ﰡ
                                                                                        
                    
                                                                                    1. Okubonaabona okwamaanyi kugenda kubeera ku buli muntu atambuza engambo, ageya banne n'abaggya obumogo.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    2. Oyo akungaanya ebyo bugagga n’abituuma.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    3. Alowooza nti eby'obugaggabye   byakumukuumira ku nsi obugenderevu.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    4. Nedda, ajja kukanyugwa mu muliro oguyitibwa “Hutwama”.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    5. Ye omanyi “Hutwama” kye ki?
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    6. (Hutwama) muliro gwa Katonda    omukume, ogubumbujja.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    7. Ogwo ogwokya negutuukira ddala ku mitima.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    8. Mazima ddala omuliro ogwo (Hutwama) ku bantu abo (abogeddwaako) gugenda   kubabuutikira.