Okuvvuunula Suura الضحى mu اللوغندية okuva mu الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
Verse 1
ﮉ
ﮊ
1. Ndayira ekiseera ky’a kalasa mayanzi.
Verse 2
ﮋﮌﮍ
ﮎ
2. Era ndayira e kiro bwekiba nga kikutte.
Verse 3
ﮏﮐﮑﮒﮓ
ﮔ
3. Omuleziwo Katonda takwabuliranga (gwe Nabbi Muhammad) era takukyawanga.
Verse 4
ﮕﮖﮗﮘﮙ
ﮚ
4. Era ddala e nkomerero y’ennungi gy’oli okusinga entandikwa.
Verse 5
ﮛﮜﮝﮞ
ﮟ
5. Era ddala Omuleziwo ajja kukuwa naawe osiime.
Verse 6
ﮠﮡﮢﮣ
ﮤ
6. Teyakusanga ng’oli mulekwa n'akulabirira?
Verse 7
ﮥﮦﮧ
ﮨ
7. Era teyakusanga nga tomanyi n’akulungamya?
Verse 8
ﮩﮪﮫ
ﮬ
8. Era teyakusanga nga oli mwavu n’akugaggawaza?
Verse 9
ﮭﮮﮯﮰ
ﮱ
9. Kale nno mulekwa tomukaayuukiranga.
Verse 10
ﯓﯔﯕﯖ
ﯗ
10. N’omuntu asaba tomuboggoleranga.
Verse 11
ﯘﯙﯚﯛ
ﯜ
11. Ate era e kyengera kyonna Omuleziwo Katonda ky’abanga akuwadde kinyumyengako.
تقدم القراءة