ﰅ
surah.translation
.
ﰡ
1. Abaffe wali ofunye okunyumizibwa ku kibuutikira (eky’olunaku lw'enkomerero)?
2. Olunaku olwo ebyenyi bigenda kuba nga biswavu.
ﮆﮇ
ﰂ
3. Nga bitawaana, nga bikoowu.
4. Nga byesonseka omuliro ogwengeredde.
5. Bigenda kunywesebwa ku luzzi olweseze.
6. (Abantu abo) tebagenda kubeera na kya kulya kyonna okugyako e miti egy’amaggwa.
7. Egitaliimu kiriisa wadde okuwonya e njala.
8. Ebyenyi e birala bigenda kubeera mu byengera.
ﮤﮥ
ﰈ
9. Bigenda kusiima olw’okutakabana kwa byo.
10. Nga biri mu jjana ey’awaggulu.
11. Togenda kuwulira mu yo bigambo bya butaliimu.
12. Mu jjana mulimu e nsulo e zikulukuta.
13. Era nga mulimu ebitanda ebisitufu (Ebiwunde).
ﯙﯚ
ﰍ
14. N’ebikopo ebinywerwamu ebitegekeddwa.
ﯜﯝ
ﰎ
15. N’emitto egisimbiddwa ennyiriri.
ﯟﯠ
ﰏ
16. N’ebyaliiro nga byanjuluziddwa.
17. Abaffe tebatunuulira (olutunuulira olw’okuyiga) engamiya ngeri ki bwe yatondebwa?
18. N’eggulu nga bwe lyasitulwa!
19. N’ensozi engeri gye zaasimbwamu?
20. N’ensi engeri gye yaseetezebwamu.
21. Kale nno buulirira gwe (Nabbi Muhammad) kubanga oli mubuulirizi.
22. Toliiwo kubakaka.
23. Naye abo abanaava ku bigambobyo ne bajeema.
24. Katonda agenda okubabonereza e bibonerezo e bisinga okuba e bikakali.
25. Mazima ddala gyetuli y’eri obuddo bwabwe.
26. Oluvanyuma ddala okubalibwa kwabwe kuli ku ffe.