ﰡ
1. Ndayira e njuba n’okwaka kwayo.
2. Era ndayira o mwezi bweguba nga gugoberedde e njuba (ng’egudde)
3. Era ndayira obudde obw’emisana nga bwerudde enjuba.
4. Era ndayira ekiro bwe kiba nga kigibisse.
5. Era ndayira e ggulu n’eyalitonda.
6. Era ndayira e nsi n’oyo eyajaaliira.
7. Era ndayira omuntu n’eyamutonda.
8. N’amuwa okwawula wakati w’ekibi n’ekirungi.
9. Yeesiimye alongoosa omwoyogwe okuguggya mu bibi.
10. Aviiriddemu awo oyo agunnyika mu bibi.
11. Abantu ba Thamuud, olw'obwonoonefu bwabwe baalimbisa (omubaka waabwe).
12. Asinga obwonoonefu mu bo bwe yeesowolayo (naafumita engamiya).
13. Omubaka wa Katonda n’abagamba “muleke e ngamiya ya Katonda n’okunywa kwayo”.
14. Kyokka ne bamulimbisa ne bagifumita. Katonda omulabirizi waabwe kwe kubabuutikira olw’obwonoonefu bwabwe awatali n’omu kuwona
15. Era tatya nkomerero y'ekyo (eky'okubazikiriza).