ﯽ
surah.translation
.
ﰡ
ﭑﭒ
ﰀ
1. (Nabbi Muhammad) azze emitaafu, n’akubayo amabega.
2. Muzibe bw’amujjidde.
3. Ki ki ekikumanyisa ob'olyawo (muzibe oyo) aneetukuza.
4. Oba anaabuulirirwa okubuulira nekumugasa.
5. Oyo eyeegaggawaza nga yeematira.
6. Ate ggwe gwe weemalira?
7. Bw’ateetukuza kiki ekinaakubaako?
8. So ng’oyo akujjidde ng’ayanguwa.
ﭴﭵ
ﰈ
9. Era ng’atya Katonda.
10. Ate ggwe gw’otofaako.
11. Nedda si bwe kyandibadde, mazima yyo (Kur'ani) kya kwe buulirira.
12. Aba ayagadde yeebuulirira nayo.
13. Eri mu biwandiiko eby’ekitiibwa ennyo.
ﮇﮈ
ﰍ
14. Ebigulumizibwa, ebitukuvu.
ﮊﮋ
ﰎ
15. Ebiri mu mikono gya Ba Malayika abawandiisi.
ﮍﮎ
ﰏ
16. Ab'ebitiibwa, abatukuvu.
17. Omuntu yakolimirwa, ki ki ddala ekimuwakanyisa Katonda?
18. (Omuntu talaba) kintu ki Katonda mwe yamutonda?
19. Mu mazzi (e nkwaso) mwe yamutonda n'amugerera (byonna ebiri mutuukako).
20. Oluvanyuma n’amwanguyiza ekkubo ly’okuzaalibwa;
21. Bw’amala n’amutta era n’aziikibwa mu kabbuli.
22. Oluvanyuma alimuzuukiza bwaliba ayagadde.
23. Wabula omuntu tatuukiriza ebyo Katonda by’amulagira okukola.
24. Omuntu ateekwa atunuulire by’alya (emitendera gye biyitamu).
25. Mazima ffe tufuukirira amazzi olufukirira (olusaanidde.)
26. Ne tulyoka twasa ettaka olwasa (olusaanira ebimera).
27. Olwo nno ne tumeza mu lyo e mpeke.
ﯦﯧ
ﰛ
28. E mizabbibu n’ebimera e bizimba omubiri.
ﯩﯪ
ﰜ
29. N’emizayituni n’emitende.
ﯬﯭ
ﰝ
30. N’ennimiro ezisaakaatiddemu (e miti emiwanvu)
ﯯﯰ
ﰞ
31. N’ebibala n’omuddo oguliibwako e bisolo.
32. Bibagase n’ebisolo bya mmwe.
33. Naye okuboggola bwe kuliba kuzze.
34. Olunaku omuntu lwalidduka mugandawe,
ﰀﰁ
ﰢ
35. Ne maamawe, ne kitaawe.
ﰃﰄ
ﰣ
36. Ne mukyalawe, n’abaanabe.
37. Buli muntu ku lunaku olwo ajja kuba ku nsonga emukwatako yekka.
38. Ebyenyi ebimu ku lunaku olwo bigenda kuba byakaayakana.
ﰑﰒ
ﰦ
39. Nga biriko akamwenyumwenyu, nga bisanyufu.
40. Ate ebyenyi ebirala bigenda kuba nga bigubye.
ﭑﭒ
ﰨ
41. Nga ekizikiza kibibisse.
42. Abo nno be baawakanya Katonda, aboonoonyi.