ﮱ
surah.translation
.
ﰡ
ﭑﭒ
ﰀ
1. Ndayidde ba Malayika abasimbye ennyiriri ennambulukufu.
ﭔﭕ
ﰁ
2. Olwo nno abo abagoba ebire olugoba (bigende bitonnyese enkuba).
ﭗﭘ
ﰂ
3. N'abo abasoma ebigambo ebibuulirira.
4. Mazima Katonda wa mmwe ddala ali omu.
5. Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi era Mukama omulabirizi w'ebuvanjuba (n'e bugwanjuba).
6. Mazima ffe twawunda eggulu ly'okunsi n'okulabika obulungi kw'e mmunyeenye (ezirijjudde).
7. N'okulikuuma ku buli Sitane kyewaggula.
8. Tezisobola kuwuliriza bitonde ebya waggulu era zikanyugirwa ebitawuliro okuva ku buli luuyi.
9. Nga zifuumuulwa emisinde era nga zigenda kufuna ebibonerezo ebitakoma.
10. Okugyako (Sitane) eyo enyakula ekigambo kyeba enyakudde olwo nno neekasukirirwa ekitawuliro ekibumbujja.
11. Kale nno babuuze nti bo be bazibu mu kutonda oba ebyo bye twatonda, mazima ffe (bo) twabatonda mu budongo obukwafu.
12. Wabula gwe weewuunya (ng’okungiriza) ate nga bo bajeeja bujeeja.
13. Era nga bwe baba babuuliriddwa tebeebuulirira.
14. Era bwe balaba akabonero konna (mu bubonero bwa Katonda) nga bajeeja.
15. Era nebagamba nti: kino tekiri okugyako eddogo eryeyolefu.
16. (Nebongerako nti) bwe tuliba tufudde netufuuka ettaka era netuba magumba ameereere abaffe tulizuukizibwa!.
ﯗﯘ
ﰐ
17. Oba ba kitaffe abaakulembera.
18. Gamba nti yee (mulizuukizibwa) nga nammwe mukkakkanyiziddwa.
19. Mazima kyo (ekyo kuzuukira) luliba olufuuwa mu ngombe lumu oligenda okulaba nga bo batunula.
20. Era baligamba nti zitusanze luno lwe lunaku lw'okusasulwa.
21. (Ba Malayika baligamba nti) luno lwe lunaku lw'okwawula (wakati wa balongoofu n’aboonoonyi) olwo lwe mwali mulimbisa.
22. (Ba Malayika baliragirwa nti) mukungaanye abo abeeyisa obubi wamu n'ababafaanana n'ebyo bye baasinzanga.
23. Nebava ku Katonda olwo nno mubalage ekkubo eridda eri omuliro Jahiimu.
24. Era nga (temunnabatwala) mubayimirize (mu bbaliro) mazima bo balina okubuuzibwa.
25. (Olwo nno bagambibwe) nti: mubaddeki lwaki temwetaasa!.
26. Wabula bo ku lunaku olwa leero bagenda kukkiriza (nti tebalina bya kukola kuvvuunuka buzibu bwe balibeeramu).
27. Abamu ne boolekera bannaabwe nga bawaanyisiganya ebigambo.
28. (Abagoberezi) ne bagamba (bebaagoberera) nti mazima mmwe mwalinga mutujjira nga mutuyita ku ddyo.
29. (Abaagobererwa) baligamba nti nedda wabula temwali bakkiriza.
30. Era tetwabalinaako buyinza bwonna wabula mwali bantu abeewagguzi.
31. Olwo nno ekigambo kya Mukama omulabirizi waffe nekitukakatako (fenna) mazima ddala ffe tuteekwa kukomba (ku bibonerezo).
32. Twababuza era mazima ddala ffe (okugenda okubabuza) twali babuze.
33. Mazima bo (ab'emirundi ebiri) bagenda kwegatta mu kibonerezo.
34. Mazima ffe bwe tutyo bwe tukola aboonoonyi.
35. Mazima bo bwe baagambibwanga nti tewali kisinzibwa kyonna okugyako Katonda baali nga beekuza.
36. Nebagamba nti mazima ffe tuyinza okuleka ba katonda baffe ku lw'omuyimbi omulalu.
37. Nedda (Nabbi Muhammad talinga bwe bagamba) wabula yajja na mazima era n’akakasa ababaka (abaamukulembera).
38. Mazima ddala mmwe muli ba kukomba ku bibonerezo ebiruma ennyo.
39. Era temugenda kusasulwa wabula ebyo bye mwakolanga.
40. Okugyako abaddu ba Katonda abalondobemu.
41. Abo baliweebwa ebigabirirwa ebimanyiddwa.
42. (Biriba) ebibala era nga nebaba nga bo bagabulwa.
43. Nga bali mu jjana ez'ebyengera.
44. (Baliba) ku bitanda nga buli bamu boolekedde bannaabwe.
45. Nga babayisaamu (mu kubagabula) eggiraasi z'ebyo'kunywa eziva mu nsulo ezitakalira.
46. (Eby'okunywa ebyo) nga byeru ebiriwoomera abanywi.
47. Tebigenda kubaamu kirumya mutwe era nga bwebatagenda kutamiira olw'okubinywa.
48. Era baliba balina abakyala ab'amaaso amakkakkamu amanene.
49. Abakyala abo balibanga amagi ageegenderezebwa obutayatika.
50. Olwo nno abamu neboolekera bannaabwe nga bawaanyisaganya ebigambo.
51. Omwogezi (omu) ku bo aligamba nti mazima nze nalina ow'omukwano.
52. Yalinga angamba nti abaffe ggwe oli mu abo abakakasa.
53. Nti bwe tulifa netufuuka ettaka n’amagumba ameereere, abaffe tuli baakubalibwa.
54. Omukozi w’obulungi aligamba nti abaffe mulaba ekiri mu muliro.
55. Olwo alitunulayo n’amulaba ng’ali mu makkati g’omuliro Jahiimu.
56. Aligamba nti ndayidde Katonda wabula kata onzikirize.
57. Singa si byengera bya Mukama omulabirizi wange nnaalibadde mu baleeteddwa (eri omuliro).
58. Ate ffe tetukyaddayo nakufa!.
59. Okugyako okufa kwaffe okwasooka era nga tetuli ba kubonerezebwa.
60. Mazima ekyo ddala kwo kwe kwesiima okusuffu.
61. (N’olwekyo) ku lw’ebintu nga bino abatakabana baalitakabanye.
62. Abaffe obwo bwe bugugenyi obulungi oba omuti gwa Zakkuumi.
63. Twagussaawo nga kikemo eri abeeyisa obubi.
64. Mazima gwo muti guva ku ntobo ya muliro Jahiimu.
65. Ebibala byagwo (okumanya bibi) biringa emitwe gya Sitane.
66. Mazima bo bagenda kugulyako bagenda kujjuza nagwo embuto.
67. Oluvanyuma bagenda kubongeza ku gwo eby'okunywa ebitabuddwa mu lweje.
68. Oluvanyuma mazima obuddo bwabwe buli mu muliro Jahiimu.
69. Mazima bo baasanga bakadde baabwe nga babuze.
70. N’olwekyo bo mu buwufu bwabwe batwalibwa kantindiggwa.
71. Era mazima oluberyeberye lwabwe abasinga obungi mu baasooka baabula.
72. So nga ate twatuma mu bo abatiisa.
73. Kale tunuulira olabe enkomerero y'abaatiisibwa yali etya.
74. (Tewali yawona) okugyako abaddu ba Katonda abalondobemu.
75. Mazima Nuhu yatukoowoola naffe nno twali abaamwanukula obulungi.
76. Netumuwonya n’abantube akabenje akayitirivu.
77. Netufuula ezzadde lye nebaba bo nga be basigaddewo.
78. Netumulekerawo okwogerwako okulungi mu balijja oluvanyuma.
79. Emirembe gibeere ku Nuhu (n’okwogerwako okulungi) mu bitonde byonna.
80. Mazima ffe bwe tutyo bwe tusasula abakozi b’obulungi.
81. Mazima (Nuhu) ali mu baddu baffe abakkiriza aba nnamaddala.
82. Oluvanyuma twazikiriza abasigadde (abatakkiriza Nuhu).
83. Era mazima ddala Ibrahim ali ku nkolaye(Nuhu).
84. Kubanga yajja ewa Mukama omulabiriziwe n’omutima omuyonjo.
85. Bwe yagamba kitaawe n’abantu be nti biki bye musinza.
86. Ba katonda abajingirire bemwagala nemuleka Katonda.
87. Olwo Mukama omulabirizi w’ebitonde byonna, ki kye mumulowoozaako?.
88. Olwo nno naatunula olutunula mu munyeenye (nga enkola ya bantube bwe yali).
89. (Naagamba nti) mazima nze ndi mulwadde.
90. Olwo nebamuvaako nebamulekawo.
91. Olwo nadda ku ba katonda baabwe naalyoka abagamba nti lwaki temulya?.
92. Mwabaaki, nga temwogera!.
93. Olwo kwe kutandika okubatema n’omukono gwe ogwa ddyo.
94. Olwo (abantu ba Ibrahim bwe baamanya kyakoze) bajja gyali nga banguwa.
95. (Ibrahim) naagamba nti, musinza ebyo bye mubajja!.
96. So nga Katonda yeeyabatonda mmwe n'ebyo bye mukola.
97. Nebagamba nti mumuzimbire ekifo (mukikumemu omuliro) olwo nno mumukasuke mu nnabeengeya w’omuliro.
98. Mu kukola ekyo, baagenderera okumukolera olukwe (bamutte) wabula bbo netubafuula ab'awansi (bwe twalemesa olukwe lwabwe).
99. (Awo Ibrahim naasalawo okusenguka) era naagamba nti mazima nze ngenda ewa Mukama omulabirizi wange ajja kunnungamya.
100. Ayi Mukama omulabirizi wange ngabira (omwana) nga wa mu balongoofu.
101. Olwo netumusanyusa nti ajja kufuna omwana omulenzi ow'ekisa.
102. Omwana oyo (Ismail) bwe yatandika okutambula naye (Ibrahim) naagamba nti owange mutabani wange nkirabye lunye mu kirooto mazima nze nga nkusala kale tunula olabe, ogamba ki? (Ismail) naagamba nti owange taata kola ekyo kyolagirwa, Katonda nga ayagadde ojja kunsanga nga ndi mu bagumiikiriza.
103. Bombi bwe baamala okwewaayo eri (ekiragiro kya Katonda) naamugalamiza nga amuwunzise.
104. Netumukoowoola nti owange Ibrahim.
105. Mazima otuukirizza endooto, mazima ffe bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa.
106. Mazima ekyo (ekyatuuka ku Ibrahim n’omwana we) ddala kwe kugezesa okw'olwatu.
107. Era (Ismail) twamununula n'ensolo ensuffu eyasalibwa.
108. Netumulekerawo okwogerwako okulungi mu balijja oluvanyuma.
109. Emirembe gibeere ku Ibrahim.
110. Bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa.
111. Mazima ye wa mu baddu baffe abakkiriza (abannamaddala).
112. Era twamusanyusa n’okumuwa Ishaak nga nabbi nga wa mu balongoofu.
113. Era twamuwa omukisa netuguwa ne Ishaak era mu zadde lyabwe bombi mwalimu omulongoosa n'yeeyisa obubi ow'olwatu.
114. Mazima twabunduggula ebyengera ku Musa ne Haruna.
115. Netubawonya n’abantu baabwe bombi akabenje ak'amaanyi.
116. Netubataasa nebaba bbo nga bawanguzi.
117. Bombi twabawa ekitabo ekinnyonnyofu okutangaaza ekkubo.
118. Era twabalungamya mu kkubo eggolokofu.
119. Era bombi twabalekerawo okwogerwako okulungi mu balijja oluvanyuma.
120. Emirembe gibeere ku Musa ne Haruna.
121. Mazima ffe bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa.
122. Mazima bombi ba mu baddu baffe abakkiriza (abannamaddala).
123. Era mazima ddala Elias wa mu babaka.
124. Jjukira ekiseera bwe yagamba abantu be abaffe temutya (Katonda).
125. Musinza ekibumbe ne muleka (Katonda) omutonzi asinga abatonzi bonna.
126. Katonda ye Mukama omulabirizi wa mmwe era ye Mukama omulabirizi wa bakadde ba mmwe abaasooka.
127. Ne bamulimbisa n’olwekyo mazima bo baakuleetebwa (babitebye).
128. Okugyako abaddu ba Katonda abalondemu.
129. Era twamulekera okwogerwako obulungi mu balijja oluvanyuma.
130. Emirembe gibe ku bantu ba Elias.
131. Mazima ffe bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa.
132. Mazima ye wa mu baddu baffe abakkiriza abannamaddala.
133. Era mazima Luutu wa mu babaka.
134. (Jjukira) bwe twamuwonya n’abantube bonna.
135. Okugyako omukadde (Mukyalawe) eyali mu baasigala.
136. Oluvanyuma twazikiriza abaasigala.
137. Era mazima mmwe mubayitako (muyita ku matongo gaabwe) ku makya.
138. N'ekiro abaffe temutegeera!.
139. Era mazima Yunus wa mu babaka.
140. Jjukira (bwe yasuulawo omulimu Katonda gwe yamukwasa) naalinnya eryato eryali limaze okutikka.
141. (Bwe lyasemberera okusaanawo olw'okuba lyali litisse nnyo), olwo nno (Yunus) yeetaba mu kalulu (ak'okusalawo ab'okukasukibwa mu nnyanja, akalulu kaagenda okuggwa) nga ali mu be kakutte (ne bamukasuka mu nnyanja).
142. Olwo nno ekyennyanja kwe kumumira nga ye y'anenyezebwa.
143. Singa mazima ddala teyali mu batendereza (Katonda).
144. Yandibadde mu lubuto lwakyo okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa.
145. Wabula twamukasuka ku lukalu naye nga yali mulwadde.
146. Twamumereza ekimera eky'ekiryo (kimusiikirize kimugobeko n'ensowera).
147. Era twamutuma eri abantu emitwalo kkumi oba okusingawo.
148. Bakkiriza, olwo nno netubeeyagaza okutuuka ebbanga eggere.
149. Kaakano ggwe babuuze (aba Kuraish) nti Mukama omulabiriziwo y'aba n'abawala bo nebaba n’abalenzi!.
150. Oba abaffe bo baaliwo nga tutonda ba Malayika nga bakazi.
151. Abange mazima mu kutemerera kwabwe batuuka n'okugamba nti.
152. Katonda yazaala nga ate ddala bo balimba.
153. (Katonda) asalawo okutwala abawala n'aleka abalenzi!.
154. Mwabaaki mulamula mutya (ebintu)!.
ﭖﭗ
ﲚ
155. Abaffe temwebuulirira!.
156. Oba mulina obujulizi obweyolefu (nga kye kibakozesa ekyo).
157. Kale muleete ekiwandiiko kyammwe bwe muba ab'amazima.
158. (Abatakkiriza) nebateeka oluganda wakati we (Katonda) n'amajinni, nga ate amajinni gamanyi nti mazima ggo gaakuleetebwa (mu maaso ga Katonda gabitebye).
159. Katonda musukkulumu ku bye boogera.
160. Wabula abaddu ba Katonda abalondobemu (anti bbo tebagwa mu kiti kyabo abamwogerako eby'ensimattu).
161. Kale nno mazima ddala mmwe n'ebyo bye musinza.
162. Temusobola mmwe kufiiriza Katonda (ne mumujjako abaddu be).
163. Be ppo oyo y'ewokwesonseka omuliro Jahiimu (oyo musobola okumubuza).
164. (Ba Malayika ne bagamba nti) era tewali n'omu ku ffe okugyako nga alina ekifo ekimanyiddwa.
165. Era mazima ffe (bulijjo) ffe tubeera mu nnyiriri (nga tusinza Katonda).
166. Era mazima ffe ddala ffe abatendereza (Katonda).
167. Newaakubadde nga (abakaafiiri) ddala bagamba nti.
168. Ddala singa twalina okujjukizibwa nga kuva eri abaasooka.
169. Twandibadde abaddu ba Katonda abalondobemu.
170. (Wabula kitalo byonna ebyo bwe byajja nga ne Nabbi Muhammad kwali) baabiwakanya, kale kyaddaaki balimanya.
171. Mazima kyakulembera ekigambo kyaffe eri abaddu baffe abaatumwa.
172. Nti mazima bbo ddala be b'okutaasibwa.
173. Era mazima eggye lyaffe ddala bo be baba abawanguzi.
174. Kale baveeko okutuusa ekiseera ekigere.
175. Era batunuulire kyaddaaki baliraba.
ﯧﯨ
ﲯ
176. Abaffe ebibonerezo byaffe bye basaba bibatuukeko mangu.
177. Lwe birituuka mu lujja lwabwe galiba makya mabi eri abaaweebwa amawulire agabatiisa (omuliro ne batawulira).
178. Era baveeko okutuusa ekiseera ekigere.
179. Era tunula kyaddaaki baliraba.
180. Mukama omulabirizi wo, nannyini buyinza musukkulumu Ku ebyo bye boogera.
181. Era emirembe gibeere ku babaka (ba Katonda).
182. Era buli kitendo kya Mukama omulabirizi w'ebitonde.