ﮒ
surah.translation
.
ﰡ
1. Ebitendo byonna e birungi bya Katonda oyo eyakola e ggulu omusanvu ne nsi n’assaawo e nzikiza ne kitangaala, wabula abo abagyemera Mukama omulabirizi waabwe bava ku mazima.
2. Yye yooyo (Katonda) e yabatonda nga abajja mu ttaka, oluvanyuma naasalawo buli omu mu mmwe e bbanga lya naawangaala, ate nassaawo e bbanga e ddala e ggere e rimanyiddwa yye yekka, ensi lwerikoma. Ate oluvanyuma mmwe mubuusabuusa.
3. Era yye, ye Katonda mu ggulu omusanvu ne nsi, amanya bye mukola mu kyama ne bye mukola mu lwatu, era amanya byonna bye mukola.
4. Tewali kabonero konna kabajjira mu bubonero bwa Katonda okugyako bwonna babwawukanako.
5. Mazima baalimbisa amazima bwe gaabajjira, naye luliba lumu ebigambo e bituufu e bikwata kwebyo bye baajeejanga biri bajjira.
6. Abaffe tebalaba e mirembe e meka agyaliwo oluberyeberye lwabwe gyetwazikiriza! twabawa okwegazaanyiza mu nsi, okusinga ku ngeri gyetwawa mmwe okwegazanyizaamu, ne tubawa e ggulu okuba nga libafukirira e nkuba mu bungi, ne tussawo e migga nga gikulukutira wansi waabwe, naye era ne tubazikiriza olwebibi byabwe ne tuleeta oluvanyuma lwabwe omulembe omulala.
7. Singa twassa ku ggwe e kitabo e kikoleddwa mu mpapula ne bakikwatako n’emikono gyabwe, abo abaakaafuwala bandigambye nti, bino temuli okugyako ddogo lyennyini.
8. Era nebagamba nti singa wassiddwa ku ye Malayika, naye singa twassa Malayika e nsonga yandiggweredde awo era ne batarindirizibwa.
9. Era singa twasalawo okuweereza Malayika twandimuweerezza nga muntu, era e kibatabula kyandibadde kibatabula.
10. Ababaka bangi baajeejebwa nga tonnatumwa, abo abaajeeja mu bo ababaka, baatuukwako e bibonerezo by'okujeeja kwabwe.
11. Gamba nti, mutambule mu nsi olwo nno mulabe e nkomerero y’abaalimbisa yali e tya.
12. Gamba nti, byani e byo e biri mu ggulu omusanvu ne nsi (bwomala) gamba nti bya Katonda, yeekakasaako okusaasira era nga agenda kubakunganyiza ddala ku lunaku lw’enkomerero, tekiriimu kubuusabuusa (wabula) abo abafaafaganirwa e myoyo gyabwe tebagenda kukkiriza.
13. Era bibye (Katonda) byonna e bibeerawo e kiro n’emisana, anti bulijjo yye, yaawulira era amanyi e nnyo.
14. Gamba nti: ndeke Katonda neeteerewo e kintu e kirala kyonna e kitali yye! nga ye mukwano gwange ow’omunda, nga ate yye (Katonda) yeeyatonda e ggulu omusanvu ne nsi, era yye, yaaliisa ng’ate talisiibwa gamba nti, mazima nze nalagirwa okuba omusaale mwabo abeewaayo era tobeeranga mu bagatta Katonda n'ebintu e birala.
15. Gamba, nti mazima nze ntya nnyo e bibonerezo by'olunaku oluzito singa mba njeemedde mukama omulabirizi wange.
16. Omuntu alyesambisibwa ku byo olunaku olwo, mazima Katonda aliba amusaasidde era e kyo bwe buwanguzi obwa nnamaddala.
17. Singa Katonda akutusaako akabi tewali ayinza kukakuwonya okugyako yye, singa aba akuwadde e birungi yye Katonda muyinza wa buli kintu.
18. Era yye, ye Nantalemwa, alina mu mikono gye e nsonga z’abaddu bonna, anti yye ye mugoba nsonga amanyi buli kimu.
19. Gamba nti kintu ki e kisinga obukulu okuba nga bwe bujulizi, gamba nti Katonda ye mujulizi wakati wange nammwe, era naweebwa Kur’ani eno nga bubaka mbe nga mbatiisa nayo n’abo beerituukako abatali mmwe, ate mmwe muyinza okuleeta obujulizi nti ku Katonda kweyongerako ba katonda abalala, gamba nti mazima ddala yye Katonda ali omu, era mazima ddala neesambye e byo byemugatta ku Katonda.
20. Abo be twaawa e kitabo bamutegeera (Nabbi Muhammad) nga bwebategeera abaana baabwe, abo abaafaafaganirwa e myoyo gyabwe (nebatategeera ntegeera ntuufu) abo nno bo tebakkiriza (byo bagamba).
21. Ani yeeyisa obubi okusinga oyo atemerera Katonda nga ddala amanyi nti alimba! oba n’alimbisa e bigambo bya Katonda. Anti mazima abeeyisa obubi tebagenda kwesiima.
22. Ku lunaku lwetulibakungaanya bonna era ne tugamba abo abaagatta ku Katonda e bintu e birala nti, ba katonda ba mmwe abo be mwagambanga baluwa.
23. Awo nno bwe balimala okugwa mu kizibu (olwo kubuuzibwa e kibuuzo e kyo) tebaliba na kya kukola okugyako okugaana ne bagamba nti, tulayira Katonda Mukama omulabirizi waffe tetubangako mu bagatta ku Katonda bintu birala.
24. Laba e ngeri gye beerimbamu ne bibaggwaako e byo bye baagunjaawo.
25. Era mu bo mulimu abawulira byoyogera, naye nga ku mitima gyabwe twassaako e kibikka ne batasobola kubitegeera n’amatu gaabwe ne tuteekamu e nvumbo, ne bwebalaba e kyamagero kyonna tebakikkiriza, ne batuusa okujja gyali nga bakuwakanya abo abaakaafuwala ne bagamba nti (byonna byayigiriza) tebirina kye biri okugyako okuba nti nfumo z’abedda.
26. Nga nabo bagaana abantu okujja eri Nabbi, era nga nabo be nnyini bamwesamba, (mweekyo) tebazikiriza okugyako myoyo gya bwe naye tebategeera.
27. Singa olisobola okubalaba bwe baliyimirizibwa ku muliro, olwo nno ne bagamba nti nga tulabye singa tuzzibwaayo (ku nsi) ne tutalimbisa bigambo bya Mukama omulabirizi waffe olwo nno tube mu bakkiriza.
28. Olwo nno biriba bye yolese gye bali e byo bye baakwekanga mu kusooka, ne bwe baaliziddwaayo baalizzeemu okukola e kya bagaanibwa, era bo baliba balimba (mu byonna bye baliba boogera).
29. Era bagamba nti tewali bulamu bulala, okugyako buno bwe tuwangala obw'okunsi, era tetugenda kuzuukizibwa.
30. Waalisaanye olabe, e mbeera gye balibeeramu nga bayimiriziddwa mu maaso ga Mukama omulabirizi waabwe, n’abagamba nti kino kye mulaba si mazima, bagenda kugamba nti bwe gutyo bwe guli ayi Mukama omulabirizi waffe naagamba nti: kale nno mukombe ku bukaawu bwe bibonerezo olwe'byo bye mwawakanya.
31. Mazima baafaafaganirwa abo abaalimbisa okusisinkana Katonda, okutuusiza ddala olunaku lwe nkomerero lwe lulibatuukako e kibwatukira, ne bagamba nti nga tulabye olw'ebyo bye twayonoona mu nsi, olwo nno nga beetisse e bibi bya bwe ku migongo gyabwe abange bibi ddala bye bakola.
32. Obulamu bwe nsi tebuli okugyako muzannyo na kusanyuka, naye mazima ddala e nyumba e yenkomerero y'esinga obulungi eri abo abatya Katonda, abaffe temutegeera.
33. Mazima tumanyi nti ddala bye boogera bikunyiiza, mazima ddala bo tebakulimbisa naye mazima ddala abeeyisa obubi e bigambo bya Katonda bye bawakanya.
34. Mazima ababaka bangi olubereberye lwo baalimbisibwa ne bagumiikiriza ku e byo byebalimbisibwa, era ne bayisibwa bubi okutuusa okutaasa kwaffe lwe kwabajjira era tewali akyusa bigambo bya Katonda. Mazima ojjiddwa e bimu ku bigambo e bikwata ku babaka.
35. E ky'okukwawukanako bwe kiba nga kikuyitiriddeko, kale nno bwoba nga osobodde okufuna omukwesese mu ttaka oba amadaala agakutwala waggulu obeere ng’obaleetera e kya magero kyonna (kola e kyo, naye nga tekirina makulu kubanga) singa Katonda yayagala yaali bagattidde ku bulungamu, kale (Nabbi Muhammad) tobeeranga mu batategeera.
36. Abo abawulira okuwulira okutuufu, mazima bajja kwanukula okukoowoola (kwo), sso abafu Katonda agenda kubazuukiza era gyali gye balizzibwa.
37. (Abagatta Katonda e bintu e birala) bagamba nti singa assiddwaako e kya magero kyonna okuva e wa Mukama omulabirizi we, bagambe nti mazima Katonda asobola okussa e kyamagero kyonna ,naye abasinga obungi tebamanyi.
38. Tewali kintu kyonna kitambula ku nsi nga kiramu ka kibe kinyonyi e kibuuka n'ebiwawaatiro bya kyo okugyako bulijjo bikolera mu bibinja nga mmwe, tewali kintu kyonna kye twaleka okugyako nga twakiwandiika mu Lauhul Mahfuudhu (Eggwandisizo lya Katonda) oluvanyuma eri Mukama omulabirizi wa bwe gye bagenda okunganyizibwa.
39. Abo bonna abaalimbisa e bigambo byaffe ba kiggala ba kasiru bali mu bizikiza. Omuntu Katonda gwaba ayagadde abule amubuza, ate gwaba ayagadde okulungamya amusobozesa okulungama eri e kkubo e ggolokofu.
40. Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad) nti mulaba mutya singa biba bibajjidde e bibonerezo bya Katonda oba olunaku lwe nkomerero nga lwe lubajjidde, (mu mbeera eyo muyinza) okulaajanira atali Katonda omu bwe muba nga mwogera mazima.
41. E kituufu kiri nti mulaajanira Katonda wa mmwe e yabakola yekka, n'abaggyirawo e kyo kye mumumulaajanidde bwaba nga ayagadde nemwerabira n'okwerabira e byo bye mubadde mumugattako.
42. Mazima twatuma ababaka eri e bibinja bya bantu oluberyeberyelwo, netubagezesa n'ebizibu by'obwavu n’obubenje balyoke beetowaze (basinze Katonda omu).
43. Kale nno singa e bizibu bwe byabajjira beetoowaliza (Katonda, kyandibayambye) naye e myoyo gyabwe gyeyongera kuwaganyala. Sitane naabawundira e byo bye baali bakola.
44. Kavuna baaleka e byo bye bajjukizibwa na byo, netubaggulirawo e miryango gya buli kintu mu byenfuna, okutuusiza ddala lwe baayitiriza okweyagalira mu e byo bye twabawa, netubabonereza mbagirawo nebatuuka n’okuba nti tebalina kantu konna.
45. Katonda yabazikiriza okutuusiza ddala ku asembayo mwabo abeeyisa obubi, bulijjo okutenderezebwa kwonna kwa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
46. Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad) mulaba mutya singa Katonda abafuula ba kiggala era ba muzibe, naateeka ne nvumbo ku mitima gya mmwe, katonda ani atali Katonda omu ayinza okubibaddiza, laba e ngeri gye tunnyonnyolamu obubonero (bwange) ate bo ne babuvaako.
47. Gamba, mmwe mulaba nti singa e bibonerezo bya Katonda bibatuukako e kibwatukira, oba ne bijja nga mutegedde, waliwo abayinza okubonerezebwa abalala okugyako abo abeeyisa obubi.
48. Bulijjo tetutuma babaka okugyako nga basanyusa abakozi b’obulungi era nga bwe batiisa abakozi b’ebibi, oyo yenna akkiriza n’akola e mirimu e mirungi abo tebalina kutya, era tebagenda kunakuwala.
49. Ate abo abalimbisa e bigambo byaffe, e bibonerezo bigenda kubatuukako ol'webyo bye baakola.
50. Gamba ggwe (Nabbi Muhammad nti) si bagamba nti nze nnina amawanika ga Katonda, wadde okubagamba nti manyi e byekusifu, nga bwe siyinza kubagamba nti mazima nze ndi Malayika, tewali kyengoberera okugyako obubaka obutumwa gyendi. Gamba nti muzibe nooyo alaba benkana, abaffe temufumiitiriza.
51. Tiisa nayo (Kur’ani) abo abatya okuzuukizibwa ne bazzibwa eri Mukama omulabirizi waabwe, nga oggyeko yye, tebalina wa mukwano ffa nfe wadde omuwolereza. Olwo nno balyoke babeere mu batya Katonda.
52. Togobanga abo abasinza Mukama omulabirizi waabwe e nkya ne ggulo nga bakikola ku lulwe, e bibavunaanibwa tewali na kimu kikubanjibwa,nga naawe e bikuvunaanibwa tewali kye babanjibwa, olyoke obagobaganye, ekijja okukuteeka mu beeyisa obubi.
53. Mu ngeri yeemu abantu twabagezesa nga tukozesa bannaabwe (abamu netubafuula abagagga abalala baavu, abamu) nebatuuka okugamba nti abo mu ffe fenna Katonda beyasalawo okugonnomolako e kyengera (e kyobukkiriza), (naye okutuuka okwogera e kyo tebamanyi nti) bulijjo Katonda amanyi nnyo e bikwata ku baddu abeebaza.
54. Bwebajja gyoli abo abakkiriza e bigambo bya ffe, gamba nti emirembe gibeere ku mmwe, Mukama omulabirizi wa mmwe yeekakasaako okusaasira, nekiba nti oyo yenna mu mmwe akola ekibi mu butamanya oluvanyuma lwakyo ne yeenenya, era n’akola e mirimu e mirungi, mazima bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi.
55. Bwe tutyo bwe tunnyonnyola e bigambo byaffe kisobozese e kkubo lya boonoonyi okweyoleka.
56. Gamba (Ggwe Muhammad) mazima nze naganibwa okusinza e byo bye musaba nemuleka Katonda omu, gamba nti sijja kugoberera kwagala kwa mmwe, anti bwenakikola njakuba mbuze, era sijja kubeera mu balungamu.
57. Gamba nti mazima nze ndi ku mazima agava ewa Mukama omulabirizi wange, naye nga mmwe mugalimbisa, kye mwagala kijje amangu (e kyebibonerezo) tekiri mu mikono gyange, okusalawo tekuli wantu wonna okugyako wa Katonda, byonna byayogera mazima, era bulijjo yaasinga abalamuzi bonna.
58. Singa nze nnina kye mwagala kijje mangu (kyandizze) e nsonga wakati wange nammwe neggwa, era bulijjo Katonda amanyi nnyo abeeyisa obubi.
59. Era yye y'alina e bisumuluzo bye by’ekusifu tewali abimanyi okugyako yye, era amanyi e biri ku lukalu ne mu nyanja, era tewali kikoola kigwa okugyako nga akimanya, era tewali mpeke eri mu bizikiza bye ttaka wadde e kibisi oba e kikalu kyonna okugyako nga kiwandiike mu kitabo e kitottola buli kintu.
60. Era yye yooyo abeebasa e kiro (nemuba nga abafudde) era amanyi bye mwakoze e misana, ate oluvanyuma abazza e ngulu nga bukedde (ne kifanana nga abazuukizza okuva mu kufa,) ekyo kisobozese buli kitonde okumalayo ebbanga eryakigererwa. Oluvanyuma gyali yeeri obuddo bwa mmwe, olwo nno abategeeza byonna bye mwakolanga.
61. Era yye yaalina obuyinza obwenkomeredde ku baddube, era abassaako (ba Malayika) abakuumi, okutuusa omu ku mmwe bwaba atuuse okufa, ababaka baffe bamuggyamu obulamu, era bulijjo tebasubwa.
62. Oluvanyuma ne bazzibwa ewa Katonda Mukama waabwe owanamaddala, mukimanye nti obuyinza bwonna bubwe, era nga bulijjo mwangu mu kubala okusinga ababazi bonna.
63. Gamba ani ayinza okubataasa ku nzikiza yo'lukalu n’enizikiza y'enyanja, nemuba nga mumusaba olw'okulaga obugonvu mu lwatu ne mu kyama nemutuuka n'okugamba nti singa (gwetusaba) atuwonya obuzibu buno tujja kubeerera ddala mu beebaza.
64. (Tebayinza kumufuna n’olwekyo) gamba nti Katonda yajja okubibawonya, na mu buli kizibu kyonna. E kyo bwe kiggwa ate nemugatta ku Katonda e bintu e birala.
65. Gamba nti yye (Katonda) yaasobola okubasindikira e kibonerezo kyonna, nga kiva wa ggulu ne wansi w'ebigere bya mmwe, n’abafuula e bibinja e byenjawulo n’akombesa abamu mu mmwe ku bukaawu bwa bannaabwe. Weetegereze engeri gyetunnyonnyolamu e bigambo balyoke babe nga bategeera.
66. (Kur’ani) abantu bo bagirimbisa, ate nga ddala yo mazima meereere, bagambe nti n’olwekyo si nze mbasalirawo.
67. Buli kintu kibaako e kkomo, (nakino) bwe kirituuka mugenda kumanyira ddala.
68. Era bwolabanga abo abakinaggukira mu bigambo byaffe, baviire, okutuusa lwe banaayingira mu mboozi e ndala, singa Sitane akwerabiza (n'obeerawo) wonna wojjukirira togenda mu maaso ng’otuula n’abantu abeeyisa obubi.
69. Era abo abatya Katonda tebavunaanyizibwa ku kintu kyonna kikwata ku bantu abo, (wabula omulimu gwabwe) kubuulirira oba olyawo balyoke batye Katonda.
70. Vva kwabo abaafuula e ddiini yaabwe e kintu e kyomuzannyo era e kyekinyumu, obulamu bw'ensi ne bubagayaaza, naye buulirira nga okozesa Kur’ani omwoyo guleme kuzikirizibwa olw'ebyo bye yakola, tegulina nga oggyeko Katonda, w’amukwano wadde omuwolereza, nebweguliwaayo e nnunuzi e faanana etya, tegenda kukkirizibwa kuva gyeguli, abo beebo abaazikirizibwa olw'ebyo bye baakola, baliweebwa e byokunywa e by’olweje, era balissibwako e bibonerezo e biruma ennyo olw’ebyo bye baawakanyanga.
71. Gamba nti, tuleke Katonda tusinze e byo e bitatugasa! era e bitayinza kukutusaako kabi! tutambuzibwe e kyenyumanyuma oluvanyuma lwa Katonda okutulungamya! tufaanane nga oyo Sitane gwezibuza mu nsi, n’asoberwa naaba mu masangazira so nga alina mikwano gye abamuyita okujja eri obulungamu, (nga bagamba nti) jangu eno (ekyo bwekiba nga tekisobola kwemalirira) gamba nti mazima okulungamya kwa Katonda, bwe bulungamu bwokka, era twalagirwa okwewa ewa Mukama omulabirizi w’ebitonde.
72. (Era twalagirwa nti) muyimirizeewo e sswala era mutye Katonda era yye yooyo, gyali gyemulikunganyizibwa.
73. Era yye yooyo, eyakola e ggulu omusanvu n'ensi nga byebyo bye nnyini, era obufuzi buliba bubwe olunaku e ngombe lwelifuyibwa, omumanyi w’ebyekusifu n'ebirabikako, era yye ye mugoba nsonga, omumanyi ennyo.
74. Era jjukira Ibrahim bweyagamba kitaawe Azara nti: amasanamu gofuula Katonda! mazima nze nkulaba n’abantubo nga muli mu bubuze obweyolefu.
75. Mu ngeri y’emu twalaga Ibrahim ebiri mu bwengula ne nsi (nengeri namateeka kwebitambulira) alyoke abeere mu baddu abannyikivu mu bukkiriza.
76. Ekiro bwe kyamubikka, yalaba e munyenye naagamba nti oyo ye Mukama omulabirizi wange, e munyenye bweyabula (Ibrahim) naagamba nti nze saagala ba katonda babulawo.
77. Bweyalaba omwezi nga gwetadde naagamba nti oyo ye Mukama omulabirizi wange, omwezi bwe gwabula (Ibrahim) naagamba nti Mukama omulabirizi wange bwatannungamye nja kubeerera ddala mu bantu ababuze.
78. Ate nno bweyalaba nga e njuba evuddeyo naagamba nti: ono ye Mukama omulabirizi wange, ono ye munene ddala, (Enjuba) bweyagwa naagamba nti abange abantu bange nze e byokugatta ku Katonda e bintu e birala si biriimu.
79. Mazima nze njolekezza e kyenyi kyange eri oyo eyatonda e ggulu omusanvu ne nsi, nga njawukanira ddala ku nsinza zonna. Siri wa mu bagatta Katonda na bintu birala.
80. Abantube ne bamuwakanya naagamba nti mumpakanya ku Katonda nga ate mazima yannungamya, era nga sitya e byo bye mumugattako (okuba nga bintusaako akabi), be ppo nga Mukama omulabirizi wange alina kyakkirizza, Mukama omulabirizi wange yeetooloola buli kintu mu kumanya, abaffe temwebuulirira.
81. Nyinza ntya okutya e byo bye mugatta ku Katonda, nga ate mmwe temutya kugatta ku Katonda bintu birala bya tabassizangako bujulizi. ku bibinja byombi (ffe nammwe) kiriwa e kisaanidde okulowooza nti kiri mirembe bwe muba nga mumanyi.
82. (E kituufu kiri nti) abo abakkiriza ne batatabula kweyisa bubi (Shirik), mu bukkiriza bwabwe, abo nno be balina e mirembe era abo be baalungamizibwa.
83. Obwo bwe bujulizi bwaffe bwe twawa Ibrahim akozese ku bantube (e kyamussa mu kifo e kyenjawulo), bulijjo tusitula amadaala gw’oyo gwetuba twagadde, anti mazima ddala Mukama omulabiriziwo agoba nsonga mumanyi nnyo.
84. Era twamugabira (Ibrahim) Ishak ne Yakub, bombi twabalungamya nga n’okusooka twalungamya Nuhu, ne mu zadderye twalungamya Dauda ne Sulaiman ne Ayub ne Yusuf ne Musa ne Haruna, na bwekityo nno bwe tusasula abalongoofu.
85. Ne Zakariya ne Yahya ne Isa ne Eliasi, buli omu kwabo wa mu bakozi b’emirimu e mirungi.
86. Ne Ismail ne Iriyasa-a ne Yunus ne Luutu, buli omu ku bo twamusukkulumya ku bantu abalala.
87. Era (twalungamya abantu abalala) nga bava mu bakadde baabo ne bazzukulu baabwe ne baganda baabwe, era netubafuula ab'enjawulo, era netubalungamya ku kubo e ggolokofu.
88. Okwo kwe kulungamya kwa Katonda, alungamya na kwo oyo gwaba ayagadde mu baddube, naye singa baagatta e kintu e kirala kyonna ku Katonda, bandiyonoonekeddwa e byo bye baali bakola.
89. Abo beebo be twawa e kitabo n’obufuzi n’obwa Nabbi, kati bano bwe baba nga bawakanya e bintu e byo, mazima twabikwasa abantu abatagenda kubiwakanya.
90. Abo beebo Katonda be yalungamya, obulungamu bwabwe bwoteekwa okugoberera, ogambe nti, (kyenkola) si kibasabirako mpeera kyenkola, tekiri kyo (kintu kirala kyonna) okugyako okuba nti kujjukiza eri abantu bonna.
91. (Wabula Abayudaaya) tebaawa Katonda kitiibwa kimusaanira, bwe baagamba nti Katonda tassanga ku muntu yenna kintu kyonna.Gamba (gwe Nnabbi Muhammad) nti ani yassa e kitabo e kyo Musa kye yajja nakyo nga kitangaala era e kyokulungama eri abantu, (mmwe) kye mwafuula e mpapula zemulaga abantu, ate ne mukweka bingi so nga ate mwamanyisibwa bye mwali temumanyi, mmwe ne bakadde ba mmwe, bagambe nti Katonda ye yassa e kitabo e kyo, olwo nno obaleke mu bubuze bwabwe nga bazannya.
92. Kura’ni eno kitabo twakissa nga kya mukisa, nga kikakasa e byo e byakulembera, era okikozese nga otiisa abantu b’omu (Makkah), maama w'ebibuga, n'abantu bo'mu bitundu e bikyetoolodde. Bo abo abakkiriza olunaku lw’enkomerero bakkiriza e kitabo kino, era bulijjo e sswala zaabwe bazikuuma butiribiri.
93. Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ayogera ku Katonda e bigambo e byo bulimba, oba naagamba nti nnaweebwa obubaka so nga taweebwanga bubaka bwonna, era ani mubi okusinga oyo agamba nti njakuleeta e bigambo e bifaanana n'ebyo Katonda bye yassa! naye n’omala olaba e kiseera abeeyisa obubi bwe babeera mu bulumi bw'okufa nga ba Malayika bagolodde e mikono gyabwe (nga bwebagamba nti,) muggyemu e myoyo gyammwe, olwaleero luno mugenda kusasulwa e bibonerezo e binyoomesa olw'ebyo bye mwayogeranga ku Katonda e byobutaliimu, e kyabatuusa okwekuza nemuva ku bigambo bye.
94. Mutujjidde omu omu, nga bwe twabatonda mu kusooka, byonna bye twabawa mubirese mabega wa mmwe, era tulaba bwe muzze temuleese bawolereza ba mmwe, abo be mwawozanga, nti mazima bo ne Katonda bakolera wamu ku mmwe, e nkolagana ekutuseewo wakati wa mmwe nebababulako abo be mwali mulowooza nti b’akubawolereza.
95. Mazima Katonda y’ayasa e mpeke n’omuwula (ameza e bimera) aggya e kiramu mu kifu era yagya e kifu mu kiramu oyo nno ye Katonda wa mmwe. Ate muwugulwa mutya.
96. (Era ye yooyo) ayasa n’ayawula obudde ne bufuuka e misana, e kiro naakifuula e kiwummulo e njuba n’omwezi nga byombi bitambula nga bigoberera e nkola gye yabiteerawo, okwo kwekusalawo kwa nantakubwa ku mukono omumanyi ennyo.
97. Era yye yooyo e yabateerawo e munyeenye mube nga mulungama nazo nga muli mu bizikiza, by’olukalu n'ebizikiza by’enyanja mazima tunnyonnyodde e bigambo olunnyonnyola olumala eri abantu abamanyi.
98. Era ye yooyo eyabakola nga abaggya mu muntu omu, nga musinziira mu nnabaana wa ba maama ba mmwe, era nga musinziira mu migongo gya bataata, tunnyonnyodde e bigambo (olunnyonnyola olumala) eri abantu abategeera.
99. Era yye yooyo atonnyesa amazzi (e nkuba) okuva waggulu, netumeza nago e bimera bya buli kintu, ne tuggya mu byo e bya kiragala, nga tuggya mu byo e mpeke ezeeweese ku zinnaazo, ne mu mitende ne mubaamu egirina e birimba e bireebeeta, n’ennimiro ez’emizabibu n’e za zaitun ne nkomamawanga, e bifaanagana n'ebitafaanagana, tunuulira e bibala bya byo bwebiba bissizza n'okwengera kwabyo mazima ddala mu ebyo mulimu obubonero eri abantu abakkiriza.
100. Bateeka ku Katonda ababeezi abava mu Majinni so nga ye yabatonda, wabula ate nebamupaatiikako abaana ab’obulenzi n’abobuwala ekitalina wekiva, Katonda asukkulumye era yeesambye ku ebyo bye bamutemerera.
101. (Yye Katonda) ye w’eggulu n’ensi nga tewali kyarabirako, ayinza atya okubeera n’omwana ate nga talina mukyala! era nga ye yatonda buli kintu era nga yye (Katonda) ku buli kintu mumanyi.
102. Oyo nno ye Mukama omulabirizi wa mmwe, tewali kintu kyonna kisinzibwa mu butuufu okugyako yye yekka, omutonzi wa buli kintu, kale nno ggwe mubamusinza, era bulijjo y’alina obuyinza ku buli kintu.
103. Amaaso tegasobola kumulaba, so nga ate ye agalaba n’amalayo e bintu byonna, anti ye Katonda alina obusobozi bw’okumanya buli kintu atalina kiyinza kumwekweka.
104. Mazima obujulizi bubajjidde nga buva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, omuntu anaalaba anaaba ye yambye yekka, ate oyo anaaziba amaaso akabi k’ekyo kadda ku ye. Nze siri wa kuddaawo kubalunda.
105. Bwetutyo nno bwe tunnyonnyola e bigambo, batuuke n’okugamba nti (Muhammad) wasoma (ku ba Yudaaya okutuuka okumanya bino byonna) era tube nga tubinnyonnyola eri abantu abamanyi.
106. (Ggwe Muhammad ky’oba okola) goberera e byo e bissibwa gyoli nga biva ewa Mukama omulabirizi wo, tewali kintu kyonna kirina kusinzibwa okugyako ye, era weesambe abagatta e bintu e birala ku Katonda.
107. Singa Katonda yayagala tebandimugasseeko bintu birala, era tetukussangawo obe kalondoozi ku bo, era ggwe toyinza kuba avunaanyizibwa ku nsonga zaabwe.
108. Temuvumanga ebyo bye basaba ne balekawo Katonda, mu kwesasuza olw'obutamanya bwabwe bajja kuvuma Katonda, bwetutyo nno buli bantu twabawa okulaba e byabwe nga bye bisinga obulungi, oluvanyuma ewa Mukama omulabirizi waabwe yeeri obuddo bwa bwe, olwo nno n’abategeeza byonna bye baakolanga.
109. Era balayira Katonda ne bakkaatiriza e birayiro bya bwe, ne bagamba nti singa bajjirwa e kyamagero kyonna baalikikkirizza, bagambe: e byamagero byonna bya Katonda, naye mumanyira ku ki nti mazima singa e ky’amagero kijja tebajja kukkiriza.
110. Tugenda kukyusa e mitima gyabwe n'okulaba kwabwe nga nabo bwe batakkiriza (Kur’ani) mu kusooka era tubaleke mu bubuze bwa bwe nga babulubuuta.
111. Singa twabassiza ba Malayika , era abafu ne boogeranabo, ne tubakunganyiza buli kintu ne kibaawo, tebandikkirizza okugyako Katonda nga ayagadde wabula mazima ddala abasinga obungi mu bo tebategeera.
112. (Nga bwetukugezesa ggwe Nabbi Muhammad n’oba n’abalabe mu bakaafiiri) ,bwe kityo buli Nabbi twamuteekako omulabe nga ali mu bantu ne mu majinni, abamu batumira bannaabwe e bigambo e biwoomu, naye nga bibi olwe kigendererwa kyo kugayaaza, naye singa Mukama omulabiriziwo aba ayagadde tebandikikoze kale nno baleke n'ebyo bye bagunjawo.
113. Era e mitima gy'abo abatakkiriza lunaku lw'enkomerero gibe nga gibiwuliriza, era babisiime era bagende mu maaso n’okukola e byo bye bakola.
114. Nyinza okuleka Katonda nenfuna omulala ansalirawo! nga ate yye Katonda y'oyo eyassa gye muli e kitabo( kuran) nga kinnyonnyola buli kimu, abo nno betwawa e kitabo( Tawraat n'enjili) bamanyi mazima ddala kyassibwa nga kiva ewa Mukama omulabiriziwo, nga kyonna mazima meereere, kale nno tobeer mu babuusabuusa.
115. E kigambo kya Mukama omulabirizi wo kituukiridde nga kyonna mazima na bwenkanya, tewali asobola kukyusa bigambo bye era bulijjo yye awulira era amanyi nnyo.
116. Singa on'ogondera abantu abasinga obungi mu nsi bajja kukubuza bakujje ku kkubo lya Katonda (byonna bye bakola temuli) okugyako okuba nti bateebereza, kye bakola tekiri okugyako kuteeba buteebi.
117. Mazima Mukama omulabirizi wo y'asinga okutegeera oyo eyabula ne ava ku kkubo lye, era nga bwali nti yaasinga okutegeera ebikwata ku balungama.
118. Kale nno mulye e byo e biba byogereddwa ku byo e rinnya lya Katonda, bwe muba nga mukkiriza e bigambo bye.
119. Ate muyinza mutya obutalya e byo e byogereddwako e rinnya lya Katonda nga mazima yabannyonnyola e byo bye yaziyiza ku mmwe, mpozzi e kyo kye muba mukoze olwo buwaze, naye ate mazima ddala abantu bangi babuza (abalala) nga bagoberera okwagala kwa bwe okutaliimu kwesigama ku kumanya, mazima bulijjo Mukama omulabiriziwo amanyi nnyo e bikwata ku basukka e nsaloze.
120. Muve ku bibi e byomulwatu ne byo'mukyama, mazima ddala abo abakola e bibi bajja kusasulwa ku lwebyo bye baakolanga.
121. Temulyanga e byo e bitayogereddwaako linnya lya Katonda mazima ddala okukola e kyo bwonoonyi bwennyini, era ddala Sitane ziwa mikwano gyaazo e bigambo babawakanye nabyo, singa mubagondera, nammwe olwo muba mu bagatta ku Katonda e bintu e birala.
122. Omuntu eyali omufu netumuwa obulamu, netumuwa e kitangaala kyakozesa nga atambula mu bantu, ayinza okufaanana ng’oyo ali mu bizikiza byatasobola kufulumamu. Na bwekityo abakaafiiri balaba nga bye bakola nga bye bisinga obulungi.
123. Na bwekityo twassa mu buli kitundu abakulira abagyemu baamu, babe nga bakolerera okusaasaanya obukyamu mu kyo, bye bakola tebituusa kabi okugyako ku bo bennyini naye tebamanyi.
124. Obujulizi obwe nkukunala bwe bubaggyira bagamba nti tetujja kukkiriza okutuusa nga tuweereddwa nga e byaweebwa ababaka ba Katonda, (e kituufu kiri nti) Katonda amanyidde ddala wassa obubaka bwe, abo abayonoona bajja kutuukwako okunyomebwa mu maaso ga Katonda n’ebibonerezo e bikakali, ku lwo kusaasanya kwabwe e bikyamu.
125. So nno omuntu Katonda gwaba ayagadde okulungamya ayanjuluza e kifuba kye eri obusiramu, n'oyo gwaba ayagadde okubuza afunza e kifuba kye n'atuuka okuba nga tawulira bulungi n’aba nga oyo agenda wa ggulu (space) bwatyo Katonda bwassa e kibonerezo kwabo abatakkiriza.
126. Lino lye kkubo lya Mukama omulabirizi wo e ggolokofu, mazima e bigambo tubinnyonnyodde eri abo abasobola okwebuulirira.
127. Olw'ebyo bye baali bakola ku nsi bagenda kufuna e nyumba ey'emirembe ewa Mukama omulabirizi waabwe, era yye ye mutaasa waabwe.
128. (Ggwe Nabbi Muhammad) lowooza olunaku Katonda lwalikungwanya (abakaafiiri) bonna, (abagambe nti) abange mmwe amajinni mwabuza abantu bangi nnyo, mikwano gya majinni mu bantu ne bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe fenna twesanyusizanga wamu netutuuka ku kiseera kyaffe kye watugerera okuba ku nsi, Katonda n'abagamba nti omuliro bwe buddo bwa mmwe, muli baakugubeeramu bugenderevu okugyako oyo Katonda gwaliba yagadde, anti mazima Mukama omulabiriziwo mugoba nsonga muyitirivu wa kumanya.
129. Bwe tutyo bulijjo abeeyisa obubi tubafuula mikwano gy’a ba nnaabwe bwe bafaanana olw'ebyo bye bakola.
130. Abange mmwe amajinni n'abantu ababaka tebaabajjira nga bava mu mmwe nga babategeeza e bigambo byange era ne babatiisa, okutuuka ku lunaku lwa mmwe luno, baligamba nti twewaako obujulizi (nti byonna baabitugamba, naye e kyabaleetera okubula) obulamu bwe nsi bwabagayaaza, olwo nno nebaba nga beekakasizzaako ddala nti baali bakaafiiri.
131. Ekyo nno (e kyokutuma ababaka) kyaliwo lwakuba nti Mukama omulabiriziwo yali tayinza kuzirikiza bantu ba kitundu kyonna olw'okweyisa obubi nga abantu b'omukitundu e kyo tebamaze kumanyisibwa (mateekage).
132. Buli omu ku bo alina amadaala okusinziira ku bye yakola Mukama Katonda omulabiriziwo tayinza kumala galeka e byo bye bakola.
133. Mukama omulabiriziwo y’atalina kye yeetaaga, ye nannyini kusaasira, bwaba ayagadde asobola okubajjawo oluvanyuma lwa mmwe naaleeta abo baaba ayagadde, nga nammwe bwe yabassaawo nga abajja mu zzadde ly’abantu abalala.
134. Mazima e byo bye mulagaanyisibwa bya kutuukirira ate mmwe temugenda kusobola kubiremesa.
135. Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) abange abantu bange mubeere ku nkola ya mmwe nange, nkole e byange, kyaddaaki mujja kumanya obuddo obw'enkomerero e nnungi bwani, mazima ddala bulijjo abeeyisa obubi tebagenda kutuuka ku buwanguzi.
136. (Mu bibi abantu abatagenda kutuuka ku buwanguzi bye bakola kwe kuba nti) bateerawo Katonda omugabo mu birime ne mu bisolo, mu kujweteka kwabwe ne bagamba nti, guno omugabo gw’a Katonda, naguno gwa ba katonda baffe abalala, oguba ogwa ba katonda baabwe tegutuuka w’a Katonda, ate oguba ogwa Katonda, gwo gutuuka ku ba katonda baabwe abalala, e nnamula yaabwe mbi.
137. Mu ngeri yeemu, abagatta ku Katonda e bintu e birala, ba katonda baabwe baabalaga nti kirungi okutta abaana baabwe, nebabatuusa okukola ekivve (eky'okutta omuntu ) nga bababuza, era babe nga babuzaabuza e ddiini yaabwe, singa Katonda yayagala tebandikikoze kale baleke n'ebyo bye bagunja.
138. Era abagatta ku Katonda ebintu e birala mu ndaba yaabwe bagamba nti, bino e bisolo n’ebirime tebikkirizibwa kuriibwa okugyako oyo gwetuba twagadde, ate nebaba n’ebisolo bye baziza okwebagala, ate nebaba n’ebisolo e birala bye batayogererako linnya lya Katonda ( nga bagenda okubisala) byonna nga bigambo bigunje ku Katonda, Katonda ajja kubasasula olw'ebyo bye baali bagunja.
139. Era (abagatta ku Katonda e bintu e birala) baagamba nti amawako g’ebisolo gakkirizibwa kuliibwa basajja bokka mu ffe, era tegakkirizibwa bakyala baffe, naye (amawako ago) bwegavaamu nga gafudde olwo bonna bakkiziribwa okubirya, Katonda ajja kubasasula olw'okutetenkanya kwabwe okwo, anti mazima Katonda mugoba nsonga, muyitirizu wa kumanya.
140. Mazima bafaafaaganirwa abo abatta abaana baabwe mu busiru olw'obutamanya, era mu ngeri y'okutemerera Katonda ne baziza e byo Katonda bye yabagabira, mazima baabula era tebaali balungamu.
141. Era yye (Katonda) yooyo eyateekawo amalimiro agabalira ku ttaka naago agatabalira ku ttaka, n’emitende n'ebimera ( ebirala) nga okuwooma kwabyo kwawukamu, n'e mizayituuni n’enkoma mawanga ebifaanagana mundabika yaabyo ate nga obuwoomu bwabyo bwawukamu, mulye e bibala byabyo bwe biba nga bibaze ate mujjemu n'omugabo gwabyo (gwa Zakka) olunaku lwemuba lwe mubikungula, wabula temusukkanga e kigero kyabyo ( mu nkozesa ne mu kutoola zzaka), anti Katonda tayagala basukka kigero.
142. Era Katonda yateekawo e bisolo e byetikka n’ebirala nga biggyibwako eby'okwaliira, mulye mu ebyo Katonda bye yabagabira temugobereranga obuwufu bwa Sitane, anti mazima yye gye muli mulabe wa lulango.
143. E bisolo e birundibwa (Katonda bye yatukkiriza okulya) e mitindo gyabyo giri munaana, e biri mu ndiga, n’ebiri mu mbuzi, bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti e nsajja z’ombiriri Katonda ze yaziza ku mmwe, oba e nkazi, oba amawako g’azombiriri, mumbulire nga musinziira ku kumanya bwe muba nga bye mwogera bya mazima.
144. Ne mu ngamiya e mitindo e biri, ne mu nte e mitindo e biri, bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) e nsajja z’ombiriri zeyaziza oba e nkazi, oba amawako g’a zombiriri, abaffe mwaliwo nga Katonda akibalagira! olwo ani eyeeyisa obubi okusinga oyo agunja ku Katonda obulimba, atuuke okubuza abantu awatali kumanya, bulijjo Katonda talungamya bantu beeyisa bubi.
145. Gamba ggwe (Nabbi Muhammad) nti: mu bubaka obwampebwa temuli kiri Haramu kwoyo aba ayagadde okukirya, be ppo nga ebadde nnyamanfu oba omusaayi ogwa kafekye, oba e nnyama ye mbizzi, mazima e kikolwa e ky’okulya e bintu e byo kivve, oba (mu biri haram) y'ensolo esalibwa mu bugyemu nga eyogereddwaako e rinnya eritali lya Katonda. Wabula omuntu aba alemereddwa nga takikola lwa jjoogo wadde okumenya amateeka ga Katonda, mazima Mukama omulabiriziwo musonyiyi era musaasizi.
146. Era twaziza ku bayudaaya buli kisolo ekirina e njala, ate nga ente n'embuzi, twaziza ku bo amasavu gaazo okugyako ag'oku mugongo oba e byenda oba agali mu nnyama e y'okuggumba ekyo twababonereza nakyo lwabubuze bwabwe, mazima ffe buli lwe twogera kiba kyekyo.
147. Bwebakulimbisa gamba nti Mukama omulabirizi wa mmwe okusaasira kwe kugazi, kyokka ate e bibonerezo bye tebiyinza kuwonebwa bantu boonoonyi.
148. Abo abagatta ebintu e birala ku Katonda bajja kugamba nti singa Katonda yayagala ffe ne bakadde baffe tetwandigasse kintu kirala ku Katonda, era tewali kintu kye twandifudde Haramu, bwe batyo n'abaakulembera bwe baalimbisa okutuusa lwe baakomba ku bukaawu bwe bibonerezo byaffe, gamba nti abaffe (mwogera e byo) nga mulina kye musinziirako! kale mu kitulage, tewali kye mugoberera okugyako okufumiitiriza era kye mukola si kirala okugyako okuteebereza.
149. Gamba (Ggwe Muhammad) obujulizi obumatiza bwa Katonda. Kale nno singa yayagala mwenna yaalibalungamizza.
150. Gamba (Ggwe Muhammad) muleete abajulizi ba mmwe abo abajulira nti mazima Katonda yaziyiza e kintu gundi, bwe bajulira ne bakikakasa gwe toba nabo, era togoberera n'omulundi n'ogumu okwagala kw'abo abalimbisa e bigambo byaffe, n'abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero, era nga bo bagatta e bintu e birala ku Katonda.
151. Gamba nti mujje mbasomere e byo Katonda bye yafuula haramu ku mmwe, temugattanga e kintu kyonna ku Katonda, abazadde ababiri bateekeddwa okuyisibwa obulungi, temuttanga abaana ba mmwe olw’obwaavu, ffe tugabirira mmwe nabo, era temusembereranga eby'obuwemu eby'olwatu mu byo n’ebyekwese, temuttanga omuntu oyo Katonda gwe yaziza okugyako nga waliwo e nsonga. E byo nno (Katonda) yabibakalaatira kibayambe mube abategeera.
152. Era temusembereranga e mmaali ya ba mulekwa okugyako mu ngeri esinga okuba e nnungi okutuusa omwana oyo nga akuze mu birowoozo, era mutuukirize e bipimo n'ebigero mu bwesimbu, omuntu tetumulaalikako okugyako e kyo kyasobola, era bwe muba nga mwogera mulage amazima aweebwako obujulizi ne bwaba wa luganda, era mu ngeri e yenjawulo mutuukirize obweyamu bwa mmwe bwe mwawa Katonda. E byo nno Katonda yabibakalaatira kibayambe okujjukira (mwekube mu kifuba).
153. Era mazima ddala e kkubo lyange lino ggolokofu kale nno lyemuba mukwata, temugobereranga obukubo obulala ne kibakyusa okuva ku kkubo lye, e byo nno yabibakalaatira mmwe mulyoke mube abamutya.
154. Era (mukimanye) nti twawa Musa e kitabo nga kujjuuliriza eri oyo akola obulungi era nga kittottola buli kintu, era nga bulungamu na kusaasira, kibasobozese okukkiriza nti bagenda kusisinkana Mukama omulabirizi waabwe.
155. Na kino e kitabo (Kur’ani) twakissa nga kya mukisa kale nno mukigoberere era mutye Katonda olwo nno musaasirwe.
156. Muleme kugamba nti bwo obubaka bwa weebwa e bibinja bya mirundi e biri e byatukulembera ate nga twali tetufaayo ku bye basoma.
157. Oba muleme kugamba nti singa mazima ddala twassibwako e kitabo twandibadde balungamu okusinga bali, mazima obunnyonnyofu okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe n'obulungamu n’okusaasira byabajjira, kaakati ani eyeeyisa obubi okusinga oyo alimbisa e bigambo bya Katonda n'abyawukanako, abo abaawukana ku bigambo byaffe tugenda kubasasula nga tubatuusaako e bibonerezo e bikakali olw'okuva kwabwe ku bigambo bya Katonda.
158. Abaffe balina kye balindirira mpozzi ba malayika okubajjira, oba Mukama omulabirizi wo ajje, oba obumu ku bubonero bwa Mukama omulabiriziwo bujje, (wabula) olunaku, obumu ku bubonero bwa mukama omulabiriziwo lwe burijja, omuntu tagenda kuganyulwa mu kukkiriza kwe kavuna aliba nga mu kusooka teyali mukkiriza oba obukkiriza bwe nga tebwamuyamba kukola burungi gamba (ggwe Muhammad) nti mulindirire mazima naffe tulindiridde.
159. Mazima ddala abo abatemaatema mu ddiini yaabwe, nebafuuka biwayi tolina kakaatwe nabo ku kintu kyonna, mazima e nsonga zaabwe ziri wa Katonda (yaagenda okubalamula), olwo nno alyoke abategeeze e byo bye baakolanga.
160. Omuntu alijja nga akoze e kirungi kimu, alifuna e mpeera yaakyo e mirundi kkumi, ate oyo alijja nga akoze e kibi, tagenda kusasulwa okugyako e kyenkana n'ekyo kye yakola, era nga bulijjo, nabo tebagenda kuyisibwa bubi.
161. Gamba mazima nze Mukama omulabirizi wange yannungamya ku kkubo e ggolokofu, nga ddiini e nnambulukufu, nga ye ddiini ya Ibrahim, eyali omwesimbu munzikiriza, era tabangako wa mubagatta ku Katonda kintu kirala.
162. Gamba (Ggwe Muhammad) nti mazima okusaala kwange, n’okusaddaaka kwange e bisolo, n’obulamu bwange, n’okufa kwange, byonna biri eri Mukama omulabirizi w’ebitonde.
163. Tewali kimugattibwako, bwentyo nno bwe nnalagirwa, era nze musaale mu beewaayo ewa Katonda.
164. Gamba Ggwe (Nabbi Muhammad) abaffe nyinza okuleka Katonda nenfuula e kintu e kirala kyonna okuba nga ye mulabirizi wange, so ng’ate yye ye mulabirizi w’abuli kintu, tewali kibi muntu kyakola okugyako nga kidda gyali, era tewali muntu yeetikka kibi kya mulala. Oluvanyuma eri Mukama omulabirizi wa mmwe yeeri obuddo bwa mmwe.
165. Era yye yooyo eyabateekawo nga mujja musikira obuvunaanyizibwa ku nsi, era naasitula abamu ku mmwe mu madaala, olwo nno abenga abagezesa mu ebyo bye yabawa, mazima Mukama omulabirizi wo mwangu wa kubonereza, era mazima ddala yye musonyiyi nnyo musaasizi.