ﯬ
surah.translation
.
ﰡ
1. Abannanfusi bwe bajja gyoli (Ggwe Nabbi Muhammad (ﷺ)) bagamba nti tukkiriza nti mazima ddala ggwe oli Mubaka wa Katonda. Ne Katonda akimanyidde ddala nti mazima gwe oli Mubakawe, ate era Katonda akakasa nti mazima abannanfusi balimba nnyo.
2. Ekyo kulayira kwabwe (nti basiramu) bakifuula ekyokulwanyisa ekibawonya, olwonno ne balyoka baziyiza abantu okuyingira mu ddiini y'a Katonda. Mazima bibi nnyo ebyo bye baali bakola.
3. Ekyo kiri bwe bityo lwa kuba baalangirira obukkiriza n'ennimi za bwe, so nga munda bakafiiri. Olwo nno e mitima gyabwe negiteekebwako envumbo ne babeera nga tebategeera.
4. Bwo batunulako, e mibiri gyabwe gikusanyusa, bwe boogera toyinza butatwala kigambo kyabwe, balinga ebiti ebyesigamiziddwa ku kisenge nga tebiyinza kwetengerera, buli lwonna lwe bawulira akakuba bagamba nti bubakeeredde, abo be balabe, n'olwekyo beegendereze, Katonda yabakolimira, ggwe ate bandivudde batya ku mazima.
5. Singa baba bagambiddwa nti mujje eri omubaka wa Katonda abasabire e kisonyiwo, banyeenya e mitwe n'obalabira ddala nga bajeemye era nga beekuluntazza.
6. Okubasabira e kisonyiwo n'obutabasabira byonna bifaanana, Katonda tagenda kubasonyiwa, anti Katonda talungamya bantu boononyi.
7. Be bamu be bo abagamba nti temuwaayo kintu kyonna eri abo abali awamu n'omubaka wa Katonda okutuusa lwe banamwabulira. So nga amawanika g'omuggulu n'ensi gonna ga Katonda. Naye mazima abananfusi tebategeera.
8. Baatuuka n'okugamba nti bwe tunadda e Madinah (okuva mu lutalo lwa ba Bani Al Mus-twalik) abasinga okuba ab'ekitiibwa bajja kugoba mu (Madinah) abanyoomebwa. So nga e kitiibwa n'obuwanguzi bya Katonda n'omubakawe n'abakkiriza naye mazima abananfusi tebamanyi.
9. Abange mmwe abakkiriza, ebyo bugagga byamwe n'abaana bamwe tebibawugulanga ne bibajja ku kwogera ku Katonda, oyo yenna akikola, abo nno be bokufaafaaganirwa.
10. Era mugabe kwe byo bye twabawa walumbe nga tannatuuka ku omu ku mmwe, naatuuka okulaajana nga agamba nti, ayi mukama omulezi wange singa ondeseewo akabanga ne nsadaakako era ne mbeera mu balongoofu.
11. Sso nga Katonda tagenda kulindiriza mwoyo gwonna entuuko yaagwo bweriba nga etuuse, Katonda bulijjo muyitirivu w'akumanya ebyo byonna bye mukola.