ﰉ
                    surah.translation
            .
            
                            
            
    ﰡ
1. Ndayira ekiro bwe kiba kibisse (e nsi).
                                                                        2. Ndayira n'obudde bwemisana bwe buba   nga bwetadde.
                                                                        3. Ndayira oyo eyatonda ekisajja n’ekikazi.
                                                                        4. Mazima ddala okulafuubana kwa mmwe si kwe kumu.
                                                                        5. N'olwekyo, omuntu awaayo ekintu   kyonna ng’atya Katonda.
                                                                        
                                                                                                                
                                    ﯘﯙ
                                    ﰅ
                                                                        
                    6. Nakkiriza e birungi. (ebiva mu kukkiriza   Katonda).
                                                                        
                                                                                                                
                                    ﯛﯜ
                                    ﰆ
                                                                        
                    7. Tujja kumwanguyiza e kkubo erimutuusa   eri obwangu.
                                                                        8. Ate oyo akodowala ne yeegaggasa   (ng’alowooza nti ebiri ewa Katonda   tabyetaaga).
                                                                        
                                                                                                                
                                    ﯣﯤ
                                    ﰈ
                                                                        
                    9. N’alimbisa obubaka obwakkira ku   Nabbi Muhammad.
                                                                        
                                                                                                                
                                    ﭑﭒ
                                    ﰉ
                                                                        
                    10. Tujja kumwanguyiza okutuuka eri     obuzibu.
                                                                        11. N’obugaggabwe tebugenda kumugasa    ng’ayingidde okuzikirira (olw’ebikolwa    bye ebibi)
                                                                        12. Mazima kuli ku ffe okulungamya.
                                                                        13. Era mazima ebikwata ku nkomerero ne    nsi biri mu buyinza bwaffe.
                                                                        14. Mbeekesa omuliro ogubumbujja.
                                                                        15. Taliguyingira okugyako oyo    omwonoonefu ennyo.
                                                                        16. Oyo alimbisa (e bigambo bya Katonda)    n'ayawukana (ku kugondera n'okukkiriza    Katonda).
                                                                        
                                                                                                                
                                    ﭱﭲ
                                    ﰐ
                                                                        
                    17. So nga oyo asinga okutya Katonda, ajja     kugwesambisibwa.
                                                                        18. Oyo awaayo ku by'alina ng’anoonya    okwetukuza eri Katonda (so si bandabe     oba okwatiikirira)
                                                                        19. Nga tewali n'omu alina kiyinza ku musasulwa.
                                                                        20. Wabula okunoonya okusiimwa ewa    mukamaawe owa waggulu ennyo.
                                                                        
                                                                                                                
                                    ﮆﮇ
                                    ﰔ
                                                                        
                    21. Mazima ddala ajja kusiima     (ky’anaasasulwa).