ﮞ
surah.translation
.
ﰡ
1. Ebitendo byonna bya Katonda oyo eyassa ku mudduwe (Muhammad) ekitabo (Kur’ani) naatakiteekamu bukyamu bwonna.
2. Wabula nga kyesimbu abe nga atiisa nakyo ebibonerezo ebikakali ebiva gyali era awe nakyo amawulire ag'essanyu abakkiriza abo abakola emirimu emirongoofu (nga abategeeza) nti mazima balina empeera ennungi.
3. Baakugibeeramu olubeerera.
4. Era atiise abo abagamba nti Katonda yeeteerawo omwana.
5. Kye batalinaako kumanya kwonna wadde bakadde baabwe, kibi nnyo ekigambo ekiva mu mimwa gya bwe. Bye boogera temuli okugyako bulimba bwereere.
6. Olw'okunnyolwa, olabika nga obula kwetta ku lwa bwe olw'okuba tebakkiriza bigambo bino.
7. Mazima ffe twassa ku nsi ebigiriko nga bya kuginyiriza olwo nno tubagezese ani asinga okukola ebirungi.
8. Mazima ffe tugenda kufuula ebigiriko ettaka ekkalu.
9. Oba olowooza nti ddala abantu bo mu mpuku, n'ekiwandiiko ekibakwatako baali baakyewunyo nnyo okusinga eby'amagero byaffe ebirala.
10. Mu kiseera abavubuka bwe beewogoma mu mpuku nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tuwe okusaasira okuva gyoli era otwanguyize ensonga yaffe gye tuliko otuwe obulungamu.
11. Netukuba ku matu gaabwe (ekibikka) nga bali mu mpuku (nebeebaka) emyaka mingi.
12. Oluvanyuma twabazuukusa kimanyike nti, kiriwa ku bibiina ebibiri ekisinga okwogera ekituufu ku bbanga lye baamalamu.
13. Mazima ffe tukunyumiza ekyafaayo kya bwe mu butuufu, mazima bo baali bavubuka abakkiriza Mukama omulabirizi waabwe era netubongera obulungamu.
14. Era twasiba ekimyu ku mitima gyabwe bwe baayimirira (mu buvumu) nebagamba nti Mukama omulabirizi waffe ye Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi, n'olwekyo tetuyinza ku mulekawo ne tusaba Katonda mulala yenna era bwe tukikola mazima tuba twogedde ekigambo ekibi.
15. Abo abantu baffe baamulekawo (Katonda) nebeeteerawo ba katonda abalala, kale nno singa babaleetako obujulizi obweyolefu, naye ani eyeeyisa obubi okusinga oyo agunja ku Katonda ebigambo eby'obulimba.
16. Bwe mwabaawukanako nemwawukana ne ku bye basinza, nga oggyeko Katonda (Omu) olwo nno mugende mu mpuku Mukama omulabirizi wa mmwe ajja kubanjuliriza okumu ku kusaasirakwe era ajja kubateerawo okulumirwa ekigambo kya mmwe.
17. Awo nno walabanga enjuba bwe yavangayo nga ekyuka nga eva ku mukono ogwa ddyo ogw'e mpuku yaabwe, ate nga bwegwa nga ebaleka ku mukono ogwa kkono nebaba nga beetaayiza mu bugazi bw'empuku ekyo kamu ku bubonero bwa Katonda (ku buyinza bwe nobusobozibwe) oyo yenna Katonda gwalungamya yye yemulungamu ate oyo gwaba abuzizza toyinza kumufunira muyambi amulungamya.
18. Era (bwe wabalaba nga) nga osuubira nti tebeebase so nga beebase nga tubakyusa ku ddyo ne ku kkono nga n'embwa yaabwe egolodde emikono gyayo nga eri ku mulyango (gw'empuku) nga singa obakubako eriiso waalikyuse noobadduka era wandijjudde okubatya.
19. Era bwe tutyo twabazuukusa babe nga beebuuzaganya wakati waabwe (ku kyabatuukako) omwogezi omu ku bo naagamba nti wano mumazeewo bbangaki? nebagamba nti tumazeewo lunaku oba kitundu kya lunaku nebagamba nti Mukama omulabirizi wa mmwe yaasinga okumanya ebbanga lye mumazeewo kale mutume omu ku mmwe, agende mu kibuga ne Sente zammwe zino alabe mmere ki esinga obulungi eriyo abaleetereyo ku yo eky'okulya, wabula atambule nga yeegendereza tewali muntu n'omu asaanidde kubamanya.
20. Anti mazima bo bwe banaabazuula bajja kubakuba amayinja oba ssi ekyo babazzeeyo mu ddiini yaabwe olwo nno temugenda kwesiima olubeerera.
21. Nabwetutyo twasobozesa abantu okubazuula olwo nno bamanye nti mazima endagaano ya Katonda ya mazima, era bamanye nti mazima essaawa (esembayo) teriimu kubuusabuusa. (Era) jjukira (abakaafiiri ) bwe baakaayana ku nsonga yaabwe (abamu), nebagamba nti mubazimbeko ekizimbe, Mukama omulabirizi waabwe y'asinga okumanya ebibakwatako, ate abalina ekigambo ekisinga obulungi nebagamba nti tujja kubazimbako omuzikiti.
22. (Abantu abamu) bajja kugamba nti baali basatu, nga embwa yaabwe yaakuna, abamu bagambe nti baali bataano nga embwa yaabwe yamukaaga nga kujweteka ku byebatamanyi. Abalala bajja kugamba nti baali musanvu nga embwa yaabwe ya munaana gamba nti Mukama omulabirizi wange y'asinga okumanya omuwendo gwabwe, tewali abamanyi okugyako bantu batono, n'olwekyo towakana ku bibakwatako okugyako okuwakana okwokungulu era tewebuuzanga ku muntu yenna ku nsonga ebakwatako.
23. Era togambanga ku kintu kyonna, nti mazima nze ngenda kukikola enkya.
24. Okugyako nga ogasseeko nti Katonda bwanaaba ayagadde, era yogera ku Mukama omulabiriziwo wooba nga weerabidde, era gamba nti nsuubira nti Mukama omulabirizi wange ajja ku nnungamya eri obujulizi obusinga ku buno, (eky'abavubuka bo mu mpuku okulaga obwa Nabbi bwange).
25. Era baatuula mu mpuku yaabwe emyaka bikumi bisatu (ku mbala ey'enjuba) ate nebeeyongera mu mwenda (kumbala ey'omwezi).
26. Gamba nti Katonda y'asinga okumanya ebbanga lye baamalamu, yekka y'amanyi ebyekusifu by'omu ggulu omusanvu n'ensi, weewuunye okulaba kwe n'okuwulira kwe (okuba nti byetoolodde buli kintu, n'olwekyo) tebalina nga oggyeko yye (Katonda) mutaasa. Era mu kusalawo kwe teyeegatta na muntu mulala yenna ( wabula bulijjo asalawo yekka).
27. Era soma ebyo ebyassibwa gyoli nga bya mu kitabo kya Mukama omulabiriziwo tewali akyusa bigambobye era togenda kufuna buddukiro etali wuwe.
28. Wenyweze nga obeera wamu n'abo abasaba Mukama Omulabirizi waabwe enkya n'olweggulo nga baluubirira kuba ku luddalwe, tobaggyako amaaso (nootunuulira babinojjo) nga ogenderera kufuna eby'okwewunda by'obulamu bwensi, era togondera oyo yenna gwe twagayaaza omutimagwe naatatwogerako naagoberera okwagalakwe embeera ye yonna neeba bwonoonyi.
29. Gamba nti gano ge mazima agavudde ewa Mukama omulabirizi wa mmwe kale ayagala akkirize n'anayagala akaafuwale, mazima ffe abeeyisa obubi twabateekerateekera omuliro, lugenda kubeetoolola olugo lwa gwo, buli lwe banaasabanga okuweebwa amazzi balinywesebwa amazzi agalinga olutabu lw'ekyuma olulyoka ebyenyi. Kiriba kya kunywa kibi era nga n'obutuulo buliba bubi.
30. Mazima abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu mazima ffe tetugenda butasasula mpeera y'oyo eyalongoosa emirimu.
31. Abo nno bagenda kufuna e jjana ey'olubeerera nga emigga gikulukutira wansi waabwe. nga bali mu yo baliba beesigamye, nga batudde ku ntebe ensitufu, eyo nno mpeera nnungi era nga n'obutuulo buliba bulungi.
32. Era bakubire ekifaananyi ky'abasajja babiri nga omu ku bo twamuwa ennimiro bbiri eze Nzabibu zetwassaako olukomera olw'emitende, ate wakati waazo netussaamu ebirime ebirala.
33. Ennimiro zombi zaabala bulungi, tewali katundu kataabala, era nga twassa wakati waazo emigga.
34. (Omu ku basajja ababiri) naaba nga afunye amakungula (amalungi) naagamba munne nga anyumya naye nti nze nkusinza emmaali era nga bwe nkusinza abantu.
35. Olwo nno naayingira ennimiro yye nga yeeyisizza bubi yennyini, naagamba nti sirowooza nti bino biyinza okuggwawo.
36. Era nga bwe ssirowooza nti essaawa ey'enkomerero egenda kubaawo (katugambe nti kibaddewo) bwe ndizzibwa ewa Mukama omulabirizi wange ngenda kufuna ebisinga obulungi ku bino.
37. Munne naamuddamu nga amugamba nti owakanyizza oyo eyakutonda nga akuggya mu ttaka oluvanyuma naakuggya mu mazzi agazaala oluvanyuma naakukola nga oli Muntu omujjuvu.
38. Naye nze ngamba nti mazima yye Katonda ye Mukama omulabirizi wange era siyinza kugatta ku Mukama Mulabirizi wange mulala yenna.
39. Kale singa ggwe bwe wabadde oyingira ennimiroyo wagambye nti: ekyo kyonna Katonda kyaba ayagadde kyekiba, tewali maanyi okugyako nga Katonda y'agagabye, newaakubadde nga ondaba nga nze nnina emmaali ntono n'abaana batono obutenkana ggwe.
40. Nina essuubi nti Mukama omulabirizi wange lumu alimpa ebirungi okusinga ennimiroyo ate naasindikira eyiyo kibuyaga okuva waggulu neekeesa enkya ttaka jjereere.
41. Oba amazzi gaamu negafuuka gakkekwa n'oba nga tosobola kugazuula.
42. Era ebibalabye byatuukwako obuzibu, nebukya nga akuba mu bibatubye olw'okufiirwa ebyo bye yassaamu, nga alaba ennimiro ebutamidde ku birimba byayo naagamba nti: zinsanze nze, singa saagatta kintu ku Mukama omulabirizi wange.
43. Nga oggyeko Katonda yali tayinza kufuna kibinja kimutaasa nga naye bwe yali tasobola kwetaasa.
44. Awo obwesige bwonna bwalina kubeera mu Katonda ow'amazima yekka, anti bulijjo yye yaasinga empeera ennungi, era y'alina enkomerero esinga obulungi.
45. Era bakubire ekifaananyi eky'obulamu obw'ensi bulinga amazzi getutonnyesa okuva waggulu, nebyetabula nago ebimera byo ku nsi (olwo nno) nebikula nebikungulwa nebifuuka ebisusunku nga empewo ebikunguzza. Bulijjo Katonda ku buli kintu muyinza.
46. Emmaali n'abaana byakwewunda bya bulamu bwansi, emirimu emirungi egisigalawo gye gisinga obulungi ewa Mukama omulabiriziwo, okuba nga ye mpeera era nga lye ssuubi erisinga obulungi.
47. Era (fumiitiriza ku) lunaku lwe tulitambuza ensozi olwo nno oliraba ensi nga njereere era tulibakunganya bonna, tetugenda kusubwa n'omu yenna.
48. Olwo nno balyanjulwa ewa Mukama Omulabiriziwo nga bali mu nnyiriri (Katonda aligamba nti) mazima muzze gye tuli nga bwe twabatonda ku mulundi ogwasooka naye mwalowooza nti tetwali baakubateerawo kiseera kigere.
49. Ekitabo kya buli omu kigenda kuleetebwa olwo nno noolaba aboonoonyi nga batya olw'ebyo ebikirimu, baligamba nti: nga tulabye kitabo kya ngeriki kino! Tekirekaayo katono oba kinene okugyako nga kikikomekkereza, bagenda kusanga nga buli kye baakola weekiri. Mukama omulabiriziwo tagenda kulyazaamaanya muntu yenna.
50. Era jjukira bwe twagamba ba Malayika nti muvunnamire Adam nebamuvunnamira okugyako Ibuliisu (Sitane) eyali owo mu Majinni olwo nno naayawukana ku kiragiro kya Mukama omulabiriziwe, abaffe ate mmwe oyo gwe mufuula n'ezaddelye abataasa ba mmwe (nze) Katonda nemunvaako ate nga bo balabe ba mmwe, nga okwo kuwanyisiganya kubi abeeyisa obubi kwebakola.
51. Sibayitanga kubaawo nga eggulu omusanvu ne nsi bitondebwa wadde okutondebwa kwabwe era sibangako waakweteerawo ababuza nga be bayambi (bange).
52. Era (mufumiitirize) olunaku (Katonda) lwalibagamba nti muyite be mwangattako abo be mwagambanga (nti nabo ba katonda) olwo nno bali bayita nebatabaanukula era netussa wakati waabwe ekibaawula.
53. Aboonoonyi baliraba omuliro, olwo nno bagenda kumanyira ddala nti mazima bo baakugugwamu era tebagenda kufuna buwonero bwonna ku gwo.
54. Mazima tunnyonnyodde abantu mu Kur’ani eno (nga tukozesa) buli kifaananyi mazima omuntu y'asinga ebintu byonna okuwalaaza empaka.
55. Tewali kyagaana bantu kukkiriza obulungamu bwe bwabajjira, era teri kyabagaana kwegayirira Mukama omulabirizi waabwe, mpozzi nga baali balindirira kujjirwa ekyo ekyatuuka ku baasooka oba ebibonerezo bibajjire babirabe lwatu.
56. Era tetwatuma babaka okugyako lwa kuwa mawulire agasanyusa (eri abakozi b'obulungi), era nga bawa amawulire agatiisa (eri abakozi b’obubi), abo abaakaafuwala bawakana mu bukyamu nga bagenderera okugyawo nabwo amazima, ebigambo byange (n'ebintu ebirala) bye batiisibwa nabyo nebabifuula eby'olusaago.
57. Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ajjukizibwa ebigambo bya Mukama omulabiriziwe naabivaako, neyeerabira ebyo emikono gye bye gyakulembeza (okukola), mazima ffe twassa ku mitima gya bwe ekibikka, babe nga tebabitegeera ne mu matu gaabwe mulimu envumbo era nebwobayita okujja eri obulungamu tebagenda kulungama olubeerera bwe baba bwe batyo.
58. Ne Mukama omulabiriziwo omusonyiyi ennyo nannyini kusaasira, singa abadde waakuvunaanirawo olw'ebyo bye bakola yandibatuusizzaako ekibonerezo mu bwangu, wabula balina ekiseera ekigere (bwe kirituuka) tebagenda kufuna buddukiro babe nga bakiwona.
59. Ebitundu ebyo (bye muliraanye, abantu bamu) twabazikiriza bwe beeyisa obubi era okuzikirira kwa bwe twakuwa ekiseera kwe mwe kwalina okutuukira.
60. Era jjukira Musa bwe yagamba omuweerezawe nti sijja kulekeraawo kutambula okutuusa lwe tunaatuuka enyanja ebbiri wezisisinkanira oba mmala byeya (kale mbimale).
61. Olwo nno bwe baatuuka bombi ekifo wezisisinkanira beerabira ekyenyanja kyabwe nekikola ekkubo lyakyo munyanja nga kireseewo omuwulukwa.
62. Bwe baayita ku kifo ekyo (Musa) yagamba omuweerezawe nti leeta eno eky'okulya kyaffe mazima olugendo lwaffe luno tulusanzeemu obukalubo.
63. (Omuweerezawe) naagamba nti ojjukira wetwawummulidde ku lwazi, mazima nze neerabidde ekyenyanja tewali kyanneerabizza kukijjukira okugyako Sitane era awo wekyakoledde ekkubo mu nnyanja mu ngeri eyeewuunyisa.
64. (Musa) naagamba nti ekyo kyennyini kye tubadde tunoonya, olwo nno nebadda emabega nga bwe bazze nga banoonya ekifo (ekyo).
65. Nebasanga omuddu mu baddu baffe gwe twawa okusaasira okuva gye tuli, era netumuyigiriza okuva gye tuli okumanya (okw'enjawulo).
66. Musa naamugamba nti abaffe (onzikiriza) nkugoberere olwo nno obe nga onjigiriza ku bulungamu bwe wayigirizibwa?.
67. (Hidhiri) naamuddamu nti mazima ggwe tojja kusobola kugumiikiriza nga oli nange.
68. Onoogumiikiriza otya ku bintu byotalinaako kumanya.
69. (Musa) naagamab nti Katonda bwanaaba akkirizza ojja ku nsanga nga ndi mugumiikiriza era sigenda kukujeemera mu kintu kyonna.
70. (Hidhiri) naagamba nti bwoba osazeewo okungoberera, tombuuza ku kintu kyonna okutuusa lwe nnaakufunira kye nkikubuulirako.
71. Olwo nno nebagenda, okutuusa nga bamaze okulinnya eryato (Hidhiri) naalissaako ekituli, (Musa) naagamba nti olitaddeko ekituli ozikirize abantu abalirimu mazima okoze ekintu kibi.
72. (Hidhiri) naagamba nti: saakugambye nti mazima ggwe tojja kusobola kugumiikiriza nga oli nange.
73. (Musa) naagamba nti tonvunaana olw'ekyo kye nneerabidde era tontuusaako olw'ekigambo kyange (eky'okubeera naawe) buzito bwonna.
74. Olwo nno nebagenda okutuusa lwe baasanga omulenzi, (Hidhiri) naamutta (Musa) naagamba nti osse omuntu atalina musango, atalina gwasse, mazima ekintu kyokoze kivve.
75. (Hidhiri) naagamba nti ssaakugambye nti mazima ggwe tojja kusobola kugumiikiriza nga oli nange.
76. (Musa) naagamba nti kenkubuuza ku kintu ekirala kyonna oluvanyuma lwa kino tonzikiriza kubeera naawe, mazima ofunye ensonga ekusonyiyisa ku nze.
77. Nebagenda bombi okutuusa lwe batuuka ku bantu b'omukitundu, nebasaba abantu baamu okubawa emmere naye baagaana okubafuula abagenyi baabwe, wabula baasanga mu kyo (ekitundu) ekisenge nga kyagala kugwa (Hidhiri) naakiddaabiriza (Musa) naagamba nti singa oyagadde waalikisabiddeko empeera (noosasulwa).
78. (Hidhiri) naagamba nti: wano nze naawe wetwawukanidde, (wabula) ngenda kukubuulira amakulu g'ebyo byotaasobodde kugumiikiriza.
79. Lyo eryato lyabadde, lya ba Masikiini nga bapakasiza ku nnyanja, nagenderedde okulissaako akamogo, anti, mu maaso eyo waabaddeyo Kabaka nga atwala buli lyato eddungi mu ngeri ya bunyazi.
80. Ate yye omulenzi bakaddebe bombi baali bakkiriza, netutya yye (omulenzi) okubatuusaako obuzibu bwokubula n'okukaafuwala.
81. Olwo nno twayagadde Mukama Omulabirizi wa bombi abawaanyisizeemu bombi ekirungi okusinga yye mubutukuvu, era asinga okuba omusaasizi.
82. Ate kyo ekisenge kyabadde kya balenzi babiri bamulekwa mu kibuga (ekyo), wansi waakyo waabaddeyo eby'ogugagga bya bombi era nga Kitaabwe wa bombi yali mulongoofu, olwo nno Mukama omulabiriziwo yayagala bombi okumala okusajjakula, olwo nno baggyeyo eby'obugagga byabwe bombi, ekyo nga kusaasira okuva eri Mukama Omulabiriziwo, era ssaakikoze lwa kusalawo kwange (wabula) bubaka obwavudde eri (Katonda), okwo nno kwe kunnyonnyola byotasobodde kugumiikiriza.
83. Bakubuuza ebikwata ku Dhul Karinaini, bagambe nti nja kubayitiramu ku bimukwatako.
84. Mazima ffe twamuwa obusobozi mu nsi, era twamuwa ku buli kintu okumanya engeri gye kikolebwamu.
ﭜﭝ
ﱔ
85. Olwo nno naagoberera enkola (eyo).
86. Okutuusa lwe yatuuka enjuba gyegwa, naagisanga nga erabika nga egwa mu luzzi olw'ettosi, era mu kitundu ekyo naasangayo abantu, netumugamba nti owange Dhul Karinaini, bwoba oyagadde osobola okubabonereza oba oyinza okubakolamu ekirungi.
87. (Dhul Karinaini) naagamba nti oyo aneeyisa obubi tujja kumubonereza, ate oluvanyuma alizzibwa ewa Mukama Omulabirizewe, naamubonereza ebibonerezo ebisuffu.
88. Naye oyo akkiriza naakola emirimu emirungi, agenda kusasulwa empeera ennungi era tugenda kumugamba ebigambo ebyangu okuva gye tuli.
89. Ate oluvanyuma naagoberera enkola eyo.
90. Okutuusa lwe yatuuka enjuba gyeva naagisanga nga eviirayo ku bantu abo betutaawa kya kwebikka kuwona kwokya kwayo.
91. Bwe tutyo bwe twakikola ate mazima byonna bye yalina, okumanya kwaffe kwali kubyetoolodde.
92. Ate oluvanyuma bwe yamala naagoberera enkola y'emu.
93. Okutuusa lwe yatuuka wakati w'ensozi ebbiri, naasanga wakati wa zombiriri abantu, kumpi nga tebategeera kigambo kyonna.
94. Nebagamba nti owange Dhul Karinaini mazima Yajuuja ne Majuuja boonoonyi mu nsi abaffe tukuteerewo empeera (tukupakase) obe nga otuteera wakati waffe nabo ekikomera.
95. Naagamba nti ekyo kyonna Mukama Omulabirizi wange kyanansobozesa kinaaba kirungi, kale munyambe n'amaanyi nja kuteeka wakati wa mmwe nabo ekikomera (ekigumu).
96. Mundeetere ebitundu tundu bye byuma (bye baaleeta) okutuusa lwe yajjuza ebyuma mu bbanga eriri wakati w'ensozi ebbiri, naagamba nti mufuuwe (emivubo) okutuusa ekyuma lwe yakifuula omuliro naagamba nti mundeetere ekikomo ekisaanuuse naakifukirirako.
97. (Yajuuja ne Majuuja) tebasobolangako kukirinya era nga bwe batasobolangako kukiwummulamu kituli.
98. (Dhul Karinaini) naagamba nti kuno kusaasira okuva eri Mukama Omulabirizi wange, n'olwekyo endagaano ya Mukama Omulabirizi wange bwelituuka, agenda kukifuula ekimerengufu, anti bulijjo endagaano ya Mukama omulabirizi wange ya mazima.
99. Tulireka abamu ku bo nebaba nga beekuluumulira mu bannaabwe nga balinga amayengo. Era engombe egenda kufuuyibwa olwo nno bonna tubakunganye.
100. Ku lunaku olwo tugenda kusoosootola omuliro Jahannama eri abakaafiiri olusoosootola.
101. Abo amaaso gaabwe agaali mu kubikkibwa nebatosobola kunjogerako era baali tebasobola kuwulira.
102. Abaffe abo abakaafuwala basuubira okufuula abaddu bange abakuumi baabwe nze nebandekawo, nze nebansuulirira, mazima ffe twateekateeka Jahannama nga bwe butuulo bwa bakaafiiri.
103. Abaffe tubabuulire abasinga okufaafaganirwa emirimu gya bwe.
104. Beebo okukola kwa bwe okubeera okwonoonefu mu bulamu obw'ensi, so nga ate bo balowooza nti bakola bulungi.
105. Abo beebo abawakanya ebigambo bya Mukama omulabirizi waabwe, era nebawakanya okumusisinkana, olwo nno emirimu gya bwe negifaafaagana, n'olwekyo ku lunaku lw'enkomerero, tetugenda kubalabamu buzito bwonna.
106. Bwe kityo nno empeera yaabwe muliro Jahannama olw'ebyo bye baawakanya era nebafuula obubonero bwange n'ababaka bange ekisekererwa.
107. Mazima abo abakkiriza era nebakola emirimu emirongoofu, e jjana eza Firidausi, bwe buliba obutuulo bwa bwe.
108. Bakuzibeeramu olubeerera tebagenda kwetaaga kukyusibwa kuva mu zo.
109. Gamba nti singa ennyanja zaali nga ye bwino (akozesebwa mu kuwandiika) ebigambo bya Mukama omulabirizi wange, ennyanja zandikalidde, nga ebigambo bya Mukama omulabirizi wange tebinnagwayo, nebwetandireese ennyanja ezenkana eziriwo zibe nga ziziyamba.
110. Bagambe nti mazima nze ndi muntu nga mmwe, (wabula) nfuna obubaka nga bugamba nti mazima Katonda wa mmwe ali omu, kale nno, buli yenna asuubira okusisinkana Mukama omulabiriziwe ateekwa okukola emirimu emirungi era mu kusinza n’atagatta kintu kyonna ku Mukama Omulabiriziwe.