ﮩ
surah.translation
.
ﰡ
ﮡ
ﰀ
1. Alif Laam Miim.
2. Abaffe abantu basuubira okulekebwa babe nga bagamba nti tukkirizza nga nabo tebagezesebwa.
3. Mazima twagezesa abo abaabakulembera, Katonda ajja kumanyira ddala abo ab'esimbu (mu bukkiriza bwa bwe) era ajja kumanyira ddala abalimba.
4. Oba abo abakola ebibi basuubira nti bayinza okutulemesa (ne tutababonereza), balamula bubi.
5. Oyo yenna asuubira okusisinkana Katonda mazima e kiseera kya Katonda (okumusisinkana) kijja, era yye ye muwulizi ennyo omumanyi ennyo.
6. Oyo yenna alafuubana (okuweereza Katonda) mazima yeelafuubanira ku lulwe mazima Katonda talina kye yeetaaga ku bitonde.
7. Ate abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu ddala tugenda kubasangulako ebibi bya bwe, era tujja kubasasulira ddala ebirungi ebisinga bye baali bakola.
8. Era twalaamira omuntu okuyisa obulungi bakaddebe bombi, naye bwe bakuwaliriza obe nga ongattako ekyo kyotalinaako kumanya kwonna tobagonderanga, gyendi y'eri obuddo bwa mmwe olwo nno mbategeeze ebyo bye mwakolanga.
9. Era abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi tujja kubayingiririza ddala mu balongoofu.
10. Mu bantu mulimu agamba nti nzikirizza Katonda naye bwayisibwa obubi ku lwa Katonda afuula okunyigiriza kwa bantu nga e bibonerezo bya Katonda, wabula singa okutaasa kwa Mukama omulabiriziwo kuba kuzze olwo nno bagambira ddala nti tubadde wamu nammwe, abaffe Katonda si y'asinga okumanya ebyo ebiri mu bifuba bye bitonde!.
11. Katonda ajja kumanyira ddala abo abakkiriza era nga bwajja okumanyira ddala abannanfusi.
12. Era abo abaakaafuwala bagamba abo abakkiriza nti mugondere enkola yaffe olwo nno naffe twetikke ebibi bya mmwe so nga tebali bo ba kwetikka kintu kyonna mu bibi bya bwe, mazima bbo balimba.
13. Bagenda kwetikka emigugu gyabwe n'emigugu (emirala) awamu n'emigugu gyabwe, era ddala bagenda kubuuzibwa ku lunaku lw'enkomerero ku ebyo bye baatemereranga.
14. Mazima twatuma Nuuhu eri abantube naamala mu bo emyaka lukumi okugyako emyaka ataano, olwo nno amataba negabakwata nga nabo bali mu kweyisa bubi.
15. Netumuwonya n'abantu abaali mu lyato ne tukifuula kya kuyiga eri abantu.
16. Era (babuulire) ekyafaayo kya Ibrahim bwe yagamba abantube nti musinze Katonda era mumutye ekyo kye kirungi gye muli bwe muba nga mumanyi.
17. Mazima musinza amasanamu ne muleka Katonda ne mussaawo obulimba, mazima abo be musinza ne muleka Katonda tebafuga riziki yammwe n'olwekyo ewa Katonda gye muba munoonya riziki, mumusinze era mumwebaze gyali gye mulizzibwa.
18. Bwe munaalimbisa, mazima ebibiina bingi byalimbisa oluberyeberye lwa mmwe, ate omubaka tavunaanyizibwa okugyako okutuusa (obubaka) okweyolefu.
19. Abaffe tebalaba engeri Katonda gy'atandikamu ebitonde (ne bivaawo) oluvanyuma n'abizzaawo mazima ekyo kyangu nnyo ku Katonda.
20. Bagambe (ggwe Muhammad) nti mutambule mu nsi mulabe engeri gye yatandika ebitonde ate Katonda agenda kusibula olusibula olw'enkomerero, mazima Katonda muyinza ku buli kintu.
21. Abonereza oyo gwaba ayagadde era n'asaasira oyo gwaba ayagadde era gyali gye mulikyusibwa okudda.
22. Ate mmwe ku nsi ne mu ggulu temusobola kulemesa (Katonda) ate nga oggyeeko Katonda temusobola kufuna mukuumi wadde omutaasa.
23. Abo abawakanya ebigambo bya Katonda n'okumusisinkana abo baakutuka n'okusuubira okusaasira kwange era abo balina ebibonerezo e biruma ennyo.
24. Okwanukula kwa bantube tekwali okugyako okugamba nti: mumutte oba mumwokye awo nno Katonda naamuwonya omuliro, mazima mu ekyo mulimu obubonero obulaga obuyinza bwa Katonda eri abantu abakkiriza.
25. (Ibrahim) naabagamba nti mulese Katonda ne mweteerawo ebifaananyi olw'enkolagana eri wakati wa mmwe mu bulamu bw'ensi, oluvanyuma ku lunaku lw'enkomerero abamu bagenda kwegaana bannaabwe era abamu bakolimire bannaabwe, nga n'obuddo bwa mmwe muliro, temuliba na bataasa (babadduukirira).
26. Olwo nno Luutu naamukkiriza era naagamba nti mazima nze ngenda kusenguka nzire ewa Mukama omulabirizi wange, mazima yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
27. Era (Ibrahim) ne tumugabira Ishaaka ne Yakub era netussa mu zzadderye obwa Nabbi n'ebitabo (Taurat, Zaburi, Injiiri, Kur’ani) era twamuwa empeeraye ku nsi era mazima yye ku nkomerero wa mu bakozi ba bulungi.
28. Era (bajjukize) Luutu bwe yagamba abantube nti mazima mmwe mukola ekivve awatabanga muntu n'omu yakibasookako.
29. Mazima mmwe mudda ku basajja mu kifo ky'abakyala (ne mulya ebisiyaga) ne mukutula amakubo (ku bantu nga mubateega), ne mukola e bitasaana mu bifo bya mmwe wemukunganira. Okwanukula kw'abantube tekwali okugyako okugamba nti tuleetere ebibonerezo bya Katonda bwoba nga oli mu boogera amazima.
30. (Luutu) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange ntaasa ku bantu abOonoonyi.
31. Ababaka baffe (ba Malayika) bwe bajja ewa Ibrahim nga bamuleetedde amawulire ag'essanyu (ag'okuzaala omwana Ishaka) baagamba nti mazima ffe (bwe tuva wano) tugenda kuzikiriza abantu b'omu kitundu kiri mazima abantu baamu babadde beeyisa bubi.
32. (Ibrahim) naagamba nti mazima mu kyo Luutu mwabeera, ne bagamba nti ffe tusinga okumanya abaliyo, ddala tujja kumuwonya n'abantube okugyako mukyalawe ali mu abo ab'okusigala.
33. Ababaka baffe bwe batuuka ewa Luutu yanakuwala ku lwab bwe, era naawulira nga talina maanyi ga kubataasa, ne bamugamba nti totya era tonakuwala, mazima ffe tujja kukuwonya n'abantubo okugyako mukyalawo yye wa mu abo abookusigala.
34. Mazima ffe tugenda kussa ku bantu b'ekitundu kino e bibonerezo okuva mu ggulu olw'ebyo bye baali boonoona.
35. Era mazima olw'ekikolwa ekyo twaleka a kabonero ak'enkukunala eri abantu abategeera.
36. Era (jjukira) bwe twatumira abantu be Madiyana Muganda waabwe Swaibu naagamba nti abange abantu bange musinze Katonda, era mususubire (okusasulwa ku) lunaku lw'enkomerero, temukola ebikyamu mu nsi ne muba aboonoonyi.
37. Baamulimbisa olwo nno olubwatuka olw'amanyi ne lubatuukako ne bafuuka emirambo egigangalamye mu mayumba gaabwe.
38. Era (Jjukira) ebyatuuka ku bantu b'ekika kya A’di ne Thamud, mazima ebibakwatako bimanyiddwa gye muli okusinziira ku mayumba gaabwe nga bwe galabika kati, era Sitane yabanyiririza emirimu gya bwe emibi, olwo nno neebaggya ku kkubo so nga ate baali balaba (olwa ba Nabbi be baali bafunye).
39. Era jjukira Karuna ne Firaawo ne Haamaan, mazima Musa yabajjira n'obunnyonnyofu naye ne beekuluntaliza mu nsi era tebaali ba kusimattuka.
40. Buli omu twamuvunaana olw'ekibikye, mu bo mulimu betwasindikira empewo eya mayinja, ate mu bo mulimu abaatuukwako okubwatuka, era mu bo mulimu betwamiza ettaka era mu bo mulimu be twazikiriza mu mazzi naye Katonda tabangako waakubalyazaamaanya wabula bennyini be beeyisa obubi.
41. Ekifaananyi ky'abo abeeteerawo abataasa ne baleka Katonda, balinga nabbubi eyeezimbira e nyumba ate ng'enyumba esinga obunafu y’enyumba ya nabbubi singa baali bamanyi.
42. Mazima Katonda amanyi nti bye basaba ne bamulekawo tebiriimu kantu, era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
43. Era ebyo ebifaananyi tubikubira abantu naye tebabitegeera okugyako abamanyi.
44. Katonda yatonda eggulu omusanvu, n'ensi mu ngeri entuufu, mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga eri abakkiriza.
45. Soma ebyo ebitumiddwa gyoli ebiri mu kitabo (Kur’ani) era yimirizaawo e sswala, mazima e sswala erobera okukola eby'obuwemu n'empisa embi, era okutendereza Katonda kye kisinga obukulu, era Katonda amanyi bye mukola.
46. Era temuwakananga ne ba nannyini Kitabo okugyako nga mukozesa amakubo agasinga obulungi, okugyako ku abo abeeyisa obubi mu bo era mugambe nti (ffe) tukkirizza ekyo ekyassibwa gye tuli ne kyassibwa gye muli, nga Katonda waffe era Katonda wa mmwe ali omu, nga naffe fenna yye yekka gwe tweewa.
47. Era bwe tutyo twassa gyoli ekitabo (Kur’ani) abo betwawa ekitabo (nga tetunnakuwa Kur’ani) bagikkiriza ne mu abo (Abawarabu be Makkah), mulimu abo abagikkiriza era tewali awakanya bigambo byeffe (ebiri mu Kur’ani) okugyako abakafiiri.
48. (Ebimu ku bya magerobyo) kwe kuba nti ggwe tosomangako kitabo kyonna oluberyeberye nga Kur’ani tennakuweebwa wadde okuwandiika n'omukonogwo ogwaddyo, singa si bwe kyali ddala aboonoonyi baali buusizzabuusizza.
49. Wabula (ekituufu kiri nti) Kur’ani bigambo bya (Katonda) ebinnyonnyofu, eri mu bifuba byaabo abaaweebwa okumanya tewali awakanya bigambo byaffe (ebiri mu Kur’ani) okugyako abeeyisa obubi.
50. (Abagatta ku Katonda e bintu e birala) bagamba nti singa (Muhammad) aweereddwa obubonero okuva ewa Mukama omulabiriziwe, bagambe nti mazima obubonero bwa Katonda, naye mazima nze ndi mutiisa ow'olwatu.
51. Abaffe tekibamala okuba nti twakuwa ekitabo ekibasomerwa, nga mulimu okusaasira n'okubuulirira eri abantu abakkiriza.
52. Bagambe nti kimala wakati wange na mmwe okubeera nga Katonda ye mujulizi (akakasa nti ndi mubakawe), Katonda y'amanyi ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi, naye abo abakkiriza ebitali bituufu ne bawakanya Katonda abo nno be b'okufaafaaganirwa.
53. Bakusaba (mu ngeri y'olujereegerero) obanguyize ebibonerezo, singa tewaaliwo kiseera kigere bibonerezo byandibajjidde (awo we baalibadde babisabidde) era ddala e bibonerezo bya kubajjira kibwatukira nga nabo tebategedde.
54. Bakusaba obanguyirize e bibonerezo (naye mazima tebamanyi) nti mazima omuliro Jahannama ddala gulitaayiza abakaafiiri.
55. Ku lunaku e bibonerezo lwe biribatuukako nga biva waggulu ne wansi w'ebigere bya bwe, era Katonda abagambe nti mukombe ku bukaawu bw'ebyo bye mwali mukola.
56. Abange mmwe abaddu bange abakkiriza (bwe muba nga muli mu kunyigirizibwa) mazima ensi yange ngazi (musenguke munsinzize awalala), era nze nzekka nze gwe muba musinza.
57. Buli mwoyo gwonna gwa gukomba ku kufa, oluvanyuma gye tuli gye mujja okuzzibwa.
58. Era abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu tujja kubawa ebisenge eby'awaggulu mu jjana nga emigga gikulukutira wansi waabyo, baakubeera mu byo olubeerera (ebyo) birungi nnyo okuba nga y'empeera ya bakola obulungi.
59. Abo abagumiikiriza era nga beesiga Katonda waabwe.
60. Bimeka ebiramu ebitambula nga tebisobola kwetikka riziki yaabyo nga Katonda yekka y'abigabirira nammwe (abantu y'abgabirira) era nga yye (Katonda) ye muwulizi omumanyi ennyo.
61. Abakaafiiri bwoba nga obabuuzizza nti ani eyatonda eggulu omusanvu n'ensi n'agonza e njuba n'omwezi? bajja kukugambira ddala nti Katonda, ate olwo bakyusibwa batya okuva ku mazima!.
62. Katonda agaziya ebyenfuna eri omuntu gwaba ayagadde mu baddube ate naafundiza oyo gwaba (ayagadde), mazima Katonda ku buli kintu mumanyi nnyo.
63. Era bwobabuuza nti ani assa amazzi okuva waggulu n'alamusa nago ensi oluvanyuma lw'okufa kwayo? ddala bajja kugamba nti Katonda, gamba nti okutenderezebwa kwa Katonda wabula abasinga obungi mu bo tebategeera.
64. Obulamu buno obw'ensi tebuli okugyako okuba eby'amasanyu era eby'omuzannyo era mazima e nyumba ey'enkomerero yo bwe bulamu obwa nnamaddala singa baali bamanyi.
65. Bwe baba basaabalidde mu maato basaba Katonda, ng'ekyo bakikola ku lulwe yekka, naye bwabawonya naabatuusa ku lukalu, olwo ate ne bamugattako ebintu ebirala.
66. Kale baleke beewakane bye twabawa era beeyagale, lumu balimanya.
67. Abaffe tebalaba nti mazima ffe twafuula e kibuga (Makkah) eky'emizizo, e kitundu e ky'emirembe, naye ng'abantu basikulwa mu bifo ebibeetoolodde. Abaffe ebikyamu bye bakkiriza ate ne bawakanya ebyengera bya Katonda!.
68. Era ani mubi okusinga oyo atemerera obulimba ku Katonda oba naalimbisa amazima bwe gaba gamujjidde abaffe mu jahannama temuli kifo kya bakaafiiri!.
69. N'abo abalafuubana mu kutuweereza, ddala tujja kubalungamya ku makubo gaffe, era mazima Katonda ali wamu n'abalongoosa.