سورة العلق

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية

ترجمة معاني سورة العلق باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية

آية رقم 1
1. Soma ng'otandika ne linnya lya mukamawo oyo eyatonda (buli kintu).
آية رقم 3
3. Soma, kuba Omulezi wo (Katonda) ye mugabi asinga.
آية رقم 4
4. Oyo eyayigiriza omuntu okuwandiika n'ekkalaamu.
آية رقم 7
7. Olw’okweraba nti yeemalirira (olw’ebyo by’aba alina).
آية رقم 8
8. Ng’ate Mazima ddala eri Omuleziwo (Katonda) y’eri obuddo.
آية رقم 10
10. (Agaana) omuddu wa Katonda bw’aba ng'asaala.
آية رقم 12
12. Oba bwaba alagidde abantu okutya Katonda.
آية رقم 13
13. Olaba oyo (agaana asaala) bw'alimbisa n'akyuka okuva ku mazima.
آية رقم 14
14. Abaffe tamanyi (oyo alimbisa) nti Mazima Katonda alaba ebyo (by’akola).
آية رقم 15
15. Nedda bw’anaaba teyeekomyeko (ku bikolwa ebyo) tujja kumuwalula nga tumukutte ku kawompo.
آية رقم 16
16. Akawompo ako akajjudde obulimba n’obusobya.
آية رقم 17
17. Kale ayitanga abali mu kinywi kye (eky’obujeemu bamutaase).
آية رقم 18
18. Naffe tujja kukoowoola ba Malayika abakambwe abakuumi b’omuliro (abatuusa ebibonerezo ku bajeemu).
آية رقم 19
19. Nedda (Owange Nabbi Muhammad) togonderanga omuntu ng’oyo. Vunnama (ng'osinza) Katonda era weeyongere okusembera gy'ali.
تقدم القراءة