ﮜ
surah.translation
.
ﰡ
1. Ekiragiro kya Katonda kisembedde n'olwekyo temusaba kwanguwa kwakyo, (Katonda) yasukkuluma neyeesamba ku ebyo bye bamugattako.
2. Assa ba Malayika nga baleeta obubaka ku lw'ekiragirokye ku oyo gwaba ayagadde mu baddube, mutiise (abantu nga mubagamba nti), mazima tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako nze kale nno muntye.
3. Yatonda eggulu omusanvu n'ensi lwa nsonga, musukkulumu nnyo ku ebyo bye bamugattako.
4. Yatonda omuntu nga amuggya mu mazzi agazaala, (bwakula) naafuuka omukaayanye ow'olwatu.
5. N’ebisolo ebirundibwa yabibatondera mufune mu byo okubuguma, n'emigaso (emirala) nga era kwe mulya.
6. Era mulina mu byo okunyumirwa mu kiseera wemubiggyirayo ne mu kiseera wemubitwalirayo (ku ttale).
7. (Nga ebisolo ebimu) byetikka emigugu gya mmwe okugitwala eri ekitundu gye mutandituuse okugyako mu buzibu obw'ekitalo, mazima bulijjo Mukama omulabirizi wa mmwe alumirwa nnyo wa kisa.
8. Era (yatonda) enfalaasi, n'e nyumbu n'endogoyi mube nga mubyebagala era nga bya kubasanyusa, era atonda ne bye mutamanyi.
9. Katonda y'alaga ekkubo ettuufu, ate amakubo agamu makyamu, singa yali ayagadde mwenna yandibalungamizza.
10. Yye yooyo abatonnyeseza enkuba okuva waggulu, ku nkuba eyo kwe munywa, era ku nkuba eyo emiti kwe gimerera nga ku gyo kwe muliisa ensolo za mmwe.
11. Abamereza nayo ebirimwa ne Zaituni n'emitende ne nzabibu nabuli bibala byonna, mazima mu ekyo mulimu akabonero (akalaga obuyinza) bwa Katonda eri abantu abafumiitiriza.
12. Era yabagondeza ekiro n'emisana era enjuba n'omwezi n'emmunyeenye byonna byagonzebwa (bitambulira) ku kiragiro kye. Mazima mu ebyo byonna mulimu obubonero eri abantu abategeera.
13. N’ebyo bye yabateera mu nsi nga amabala g'abyo tegafaanagana, mazima mu ekyo mulimu akabonero eri abantu abejjukanya.
14. Era yye, yooyo eyagonza enyanja mube nga mulya muyo ennyama (ebyenyanja) ebibisi era muggye mu yo eby'okwewunda bye mwambala. Ogenda noolaba amaato nga gakola ekkubo muyo, olwo nno musobole okugenda okunoonya ebigabwabye (Katonda), era kibasobozese okwebaza.
15. Era yassa mu nsi enkondo (ensozi) ereme kubayuuza, era nassaamu emigga, n'amakubo musobole okulungama.
16. Era naateeka (mu nsi) obubonero, okwo nno bwogattako emmunyeenye basobole okumanya gye balaga.
17. Abange oyo atonda ayinza okuba nga atatonda! abaffe temujjukira.
18. Ne bwe mubala ebyengera bya Katonda temusobola kubikomekkereza, mazima Katonda musonyiyi nnyo musaasizi.
19. Era Katonda amanyi bye mukola mu kyama ne bye mukola mu lwatu.
20. Era abo bebasaba nebaleka Katonda tebatonda kintu kyonna ate nga bo batondebwa butondebwa.
21. (Bebasaba) bafu ssi balamu era tebamanyi ddi lwe balizuukizibwa.
22. Katonda wa mmwe ali Katonda omu, abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero emitima gyabwe gikiwakanya era nga bo beekuza.
23. Tewali kubuusabuusa mazima Katonda amanyi bye bakweka ne bye bakola mu lwatu, era mazima yye tayagala beekuza.
24. Bwe baba bagambiddwa nti Mukama omulabirizi wa mmwe kiki kyassizza bagamba nti nfumo za baasooka.
25. Olwo nno balyoke beetikke ebibi bya bwe mu bujjuvu ku lunaku lw'enkomerero, era beetikke ne ku bibi bya abo be baabuza awatali kumanya, abange kibi kye beetikka.
26. Ab’abakulembera baakola enkwe, Katonda naasitula ebizimbe byabwe nga asinziira ku musingi akasolya nekabagwira waggulu waabwe ebibonerezo nebibajjira okuva webatasuubira.
27. Oluvanyuma ku lunaku lw'enkomerero agenda kubaswaza, era agambe nti baliwa bannange abo bemwayawukanangamu, baligamba abo abaaweebwa okumanya nti mazima obuswavu ne nnaku olwa leero bigenda kubeera ku bakaafiiri.
28. Abo ba Malayika bebatuusa ku ntuuko zaabwe nga bakyeyisa bubi olwo nno nebalangirira okukkiriza Katonda (nga bwe bagamba nti) tetukolanga kibi kyonna. Nedda mazima Katonda amanyidde ddala ebyo bye mwakolanga.
29. Kale muyingire emiryango gyo muliro Jahannama mugenda kutuula mu gwo obugenderevu. Obuddo bwa beekuza bubi.
30. Abo abatya Katonda bwe baba bagambiddwa nti Mukama omulabirizi wa mmwe kiki kyassizza bagamba nti bulungi bwereere, abo abakola obulungi mu nsi muno bateekwa kusasulwa bulungi ra e nyumba ey'enkomerero ye nnungi, era nga kyengera kinene okuba nga y’enyumba y'abatya Katonda.
31. E jjana ey'olubeerera gye baliyingira, nga emigga gikulukutira wansi waayo nga bali mu yo balifuna ebyo bye beetaaga. Bwatyo Katonda bwasasula abamutya.
32. Abo ba Malayika bebatusaako entuuko zaabwe nga balungi, nga bagamba nti emirembe gibeere ku mmwe muyingire e jjana olw'ebyo bye mwakola.
33. Abaffe balina kye balinda mpozzi ba Malayika okubajjira oba nekijja ekyo Mukama omulabiriziwo kye yasalawo bwe batyo abaaliwo oluberyeberye lwabwe bwe baakola era Katonda teyabayisa bubi wabula bo bennyini be beeyisa obubi.
34. Obubi bw'ebyo bye baakola nebubatuukako era bye baali bajeeja nebibeetoloola.
35. Abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala baagamba singa Katonda yayagala ffe wadde bakadde baffe tetwandisinzizza kintu kirala netulekayo yye, era tetwandizizizza kintu kyonna kyataaziza, mu ngeri y'emu abaaliwo oluberyeberye lwabwe baakola batyo, abaffe ababaka baali balina kye bavunaanyizibwa okugyako okutuukiriza obubaka mu ngeri ennyinyonnyofu.
36. Mazima buli bantu twabatumira omubaka (nga agamba) nti musinze Katonda mwewale ebisinzibwa ebirala byonna, mu bo mulimu Katonda be yalungamya, nga era mu bo mulimu abo abaakakatibwako okubula, kale mutambule mu nsi, mulabe enkomerero y'abalimbisa nga bwe yali.
37. Bwoba olulunkanira kulungama kwa bwe, mazima Katonda tayinza kulungamya gwe yabuza, ate tebagenda kufuna wa kubadduukirira.
38. Era balayira Katonda nga bakakasa ebirayiro byabwe nti, Katonda tagenda kuzuukiza oyo afudde, nedda eyo ndagaano ku ye gye yeekakasaako edda (nti agenda kukikola) naye mazima abantu abasinga obungi tebamanyi (nti agenda kubazuukiza).
39. Olwo nno abannyonnyole ekyo kye baawukanamu era abo abaakaafuwala babe nga bamanya nti mazima bbo baali balimba.
40. Mazima ekigambo kyaffe eri ekintu bwe tuba tukyagadde (kibeerewo) tukigamba nti ba nekiba.
41. Abo abaasenguka ku lwa Katonda oluvanyuma lw'okuyisibwa obubi tujja ku batuuza mu nsi mu bifo ebirungi, naye nga empeera y'olunaku lw'enkomerero yeesinga obunene singa baali bamanyi.
42. (Bo) beebo abagumiikiriza era nga Mukama omulabirizi waabwe gwe beekwasa.
43. Tetutumanga oluberyeberyelwo okugyako basajja nga tubawa obubaka kale mubuuze ba nannyini kumanya bwe muba nga temumanyi.
44. (Tubatuma nga tubawa) obujulizi obweyolefu n'ebitabo, era twassa ku ggwe ekyokujjukiza osobole okunnyonnyola abantu ekyo ekyassibwa gye bali olwo babe nga beefumiitiriza.
45. Abo abakola enkwe, balina obwesige okuba nga Katonda tabaseeterezaako nsi oba ebibonerezo okubajjira nga biva gye batamanyi!.
46. (Oba Katonda) naabakwata nga bali mu kwetala kwa bwe (nga bakola emirimu) nga ate tebayinza kulemesa.
47. Oba naabakwata nga bali mu kutya (nti essaawa yonna ebibonerezo bibatuukako). Mazima Mukama omulabirizi wa mmwe alumirwa wa kisa.
48. Abaffe tebatunuulira ne balaba ebintu Katonda bye yatonda, ebisiikirize byabyo engeri gye bikyukamu ku ddyo ne ku kkono nga bivunnamira Katonda era nga bimugondera.
49. Katonda yekka ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi gwe bivunnamira, kabibe ebitambula ku nsi, ne ba Malayika, era byonna tebyekuza.
50. Batya Mukama omulabirizi waabwe ali waggulu waabwe era bakola buli ekibalagirwa.
51. Katonda agamba nti temugunjawo ba katonda ababiri, mazima yye ali Katonda omu kale nno nze nzekka gwe muba mutya.
52. Era bibye yekka ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi era yekka yaateekwa okugonderwa, ngeriki bwe muyinza okutya atali Katonda!.
53. Buli kyengera kyonna kye mulina kiva eri Katonda, oluvanyuma akabi bwe kabatuukako gyali gye musaba okuyambibwa.
54. Ate bwabajjako obuzibu ogenda okulaba nga ekitundu ku mmwe bagatta ebintu ebirala ku Mukama omulabirizi waabwe.
55. Nebawakanya bye twabawa kale mweyagale kyaddaaki mujja kumanya.
56. Ebyo bye batamanyi (amasanamu) babiwa omugabo ku ebyo bye tubawa, ndayidde Katonda ddala mugenda kubuuzibwa ku ebyo bye mugunjaawo.
57. Nebateerawo Katonda abaana ab'obuwala, Katonda musukkulumu ku ekyo bo nebeewa be baagala (abalenzi).
58. so nga ate omu ku bo bwe bamuwa amawulire ag'okufuna omwana omuwala ekyenyikye kifuuka era n'aba munyikaavu.
59. Nga yeekweka abantu olw'amawulire amabi agamutuuseeko, (nga alowooza eky'okukola) amale gabeera n'ekibi ekyo mu buswavu oba amuziike mu ttaka. Abange kibi ekyo kye baasalangawo.
60. Abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero bakubirwako ekifaananyi ekisinga okuba ekibi, (mu bukaafiiri n'obutamanya) so nga ye Katonda alina ebitendo ebisukkulumu, era nga ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
61. Singa Katonda yali asasulirawo abantu olw'okweyisa kwabwe obubi, teyaalirese ku nsi kitambula kyonna wabula abalindiriza okutuuka ku kiseera kyabwe ekigere, olwo nno ekiseera kyabwe ekigere bwe kiba kimaze okutuuka tebayinza kusaba nekyongezebwayo nga bwe batayinza kusaba nekireetebwa mangu.
62. (Era abo abatakkiriza) bateeka ku Katonda ekyo bbo kye batamwa, ennimi zaabwe zoogera eby'obulimba (mbu) balina obulungi (ewa Katonda), tewali kubuusabuusa nti mazima bo baakusasulwa muliro, era ddala bo baakulekebwa mu muliro.
63. Ndayira Katonda, mazima twatumira abantu abaaliwo oluberyeberyelwo (Ggwe Muhammad), ate Sitane naabawundira ebibi bye bakola, kale nno olwa leero abeere munnaabwe, era baakussibwako ebibonerezo ebiruma.
64. Tetwakussaako kitabo (kino) wabula lwa kukusobozesa kubannyonnyola ekyo kye baawukanamu, era nga (Kur’ani) bulungamu era nga kusaasira eri abantu abakkiriza.
65. Era Katonda yassa enkuba okuva waggulu naawa nayo ettaka obulamu, oluvanyuma lw'okukala kwalyo, mazima mu ekyo mulimu akabonero eri abantu abawulira (nebategeera).
66. Mazima mulina eky'okuyiga mu bisolo ebirundibwa, tubanywesa ku ebyo ebiri munda wa'byo, amata ameereere nga gava wakati w'obusa n'omusayi agawoomera abanywi.
67. Era ne mu bibala by'emitende ne Nzabibu mwekoleramu eby'okunywa era nemufunamu n'ebyokulya ebirungi. Mazima mu ekyo mulimu akabonero eri abantu abategeera.
68. Era Mukama omulabiriziwo yatumira enjuki nti mukole mu nsozi amayumba (emizinga), ne mu miti ne mu ebyo bye babazimbira.
69. Olwo nno (wanjuki), lya ku buli kibala, nga bwogoberera enkola ya Mukama omulabiriziwo gye yasalawo ogoberere, (enjuki bwe zikola zityo) mu mbuto zaazo muvaamu ekyokunywa eky'amabala agenjawulo nga mulimu okuwonya abantu, mazima mu ekyo mulimu akabonereo eri abantu abafumiititiza.
70. Era Katonda yeeyabatonda oluvanyuma y’abatta, era mu mmwe mulimu abazzibwa eri obulamu obusinga okuba obwa wansi, olwo nno (omuntu) atuuke okuba nga takyamanyi kintu kyonna oluvanyuma lw'okuba nti yali amanyi. Mazima Katonda amanyi nnyo muyinza.
71. Era Katonda yasukkulumya abamu mu mmwe ku balala mu by'enfuna, abo abaasukkulumizibwa ku balala tebaddiza ku bya nfuna bya bwe eri abo bebafuga, olwo nno babe nga bonna benkanankana, abaffe ate olwo ebyengera bya Katonda bye bawakanya!.
72. Era Katonda yabateerawo be mufumbiriganwa nabo nga abaggya mu mmwe era naabateerawo nga aggya mu bemufumbiriganwa nabo abaana n'abazzukulu, era naabagabira nga aggya mu birungi, abaffe ebitali bituufu bye bakkiriza ate ebyengera bya Katonda bo bye bawakanya!.
73. Nebatuuka okusinza ebitali Katonda, ebitalina buyinza bwonna ku Riziki yaabwe okuva mu ggulu omusanvu n'ensi, era nga tebiyinza kukisobola.
74. Kale nno Katonda temumu kubirangako bifaananyi, anti mazima Katonda amanyi ate mmwe temumanyi.
75. Katonda yakuba ekifaananyi eky'omuntu omufuge nga talina kintu kyonna kyasobola, n'ekifaananyi ekirala eky'oyo gwe tugabirira okuva gye tuli e riziki ennungi, nga naye (omuddu oyo) agaba ku yo mu kyama n'olwatu abaffe benkana?. Ebitendo byonna bya Katonda, wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi.
76. Era Katonda yakuba ekifaananyi ekya basajja ababiri omu ku bo nga Kasiru nga tasobola kukola kintu kyonna, n'aba mugugu ku Mukamaawe, wonna waaba amutumye nga talina kirungi kyayinza kumugasa abaffe oyo yenkana n'omuntu alagira okukola obwenkanya ate nga ali ku kkubo eggolokofu.
77. Katonda amanyi ebikusike mu ggulu omusanvu ne mu nsi, obwangu bw'okujja kw’olunaku lw'enkomerero tebuli okugyako nga olutemya lweriiso, oba kyo kyekisinga obwangu, anti mazima Katonda ku buli kintu muyinza.
78. Era Katonda yabagya mu mbuto za bannyamwe nga temulina kyemumanyi, naabawa amatu, n'amaaso, n'emitima mube nga mwebaza.
79. Abaffe tebatunuulira ebinyonyi nga byagondezebwa (okubuuka) waggulu mubbanga tewali abiwanirira okugyako Katonda. Mazima mwekyo mulimu obubonero eri abantu abakkiriza.
80. Era Katonda yabateerawo mu mayumba gammwe obuwummuliro, era naabateerawo mu maliba gebisolo amayumba agabanguyira lwe muba mutambudde ne lwe muba temutambudde, ate nabaggira mu byoya bye ndiga ne bye ngamiya ne mu bye mbuzi ebyokukozesa era nga byakweyagala kwa mmwe okumala akabanga.
81. Era Katonda yabateerawo ebisiikirize nga bikolebwa ebimu ku ebyo bye yatonda era naabateera mu nsozi empuku (wemwekukuma) era naabateerawo ebyambalo ebibajuna ku bbugumu n'ebyambalo (ebirala) ebibakuuma mu ntalo zammwe bwatyo bwajjuliza ebyengerabye ku mmwe kibayambe okukkiriza.
82. Naye bwe bava ku ekyo mazima kyoteekwa okukola kwe kutuusa obubaka mu bunnyonnyofu.
83. Bamanya ebyengera bya Katonda, naye nebabiwakanya, era abasinga obungi mu bo bakaafiiri.
84. (Bajjukize) olunaku lwe tulizuukiza mu buli kibiina omujulizi, oluvanyuma abo abaakaafuwala tebagenda kukkirizibwa kwetonda, nga era bwe batagenda kusabibwa kwemenya.
85. Abo abeeyisa obubi kebaliraba ku bibonerezo tebigenda kukendezebwa ku bo era tebagenda kulindirizibwa.
86. Abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala bwe baliraba ebyo bye baamugattangako, baligamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe abo be bannaffe betwasabanga gwe netukuvaako, nebabaddiza ekigambo nti, mazima mmwe muli balimba.
87. Olunaku olwo bagenda kulangirira okwewaayo ewa Katonda era bigenda kubabulako ebyo bye bagunjawo.
88. Abo abaakaafuwala nebalobera abantu abalafuubana nga baweereza mu kkubo lya Katonda, tugenda kubongera ebibonerezo waggulu w'ebibonerezo ku lw'ebyo bye baayonoonanga.
89. Era bajjukize olunaku lwe tulizuukiza mu buli bantu oyo alibawaako obujulizi nga ava mu bo bennyini ate ggwe netukuleeta nga owa obujulizi ku abo, era twakussaako ekitabo nga kinnyonnyola buli kintu era nga bulungamu, era nga kusaasira, era nga mawulire ag'essanyu eri abasiraamu.
90. Mazima Katonda alagira obwenkanya, n'okuyisa, obulungi n'okugabira ab'oluganda olw'okumpi. Era aziza eby'obuwemu n'empisa embi n'okwewaggula ababuUlirira mube nga mujjukira.
91. Era mutuukirize endagaano ya Katonda, era temumenyanga ebirayiro oluvanyuma lw'okubinyweza, nga ate Katonda gwe mwafuula omweyimirize wa mmwe. Bulijjo mazima Katonda amanyi byonna bye mukola.
92. Temubeera nga omukazi oyo eyataggululanga byatunze nebifuuka obulere oluvanyuma lw'okubinyweza, nga mufuula ebirayiro bya mmwe enkwe wakati wa mwwe olw'okuba nti abantu abamu bo bagagga okusinga abalala,mazima (eby'obugagga) Katonda abagezesa nabyo bugezesa era ku lunaku lw'enkomerero agenda kubannyonnyolera ddala bye mwali mwawukanamu.
93. Singa Katonda yayagala yandibafudde ekibiina kimu, naye abuza oyo gwaba ayagadde era nalungamya oyo gwaba ayagadde, era ddala mugenda kubuuzibwa ebyo bye mwakolanga.
94. Temufuulanga ebirayiro bya mmwe okukwenyakwenya wakati wa mmwe, olwo nno ekigere nekiserera oluvanyuma lw'okunywera kwakyo, era nemukomba ku bubi (bw'obusungu bwa Katonda), kulwokuziza kwa mmwe (abantu) ku kkubo lya Katonda era mugenda kutuusibwaako ebibonerezo ebiyitirivu.
95. Endagaano ya Katonda temugitundanga omuwendo omutono, mazima ebiri ewa Katonda bye birungi gye muli, bwe muba nga mumanyi.
96. Byemulina biggwawo ate ebiri ewa Katonda bya kusigalawo, abo abagumiikiriza tugenda kubasasulira ddala empeera yaabwe nga baweebwa ekisinga obulungi ku lw'ebyo bye baakolanga.
97. Oyo yenna akola omulimu omulingi, kaabe musajja oba mukazi, nga naye mukkiriza, tugenda kumuwangaliza ddala mu bulamu obulungi era tugenda kubasasula empeera yaabwe nga baweebwa ekisinga obulungi ku lw'ebyo bye baakolanga.
98. Buli lwoyagala okusoma Kur’ani saba Katonda akukuume ku Sitane eyafulumizibwa (mu kusaasira kwa Katonda)
99. Mazima ye (Sitane) talina buyinza ku abo abakkiriza era nga Mukama omulabirizi waabwe gwe beekwasa.
100. Mazima obuyinzabwe buli ku abo abamwewa, era n'abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala.
101. Bwetukyusa aya mu kifo kya aya endala, era nga Katonda yamanyi ebyo byassa, bagamba nti mazima ggwe obyeyiyiza naye (ekituufu) abasinga obungi mu bo tebamanyi.
102. Gamba nti yagissa (Kur’ani) mu bwesimbu mwoyo mutukuvu (Jiburilu) nga ajijja ewa Mukama omulabiriziwo, olwo nno alyoke anyweze abo abakkiriza era (Kur’ani) bulungamu n'amawulire ga ssanyu eri abasiraamu.
103. Mazima tukimanyi nti bo bagamba nti ddala amuyigiriza muntu (ekyo kyabulimba) anti olulimi lw'oyo gwebemulugunyako nti yamuyigiriza si Ruwarabu ate nga eno Kur’ani eri mu lulimi oluwarabu olweyolefu.
104. Mazima abo abatakkiriza bigambo bya Katonda, Katonda tabalungamya era baakutukibwako ebibonerezo ebiruma.
105. Mazima abagunjawo obulimba beebo abatakkiriza bigambo bya Katonda era abo bo be balimba.
106. Oyo yenna awakanya Katonda oluvanyuma lwokukkirizakwe (kagenda kumujjutuka), okugyako oyo akakiddwa naye nga omutima gwe gunyweredde ku bukkiriza, naye oyo ayanjuliriza obukaafiiri ekifubakye, abo baliko obusungu okuva eri Katonda, era balituusibwako ebibonerezo ebiyitirivu.
107. Ekyo nno lwa kuba nti mazima bbo baagala obulamu obw'ensi okusinga obw'enkomerero, era mazima Katonda talungamya bantu bakaafiiri.
108. Abo beebo Katonda beyazibikira emitima gyabwe n'amatu gaabwe n'amaaso gaabwe era abo bo be batafaayo.
109. Tewali kubuusabuusa mazima bo ku nkomerero be b'okufaafaaganirwa.
110. Ate mazima Mukama omulabiriziwo ku nsonga y'abo abaasenguka oluvanyuma lw'okunyigirizibwa ate nebalafuubana nga baweereza mu kkubo lya Katonda era nebagumiikiriza, mazima Mukama omulabiriziwo oluvanyuma lw'ebyo musonyiyi musaasizi.
111. Bajjukize olunaku omwoyo bwe gulijja nga gwerwanako gwokka, era buli mwoyo gugenda kusasulwa mu bujjuvu ekyo kye gwakola, era bo tebagenda kuyisibwa bubi.
112. Era Katonda yakuba ekifaananyi ky'ekitundu ekyali emirembe nga kitebenkedde, nga eby'okulya by'akyo bikijjira mu bungi, nga biva mu buli kifo, (ekitundu ekyo) nekiwakanya ebyengera bya Katonda, Katonda naakikombya ku kyambalo (kya nnawokeera) w'eenjala n'okutya, (ebyo byonna byabatuukako) olw'ebyo bye baakola.
113. Era mazima omubaka yabajjira nga ava mu bo nebamulimbisa, ebibonerezo nebibatuukako nga bo bali mu kweyisa bubi.
114. Kale mulye mu ebyo Katonda byabagabira kasita biba Halali nga ate birungi, era mwebaze ebyengera bya Katonda bwe muba nga ye yekka gwe musinza.
115. Mazima yabaziyiza okulya ennyamanfu n'omusaayi n'ennyama ye mbizzi, nakyonna ekiba kisaliddwa ku lw'ekintu ekirala ekitali Katonda, naye oyo abeera mu bwetaavu nga takikola lwa jjoogo, era naatasukka ekitebereka (mu kulya) mazima ddala Katonda musonyiyi wa kisa.
116. Temugambanga, ebyo ennimi zammwe bye zoogera mu bulimba nti kino kiri Halali nakino kiri Haramu olw'okutemerera obulimba ku Katonda. Mazima abatemerera obulimba ku Katonda tebagenda kutuuka ku buwanguzi.
117. Okwo kweyagala kutono era bagenda kutuukwako ebibonerezo ebiruma.
118. Ate twaziza ku abo abagamba nti bayudaaya ebyo bye twakutegeeza oluberyeberye, si ffe twabayisa obubi bo bennyini be beeyisa obubi.
119. Ate mazima Mukama omulabiriziwo ku bikwata ku abo abakola ebibi mu butamanya, ate nebeenenya oluvanyuma lw'ekyo, era nebakola ebirungi (Katonda abasonyiwa), anti mazima Mukama omulabiriziwo oluvanyuma lw'ebyo musonyiyi nnyo wa kisa.
120. Mazima Ibrahim (ye, yekka) yali kibiina, nga mugonvu ku lwa Katonda, nga mwesimbu, tabeerangako mu bagatta ku Katonda bintu birala.
121. Nga yeebaza ebyengera bye, yamwawula, era naamulungamya ku kkubo eggolokofu.
122. Era twamuwa ku nsi ebirungi era mazima yye ku nkomerero agenda kubeera mu balongoofu.
123. Oluvanyuma twakutumira (Ggwe Muhamad) nti goberera eddiini ya Ibrahim nga oli mwesimbu, era (Ibrahim) tabeerangako mu bagatta bintu birala ku Katonda.
124. Mazima olw'omukaaga lwateerwawo abo abalwawukanamu, era mazima Mukama omulabiriziwo agenda kulamula wakati waabwe ku lunaku lw'enkomerero mu ekyo kye baayawukanamu.
125. Kowoola (abantu) okudda eri ekkubo lya Mukama omulabiriziwo nga okozesa amagezi n'okubuulirira okulungi, nyonnyolagana nabo nga okozesa amakubo agasinga obulungi mazima Mukama omulabiriziwo y'asinga okumanya ebikwata ku oyo eyabula okuva ku kkubolye era yaasinga okumanya ebikwata ku balungamu.
126. Bwe muba nga mubonereza mubonereze kyenkanyi ky'ekyo kye muba mubonerezebbwa nakyo, naye singa mugumiikiriza ekyo kye kisinga obulungi eri abagumiikiriza.
127. Era gumiikiriza, okugumiikirizakwo tekuyinza kubaawo okugyako ku lwa Katonda, tobanakuwalira, era tobeera mu bulumi olw'enkwe ze bakola.
128. Mazima Katonda ali wamu n'abo abamutya, era abo abalongoosa.