakuzibeeramu lubeerera. Okwo nno kwe kwe siima okuyitirivu.
10. Naye ate abo abaakafuwala ne balimbisa n'ebigambo byaffe, abo nno b'ebantu bo mu muliro, ba kubeera mu gwo olubeerera, eyo nkomerero mbi.
11. Tewali buzibu bwonna butuuka ku muntu okugyako nga Katonda akkirizza, oyo yenna akkiriza Katonda, Katonda alungamya omutimagwe. Mazima bulijjo Katonda mumanyi nnyo wa buli kintu.
12. Mugondere Katonda era mugondere omubakawe. Naye bwe munaayawukana kwe kyo, ye omubaka waffe (tanenyezebwa) obuvunaanyizibwabwe, kwe kutuusa obubaka mu bujjuvu.
13. Katonda ye yekka asinzibwa, abakkiriza bateekwa kwesiga Katonda yekka.
14. Abange mmwe abakkiriza mazima mu bakyala ba mmwe n'abaana ba mmwe mulimu abalabe, n'olwekyo mubeegendereze. Naye bwe mubaddiramu ne mubalekera, ne mubasonyiwa, mazima Katonda muyitirivu waakusonyiwa asaasira ennyo.
15. Mazima e byobugagga bya mmwe n'abaana ba mmwe kikemo, ng'ate ewa Katonda we wali empeera ensukkulumu.
16. Kale nno mutye Katonda nga bwe muba musobodde, muwulire era mugonde, mu ngeri yeemu mugabe ku lwa Katonda, ekyo nno kye kirungi gye muli. Oyo yenna awonyezebwa omulugube gwo mwoyogwe, abo nno be b'okuganyulwa.
17. Singa muwola Katonda oluwola olulungi, alubabalizaamu era n'abasonyiwa ebyonoono bya mmwe, bulijjo Katonda asiima era wa kisa.
18. (Katonda oyo) amanyi ebitalabwako n'ebirabwa, nantalemwa, akola buli kintu nga asinziira ku nsonga.