ﰡ
                                                                                        
                    
                                                                                    1. Ndayira ekibala ekiyitibwa Tiin n’ekibala ekiyitibwa Zaitun.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    2. Era ndayira olusozi lw’e Sinai.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    3. Nakino e kibuga (Makkah) eky’emirembe
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    4. Mazima twakola omuntu mu kifaananyi e kisinga okuba ekirungi.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    5. Ate oluvanyuma tumuzzaayo wansi mu ddaala erisembayo.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    6. Okugyako abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi, bagenda kufuna e mpeera etalina kkomo.
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    7. Bwekiba bw'ekityo (ate gwe omuntu) olimbisa otya olunaku lw'enkomerero. 
                                                                         
                                                                                                                                        
                    
                                                                                    8. Tolaba nti Katonda ye Mulamuzi asinga okuba omwenkanya era owamazima!?.