سورة الغاشية

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية

ترجمة معاني سورة الغاشية باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية

آية رقم 1
1. Abaffe wali ofunye okunyumizibwa ku kibuutikira (eky’olunaku lw'enkomerero)?
آية رقم 2
2. Olunaku olwo ebyenyi bigenda kuba nga biswavu.
آية رقم 3
3. Nga bitawaana, nga bikoowu.
آية رقم 4
4. Nga byesonseka omuliro ogwengeredde.
آية رقم 6
6. (Abantu abo) tebagenda kubeera na kya kulya kyonna okugyako e miti egy’amaggwa.
آية رقم 8
8. Ebyenyi e birala bigenda kubeera mu byengera.
آية رقم 9
9. Bigenda kusiima olw’okutakabana kwa byo.
آية رقم 12
12. Mu jjana mulimu e nsulo e zikulukuta.
آية رقم 13
13. Era nga mulimu ebitanda ebisitufu (Ebiwunde).
آية رقم 14
14. N’ebikopo ebinywerwamu ebitegekeddwa.
آية رقم 15
15. N’emitto egisimbiddwa ennyiriri.
آية رقم 16
16. N’ebyaliiro nga byanjuluziddwa.
آية رقم 17
17. Abaffe tebatunuulira (olutunuulira olw’okuyiga) engamiya ngeri ki bwe yatondebwa?
آية رقم 21
21. Kale nno buulirira gwe (Nabbi Muhammad) kubanga oli mubuulirizi.
آية رقم 24
24. Katonda agenda okubabonereza e bibonerezo e bisinga okuba e bikakali.
آية رقم 25
25. Mazima ddala gyetuli y’eri obuddo bwabwe.
آية رقم 26
26. Oluvanyuma ddala okubalibwa kwabwe kuli ku ffe.
تقدم القراءة