ﮯ
ترجمة معاني سورة فاطر
باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
.
ﰡ
1. Ebitendo byonna bya Katonda omutonzi w'eggulu omusanvu n'ensi, eyafuula ba Malayika ababaka abalina ebiwawaatiro, ow'ebibiri n'ow'ebisatu n'ow'ebina ayongera mu kutonda ekyo kyaba ayagadde mazima Katonda muyinza ku buli kintu.
2. Okusaasira Katonda kwaba agguliddewo abantu tewali ayinza kukulemesa, ate okwo kwalemesa tewali ayinza kukuleeta atali yye, era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
3. Abange mmwe abantu mujjukire ekyengera kya Katonda kye yabawa, abaffe waliyo omutonzi atali Katonda abagabirira okuva waggulu ne mu nsi, tewali kisinzibwa kyonna okugyako yye, olwo nno ate muwugulwa mutya!.
4. Bwe bakulimbisa mazima ababaka baalimbisibwa oluberyeberyelwo, era nga bulijjo ewa Katonda ensonga zonna gyezizzibwa.
5. Abange mmwe abantu mazima endagaano ya Katonda ya mazima, obulamu bwensi tebubagayaazanga era ebigayaaza byonna tebibajjanga ku Katonda.
6. Mazima Sitane mulabe wa mmwe kale (na mmwe) mumufuule mulabe. Anti mazima akoowoola ekibiinakye balyoke babeere mu bantu bo mu muliro Sa-iri.
7. Abo abaakaafuwala balina ebibonerezo ebikakali ate abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi balina ekisonyiwo n'empeera ensuffu.
8. Abaffe oyo ogwawundibwa omulimu gwe omubi naagulaba nga mulungi (ayinza okufaanana oyo omulungamu) mazima Katonda abuza gwaba ayagadde naalungamya gwaba ayagadde, kale toggwamu mwoyo ku lw'okubasalirwa, mazima Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola.
9. Katonda yooyo asindika empewo nezitambuza ebire (eby'enkuba, enkuba eyo) netunywekereza nayo ensi enfu (enkalu) olwo nno netuzza nayo mu bulamu ettaka eriba lifudde nabwekityo okuzuukira (bwe kuliba).
10. Oyo yenna ayagala ekitiibwa, ebitiibwa byonna biri wa Katonda. Gyali ebigambo ebirungi gye byambuka n’emirimu emirongoofu agisitula ate abo abakola enkwe okukola ebibi balina ebibonerezo ebikakali era enkwe zaabo zeezigwa obutaka.
11. Era Katonda yabakola (mmwe) nga abajja mu ttaka oluvanyuma abajja mu mazzi agazaala oluvanyuma yabatonda nga muli bibiri bibiri (ekisajja n’ekikazi). Tewali kikazi kifuna lubuto wadde ekizaala okugyako nga amanyi, tewali kiwangaazibwa mu biwangaazibwa era tewali kikendezebwa ku buwangaazi bwakyo okugyako nga kiri mu kitabo (nga Katonda yakisalawo dda) mazima ekyo kyangu nnyo ku Katonda.
12. Amazzi ag'ennyanja ebbiri tegayinza kufaanagana, nga (emu) amazzi gaayo malungi mawoomu ganyweka, nga ate endala ya mazzi ag’omunnyu lukalabule, ate nga mulya mu buli emu ku zo ebyenyanja ebibisi era mujjamu eby'okwewunda bye mwambala era olaba amaato mu zo nga gakola amakubo olwo nno musobole okunoonya mu bigabwabye olwo nno mubeere abeebaza.
13. Ayingiza ekiro mu musana era naayingiza omusana mu kiro era yagonza enjuba n'omwezi nga buli kimu kya kutambula okumala ebbanga eggere oyo nno ye Katonda Mukama omulabirizi wa mmwe nannyini buyinza bwonna ate abo bemusaba abatali yye tebalina buyinza wadde obwenkana akakuta k'empeke.
14. Bwe mubasaba tebawulira kusaba kwa mmwe ate (katugambe) nti bawulidde tebasobola kubaanukula era nga ne ku lunaku lw'enkomerero bagenda kwegaana engeri gye mubagatta ku Katonda, (ayagala ategeere) anti tewali ayinza kukutegeeza kufaanana nga oyo amanyi ekintu nemunda waakyo.
15. Abange mmwe abantu mmwe beetaavu eri Katonda ate yye Katonda y'atalina bwetaavu atenderezebwa ennyo.
16. (N'olwekyo) singa aba ayagadde asobola okubajjawo naaleeta ebitonde ebipya.
17. Era ekyo ku Katonda si kinene.
18. Tewali mwoyo mwonoonyi gugenda kwetikka kibi kya mwoyo mwonoonyi mulala, era oguliba guzitoowereddwa bwe gulisaba okugwetikkirako tebaligwetikkirako kintu kyonna ,(gwe gusaba) nebwaliba wa luganda olw'okumpi, mazima olabula abo abatya Mukama omulabirizi waabwe, awamu n'obutamulabako era nebayimirizaawo e sswala. N'oyo yenna eyeetukuza mazima yeetukuza ku lulwe era eri Katonda yeeri obuddo.
19. Era muzibe n'alaba tebenkana.
20. Wadde ebizikiza n'ekitangaala.
21. Wadde ekisiikirize tekyenkana na ppereketya wa musana.
22. Era abalamu n'abafu tebenkana, mazima Katonda awuliza oyo gwaba ayagadde era ggwe (Muhammad) tosobbola kuwuliza abo abali mu kabbuli.
23. Ggwe toli okugyako okuba omutiisa.
24. Mazima ffe twakutuma mu butuufu nga oli musanyusa (eri abakkiriza) era nga oli mutiisa (eri abatakkiriza) era tewali bantu bonna okugyako nga omutiisa yabatuukamu.
25. Naye bwe bakulimbisa mazima n'abo abaabakulembera baalimbisa ababaka baabwe baabajjira n’obunnyonnyofu n'ebiwandiiko n'ebitabo ebitangaaza.
26. Oluvanyuma nnakwata abo abaakaafuwala kale okubonereza kwange kwali kutya.
27. Abaffe tolaba nti Katonda assa amazzi okuva waggulu netumeza nago ebibala eby'amabala ag'enjawulo nga ne mu nsozi mulimu amakubo ameeru n'amamyufu nga amabala gaago maawukamu na'maddugavu ttibittibi.
28. Mu ngeri y'emu ne mu bantu n'ensolo n’ebisolo ebirundibwa awaka amabala gaabyo ga njawulo mazima ddala abamanyi be batya Katonda mu baddube, mazima Katonda ye nantakubwa ku mukono omusonyiyi ennyo.
29. Mazima abo abasoma ekitabo kya Katonda (Kur’ani) ne bayimirizaawo e sswala era ne bawaayo mu kyama ne mu lwatu ku ebyo bye tubagabirira basuubira eby'obusuubuzi ebitadiba.
30. Ate alyoke abawe mu bujjuvu empeera zaabwe era abongeze mu birungibye anti mazima yye, musonyiyi nnyo omwebaza.
31. N'obubaka obwo bwe twakutumira mu kitabo (Kur’ani) go ge mazima nga gakakasa ebyo ebyagakulembera. Mazima Katonda amanyidde ddala eby'omunda era mulabi nnyo.
32. Oluvanyuma twasikiza ekitabo abo be twalondoba mu baddu baffe olwo nno nemuba mu bo eyeeyisa obubi yennyini nga bwe muli mu bo ow'omumakkati era nga mu bo mulimu assa essira mu kukola ebirungi (ebya Faradha ne Sunna) ku lw'obuyinza bwa Katonda obwo nno bwe bulungi obusuffu.
33. (Nga) z'ejjana ez'emirembe ze baliyingira. Balinaanikibwa nga bali mu zo ebikomo ebya zzaabu ne Luulu, era ebyambalo byabwe nga bali mu yo biriba bya Sirik.
34. Era ne bagamba nti ebitendo byonna bya Katonda oyo atumazeeko ennaku, mazima Mukama omulabirizi waffe musonyiyi nnyo era yeebaza.
35. Oyo atutadde mu nyumba ey'olubeerera nga kugaba kwe ennaku ssi yaakututuukako nga tuli mu yo, era nga tuli mu yo bwe tutagenda kutuukwako kukoowa.
36. Ate abo abaakaafuwala balifuna omuliro Jahannama, tebagenda kusalirwawo nti (bafe) olwo nno ne baba nga bafa era tebagenda kukendezebwa ku bibonerezo byagwo bwe tutyo bwe tusasula buli ntasiima.
37. Nabo bagenda kuba nga baleekaanira mu gwo (nga bagamba nti) ayi Mukama omulabirizi waffe tufulumye (otuzze ku nsi) tukole emirimu emirungi egitali egyo gye twali tukola luli, (baligambibwa nti) abaffe tetwabawangaaza ebbanga lyasobola okujjukiriramu oyo ajjukira era naabajjira omutiisa (kye musaba temujja kukifuna) kale mukombe ku bukaawu bw'ebibonerezo, abeeyisa obubi tebayinza kuba na mutaasa yenna.
38. Mazima Katonda amanyi ebyekusifu byo mu ggulu omusanvu n'ensi mazima ddala yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba.
39. Ye yooyo eyabafuula (mmwe) abadda mu bigere bya bannaabwe mu nsi, oyo akaafuwala obukaafiiri bwe bukosa yye, era abakaafiiri obukaafiiri bwabwe tebubongera ewa Mukama omulabirizi waabwe okugyako okukyayibwa era abakaafiiri obukaafiiri bwabwe tebubongera okugyako okufaafaaganirwa.
40. Bagambe nti mulaba abo bemungattako abo bemusaba nemuleka Katonda (kale) mundage kiki kye batonda ku nsi, oba abaffe balina omugabo mu (kukolebwa) kw'eggulu omusanvu oba (si ekyo) nga twabawa ekitabo olwo nno nebaba nga balina obujulizi okuva mu kyo (obubalagira okukola shiriki oyo) nedda abeeyisa obubi abamu mu bo tebalagaanyisa bannaabwe okugyako ebigayaaza.
41. Mazima Katonda awanirira eggulu omusanvu n'ensi bibe nga tebivaawo era singa bivaawo teyandibiwaniridde omulala yenna oluvanyuma lwe anti mazima yye wa kisa musonyiyi nnyo.
42. (Abakaafiiri be Makkah) baalayira Katonda mu kukakasa ebirayiro byabwe (ne bagamba nti) singa omutiisa alibajjira bagenda kubeerera ddala abasinga obulungamu okusinga (abantu bonna abaali babaddewo), awo nno omutiisa (Muhammad) bwe yabajjira tekyabongera okugyako okwesamba (omubaka).
43. (Nga ekyo kiva) ku kwekuluntaza (kwa bwe) mu nsi, n'okukolala enkwe embi, enkwe embi tezituusa kabi okugyako ku ba nannyini zo olwo abaffe balina kyebalindirira okugyako enkola eyatuuka ku baabakulembera ate nga enkola ya Katonda (mu kubonereza abajeemu) tebaamu kukyusibwa era nga enkola ya Katonda toyinza kugisangamu kujjululwa.
44. Abaffe tebatambula mu nsi olwo nno nebalaba enkomerero yaabo abaabakulembera nga bwe yali ate nga baali ba maanyi okubasinga, kikafuuwe ekintu kyonna mu ggulu omusanvu ne mu nsi okulemesa Katonda anti mazima yye bulijjo mumanyi nnyo muyinza.
45. Singa Katonda yali avunaana abantu olw'ebyo bye baba bakoze teyaalirese ku ngulu kwayo (ensi) kitambula kyonna naye abalindiriza okutuusa ekiseera ekigere olwo nno entuuko za bwe bwe zituuka (buli muntu nazzibwa eri ekifo ekimusaanira) anti Katonda bulijjo alabira ddala ebikwata ku baddube.