1. Ku lw’erinnya lya Katonda omusaasizi oweekisa ekingi, omusaasizi oweekisa ekyenjawulo.
2. Amatendo gonna ga Katonda Omulezi w’ebitonde byonna.
3. Omusaasizi oweekisa ekingi, omusaasizi oweekisa ekyenjawulo.
4. Nannyini buyinza yekka ku lunaku lw'okusasula (olunaku lw'enkomerero).
5. Gwe wekka gwe tusinza era ggwe wekka gwetusaba okutubeera.
6. Tulungamye mu kkubo eggolokofu.
7. Ekkubo ly’abo bewagabira ebyengera, abatali abo bewasunguwalira era abatali abo abaabula.