ﯹ
ترجمة معاني سورة الإنسان
باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
.
ﰡ
1. Omuntu tajjukira nti waayitawo ekiseera kinene nga tayogerwako (nga tannatondebwa).
2. Mazima ffe twatonda omuntu nga ava mu kwetabula kwamazzi (ag'omusajja n'omukazi) naye nga waakugezesebwa mu bulamu bwe. Kyetwava tumuwa okuwulira n'okulaba.
3. Mazima ddala twamulaga e kkubo, kiri gyali yeebaza naasinza Katonda omu oba ajeema n'awakanya.
4. Mazima ddala abakafiiri twabategekera enjegere n'amakoligo n'omuliro ogutuntumuka.
5. Mazima abakozi bobulungi bagenda kunywa ekyokunywa nga kitabuddwa mu kafuura.
6. Olwo nno luliba luzzi abaddu b'a Katonda abeeyisa obulungi kwebagendanga okunywa, lugenda kukulukuta nga buli muntu lumutuukako waali.
7. (Bagenda kutuuka kwebyo kubanga) kuno ku nsi baatuukiriza nnaziri zaabwe, era nga batya olunaku olwo obuzibu bwalwo obugenda okubuutikira e nsi n'eggulu.
8. Era bagabira abanaku ne bamulekwa nabasibe emmere awamu n'okuba nti bo bennyini bagyetaaga.
9. Nga bagamba nti mazima tubaliisa lwa Katonda tetubaagalamu mpeera wadde okwebaza.
10. (Ekitukozesa bino lwakuba nti) mazima ddala ffe tutya engeri gye tulisisinkanamu Katonda waffe ku lunaku e byenyi (bya bantu) lwe birijjula emitaafu nga byekabye.
11. N'olwekyo nno Katonda wakubawonya obuzibu bw'olunaku olwo era abawe okutangalijja kwe byenyi awamu n'essanyu.
12. Era wakubasasula olwobugumikiriza, nga abayingiza e jjana omuli ebyambalo bya Siliki (awamu nokuba nti kunsi abasajja baaziyizibwa okumwambala).
13. Balituula mu ntebe ez'omuwendo nga besigamye, tebagenda kutukwako kwokya kwanjuba wadde obutiti.
14. Era nga mulimu emiti egiribakolera ebisiikirize, era nga nebibala byamu bigenda kuba byangu byakunoga.
15. Baligabulirwa ku sowane eza feeza era bakunywera ku girasi ezitemagana.
16. Ziritemegana anti ziriba zaakolebwa mu feeza, ziriba zimala bumazi okubeeramu ekyokunywa ekimalawo obwetaavu bwoyo anywa.
17. Era bagenda kuweebwa eby'okunywa ebiri mu girasi nga bitabulwamu entangawuzi.
18. Eyo nno egenda kuba nsulo mu jjana eyitibwa "Salsabiila".
19. Bagenda kuweerezebwanga abaweereza abolubeerera, nga bwobatunulako bwoti olaba lu'ulu asasanyiziddwa.
20. Buli wonotunulanga mu jjana ng'olaba ebyengera ebisuffu n'obwanannyini obutaliiko kkomo.
21. Baliba bambadde engoye eza Siliki omuweweevu owakiragala ne Siliki omuzito, era bagenda kuba bawundiddwa nebikomo ebya feeza, era Mukama Katonda waabwe agenda kubawa ebyokunywa ebitukuvu.
22. (Baligambwa nti) Mazima ebyo byonna yempeera yammwe, mazima okutegana kwa mmwe kusiimiddwa.
23. Mazima ffe twakussaako Kur'ani (gwe Nabbi Muhammad) olussa.
24. Kale nno beera mugumikiriza ku kugera kwa Katondawo, togezaako okugondera omwonoonyi oba omuwakanyi yenna.
25. Era yogeranga kulinnya lya Mukama Katondawo enkya neggulo.
26. Ne mukiro muvunnamire ng'osaala era omutendereze mu ttumbi ebbanga ggwanvu.
27. Mazima abatakkiriza basinga kwagala birungi byansi ebyamangu, ne basuulayo gwannaggamba ku bikwata ku lunaku lw'enkomerero oluzito.
28. Ffe twabatonda ne tugumya e biyungo byabwe, naye nga bwe tuba twagadde (tuyinza okubazikiriza) ne tuleeta abantu abalala.
29. Mazima obubaka bwa Kur'ani buno kya kwebulirira era nga kyakujjukiza, n'olwekyo aba ayagadde asanye y'eteerewo ekkubo erimutuusa eri Katondawe.
30. Naye ate temusobola kwagala okugyako nga Katonda ayagadde, mazima Katonda lubeerera amanyi, assa buli kintu mussa lyako.
31. Ayingiza oyo gwaba ayagadde mu kusaasirakwe, ate bbo abalyazamanyi yabategekera ebibonerezo ebiruma.