ترجمة سورة الملك

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة الملك باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Mukama Katonda nanyini buyinza bwonna musukkulumu, era nga muyinza w'abuli kintu.
2. Oyo eyatonda okufa n'obulamu, olwokubageseza alabe ani asinga okukola obulungi. Naye ye Nnantakubwa ku mukono omusonyiyi.
3. Oyo eyatonda eggulu omusanvu nga myaliro, toyinza kulaba mu kutonda kwa Katonda kamogo konna w'etegereze abaffe olabamu obukyamu bwonna.
4. Era zzaayo amaaso emirundi nemirundi eriiso lijja ku kuddira nga likooye era nga tolina kyofunyeeyo.
5. Mazima eggulu eriri okumpi n'ensi twalinyiriza nemunyeeye ezaaka, era nga bitawuliro ebigoba Sitani era Sitani ezo twazitegekera ebibonerezo byomuliro Ssair.
6. Ate bbo abaawakanya Katonda waabwe twabategekera ebibonerezo byamuliro Jahannama era buliba buddo bubi.
7. Bwe baligusuulwamu bagenda kuguwulira nga gutokota era nga gufuuwa.
8. Nga gubula kuyulikamu buli lwegunasulwangamu ekibinja abakuumi bagwo banababuuzanga nti temwajjirwa muntu yenna abatiisa (muliro guno)?
9. Baliddamu nti weewawo omutiisa yatujjira naye netumulimbisa era netumugamba nti Katonda tassanga bubaka bwonna, ebyo byemulimu bubuze obuyitirivu.
10. Baligamba nti singa twali tuwulira oba nga tutegeera (ebyatugambwanga) tetwandibadde bamu kwabo abayingira omuliro.
11. Nebeekakasaako ekyonoono kyabwe okufaafaganirwa kuli ku bantu bo mu muliro.
12. Mazima abo abatya Katonda wabwe awamu n'okuba nga talabika, bagenda okufuna ekisonyiwo n'empeera ensuffu.
13. Kyekimu mukwese ebigambo byamwe oba mubyatudde mazima yye amanyi ebiri mu bifuba
14. Abaffe eyatonda ayinza obutamanya nga ate ye muyitirivu w'okumanya era nga mukugu nnyo!.
15. Yye yoyo eyabafuulira ensi enyangu, kale mutambule mu bitundu byayo mulye mu bigabwabye era gyali gye mugenda okudda.
16. Musuubidde okuwona oyo ali waggulu ensi n'etabamira singa eba etabanguse.
17. Oba musuubidde okuwona oyo ali waggulu n'atabasindikira muyaga, wabula mugenda kumanya okulabula kwange nga bwekwali okukulu.
18. Abo abaaliwo oluberyeberye lwabwe baalimbisa, naye tewamanya kyennabatusaako.
19. Abaffe tebalaba ebinyonyi ebibuukira waggulu wabwe nga byanjuluza ebiwawaatiro ate nga n'oluusi biwumbako, tewali kibikuumira mu bbanga okugyako Katonda omusaasizi, mazima ye alaba buli kintu.
20. Oba ani oyo asobola okubalwanirira n'abataasa atali Katonda, abawakanyi tebalina kyebaliko okugyako mawaggali.
21. Ye abaffe ani oyo ayinza okubagabirira singa Katonda abajjako okugabirirakwe. Wabula baagwa mu kateebe k'okuwalaaza empaka n'okwewaggula.
22. Ye abaffe oyo atambula abwamiridde ku kyenyikye y'abeera kubulungamu oba oyo atambula nga yeegolodde ngali ku Kkubo eggolokofu.
23. Bagambe nti Katonda y'eyabatandikawo n'abassako amatu n'amaaso n'abawa n'emitima wabula mwebaza kitono.
24. Bagambe nti Katonda yoyo eyabassa mu nsi era nga mugenda kuzuukizibwa mudde gyali.
25. Bagamba mu kubalaata nti ebyo byemutulaganyisa biribaawo ddi bwe mubanga byemwogera bituufu.
26. Bagambe nti okumanya okujjuvu okukwata ku nsonga eyo kuli wa Katonda, naye nze ndi mutiisa owolwatu.
27. Bwe baliraba e bibonerezo nga bisembedde, ebyenyi byabo abakafuwala bigenda kwekaba, awo balyoke bategezebwe nti ekyo nno kye mwagambanga nti kirituukaddi.
28. Bagambe nti, mulaba mutya singa Katonda anzikiriza n'abo abali nange oba n'atusaasira anti obuyinza bwonna buli gyali, naye ani alitaasa abakafiiri ku bibonerezo ebiruma.
29. Bagambe nti yye Katonda omusaasizi gwetukkiriza era yekka gwetwesiga wabula lumu mulimanya ani ali mu bubuze obweyolefu.
30. Bagambe nti mulaba mutya singa amazzi gammwe bukya nga gakalidde ani ayinza okubawa amazzi agakulukuta amayonjo.
Icon