سورة التوبة

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية

Okuvvuunula Suura التوبة mu اللوغندية okuva mu الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية

1. Kino kirango ekiva ewa Katonda n’omubakawe, eri abo be mwakola nabo e ndagaano, mu bagatta e bintu e birala ku Katonda.
2. (Kati muweereddwa e ddembe ddembe) kale mutambule mu nsi e bbanga lya myezi ena, era mukimanye nti mazima ddala mmwe temuyinza kulemesa Katonda, era ddala, nga bulijjo Katonda aswaza abakaafiiri.
3. Era kuno kulangirira okuva eri Katonda n’omubakawe, okuteekwa okutuusibwa eri abantu, ku lunaku olukulu olwa Hijja, nti mazima Katonda amenyeewo e ndagaano zonna ezaakolebwa n'abo abagatta ku Katonda e bintu e birala, n’omubakawe bwatyo azimenyeewo, naye singa mwenenya ekyo kye kirungi gye muli, wabula singa mugaana mumanye nti mazima mmwe temusobola kulemesa Katonda, era (ggwe Muhammad) abo abaakaafuwala bawe amawulire ag’ebibonerezo e biruma.
4. Okugyako abo be mwakola nabo e ndagaano mu bagatta ku Katonda e bintu e birala, oluvanyuma ne batamenya katundu konna mu ndagaano eyo, era nebatayamba muntu yenna abalwanyisa. (abo) mubajjulize e ndagaano yaabwe okutuusa e kiseera kya bwe lwe kiggwako, anti mazima ddala Katonda ayagala nnyo abamutya.
6. Singa omuntu yenna mu abo abagatta ku Katonda e bintu e birala akusaba okumuwa obubudamu, bumuwe, kimuyambe okuwulira e bigambo bya Katonda, oluvanyuma mutuuse mu kifo waabeerera mu mirembe, ekyo nno lwa kuba nti mazima bbo bantu abatamanyi.
7. Kisoboka kitya okubaawo e ndagaano wakati w’a bagatta ku Katonda e bintu e biralala, ne wakati wa Katonda n’omubaka we! mpozzi abo be mwakola nabo e ndagaano mu kifo awali omuzikiti ogw’e mizizo, kale e bbanga lye bamala nga beesimbu gye muli nammwe muteekwa okubeera abeesimbu gye bali mazima Katonda ayagala abamutya.
8. Ngeriki (bwe wayinza okubaawo e ndagaano wakati wa mmwe nabo) so nga bwe baba babawangudde tebafa ku ndagaano wadde oluganda lwe mulina nabo, babasiimiikiriza n’ebigambo bya bwe, so nga e mitima gy’abwe tegiri nammwe ng’ate abasinga obungi mu bo, boonoonyi.
11. Naye (awamu n'ekyo) bwe baba beenenyezza (nebava ku bikolwa ebyo) ne bayimirizaawo e sswala nebawa zzaka, olwo nno baba bafuuse baganda ba mmwe mu ddiini, era bulijjo tunnyonnyola mu bulambulukufu e bigambo byaffe eri abantu abamanyi (abeegasa nabyo).
14. Mubalwanyise, Katonda ababonereze n’emikono gya mmwe, era abakkakkanye era mmwe abataase ku bo, aweweeze ekyo ekiri mu mitima gya bakkiriza.
21. Mukama omulabirizi waabwe abasanyusa nga bwagenda okubawa okusaasira, n’okusiima ebiva gyali, era abawe e jjana, mwe balifunira e byengera e bitakoma.
24. Gamba nti bakadde ba mmwe n’abaana ba mmwe, ne baganda ba mmwe, ne bemwafumbiriganwa nabo, n’aboluganda lwa mmwe, n’ebyobugagga bye mukungaanya, n’ebyobusuubuzi bye mutya okudiba kwabyo, n’amayumba agabasanyusa, ebyo byonna bwe biba nga bye mwagala e nnyo okusinga Katonda n’omubakawe, n’okulafuubana okuweereza mu kkubolye, olwo nno mulindirire okutuusa Katonda lwanaaleeta e kiragirokye, era Katonda talungamya bantu boonoonyi.
33. Katonda, yye yooyo eyatuma omubakawe nga amuwadde obulungamu n’eddiini ey’amazima, abe ng’a agiraga nga bweri waggulu we ddiini e ndala zonna newaakubadde nga abagatta ku Katonda e bintu e birala tebakyagala.
36. Mazima omuwendo gw'emyezi ew’a Katonda giri emyezi kkumi n'ebiri, bwe kityo bwe kiri mu biwandiiko bya Katonda, okuva ku lunaku Katonda lwe yatonda e ggulu omusanvu ne nsi. Ena ku gyo gy’amizizo, eyo nno y’e ddiini e nnambulukufu, temweyisanga bubi mu gyo, era mulwanyise abagatta ku Katonda e bintu e birala bonna, nga nabo bwe babalwanyisa mwenna, mumanye nti mazima Katonda bulijjo abeera n’a bamutya.
37. Mazima okuwaanyisa e myezi egy'emizizo kyongera bukaafiiri, babuzibwa nakyo abo abaakaafuwala nga bakkiriza okugirwaniramu mu mwaka, ate omwaka omulala nebagiziza, basobole okujjuza omuwendo gwe myezi Katonda gye yaziza, mu kukola ekyo nebaba nga bafuula Halali Katonda kye yafuula Haramu. Ebikolwa byabwe e bibi bya balabikira okuba nga bye birungi, nga bulijjo Katonda talungamya bantu bakaafiiri.
39. Bwemutagenda (ku lutalo) (Katonda) agenda kubabonereza e bibonerezo e biruma ennyo, ate asseewo abantu abalala mu kifo kya mmwe, era temuyinza ku mutuusaako kabi konna, nga bulijjo Katonda muyinza wa buli kintu.
40. Bwe mutamutaasa (Nabbi Muhammad), mazima Katonda yamutaasa mu kiseera abakaafiiri bwe baamufulumya nga y’omu ku babiri, webaabeerera mu mpuku, mu kiseera weyagambira munne nti tonakuwala mazima Katonda ali wamu naffe, awo nno Katonda naamussaako obutebenkevubwe, era naamudduukirira neggye lye mutaalaba. E kigambo ky'abo abaakaafuwala n’akifuula ekya wansi, ssi nga ekigambo kya Katonda kyo kye kya waggulu, bulijjo Katonda ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.
41. Mufulume n’ebyokulwanyisa e bitonotono oba e bizito, mulafuubane nga muweereza mu kkubo lya Katonda, nga mukozesa e mmaali ya mmwe nemy’oyo gya mmwe, ekyo nno ky’ekirungi gye muli, bwe muba nga mumanyi.
44. Abo abakkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero, tebayinza kukusaba kubaggyako luwalo lwa kugenda kulafuubana mu kkubo lya Katonda, nga bakozesa e mmaali yabwe, n’emyoyo gyabwe, era Katonda amanyidde ddala abo abamutya.
45. Mazima abo abatakkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero, be bakusaba okubakkiriza obutagenda ku lutabaalo, n’emitima gyabwe gibuusabuusa, bonna mu kubuusabuusa kwabwe mwebabeera nga tebayinza kusalawo.
46. Singa baali baagadde kugenda ku lutalo, baalirwetegekedde okwetegeka okwetaagisa, naye Katonda teyayagala kugenda kwa bwe, n’olwekyo n’atabasobozesa, olwo nno nebalangirira nti, musigale n’abasigadde.
47. Singa baagendera mu mmwe, tebandibongedde okugyako bizibu, era bandibungeesezza e ngambo mu mmwe, nga babaagaliza akabi, ate nga ne mu mmwe mwandibaddemu ababawuliriza, Katonda amanyi nnyo ebikwata ku bantu abeeyisa obubi.
52. Gamba (ggwe Muhammad), mulina kye musuubira okututuukako ekitali e kimu ku birungi e bibiri (okuwangula olutalo oba okuwangulwa netuyingira e jjana), ng’ate ffe tubalindiridde Katonda abatuusaako ebibonerezo okuva gyali, oba abibatuseeko ng’abiyisa ku mikono gyaffe, kale mulindirire naffe tulindirira wamu na mmwe.
53. Gamba (ggwe Muhammad), kamuweeyo mu mmaali ya mmwe mu ngeri y’akyeyagalire oba ey’obuwaze, (okugaba kwa mmwe okwo) tekugenda kukkirizibwa kuva gye muli, anti mazima ddala mmwe muli abantu aboonoonyi.
60. Mazima ddala saddaaka (zzaka) eweebwa abaavu, n’abanaku, n’abagikolako, naabo e mitima gyabwe egisikirizibwa, (abaakasiramuka), ne mu kununula abaddu, n’abo amabanja begatuuse mu bulago, ne mu kulafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, n’omutambuze, ebyo byonna nga y'engereka y’a Katonda, era bulijjo Katonda amanyi nnyo, mugoba nsonga.
65. Singa obabuuza (lwaki bajerega abakkiriza), bajja kugambira ddala nti, mazima twabadde mu lwali na kuzannya, gamba (ggwe Muhammad) Katonda, n’ebigambobye n’omubakawe, bye mwabadde mujerega!.
66. Temwetonda mazima mukaafuwadde oluvanyuma lw’obukkiriza bwa mmwe, bwe tusonyiwa e kitundu ku mmwe (olw'okwetonda), tuba tulina okubonereza e kitundu e kirala ekiteetonze, olw'okuba nti mazima bo baali boonoonyi.
69. Bafaananako nga abo abaaliwo oluberyeberye lwa mmwe, baali ba maanyi nnyo okusinga mmwe, era nga beebasinza e mmaali n’abaana, olwo nno ne beeyagala olw'ebyo bye baafuna nga nammwe bwe mweyagadde olw'ebyo bye mufunye, nga abaabakulembera bwe beeyagala olw'ebyo bye baafuna, era ne mudda mu kukuba olwali nga bali lwe baalimu, abo nno e mirimu gya bwe gyayonooneka ku nsi ne ku nkomerero, era abo be b'okufaafaaganirwa.
70. Abaffe e kigambo ky'abo abaabakulembera tekyabatuukako! abantu ba Nuuhu, n’aba A’adi, n’a ba Thamud, n’abantu ba Ibrahim, n’abantu b’o mu kitundu kye Madiyana, n’abantu b’o mu bitundu ebyavuunikibwa (aba Nabbi Luutu)ababaka baabwe baabajjira n’ebigambo bya Katonda e binnyonnyofu, oluvanyuma lw'ebyo Katonda si ye yabayisa obubi, naye bbo bennyini be beeyisa obubi.
74. Balayira Katonda nti tebabyogerangako, naye nga mazima baayatula e kigambo ky'obukaafiiri, olwo nno nebafuuka abakaafiiri oluvanyuma lw'okuba nti baali basiraamu, nebagezaako nnyo okukola kye baali tebasobola kutuukiriza (eky'okutta Nabbi), tewali kyabakozesa mpalana okugyako okuba nti Mukama Katonda n’omubakawe baabagonnomolako e bigabwa bya Katonda, kale nno singa beenenya kiba kirungi gye bali, naye bwe batakikola Katonda agenda ku babonereza olubonereza oluluma ennyo ku nsi, ne ku nkomerero, era nga tebalina ku nsi mukuumi yenna oba mutaasa.
77. N’olwekyo ekyaddirira Katonda nannyikiza obunnanfusi mu mitima gy’abwe, okutuusa ku lunaku lwe balimusisinkana, olw'okuba nti baayawukana ku kye baalagaanyisa Katonda, ne ku lw'ebyo bye baali balimbisa.
82. Kale nno basaana baseke kitono (mu bulamu obw'ensi), ate bakaabe nnyo (ku nkomerero), nga y'empeera gye bagenda okusasulwa olw'ebyo bye baali bakola.
88. Naye mazima omubaka n’abo abakkiriza abali awamu naye balafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nga bakozesa e mmaali yaabwe, n’emyoyo gyabwe, era abo balina obulungi, era abo bbo be balituuka ku buwanguzi.
90. Abawarabu ba nnamalungu ne bajja eri Nabbi nga beetonda, babe nga bakkirizibwa obutagenda ku lutalo, ate abo abaalimbisa Katonda n’omubakawe, bo baatuula butuuzi (awatali kuwa nsonga yonna), abo abaakaafuwala mu bo, bagenda kutuukwako e bibonerezo ebiruma ennyo.
94. (Abo abaabaawukanako ku lutalo lwe Tabuk) bajja kubeetondera (nga balimba), bwe munaaba muzzeeyo gye bali bagambe (gwe Nabbi Muhammad) nti temwetonda tetujja kukkiriza kwetonda kwa mmwe, anti mazima Katonda yatutegeeza ebibakwatako, Katonda ajja kulaba ebikolwa bya mmwe n'omubakawe ajja kubiraba, oluvanyuma muli baakuzzibwa eri omumanyi w'ebyekwese n'ebyolwatu, olwo nno Katonda alyoke abategeeze ebyo bye mwali mukola (ku nsi).
98. Mu ba nnamalungu mulimu abo abalaba kye baba bawaddeyo kyonna mu kkubo lya Katonda nga kufiirwa era nga babaagaliza bizibu naye nga e bizibu bya kutuuka ku bo, (sso si ku mmwe), Katonda awulira nnyo era muyitirivu wa kumanya.
99. Era mu ba nnamalungu mulimu abakkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero era nga ne bye baba bawaddeyo mu kkubo lya Katonda babibala nga bya kubatuusa ku kusiima kwa Katonda n'omubaka okubasabira (obulungi). Kituufu ebyo bye baba bawaddeyo bibatuusa ku kusiima kwa Katonda, Katonda ajja kubayingiza (e jjana) ekifo ky'okusaasirakwe.Anti mazima Katonda musonyiyi nnyo musaasizi.
101. Ne mw'abo ababeetoolodde mu ba nnamalungu mulimu abannanfusi ne mu batuuze be Madinah mulimu abaagugubira ku bunnanfusi, nga ggwe tobamanyi, ffe nno tubamanyi. Tujja kubabonereza e mirundi e biri (kuno ku nsi n'okubaswaza n'ebibonerezo byo mu Kabuli oluvanyuma lw'okufa), oluvanyuma baakuzzibwa eri e bibonerezo e bisuffu.
102. (Waliwo) N'abalala abakkiriza e bibi byabwe, baatabula e mirimu e mirungi n'emirala e mibi. Ob'olyawo Katonda ajja kubasonyiwa (olw'okwetonda kwa bwe) anti mazima Katonda muyitirivu wa kusonyiwa era muyitirivu wa kusaasira.
105. Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) nti mukole, Katonda ajja kulaba e mirimu gya mmwe n’omubakawe n’abakkiriza era nga muli ba kuzzibwa eri omumanyi w'ebitalabikako n'ebirabikako olwo alyoke abategeeze, ebyo bye mwali mukola.
106. (N'abalala mw'abo abaakwawukanako ku lutalo lwe Tabuk) baalekerwa kusalawo kwa Katonda, oba agenda kubabonereza oba alikkiriza okwenenya kwa bwe. Mazima Katonda mumanyi nnyo mugobansonga.
111. Mazima Katonda yagula ku bakkiriza obulamu bwa bwe ne mmaali ya bwe nga ddala agenda kubasasulamu jjana olw'okuba nti balwana mu kkubo lya Katonda ne batta era nga nabo battibwa eyo nga ndagaano gye yeekakasaako mu Taurat mu Injil ne mu Kur’ani ate ani ayinza okutuukiriza e ndagaano ye okusinga Katonda, kale nno musanyuke n'obuguzi bwe mugulaana era okwo kwe kwesiima okusukkulumu.
112. (Abagwa mu kiti ekyo) beebo abeenenyeza Katonda abasinza Katonda abatendereza Katonda, abatambula mu nsi ku lw'okuweereza Katonda abakutama ku maviivi ne bavunnama ku ttaka (nga basaala) abalagira e mpisa e nnungi era abaziyiza amayisa amabi, era abeekuumira ku mateeka ga Katonda, era sanyusa abakkiriza.
114. Okwegayirira kwa Ibrahim kulwa kitaawe tekyaliwo okugyako olw'endagaano gye yamuwa, naye bwe yamala okukitegeera ddala nti mazima yye (kitaawe) mulabe wa Katonda yamwegaana, (Ibrahim yalina okugezaako nga bwasobola okwegayirira Katonda asaasire kitaawe), anti Ibrahim bulijjo yali muyitirivu wa kusaba na kuloopa nsongaze zonna ewa Katonda era nga wa kisa nnyo.
120. Kyali tekisaanira bantu be Madinah neba nnamalungu ababeetoolodde okwawukana ku mubaka wa Katonda (ku lutabaalo) n'okuba nti beeyagala okusinga bwe bamwagala, ekyo nno lwa kuba nti mazima bo tewali nyonta wonna lwe baluma, wadde okukoowa, wadde e njala, nga bali mu kulafuubana okuweereza mu kkubo lya Katonda era tewali kigere kyonna, kye batambula ekinyiiza abakaafiiri, era tewali buzibu bwonna bwe batuusa ku mulabe, okugyako nga kibawandiikibwako nga omulimu omulungi. Mazima ddala bulijjo Katonda tayonoona mpeera ya bantu balongoosa.
تقدم القراءة