ترجمة سورة المجادلة

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة المجادلة باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Ddala Katonda awulidde ebigambo byo mukyala ey'emulugunyizza gyoli ku bba era n'awaaba eri Katonda era Katonda abadde awulira ebigambo bye mubadde muwanyisiganya anti Katonda bulijjo awulira era alaba.
2. Abo bonna mu mmwe abagamba bakyala baabwe nti emigongo gyabwe giringa egya ba nnyabwe (abo be bakigamba) tebabangako ba maama baabwe. Ba maama baabwe beebo ababazaala. (mu kwogera batyo) mazima bbo boogera ekigambo ekibi. Mu kiseera kye kimu nga kigunje. Wabula mazima ddala Katonda alekera era asonyiwa.
3. Abo bonna abazira bakazi baabwe olw'okulayira nti kubo balinga bannyaabwe ate oluvanyuma nebaddayo eri ekyo kye baali balayiridde (oyo akikola) ateekwa okuta omuddu nga tannaba kuddayo kulabagana namukyalawe. Ekyo nno kyemuteekwa okukola, anti Katonda amanyi nnyo byonna byemukola.
4. Oyo aba tasobodde kuta muddu nga tannalabagana na mukyalawe ateekwa okusiiba emyezi ebiri nga gigoberegana, wabula oyo aba tasobodde ateekwa okuliisa ba masikiini nkaaga. Ekyo kibafuule abakkiriza Katonda n'omubakawe, ago mateeka g'aKatonda era bulijjo abawakanya amateeka g'a Katonda bagenda kutuukibwako ebibonerezo ebiruma.
5. Mazima abo abawakanya Katonda n'omubakawe baswavu nga abaabasooka bwe baaswazibwa, ate nga twassa amateeka agannyonnyola (Haraamu ne Halaal) naye abo abagawakanya bajja kutuukibwako ebibonerezo ebigenda okubanyoomesa.
6. Olunaku Katonda lwalibazuukiza bonna n'ababuulira ebyo byebaakola, Katonda yabikunganya n'abikomekkereza. So ng'ate bbo baabyerabira. Bulijjo Katonda mujulizi ku buli kintu.
7. Abaffe tomanyi nti mazima Katonda amanyi ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, nga tewali kafubo konna kakabe k'abasatu okugyako nga yye waakuna, wadde ak'abataano okugyako nga yye w'amukaaga wadde abatono abatenkana basatu oba abali waggulu w'omukaaga okugyako Katonda aba nabo awo wonna webali, oluvanyuma Katonda ku lunaku lw’enkomerero agenda kubategeeza ebyo byonna byebaali bakola. Anti Katonda amanyi buli kintu kyonna.
8. Abaffe tolaba abo abagaanibwa okukola obufubo (obwenkwe) oluvanyuma ne baddamu ekyo kyenyini ekyabagaanibwa, nga bogeraganya wakati waabwe mu nkukutu olw'okukola ebikyamu n'obulabe n'okujeemera omubaka. Era nga bwe baba bazze gyoli bakulamusa n'ekiramuso ekitali ekyo Katonda kyeyakutekerawo, nga bwe bagamba mu mitima gyaabwe nti lwaki Katonda tatubonereza olwebyo byetwogera. Omuliro Jahannama gwebagenda okuyingira gubamala. Nayo nno nkomerero mbi.
9. Abange mmwe abakkiriza bwe mubanga muteesa mu kyama temuteesanga okukola ekibi kyonna oba obulabe oba okujeemera omubaka. Muteesenga byakukola bulungi nakutya Katonda. Era mutye Katonda anti gyali gyemugenda okukunganyirizibwa.
10. Mazima okuteeseganya mu kyama mu ngeri embi n'okukola obulabe kikolwa kya Sitaane (nga nekigendererwa kye) kunyiiza bakkiriza. Ekyo tekiyinza kubaleetera kabi konna, okugyako nga Katonda akkirizza era abakkiriza bateekwa kwesiga Katonda yekka.
11. Abange mmwe abakkiriza bwe muba mugambiddwa nti mwefunze mu ntuula (ne banammwe bafune ebifo) mukikole. Katonda ajja ku basobozesa okugaziwa, ate bwe muba mugambiddwa okusituka (okuva mu kifo olwensonga yonna) musituke, anti Katonda asitula amadaala mu mmwe abakkiriza n'abo abaweebwa okumanya. Bulijjo Katonda mumanyi nnyo webyo byonna byemukola.
12. Abange mmwe abakkiriza bwemwagalanga okwogera n'omubaka musookenga ku saddaka, nga temunayogera naye. Ekyo kye kirungi gye muli era kyekisinga era kibatukuliza ddala. Naye bwe muba temulina kyemusadaka mazima Katonda musonyiyi waakisa.
13. Abaffe muzitowereddwa okuwaayo saddaka nga temunnaba kwogera ne Nabbi. Kale bwekibanga kibalemye oba nga ne Katonda abasonyiye, kale nno muyimirizeewo e sswala mutoole e zzaka mugondere Katonda n'omubakawe. Mazima Katonda amanyidde ddala nnyo ebyo byemukola.
14. Abaffe tewamanya abo abakwanagana n'abantu Katonda beyasunguwalira, abantu abo mu butuufu si ba mu mmwe wadde si ba mu bali (Bebakwanagana nabo) nebatuuka n'okulayira ku bulimba nga ate ddala bamanyi (ekituufu).
15. Katonda yabategekera ebibonerezo ebikambwe, anti mazima byonna byebaakolanga bibi.
16. (Okulayira kwabwe nti basiramu) baakifuula ekyokuwona, olwo nno nebaziyiza abantu okukola emirimu gya Katonda, bagenda kutuukibwako ebibonerezo ebinyomesa.
17. Emaali yaabwe n'abaana baabwe tebigenda kubagasa naakamu mumaaso g'a Katonda. Abo be bantu bo mumuliro ab'okugubeeramu obugenderevu.
18. Olunaku Katonda lwalibazuukiza bonna nebamulayirira nga bwebaabalayirira mmwe ku nsi nga balowooza nti kyebakoze kyakubagasa. Abange, abo nno beebalimba bennyini.
19. Sitaane yabeefunza okutuusa lweyabeerabiza okwogera ku Katonda. Abo nno be bagoberezi ba Sitaane. Mukimanye nti mazima ab'ekibiina kya Sitaane be b'okufafaganirwa.
20. Mazima abo abawakanya Katonda n'omubakawe ba mu bantu abanyoomebwa.
21. (Katonda) yakakasa dda nti nze Katonda n'ababaka bange tuli baakuwangula anti Katonda wamaanyi. Nnantakubwa ku mukono.
22. Tewali bantu bonna abakkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero baalibadde batiitiibya abo abawakanya Katonda n'omubakawe, kababe ba kitaabwe, oba baana baabwe, oba baganda baabwe, oba nga baaluganda lwabwe olwokumpi. Abo nno (abatakola ekyo) Katonda yatebenkeza obukkiriza mu mitima gyabwe, naabawagira naamanyi agava gyali era nga agenda kubayingiza e jjana egikulukutira wansi waazo emigga, nga bakubeera mu zo olubeerera. Katonda yabasiima nga nabo bwebaamusiima. Kisaana kimanyike nti mazima abo b'ebantu ba Katonda abokwesiimira ddala.
Icon