ﮭ
surah.translation
.
ﰡ
1. Owange gwe Nabbi, tya Katonda era togondera abakaafiiri n'abannafunsi, mazima Katonda bulijjo mumanyi nnyo mugoba nsonga.
2. Era goberera ebyo ebitumwa gyoli okuva ewa Mukama omulabiriziwo mazima Katonda bulijjo amanyidde ddala bye mukola.
3. Era weekwate ku Katonda, Katonda amala okuba nga gweweekwatako.
4. Katonda tateekanga munda wa muntu mitima ebiri, era bakyala ba mmwe abo be mulayira obuteegatta nabo Katonda tabafuulanga ba Maama ba mmwe, olw'okuba nti muba mugambye nti emigongo gyabwe giringa egya ba nnyammwe, era abaana be mufuula abaana ba mmwe (nga si mmwe mu bazaala) tabafuula baana ba mmwe, ebyo mmwe bigambo byammwe bye mwogera obwogezi n'emimwa gya mmwe. Era Katonda ayogera mazima, era yye y'alaga e kkubo (erisaana okukwata).
5. Mubateekenga ku ba kitaabwe, ekyo kye kituufu ewa Katonda, bwe muba temumanyi ba kitaabwe (mu bayite baganda ba mmwe) anti baganda ba mmwe mu ddiini, era bannammwe (mu ddiini) era temulina kibi mu ekyo kye mukola mu butanwa, naye (ekibavunaanwa) kyekyo emitima gya mmwe gye kiba gikoze mu bugenderevu, era bulijjo Katonda musonyiyi nnyo musaasizi.
6. Nabbi abakkiriza gwe basaanira okuwa e kitiibwa okusinga bo bennyini, era bakyalabe baba ba Maama baabwe, bo ab'oluganda abamu ku bo be basinga okusaanira bannaabwe (mu by'obusika) ekyo bwe kityo bwe kiri mu kitabo kya Katonda, okusinga bwe bandibadde eri abakkiriza n'abaasenguka, okugyako nga mukoledde ba nnammwe eky'obuntu bulamu, ebyo nno byawandiikibwa mu Kitabo.
7. Era jjukira bwe twakozesa ba Nabbi endagaano yaabwe, ne ku ggwe ne ku Nuuhu ne ku Ibrahim, ne ku Musa ne ku Isa Mutabani wa Mariam, era twabakozesa e ndagaano nga nzito.
8. Olwo nno (Katonda) alyoke abuuze abakkiriza ab'amazima ku mazima gaabwe, era yateekerateekera abakaafiiri e bibonerezo ebiruma.
9. Abange mmwe abakkiriza, mujjukire ebyengera bya Katonda bye yabagonnomolako amagye lwe gaabalumba, ne tubasindikira kibuyaga n'amagye ge mutaalaba, era bulijjo Katonda alabira ddala bye mukola.
10. Mujjukire bwe baabajjira nga bayitira engulu ne mmanga wa mmwe, era mujjukire amaaso lwe gaakanuka era emitima ne gituuka mu malokooli, nemulowooza ku Katonda ebirowoozo ebyenjawulo.
11. Nga muli mu mbeera eyo, abakkiriza baagezesebwa ne bakankanyizibwa olukankana olw'amaanyi.
12. Era mujjukire abannanfusi n'abo abaalina obulwadde mu mitima gyaabwe bwe baagamba nti Katonda n’omubakawe tebaatulagaanya wabula (baatulagaanya) bya kutuguyaaguya.
13. Era mujjukire e kibiina mu mmwe bwe kyagamba nti, abange mmwe abantu be Yathriba (Madinah) temusobola kubeera wano, n'olwekyo muddeeyo (mu Maka gammwe), ate e kibiina ekirala mu bo baasaba Nabbi (S.A.W.) abakkirize baleme kugenda ku lutalo, nga bagamba nti, mazima amayumba gaffe meereere, so nga tegaali meereere, baali tebalina kye baagala kyonna okugyako okudduka.
14. Era singa baali balumbiddwa okuva mu mpuyi zaakyo (e kibuga) oluvanyuma ne basabwa bakaafuwale (era balwanyise abasiraamu) baalikikoze era tebaalisibyemu okugyako kaseera katono.
15. Ate nga mu kusooka baali baalagaanyisa Katonda nti tebagenda kukyuka kukubayo mabega (ne badduka mu lutalo), era bulijjo e ndagaano ya Katonda ebuuzibwako (okulaba oba etuukiriziddwa).
16. Bagambe (gwe Muhammad) bwe muba nga mudduse kufa oba kuttibwa, okudduka tekuyinza kubagasa era ne bwe muba nga mudduse temugenda kuweebwa kweyagala okugyako akaseera katono.
17. Bagambe nti, ani oyo ayinza okubawonya ku Katonda singa abadde abaagalizza akabi, oba nga abaagalizza kusaasira, era bulijjo okugyako Katonda tebayinza kufuna mukuumi oba omutaasa.
18. Mazima Katonda amanyi abalemesa mu mmwe (ababa baagala okugenda mu lutalo) n'abo abagamba baganda baabwe nti mujje gyetuli) muve ku Muhammad (s.a.w.), era tebaagala kugenda ku lutalo okugyako kitono.
19. Bulijjo baba bakodo ku mmwe, tebaagala (kubayamba ku lutalo). Ekiseera ekya kazigizigi bwe kijja obalaba nga bakukanulira amaaso gaabwe nga gakyuka ng’oyo azirise ng'agenda okufa, naye akaseera ka kazigizigi bwe kavaawo bakkakkana ku mmwe ne nnimi enjogi nga balulunkanira e birungi, abo tebakkirizanga, olwo nno Katonda asangula e mirimu gya bwe era ekyo ku Katonda kyangu nnyo.
20. (Abannanfusi olw'obutiitiizi bwabwe) batuuka okulowooza nti ab'amagye g'omukago (abalumbaganyi) tebannagenda, singa amagye gajja (omulundi omulala), abannanfusi bandyegombye singa bbo babeera mu ba nnamalungu ne baba nga babuuza bubuuza ebikwata ku mmwe (nga bali eyo) era singa baali mu mmwe tebandirwanye okugyako kitono.
21. Mazima mulina mmwe mu Mubaka wa Katonda ekyokulabirako ekirungi eri oyo abeera nga akkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero, era naayogera nnyo ku Katonda nga amutendereza.
22. Abakkiriza bwe baamala okulaba amagye g'omukago baagamba nti kino kyekyo Katonda n'omubakawe kye baatulagaanyisa, era Katonda n'omubakawe bayogera mazima, era (bwe baalaba) amagye g'omulabe tebaabongera okugyako obukkiriza n'okwewa Katonda.
23. Mu bakkiriza mulimu abasajja abaatuukiriza ekyo kye baaweerako Katonda obweyamu (bwe baagamba nti bwe tulisisinkana omulabe bugenda ku twefuka), kale nno mu bo mulimu eyatuukiriza obweyamubwe nga bwe mulimu akyalindirira era tebakyusangako (ku ekyo) kukyusa kwonna.
24. Olwo nno Katonda alyoke asasule abaatuukiriza amazima olwa mazima gaabwe, era abonereze abannanfusi bwaliba ayagadde, oba akkirize okwenenya kwa bwe(bwe baliba beenenyezza) mazima Katonda bulijjo musonyiyi nnyo musaasizi.
25. Era Katonda yazzaayo abo abaakaafuwala n'obusungu bwa bwe, tebalina kalungi kebaafuna, era Katonda yamalira abakkiriza olutalo, era bulijjo Katonda wa maanyi nantakubwa ku mukono.
26. Era yawanula abo abaabayamba mu ba nannyini kitabo ng'abajja mu bikomera byabwe, nassa mu mitima gya bwe okutya ne muba nga mutta e kitundu ate ne muwamba e kitundu e kirala (mu bo).
27. Era naasikiza mmwe e bibanja byaabwe n'amaka gaabwe ne mmaali yaabwe n'ebitundu by'ensi ebirala bye mutatuukangamu, bulijjo Katonda muyinza ku buli kintu.
28. Owange ggwe Nabbi gamba bakyalabo nti: bwe muba mwagala bulamu bw'ansi na birungi byaayo, kale mujje mbasibirire (mbawe e birungi bye mwagala) era mbate oluta olulungi.
29. Naye bwe muba nga mwagala Katonda n'omubakawe, ne nyumba ey'enkomerero mazima Katonda yateekerateekera abakola obulungi mu mmwe, e mpeera e nsuffu.
30. Abange mmwe abakyala ba Nabbi oyo yenna mu mmwe akola e kikolwa eky'obuwemu, wekikakasibwa nti yakikoze, e kibonerezo ekimuweebwa kibazibwamu emirundi ebiri (olw'okuba Mukyala wa Nabbi) era ekyo kyangu ku Katonda.
31. N'oyo yenna mu mmwe (baka Nabbi) agondera Katonda n’omubakawe naakola emirimu emirungi tumuwa empeeraye emirundi ebiri, era twamutegekera riziki eweesa ekitiibwa.
32. Abange baka Nabbi temufaanana bakyala balala, bwe muba mutidde Katonda kale temugonzanga enjogera olwo nno naakwatibwa amaddu oyo alina obulwadde mu mutima gwe, era (buli lwe mwogera) mwogere ebigambo eby'ensa.
33. Era mukkalire mu mayumba gammwe era temwejaajaamyanga enneejaajaamya ey'obutamanya obwaliwo mu kusooka era muyimirizeewo e sswala ne Zakka mugitoole, era mugondere Katonda n’omubakawe mazima Katonda ayagala okubaggyako ebibi abange mmwe abantu bo mu nyumba (ya Nabbi) era abatukuze olutukuza olwa nnamaddala.
34. Era mujjukirenga ebyo ebisomerwa mu mayumba gammwe mu bigambo bya Katonda n’ebigambo eby'amagezi (Hadith za Nabbi), mazima bulijjo Katonda akwata bulungi (abaddu) ate nga amanyi byonna ebibafaako.
35. Mazima abasajja abasiraamu n’abakazi abasiraamu, n’abasajja abakkiriza n’abakazi abakkiriza, n’abasajja abasinza Katonda n’abakazi abasinza Katonda, n’abasajja aboogera amazima n’abakazi aboogera amazima, n’abasajja abagumiikiriza n’abakazi abagumiikiriza, n’abasajja abagondera Katonda n’abakazi abagondera Katonda, n’abasajja abasaddaaka n’abakazi abasaddaaka, n’abasajja abasiiba n’abakazi abasiiba, n’abasajja abakuuma obwereere bwa bwe n’abakazi bwe batyo, n’abasajja aboogera ennyo ku Katonda n’abakazi bwe batyo, (abo bonna) Katonda yabategekera ekisonyiwo n'empeera ensuffu.
36. Tekigwanirangako omukkiriza omusajja oba omukkiriza omukazi, Katonda n’omubaka we okumala okusalawo ekintu ate bo nebaba nga balina okwesalirawo ku nsonga yaabwe ate nga oyo yenna ajeemera Katonda n’omubaka we mazima aba abuze olubula olweyolefu.
37. Jjukira bwe wagamba oyo Katonda gwe yawa ekyengera (n'asiramuka) naawe n'omuwa ekyengera (eky'okumuggya mu buddu) nti beera ne mukyalawo (toyawukana naye) era tya Katonda , ate ggwe nookweka mu mwoyo gwo ekyo Katonda kyanassa mu bbanga, n'oba nga otya abantu ate nga Katonda y'asinga okusaanira okuba nga gwotya, olwo nno Zaidi bwe yamala okumala obwetaavu (bwe) ku ye, twamukufumbiza olw'ensonga nti waleme kubaawo kuwulira bubi mu bakkiriza kuwasa baka baana baabwe (be batazaalira ddala) wabula bo be bayita obuyisi abaana baabwe. Wonna webaba bamalidde kye beetaaga ku bo, (nebaba nga tebakyabaagala nebabawa talaka) nga bulijjo ekiragiro kya Katonda kiteekwa kussibwa mu nkola.
38. Tekisaanira Nabbi kuwulira bubi ku ekyo Katonda kyaba amusaliddewo, eyo y'enkola ya Katonda ku abo abaaliwo olubereberye. Ekigambo kya Katonda bulijjo kiba kyagerwa ekyasalibwawo edda.
39. (Obutaba na nkenyera nga Katonda amaze okusalawo y'enkola ya) abo abasaasaanya obubaka bwa Katonda era nebamutya nebaba nga tebatya kintu kyonna okugyako Katonda, bulijjo kimala okuba nga Katonda y'agenda okubala.
40. Muhammad tabangako kitaawe w'omu ku basajja mu mmwe wabula (yye) Mubaka wa Katonda, era ow'enkomerero wa ba Nabbi. Era bulijjo Katonda amanyidde ddala ebifa ku buli kintu.
41. Abange mmwe abakkiriza mwogere ku Katonda nga mumwogerako nnyo.
42. Era mumutendereze enkya n’olweggulo.
43. Yye yooyo abasaasira nga ne ba Malayika be babasabira, abe nga abaggya mu bizikiza mudde eri ekitangaala. Era bulijjo musaasizi eri abakkiriza.
44. Salaamu kye kiriba ekiramuso kya bwe (okuva ewa Katonda) olunaku lwe balimusisinkana, era yabategekera empeera ennungi.
45. Owange ggwe Nabbi mazima ffe twakutuma nga oli mujulizi, era nga owa amawulire ag'essanyu, era nga owa amawuire agalabula.
46. Era nga okoowoola (abantu) okudda eri Katonda ku lwe'kiragirokye era nga oli ttaala emulisa.
47. Era sanyusa abakkiriza nti mazima bagenda kufuna okuva eri Katonda ebirungi ebisuffu.
48. Era togondera abakaafiiri n'abannanfusi era tofa ku binyiizo bya bwe era weekwate bulijjo ku Katonda, anti amala okuba nga ye mukuumi.
49. Abange mmwe abakkiriza bwe muwasanga abakyala abakkiriza ate nemubata nga temunnabakwatako (nga temunnatuuka gye bali), temubalinaako Idda zebatuula (nga tebannafumbirwa basajja balala), olwo nno mubasibirire ekyo ekibasanyusa era mubaleke oluleka olulungi.
50. Owange ggwe Nabbi mazima ffe twakukkiriza okuba ne bakyala bo abo bewawa amahare gaabwe, n'abo bonna omukono gwo ogwa ddyo begufuga nga bajjira mu ebyo Katonda byaba akuwadde mu ntalo nga (eminyago), era twakukkiriza bawala ba Kitaawo omuto ne bawala ba ba sengabo, ne bawala ba Kojja wo ne bawala ba Maama bo abato (baganda ba nnyoko), abo abaasenguka naawe, nabwekityo omukyala yenna omukkiriza bwaba nga yeewadde Nabbi, Nabbi n'aba nga ayagadde okumuwasa ekyo nga kikyo wekka, so ssi abakkiriza abasigadde. Mazima tumanyi ebyo bye twabalaalikako (bo) ku bikwata ku bakyala baabwe n'abo emikono gya bwe egya ddyo begifuga, olwo nno obe nga towulira buzibu. Era bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi.
51. Olindiriza oyo gwoba oyagadde ku bo ate nootwala oyo gwoba oyagadde ate oyo gwoba osazeewo mu abo boolindirizza tolina kibi (singa oba osazeewo noomutwala) ekyo kye kitandikirwako mu kutebenkeza amaaso gaabwe ne batanakuwala era bonna nebasiima ebyo byoba obawadde, era Katonda amanyi ebyo ebiri mu mitima gya mmwe, anti bilijjo Katonda mumanyi nnyo wa kisa.
52. Tokkirizibwa bakyala balala oluvanyuma lw'abo (boolina) wadde okubawaanyisaamu abakyala abalala, obulungi bwabwe ne bwe bukusanyusa butya okugyako abo omukono gwo ogwa ddyo begufuga, era bulijjo Katonda mulondoozi wa buli kintu.
53. Abange mmwe abakkiriza temuyingiranga e nyumba za Nabbi okugyako nga mukkiriziddwa okugenda okulya (ate) nga temulinda kuyiisibwa kwa mmere, bwe mumala okulya olwo nno musaasaane era temutwalirizibwanga emboozi, mazima ekyo kibadde kinyiiza Nabbi ate nga abakwatirwa ensonyi so nga Katonda takwatibwa nsonyi kwogera mazima, era (bakyala ba Nabbi) bwe mubaako ekintu kye mubasaba mukibasabire mabega wa lutimbe, ekyo nno kyekisinga obutukuvu eri emitima gya mmwe n'emitima gyabwe. Tekibagwanira mmwe okunyiiza omubaka wa Katonda era tekibagwanira kuwasa bakyalabe oluvanyumalwe (nga ekiragiro kino) kya lubeerera. Mazima ekikolwa ekyo kinene ewa Katonda.
54. Kamube nga mwolesezza ekintu oba nga mukikwese mazima Katonda bulijjo amanyidde ddala ekifa ku buli kintu.
55. (Bakyala ba Nabbi) tebalina kibi (obuteebikka) nga bali ne ba kitaabwe, wadde abaana baabwe wadde bannyinaabwe, wadde abaana ba bannyinaabwe, wadde abakyala nga bbo, wadde emikono gyabwe egya ddyo begifuga, bateekeddwa okutya Katonda, mazima Katonda bulijjo aba buli kintu kyonna wekikolerwa.
56. Mazima Katonda neba Malayikabe basaasira Nabbi, abange mmwe abakkiriza mumusabirenga era mumulamuse olulamusa (olumuwa ekitiibwa).
57. Mazima abo abanyiiza Katonda n’omubakawe, Katonda yabakolimira ku nsi ne ku nkomerero era naabategekera ebibonerezo ebinyoomesa.
58. Ate abo abanyiiza abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi awatali kintu kye bakoze, mazima baba beetisse okutemerera n'ekibi eky'olwatu.
59. Owange ggwe Nabbi gamba bakyalabo ne bawalabo ne bakyala ba bakkiriza babe nga beebikkirira obukaaya bwabwe, ekyo kye kyanguya okuba nga bamanyika (nti ba kitiibwa) olwo nno baleme kunyiizibwa. Bulijjo Katonda muyitirivu wa kusonyiwa era muyitirivu wa kusaasira.
60. Abannanfusi n'abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe n'abasaasaanya kalebule mu Madinah bwe banaaba tebeekomyeko tujja kukusobozesa okubakolako, n'ekinaddako tebagenda kuddayo kubeera naawe mu kyo okugyako ekiseera kitono.
61. Bakolimirwa, wonna webasangibwa bakwatibwa nebattibwa olutta.
62. (Tebasaasirwa) ekyo ye nkola ya Katonda ku abo abaaliwo olubereberye, ate toyinza kusanga kukyuka mu nkola ya Katonda.
63. Abantu bakubuuza ku lunaku lw'enkomerero bagambe nti: mazima okumanyibwa kwalwo kuli eri Katonda, ye omanya otya oba olunaku lw'enkomerero luli kumpi!.
64. Mazima Katonda yakolimira abakaafiiri era naabategekera omuliro Sai-ir.
65. Baakutuula mu gwo bugenderevu, tebagenda kufuna wa mukwano oba omutaasa.
66. Ku lunaku ebyenyi byabwe lwe birikyusibwakyusibwa mu muliro nga bagamba nti zitusanze singa twagondera Katonda era netugondera omubaka.
67. Era ne bagamba nti: ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ffe twagondera abakulembeze baffe n'abatutumufu mu ffe, olwo nno nebatubuza ekkubo.
68. Ayi Mukama omulabirizi waffe bawe ebibonerezo byabwe nga bibaziddwamu emirundi ebiri era obakolimire olukolimira olunene.
69. Abange mmwe abakkiriza temubeeranga abo abaanyiiiza Musa (bwe baagamba nti aliko obulemu ku mubirigwe obumugaana okunaaba naffe) wabula Katonda yamutukuza ku ekyo kye baagamba era bulijjo wa kitiibwa ewa Katonda.
70. Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda era mwogere ebigambo ebituufu.
71. Ajja kubalongooseza emirimu gya mmwe era abasonyiwe ebyonoono bya mmwe, era bulijjo omuntu agondera Katonda n’omubakawe aba yeesiimye olwesiima olusuffu.
72. Mazima ffe twayagala obuvunaanyizibwa okubuwa eggulu omusanvu n'ensi n'ensozi naye nebigaana okubwetikka nebibwesamba, ye omuntu naabwetikka (naatatuukiriza era olw'ekyo) n'abeera eyeeyisa obubi atamanyi.
73. Olwo nno Katonda alyoke abe nga abonereza abannanfusi abasajja n'abannanfusi abakazi, n’abasajja abagatta ku Katonda ebintu ebirala n’abakazi abagatta ku Katonda ebintu ebirala, era abe nga asonyiwa abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi. Era bulijjo Katonda muyitirivu wa kusonyiwa muyitirivu wa kusaasira.