ﰡ
1. Tetwakwanjululiza ekifubakyo (eri obwa Nabbi n’okumanya ebigambo eby’amagezi).
2. Ne tukuwewulira obuzito obwakuliko.
3. Obuzito obwo obwalibadde bukubendula omugongo.
4. Era ne tukuwa okwogerwako.
5. (Kisaana kitegerekeke nti) mazima ddala buli awabeera obuzibu, wabaawo obwangu
6. Mazima ddala buli awabeera obuzibu wabaawo obwangu.
7. Bwoba nga omaze okukola emirimu (egikuyimirizaawo ku nsi) olwo nno yimirira (osinze Katondawo).
8. Era eri Omuleziwo Katonda, gy’oba oteeka e ssuubilyo lyonna.