ﰇ
surah.translation
.
ﰡ
1. Ndayira ekibuga kino (Makkah).
2. Nga naawe (Muhammad) oli mutuuze mu kibuga kino.
3. Era ndayira omuzadde ne baazaala.
4. Mazima twakola omuntu nga lubeerera abeera mu kutawaana.
5. Alowooza nti tewali n’omu ayinza ku musobola.
6. Ng’agamba nti nsaasanyiza emmaali nyingi nnyo.
7. Alowooza nti tewali n’omu amulaba.
8. Tetwamuwa amaaso abiri.
ﮨﮩ
ﰈ
9. N’olulimi n’emimwa ebiri.
ﮫﮬ
ﰉ
10. Era ne tumulungamya okumanya amakubo abiri (ery'ekirungi n'ery'ekibi).
11. Kale singa yabikozesa mu kuvvuunuka obizibu (bw'olunaku lw'enkomerero n'aba nga akozesa bye yafuna naafunamu e nkomerero).
12. Abaffe obuzibu obumanyi (n'ekiyinza okubukuyambako)?
ﯘﯙ
ﰌ
13. Kuta muddu.
14. Oba okuliisa mu kiseera eky’enjala;
15. Mulekwa, owooluganda olw’okumpi;
16. Oba omwavu lunkupe.
17. Ate era n’abeera mu abo abakkiriza. Ng’era balaamiragana obugumiikiriza nga bwe balaamiragana okusaasiragana.
18. Abo nno beebo abokubeera ku mukono ogwa ddyo.
19. Naye abo abawakanya e bigambo byaffe baakubeera ku mukono ogwa kkono.
(20) Bagenda kubeera mu muliro omusaanikire.