سورة الأحقاف

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية

ترجمة معاني سورة الأحقاف باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية

آية رقم 2
2. Okussa kwe kitabo (Kur’ani) kwava wa Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
3. Tetwatonda eggulu omusanvu ne nsi nebyo ebiri wakati wa byombi wabula mu butuufu (nga bwe kisaana okuba nga ddala Katonda yaabikoze), era nga byakubeerawo okumala ekiseera ekigere, wabula bo abakaafuwala besamba ebyo bye batiisibwa (bye babulirirwa) nabyo.
6. Ng’ate abantu bwe balikunganyizibwa (be baasaba nga) bagenda kuba balabe baabwe era bagenda kwewakana okuba nti ba basinzanga.
10. Bagambe nti abaffe mulaba nti singa (Kur’ani) eva wa Katonda ate mmwe nemugiwakanya, naye nga omujulizi mu baana ba Israil yajulira ku kiringa yo (nti kiva wa Katonda) olwo nno yye) nakkiriza ate mmwe ne mwekuluntaza (olwo mu mbeera eyo kiba kitya), mazima bulijjo Katonda talungamya bantu beeyisa bubi.
12. Nga noluberyeberye lwayo (waliyo) ekitabo kya Musa nga kyagobererwa nga kya kusaasira n'ekitabo kino (Kur’ani kyajja nga) kikakasa (ebyakulembera) nga kiri mu lulimi luwarabu, kibe nga kirabula abo abeeyisa obubi era nga kya kusanyusa eri abalongoosa.
13. Mazima abo abagamba nti Mukama omulabirizi waffe ye Katonda, oluvanyuma ne babeera beesimbu (mu ddiini) tebagenda kutuukwako kutya era tebagenda kunakuwala.
15. Omuntu twamulagira okuyisa obulungi bakaddebe, nnyina yamwetikka (yali lubuto lwe) mu buzibu era namuzaala mu buzibu, nga olubuto lwe (n'okumuyonsa) n'okumujja ku mabeere emyezi makumi asatu, okutuusa lwatuuka okukakata kwe naaweza emyaka amakumi ana (omuntu mulamu) agamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nsobozesa okwebaza ebyengera byo ebyo bye wangabira ,ne bye wagabira bakadde bange bombi era mbe nga nkola emirimu emirongoofu gyosiima, era nongooseza ezzadde lyange mazima nze nenenyezza nenzira gyoli era mazima nze ndi wa mu basiraamu.
17. Nooyo yenna agamba bakadde be nti mutwale eri, muntiisatiisa nti nja kuzuukizibwa, so ng’ate emirembe mingi egiyiseewo oluberyeberye lwange (ani yali azuukidde), nga bakadde bombi basaba Katonda abayambe, era nga bamugamba (omwana) nti obula! (kyolina okukola) kkiriza, mazima endagaano ya Katonda ya mazima. Olwo nno yye (omwana) agamba nti ebyo tebiri okugyako okuba enfumo za baakulembera.
19. Era buli omu alina amadaala okusinziira kwebyo bye bakola era ddala (Katonda) agenda kubawa empeera etuukana n'emirimu gyabwe era bo ssi ba kuyisibwa bubi.
21. Era bajjukize (ggwe Nabbi Muhammad) muganda wa A’di (Hudu) bwe yalabula abantu be abaali mu bifo ebijjuddemu entuunu z'omusenyu (gyoli nti nsozi) era nga okulabula kungi okwayita oluberyeberye lwe n'oluvanyuma lwe, (nga ababaka bonna baali bagamba nti) temusinzanga okugyako Katonda (era) mazima nze ntya okuba nga mutuukwako ebibonerezo by'olunaku oluzito.
22. Nebagamba nti abaffe otujjidde otuwugule ku ba Katonda baffe! (bwekiba bwe kityo), kale tutuuseeko kyotulagaanyisa bwoba nga oli mu boogera amazima.
23. Naabagamba nti mazima okumanya (ddi? lwe kiribatuukako) kuli eri Katonda era (nze) mbatusaako ebyo bye natumwa nabyo, naye mazima nze mbalaba nga muli bantu abatamanyi.
24. Naye bwe baakiraba nga (kire) ekyetimbye (ku ggulu), nga kyolekedde ensenyi zaabwe, baagamba nti ekyo ekire ekyetimbye kigenda kutuwa nkuba, wabula nedda kyo kyekyo kye mubadde musaba kibatuukeko mangu (kyo) mpewo (kikungunta) erimu e bibonerezo e biruma ennyo.
25. Ejja kuzikiriza buli kintu kyonna okusinziira ku kiragiro kya Mukama omulabirizi waayo, olwo nno nebatuuka okuba nga tewali kirabwa okugyako amayumba gaabwe, bwetutyo bwe tusasula abantu abonoonyi.
27. Era mazima twazikiriza ebitundu ebyo ebibeetolodde, era netunyonyola ebigambo oba olyawo nebadda (nebaleka okukaafuwala).
29. Jjukira (gwe Nabbi) bwe twakuleetera ekibinja kya majinni negaba nga gawuliriza Kur’ani, bwe gaatuuka weyali esomerwa ne gagamba nti muwulirize, bwe yamala okusomwa ne gakyusa okudda eri gannaago nga gagalabula (akabi akali mu kujeemera Katonda).
34. Ate olunaku abo abakaafuwala lwe balireetebwa eri omuliro (baligambwa nti) abaffe kino ssi kya mazima!, baligamba nti wewaawo tulayidde Mukama omulabirizi waffe, (Katonda) aligamba nti kale mukombe ku bibonerezo olwebyo bye mwali muwakanya.
تقدم القراءة