Okuvvuunula Suura العاديات mu اللوغندية okuva mu الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
Verse 1
ﮱﯓ
ﯔ
1. Ndayira embalaasi ezizinda(ezidduka) nga ziweevuuma.
Verse 2
ﯕﯖ
ﯗ
2. Nezimansula e nsasi z’omuliroolw’okukoona enjazi.
Verse 3
ﯘﯙ
ﯚ
3. Ezizinda ku maliiri.
Verse 4
ﯛﯜﯝ
ﯞ
4. Nezisiikuula enfuufu, mu kutyekuula emisinde okwo.
Verse 5
ﯟﯠﯡ
ﯢ
5. Neziyingira mu balabe wakati.
Verse 6
ﭑﭒﭓﭔ
ﭕ
6. Mazima ddala omuntu mutomi eri omuleziwe.
Verse 7
ﭖﭗﭘﭙ
ﭚ
7. Era mazima ye (omuntu) ku ky'obutomi mujulizi.
Verse 8
ﭛﭜﭝﭞ
ﭟ
8. Era mazima yye muyitirivu nnyo mu kwagala ebyenfuna.
Verse 9
9. Abaffe (omuntu) tamanyi nti ebiri mu kabbuli bwe biriba bizuukiziddwa.
Verse 10
ﭩﭪﭫﭬ
ﭭ
10. N’ebiri mu bifuba ne byolesebwa.
Verse 11
ﭮﭯﭰﭱﭲ
ﭳ
11. Mazima Katonda omulezi waabwe (nga bulijjo ne) ku lunaku olwo agenda kuba ng'amanyi byonna ebibakwatako.
تقدم القراءة