سورة الفرقان

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية

ترجمة معاني سورة الفرقان باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية

1. Musukkulumu oyo eyassa Kur’ani ku mudduwe eyawula wakati w'amazima n'obulimba alyoke abeere omutiisa eri ebitonde.
4. Abaakaafuwala bagamba nti ebigambo (bya Muhammad) tebirina kye biri okugyako okuba nti bulimba bwe yagunjaawo, era abantu abalala ne bamuyamba ku bwo, olwo nno ne baba nga baleese okweyisa obubi n'okutemerera.
5. Era ne bagamba nti (byayogera) nfumo z'abaasooka, yasaba ne zimuwandiikirwa olwo nno zimusomerwa enkya n'eggulo.
9. Laba engeri gye bakukubira ebifaananyi, olwo nno ne babula, n'olwekyo tebayinza kufuna kkubo libazza (ku mazima).
11. Wabula (ekibaleetera obuzibu kwe kuba nti) balimbisa olunaku lw'enkomerero, ate nga twategekera abalimbisa olunaku lw'enkomerero omuliro Saira.
13. Bwe balisuulibwa mu gwo, nga buli omu asuulibwa mu kifo ekifunda nga balijjiddwa, olwo nno balikaaba yaaye.
22. Olunaku lwe baliraba ba Malayika tewaliba mawulire ga ssanyu ku lunaku olwo eri aboonoonyi, era (ba Malayika) baligamba nti: kikafuuwe tekigenda kubaawo (omu ku mmwe okuyingira (e jjana).
آية رقم 24
24. Abantu b'o mu jjana ku lunaku olwo be baliba n'obutuulo obulungi, era be baliba n'ebifo ebirungi ebiwummulirwamu.
آية رقم 25
25. N'olunaku eggulu lwe liriyatikamu ne riba nga lijjudde ebire, era ba Malayika ne bassibwa olussibwa.
26. Obufuzi obwa nnamaddala ku lunaku olwo buliba bwa Mukama Katonda ow'ekisa ekingi, lugenda kuba lunaku luzito nnyo ku bakaafiiri.
30. Omubaka aligamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, mazima abantu bange Kur’ani eno baagifuula kifulukwa.
آية رقم 33
33. Tebalina lwe bakuleetera kyakulabirako wabula nga tukuleetera amazima n'ennyinyonnyola esinga obulungi.
34. Abo abaliwalulirwa ku byenyi bya bwe nga batwalibwa mu muliro Jahannama, abo be bali mu kifo ekisinga obubi era be basinga okubula okuva ku kkubo.
36. Netugamba nti mwembi mugende eri abantu abaalimbisa ebigambo byaffe, olwo nno ne tubazikiriza oluzikiriza.
آية رقم 38
38. Era twazikiriza abantu ba A’di, n'aba Thamud, era ne ba nannyini luzzi, era netuzikiriza n'abantu b'emirembe emirala mingi wakati w'abo.
آية رقم 39
39. Buli mulembe ku egyo twabakubiranga ebifaananyi (ebyabo abaabasookawo), era buli bamu ku abo twabazikiriza oluzikirira (olw'obugyemu bwa bwe).
40. (Abagatta ku Katonda ebintu ebirala ab'e Makkah baali batambula e gendo zaabwe) mazima baatuuka mu kitundu ekya fukumulwako ebibonerezo ebibi (amayinja agaakuba ab'omulembe gwa Luutu). Abaffe baali tebakiraba (ne beebuulirira) wabula baali tebasuubira kuzuukira.
41. Era bwe baba bakulabye tebalina ngeri gye bakulaba okugyako ekyokujeeja obujeeja (nga bwe bagamba) nti ono yooyo Katonda gwatumye nga Mubaka!.
45. Abaffe tolaba Mukama omulabiriziwo engeri gyawanvuyaamu ekisiikirize, singa yayagala yaali kirese nga kiyimiridde mu kifo kimu, ate twafuula enjuba nga y'eraga okubaawo n'okutambula kw'ekisiikirize.
آية رقم 46
46. Bwe tumala tukikwata ne tukiggyawo nga tukiggyawo mpola mpola.
47. Era yye (Katonda) yooyo eyabateerawo ekiro nga kibikka, naabateerawo n'okwebaka nga kuwummula naateekawo obudde obw'emisana nga mwe musaasaanira (olw'okunoonya eky'okulya).
50. Era mazima twaginnyonnyola (Kur’ani) mu bo babe nga beebuulirira wabula abantu abasinga obungi ne bagaana era nebakalambirira ku bukaafiiri.
آية رقم 51
51. Singa twayagala buli kitundu twandikitumidde omutiisa, (naye twasalawo obeere omubaka eri bonna).
آية رقم 52
52. N'olwekyo togondera bakaafiiri (kozesa Kur’ani) obalwanyise olulwana olw'amanyi.
53. Era (Katonda) yooyo eyagatta amazzi ag'ennyanja ebbiri (ez'enjawulo), gano malungi nnyo era nga ganywebwa ate nga gali g'amunnyu teganywebwa, era yassa wakati wa gombi ekyawula era ekiziyiza ekigagaana okwetabula.
55. (Ate abantu balekawo Katonda) ne basinza ebintu ebirala ebitali Katonda ebyo ebitabagasa era ebitayinza kubatuusaako kabi, era bulijjo omukaafiiri ayamba Sitane mu kulwanyisa Mukama omulabiriziwe.
60. (Abakaafiiri) bwe bagambibwa nti muvunnamire omusaasizi ow'ekisa ekingi (Katonda), bagamba nti omusaasizi ow'ekisa ekingi oyo yaani! Tumale gavunnamira oyo gwotulagira (nga tetumanyi) ne kibongera kwesamba (ddiini).
آية رقم 64
64. Era beebo kulwa Mukama omulabirizi waabwe abasula nga bavunnama era abayimirira (nga basaala).
آية رقم 69
69. (Si kye kyokka wabula) ebibonerezobye bigenda kubazibwamu ku lunaku lw'enkomerero era waakubituulamu obugenderevu mu ngeri enyoomesa.
71. Omuntu yenna ayeenenya naakola emirimu emirungi, mazima yye aba yeemenyedde Katonda olw'emenya olwannamaddala.
72. (Abaddu ba Katonda) era beebo tebawa bujulizi ku bigambo bya bulimba, era bwe bayita mu bifo omukolerwa ebitali bya magezi bayitawo nga beewa ekitiibwa.
74. Era beebo abagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, tuwe nga oggya mu betwafumbiriganwa nabo era nga oggya ne mu zadde lyaffe ekitebenkeza amaaso gaffe, era otufuule abakulembeze baabo abakutya.
75. Abo nno bagenda kusasulwa nga baweebwa ebifo bya waggulu olw'obugumiikiriza bwe baakola. Nga bali mu byo bagenda kuweebwa ebiramuso ne ssalaamu (eziriva mu ba Malayika).
77. Bagambe (ggwe Muhammad abo abawakanya Katonda) nti Katonda talina kimutawaanya lwa kuba nti temumusaba, mazima mwalimbisa era mu bwangu mujja kutuukibwako e bibonerezo ebyakakata edda ku mmwe.
تقدم القراءة