ترجمة سورة الصف

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة الصف باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna bitenda Katonda. Yye Katonda yemuwanguzi, assa buli kintu mu ssa lyakyo.
2. Abange mmwe abakkiriza lwaki mwogera ebyo bye mutakola.
3. Kisunguwalirwa nnyo ewa Katonda okwogera bye mutakola.
4. Mazima Katonda ayagala abo abalwana mu kkubolye, nga basimbye ennyiriri, ne baba nga ekizimbe, nga e bitundu byakyo bikwatagana bulungi.
5. Mu ngeri y'emu bajjukize ekyafaayo kya Musa bwe yagamba abantube nti, lwaki munnyiiza ng'ate mumanyidde ddala nti mazima nze ndi Mubaka wa Katonda gweyabatumira. Bwe baabula, Katonda kwekubuza emitima gyabwe, anti Katonda talungamya bantu bajeemu.
6. Era bajjukize e kyafaayo kya Isa mutabani wa Mariam bwe yagamba abaana ba Israel nti mazima nze ndi Mubaka wa Katonda gye muli, nga nkakasa Taurat eyankulembera era nga mpa amawulire ag'essanyu ag'omubaka alijja oluvanyuma lwange, nga erinyalye ye Ahmad. Wabula omubaka (Muhammad) oyo bwe yabajjira n'obubonero obunnyonnyofu, ate bo ne bagamba nti lino ddogo eryeyolefu.
7. Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo atemerera Katonda ebyobulimba, so nga bulijjo ayitibwa okujja eri obusiramu. Katonda talungamya bantu abeeyisa obubi.
8. (Mu kukola ekyo) baagala kuzikiza kitangaala kya Katonda n'emimwa gyabwe. Sso nga Katonda waakujjuza e kitangaalakye newakubadde nga abakafiiri tebakyagala.
9. Katonda yooyo eyatuma omubakawe ng'amuwadde obulungamu n'eddiini entuufu. Bulyoke bukye enkya nga yeddiini ewangudde newakubadde nga abagatta ku Katonda ebintu ebirala tebakyagala.
10. Abange mmwe abakkiriza mwandyagadde mbalagirire ebyettunzi ebiribawonya e bibonerezo ebiruma.
11. (Nabyo) muteekwa okukkiriza Katonda n'omubakawe, ne mulafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, nga muwaayo emmaali yammwe, nga nammwe mwennyini mwenyigiramu. Ekyo nno kye kirungi gye muli singa mubadde mumanyi.
12. (Anti bwe mukola ebyo) Katonda ajja kubasonyiwa ebyonoono byammwe, abayingize e jjana ezikulukutiramu emigga era mugenda kufuna obutuulo obulungi mu jjana ez'olubeerera, okwo nno kwe kwesiima okusuffu.
13. Era mufune n'ekirala nga nakyo mukyagala, nakyo kwe kutaasa kwa Katonda n'obuwanguzi obwamangu. Era sanyusa abakkiriza (nti byonna bagenda kubifuna).
14. Abange mmwe abakkiriza musituke mutaase e ddiini y'a Katonda. Kibe nga Issa mutabani wa Mariam bwe yagamba abagoberezibe abenjawulo nti, baani abanannyamba ku mulimu gwa Katonda. Abagoberezibe abenjawulo kwe kuddamu nti ffe twewaddeyo okutaasa e ddiini ya Katonda. Ekyavaako ogutundu ku baana ba Israel okukkiriza, n'ekitundu ekirala okukaafuwala. Naffe ne tutaasa abo abakkiriza ku mulabe waabwe, ne bukya enkya nga be bali waggulu.
Icon