ﯦ
surah.translation
.
ﰡ
1. Byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi bitendereza Katonda, era yye ye nnantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
2. Bubwe yekka obufuzi bwe ggulu omusanvu n'ensi,awa obulamu era natta, era yemuyinza ku buli kintu.
3. Yye ye yasooka era ow'enkomerero, era yye yaali waggulu wa buli kintu, era yaasooka wansi, nga wansii we tewali kintu kirala, era yye amanyi ebifa ku buli kintu.
4. Yye yooyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi mu nnaku omukaaga, oluvanyuma yatebenkera ku Arish, amanyi ebikka ku nsi nebigifuluma n'ebyo ebikka okuva mu ggulu nebiryambukamu, era yye aba wamu na mmwe wonna wemuba, era Katonda alabira ddala ebyo bye mukola.
5. Bubwe yekka obufuzi bwe ggulu omusanvu n'ensi era eri Katonda ebintu byonna gye bizzibwa.
6. Abuliza ekiro mu musana, era naabuliza omusana mu kiro, era yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba.
7. Mukkirize Katonda n’omubaka we, era mugabe kwebyo bya yabafuula abasigire mu byo, abo nno abakkiriza mu mmwe era ne bagaba, balina empeera ensuffu.
8. Mwabaaki obutakkiriza Katonda ng’ate omubaka abakowoola mube nga mukkiriza Mukama omulabirizi wa mmwe, ate nga yabakozesa endagaano (kwekyo), bwe muba abakkiriza (nga mukyali ku ndagaano gyeyabakozesa).
9. Yye yooyo assa ku mudduwe (Muhammad) ebigambo ebinnyonnyofu, abe nga abagya mu bizikiza mudde eri ekitangaala, era mazima Katonda mukwata mpola ku mmwe, musaasizi nnyo.
10. Mutya bwe mutayinza kuwaayo mu kkubo lya Katonda ng’ate obusika bwe ggulu omusanvu n'ensi bwa Katonda, oyo eyawaayo mu mmwe nga obuwanguzi (bwe Makkah) tebunnabaawo, era nalwana (tayinza) kwenkana ne yakikola oluvanyuma) bali (abasoose) be be ddaala erya waggulu okusingaabo abaawaayo oluvanyuma era ne balwana. Naye nga bonna Katonda yabalagaanyisa (okubasasula) ebirungi, Katonda amanyidde ddala ebyo bye mukola.
11. Ani oyo awola Katonda oluwola olulungi, olwo nno alumubalizeemu, era nga alina empeera eweesa ekitiibwa.
12. Olunaku lwoliraba abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakazi, nga ekitangaala kyabwe kibali mu maaso gaabwe, ne ku mikono gyabwe egya ddyo nga ba Malayika babagamba nti ekyessanyu kya mmwe olwaleero ze jjana nga gikulukutira wansi waazo emigg, muli ba kuzibeeramu obugenderevu, ekyo kyo kwe kwesiima okusukkulumu.
13. (Fumitiriza) olunaku abananfusi abasajja na bannanfusi abakazi lwe baligamba abo abakkiriza, nti mutulinde tulabise ku kitangaala kya mmwe, walirangirirwa nti mudde emabega wa mmwe (gye muvudde) munoonye ekitangaala, olwo nno waliteekwa wakati waabwe ekikomera nga kiriko omulyango, nga munda waakyo (ku ludda eribeera abakkiriza) waliyo okusaasira, ate nga ebweru waakyo (ku ludda eribeera abananfusi) ebibonerezo gyebiriba bisibuka.
14. Balibakowoola (nga bagamba nti mutumma ekitangaala) abaffe tetwali na mmwe, baligamba nti wewaawo, naye mazima mmwe, mwesuula mu bikemo, ne mulindiriza, ne mubuusabuusa ,essuubi ekyavaamu neribagayaaza okutuusa ekigambo kya Katonda lwekyajja era ebigayaaza nebibajja ku Katonda.
15. Kale nno olwaleero temuli ba kuggibwako nunuzi, wadde okugiggya kwabo abakaafuwala (mwenna) obuddo bwa mmwe muliro, ggwo gwe gubagyamu, naye nga buddo bubi.
16. Abaffe ekiseera tekituuse eri abo abakkiriza okuba nga emitima gyabwe gigonda ku lwokwogera ku Katonda, ne ku lwebyo ebyamazima ebisse, baleme kuba nga abo abaweebwa ekitabo (Tauraati ne Injili) oluberyeberye, olwo nno ekiseera ekyayitawo ku bo (wakati waabwe ne ba Nabbi) nekiwanvuwa, emitima gyabwe negikakanyala, era bangi mu bo bonoonyi.
17. Mumanye nti mazima Katonda awa obulamu ettaka oluvanyuma lwokufa (okukala) kwalyo, mazima tubannyonnyodde ebigambo (byaffe) mube nga mutegeera.
18. Mazima abasajja abasaddaaka, na bakyala abasaddaaka, era ne bawola Katonda oluwola olulungi, (bye bawaayo) Katonda abibakubisizaamu, era balina empeera eyekitiibwa.
19. Era abo abakkiriza Katonda n'ababaka be, abo bbo be bakkiriza abannamaddala, na balafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, balina empeera yaabwe n'ekitangaala kyabwe ewa Mukama omulabirizi waabwe, ate abo abakafuwala ne balimbisa ebigambo byaffe, abo be ba nannyini muliro.
20. Mumanye nti mazima obulamu bwensi muzannyo na binyumo, nakwewunda nakwewaana wakati wa mmwe, nakulaga bungi bwa mmaali na baana, (wabula ebyo tebisaana kubuza muntu) anti bifaananako enkuba (emeza ebirime) ebimera byabyo nebisanyusa abalimi, oluvanyuma nebikula, olwo nno noobiraba nga byengedde, oluvanyuma nebifuuka ebisusunku naye mu bulamu obwenkomerero waliyo ebibonerezo ebikakali. (nga era bwe waliyo) ekisonyiwo n’okusiima ebiva ewa Katonda. Obulamu bwensi tebulina kye buli okugyako okuba okweyagala okugayaaza obugayaaza.
21. Muvuganye nga mudda eri ekisonyiwo ekiva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe (era nga mudda), eri e jjana obugazi bwayo bwenkana obugazi bwe ggulu ne nsi nga yategekerwa abo abakkiriza Katonda nababaka be. Ebyo bigabwa bya Katonda, abiwa oyo gwaba ayagadde, era Katonda ye nnyini bigabwa ebisuffu.
22. Tewali kabi kabaawo mu nsi, wadde okutuuka ku mmwe okugyako nga kaali mu kitabo nga tetunnaba ku katuusaawo, ddala ekyo kyangu nnyo ku Katonda.
23. Muleme kukubandeka mwoyo kwekyo ekiba kibasubye, era muleme kusanyuukirira olwekyo kyaba abawadde, Katonda bulijjo tayagala mwerazi omwewulize.
24. (Abantu abo) beebo abakodowala ne bakalaatira n’abantu obukodo, oyo yenna akyuka (naava ku biragiro bya Katonda) mazima Katonda yye yaatali mwetaavu, atenderezebwa.
25. Ddala twatuma ababaka baffe nga baleeta obunnyonnyofu netubassaako ekitabo (nga kirimu amateeka) era netubalagira okukozesa Minzaani, abantu babe nga bayimirizaawo obwenkanya, era netussa (wo) ekyuma nga kirimu amaanyi amasuffu n’emigaso (nfaafa) eri abantu, olwo nno Katonda alyoke amanye oyo amutaasa era nataasa ababaka be, awamu n’okuba nti (Katonda) talabwa. Mazima Katonda wa maanyi, nantakubwa ku mukono.
26. Mazima twatuma Nuhu ne Ibrahim netussa muzadde lyabwe bombi obwa Nabbi n’ekitabo, olwo nno mu bo mulimu omulungamu naye abasinga obungi mu bo bonoonyi.
27. Oluvanyuma twagobereza ku buufu bwabwe ba Nabbi baffe, kwabo twagoberezaako Isa mutabani wa Mariam, netumuwa ne Injil, era twassa mu mitima gyabo abamugoberera okulumiriganwa n'okusaasira, era bakolera ku bu sosodooti bwe baagunjaawo, tetububawandiikangako (wabula bo bwegunjirawo) mbu nga banoonya okusiima kwa Katonda, olwo nno ate tebabukolerako nga bwekyali kyetaagisa okubukolerako, kale netuwa abo abakkiriza mu bo empeera yaabwe, era abasinga obungi mu bo bonoonyi.
28. Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda era mukkirize n’omubaka we, ajja kubawa okusaasira kwe emirundi ebiri, era abateerewo ekitangaala nga kwe mutambulira, era abasonyiwe, bulijjo Katonda musonyiyi nnyo, musaasizi.
29. (Ebyo byonna lwakuba nti) abaweebwa ekitabo babe nga bamanya nti tebalina kintu kyonna ku bigabwa bya Katonda kye balinako buyinza, era bamanye nti ebigabwa byonna biri mu mukono gwa Katonda, abiwa gwaba ayagadde, bulijjo Katonda ye nanyini bigabwa ebisuffu.