ترجمة سورة لقمان

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة لقمان باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Alif Laam Miim
2. Ebyo bigambo eby'ekitabo ekijjudde amagezi.
3. Nga bulungamu era kusaasira eri abalongoosa.
4. Abo abayimirizaawo e sswala ne batoola Zakka, nabo nga bakakasa olunaku lw'enkomerero.
5. Abo bali ku bulungamu okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe era abo bbo be b'okwesiima.
6. Mu bantu mulimu agula emboozi ezitaliimu makulu, olwo nno abeere nga abuza (abantu) n'abaggya ku kkubo lya Katonda awatali kusinziira ku kumanya kwonna, era nga ebigambo (bya Katonda) abifuula bya lusaago, abo nno balina e bibonerezo ebinyoomesa.
7. Ebigambo byaffe bwe biba bimusomeddwa akyuka nga yeekuza, n'aba nga atabiwulidde amatuuge negaba nga agalimu envumbo, kale musanyuse n'ebibonerezo ebiruma ennyo.
8. Mazima abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi balina e jjana ezijjudde e byengera.
9. Baakutuula muzo obugenderevu, nga eyo ye ndagaano ya Katonda ey'amazima, era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
10. Yatonda eggulu omusanvu awatali mpagi zemulaba, ate nassa mu nsi ensozi ennywevu ereme kubayuuza, ate n'asaasaanya mu yo, buli kika kya kitambula, era netussa okuva waggulu amazzi ne tumeza mu yo mu buli mitindo ebiri ebiri (ebimera) eby'omugaso omusuffu.
11. Okwo kwe kutonda kwa Katonda, kale mundage abo abatali yye bye batonda. Wabula (ekituufu kiri nti) abeeyisa obubi bali mu bubuze obweyolefu.
12. Era mazima twawa Lukman okumanya ensonga (ne tumugamba) nti weebaze Katonda, era omuntu eyeebaza yeebaza ku lulwe, ate oyo akaafuwala mazima Katonda talina kye yeetaaga (eri kitonde kyonna) era atenderezebwa nnyo.
13. Era jjukira Lukman bwe yagamba Mutabaniwe bw eyali amubuulirira nti: owange mwana wange togattanga ku Katonda ekintu ekirala mazima okugatta ku Katonda ekintu ekirala kwe kweyisa obubi okubi ennyo.
14. Era twakalaatira omuntu okuyisa obulungi bakaddebe bombi, nnyina amusitula mu lubuto nga bunafu obweyongera ku bunafu, era nga okumuggya ku mabeere (kubaawo) mu banga lya myaka ebiri, (era ne tumugamba) nti neebaza era weebaze bakaddebo. Gyendi yokka yeeri obuddo.
15. Bwe baba bakuwalirizza obe nga ongattako ekyo ky'otolinaako kumanya kwonna tobagonderanga, naye kolagana nabo mu nsi mu ngeri nnungi, era ogoberere ekkubo ly'oyo eyeemenya nadda gyendi. Ate oluvanyuma gyendi yeeri obuddo bwa mmwe olwo nno nembategeeza ebyo bye mwakolanga.
16. Owange Mutabani wange mazima kyo (e kikolwa) ne bwe kiba kyenkana obuzito bwempeke ya Khardali, keebe nga eri mu lwazi oba mu ggulu omusanvu oba e nsi, Katonda agenda kukireeta (asasule e yakikola) mazima Katonda amanyidde ddala ebitalabika, ate buli kintu akimanyidde ddala okuva ku ntobo yaakyo.
17. Owange Mutabani wange yimirizaawo e sswala olagire (abantu) okuyisa obulungi, obakomeko ku kweyisa obubi era ogumiikirize ku ebyo ebiba bikutuuseeko. Mazima ebyo (ebikugambiddwa) bye bimu ku bigambo e bikakafu.
18. Tokyusizanga ettamalyo abantu olw'okwekuza (ng'obalengezza) era totambulanga mu nsi nga weewulira, mazima Katonda tayagala buli yenna eyeekuluntaza omwewulize.
19. Pima entambulayo (tosaayirira ate totambula nga nawolovu) kakkanya e ddoboozilyo, mazima eddoboozi erisinga obubi mu maloboozi gonna ddoboozi lya ndogoyi.
20. Abaffe temulaba nti mazima Katonda yabagondeza ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, era n'abawa mu bungi ebyengerabye eby'okungulu n'ebyomunda, naye mu bantu mulimu abawalaaza empaka ku bikwata ku Katonda awatali kusinziira ku kumanya kwonna wadde obulungamu wadde e kitabo ekibamulisiza e kkubo.
21. Bwe baba bagambiddwa nti mugoberere ebyo Katonda bye yassa bagamba nti nedda tugoberera ebyo bye twasangako bakadde baffe, naye abaffe (balemera ku ekyo) newaakubadde Sitane ebakoowoola kudda eri omuliro Sairi (bamala gagoberera).
22. Yye, omuntu awaayo ekyenyikye ewa Katonda era nga mulongoosa, mazima aba yeekutte ku muguwa omunywevu era ewa Katonda yeeri enkomerero y'ebigambo.
23. Oyo yenna akaafuwala, okukaafuwalakwe tekukunakuwaza gye tuli yeeri obuddo bwabwe, olwo nno tulibategeeza bye baakola. Mazima Katonda amanyidde ddala ebiri mu bifuba.
24. Tubeeyagaza kitono, oluvanyuma tulibawalabanya okubatwala eri ebibonerezo ebizito.
25. Singa obadde obabuzizza nti: ani yatonda eggulu omusanvu n'ensi? ddala bajja kugamba nti Katonda, bagambe nti (n'olwekyo) okutenderezebwa kwonna kwa Katonda. Wabula abasinga obungi ku bo tebamanyi.
26. Bya Katonda ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi, mazima Katonda yye y'atalina kye yetaaga (era) atenderezebwa.
27. Era mazima singa e miti gyonna egiri mu nsi zaali kalaamu, nga n'ennyanja (eziriwo) ziyambibwako ennyanja musanvu oluvanyuma lwa zino, ebigambo bya Katonda tebyaliweddeyo, mazima Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
28. Okutondebwa kwa mmwe n'okuzuukira kwa mmwe tekuli okugyako okuba nga kulinga okutonda n'okuzuukiza omuntu omu. Mazima Katonda awulira nnyo alabira ddala.
29. Abaffe tolaba nti mazima Katonda ayingiza ekiro mu budde obw'emisana, ate naayingiza obudde obw'emisana mu kiro era naagonza enjuba n'omwezi, buli kimu kigenda kudduka okutuusa ku kiseera ekigere, era mazima Katonda amanyidde ddala bye mukola.
30. Ekyo kiri bwe kityo, lwa kuba nti Katonda yye ye mazima, era ddala ebyo bye basaba ne baleka Katonda bye bikyamu, era mazima Katonda yye ye wa waggulu asinga okuweebwa e kitiibwa.
31. Abaffe tolaba nti mazima amaato gaseeyeeya ku nnyanja ku lw'okusaasira kwa Katonda, olwo nno abe nga abalaga mu bubonerobwe. Mazima ekyo mulimu eby'okuyiga eri buli mugumiikiriza omwebaza.
32. (Abatakkiriza bwe babeera mu maato ago) amayengo bwe gababikka ne genkana ng'ensozi (olwo nno) basaba Katonda, nga eddiini yonna bagikola ku lulwe yekka, naye bwabawonya, naabatuusa ku lubalama, mu bo mu baamu abeegendereza (ne baba wakati w'okukola e mirimu e mirungi n'emibi) era tawakanya bubonero bwaffe okugyako buli wa nkwe omukaafiiri.
33. Abange mmwe abantu mutye Mukama omulabirizi wa mmwe era mutye olunaku omuzadde lwataligasa mwanawe wadde omwana okuba nti yye y'aligasa mukaddewe ekintu kyonna, mazima endagaano ya Katonda ya mazima, kale nno obulamu bw'ensi tebubabulankanyanga era ebirabankanya tebibaggyanga ku Katonda.
34. Mazima Katonda ewuwe yokka y'eri okumanya ebifa ku lunaku lw'enkomerero, era y'atonnyesa e nkuba, era yamanyi ekyo ekiri mu nnabaana, omuntu tayinza kumanya kiki kyaanaafuna enkya, era omuntu tayinza kumanya alifiira mu nsi ki, mazima Katonda amanyi nnyo ategeerera ddala buli kintu okuva ku ntobo yaakyo.
Icon