ﯝ
surah.translation
.
ﰡ
1. Mazima ffe tukugguliddewo oluggulawo olweyolefu.
2. Katonda alyoke akusonyiwe ebyonoono byo ebyakulembera, n'ebyo ebyoluvanyuma, era ajjuze ekyengera kye kye yakuwa, era akulungamye mu kkubo eggolokofu.
3. Era akutaase olutaasa olwa nnamaddala.
4. Yye yooyo eyassa obutebenkevu mu mitima gya bakkiriza babe nga beyongera obukkiriza ku bukkiriza bwabwe (obwasooka), amagye go mu ggulu omusanvu ne nsi gonna ga Katonda, era (bulijjo) Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga.
5. Olwo nno ayingize abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakazi e jjana, nga emigga gikulukutira wansi waazo, ba kutuula mu zo obugenderevu, era abagyeko ebisobyo bya bwe, ekyo ewa Katonda bwe buwanguzi obunene.
6. Era abonereze abananfusi abasajja n'abannanfusi abakazi, n'abasajja abagatta ebintu ebirala ku Katonda n'abakazi abagatta ebintu ebirala ku Katonda, abalowooza ku Katonda endowooza embi, batukwako enkyukakyuka embi, era Katonda yabasunguwalira nabakolimira era yabategekera omuliro Jahannama (era nga ggwo) buddo bubi.
7. Era amagye go mu ggulu omusanvu n'ensi gonna ga Katonda, era (bulijjo) Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
8. Era mazima ffe twakutuma (ggwe Nabbi Muhammad) nga oli mujulizi era omusanyusa (olwa mawulire agessanyu gowa abakozi bo bulungi) era omutiisa (olwa mawulire ag’ebibonerezo eri abakozi be bibi).
9. Mulyoke mukkirize Katonda n’omubaka we, era mu muyambe era mumuwe ekitiibwa era (Katonda) mumutendereze enkya ne ggulo.
10. Mazima abo abalangirira obuwagizi bwabwe gyoli mazima balangirira buwagizi bwabwe eri Katonda, omukono gwa Katonda guli waggulu wa mikono gya bwe, kale nno oyo anaamenya endagaano mazima mukugimenya aba yeefiriza yekka, nooyo atuukiriza ekyo kye yaweerako Katonda obweyamu ajja kumuwa empeera ensuffu.
11. Ba nnamalungu abaasigala (ne batagenda Makkah naawe) bajja kugamba nti emmaali yaffe na b’omumaka gaffe bye bya tulobera okugenda n’olwekyo tusabire ekisonyiwo, boogera ne nnimi zaabwe ebyo ebitali mu mitima gyabwe, bagambe nti olwo nno ani alina obuyinza ewa Katonda ku kintu kyonna ekibakwatako singa aba abaagalizza kabi, oba nga abaagalizza eky'omugaso, wabula Katonda amanyidde ddala ensibuko y'ebyo bye mukola.
12. Wabula mwalowooza nti omubaka n’abakkiriza lubeerera tebaali ba kudda eri bantu ba mu maka gaabwe, era ekyo nekinyirizibwa eri emitima gya mmwe, nemulowooza endowooza embi, era nemuba abantu abaggweera mu kubula.
13. Oyo yenna atakkiriza Katonda n’omubaka we, (ka kumujjuutuka) anti mazima ffe abakafiiri twabategekera omuliro S’aira.
14. Obufuzi obwe ggulu omusanvu n'ensi bwa Katonda, asonyiwa gwaba ayagadde era nabonereza gwaba ayagadde era bulijjo Katonda musonyiyi nnyo musaasizi.
15. Abataagenda (naawe ku lutabaalo lwe Khaibara) bwe mugenda eri eminyago mube nga mugifuna bajja kugamba nti mutuleke tubagoberere, nga baagala okuba nga bakyusa ebigambo bya Katonda (okuba nga eminyago gyabo bokka ebeetaba mu lutabaalo) bagambe nti temutugoberera, bwekityo Katonda bwe yagamba oluberyeberye, olwo nno bajja kugamba nti wabula (mmwe) mutukwatirwa nsaalwa (naye nga si kyekyo) wabula baali tebategeera okugyako katono ddala.
16. Gamba abo abaasigala mu ba nnamalungu, nti lumu mujja kuyitibwa okugenda eri abantu abaamaanyi amayitirivu mube nga mulwanagana nabo oba basiramuke, awo nno singa muligonda (nemutuukiriza ekiragiro) Katonda ajja kubawa empeera ennungi, naye kemulimala muva kwekyo (ne mutalwana) nga bwe mwakyuka oluberyeberye (bwe mutaalwana) agenda kubabonereza ebibonerezo ebiruma ennyo.
17. Muzibe taliiko kunenyezebwa, n’omulema taliiko kunenyezebwa, wadde omulwadde naye taliiko kunenyezebwa, oyo yenna agondera Katonda n’omubaka we amuyingiza e jjana, emigga nga gikulukutira wansi waazo, ate oyo yenna akyuka (naatamugondera) agenda ku mubonereza ebibonerezo ebiruma ennyo.
18. Katonda yasiima abakkiriza bwe baalangirira obuwagizi bwabwe gyoli (bwe mwali) wansi wo muti olwo nno yamanya ebiri mu mitima gya bwe kwe kussa obutebenkevu ku bo, era nabasasula n'abawa obuwanguzi obwali okumpi.
19. N'eminyago mingi gye baafuna, era (bulijjo) Katonda ye nantakubwa ku mukono mugobansonga.
20. Katonda yabalagaanyisa eminyago mingi gye mulifuna, naye guno gwo naagubanguyiza era naaziyiza emikono gya bantu obutabatuukako (obutabalwanyisa) era (ebyo) bibeere kya kuyiga eri abakkiriza era abalungamye mu kkubo eggolokofu.
21. (Waliyo n'eminyago) emirala gye mutannasobola (kufuna) naye nga mazima Katonda agyetoolodde (gyonna agimanyi) era bulijjo Katonda muyinza ku buli kintu.
22. Era singa abo abakaafuwala babalwanyisa, ddala bandikubyeyo amabega (ne badduka) era nga tebayinza kufuna mukuumi wadde omudduukirize.
23. Eyo yenkola ya Katonda ebaddewo okuva oluberyeberye, era enkola ya Katonda toyinza kugisangamu kukyusibwa.
24. Era yye yooyo eyaziyiza emikono gyabwe ku mmwe era naziyiza emikono gya mmwe ku bo (ne mutalwanagana bwe mwasisinkana) mu makkati gomu Makkah, nga yali amaze okubawa obuwanguzi ku bo, era nga Katonda bulijjo alabira ddala ebyo bye mukola.
25. Bo beebo abaakafuwala ne babaziyiza okutuuka ku muzigiti ogwe mizizo, nga n'ebirabo biremeseddwa okutuuka mu bifo byabyo, era singa si basajja abakkiriza n'abakazi abakkiriza, be mutaamanya okuba nti mwali muyinza okubatusaako obulabe (ne mubatta), ne mutuukwako akamogo (akokunenyezebwa okubatta) mu butali bugenderevu, Katonda yandibadde akkiriza ne mwambalagana nabo, (ekyo kyali bwekityo) Katonda abe nga ayingiza mu kusaasira kwe oyo gwaba ayagadde, era singa beeyawula (abakkiriza bokka na batakkiriza bokka) era twandibonerezza abo abaakafuwala mu bo ebibonerezo ebiruma.
26. Jjukira abo abaakafuwala bwe bassa mu mitima gyabwe effutwa, effutwa lyo mu biseera eby'obutamanya, olwonno Katonda nassa obukkakkamu ku mubaka we, ne ku bakkiriza nabanywereza ku kigambo kyo kutya Katonda era nga be baali basinga okukisaanira, era nga be baali ba nannyinikyo era bulijjo Katonda mumanyi wa buli kintu.
27. Mazima Katonda yatuukiririza omubaka we endooto gye yamulaga eya mazima (bwe yaloota nti) ddala mujja kuyingira omuzikiti ogwemizizo Katonda bwaliba ayagadde. (muliguyingira) nga muli mirembe, nga mumwedde emitwe gya mmwe, nga (abalala) mukendezezzaako bukendeeza nga temutya. (Yamanya kye mutaamanya), nateekawo obuwanguzi obwokumpi (nga ekyo tekinnabaawo, bwe mwakola endagaano ye Hudaibiyah).
28. Katonda yye, yooyo eyatuma omubaka we naleeta obulungamu n'eddiini eya amzima abe ng'alaga ekifo kyaayo ekya waggulu ku madiini gonna, kimala okuba nti Katonda yemujulizi (kw'ekyo).
29. Muhammad Mubaka wa Katonda era abo abali naye bakambwe ku bakafiiri, basaasiragana, obalaba nga bakutamye ku maviivi, ne bwebaba bavunnamye ku ttaka, nga banoonya ebigabwa bya Katonda n’okusiima (kwe) obulambe bwabwe bulabika mu byenyi byabwe olwo mukululo gwo kuvunnama, ekyo kye kifaananyi kyabwe mu Tauraati era ekifaananyi kyabwe mu njiri, balinga ekimera ekifulumya omutunsi gwakyo negukiwanirira okutuusa lwe kikakata, olwo nno ne kyetengerera ku nduli yaakyo nekiba nga kisanyusa abalimi. (Abantu abakubiddwako ekifaananyi ekyo) balyoke babe nga abakafiiri banakuwala ku lwabwe, abo abakkiriza mu bo ne bakola emirimu emirongoofu Katonda yabalagaanyisa ekisonyiwo n'empeera ensuffu.