Okuvvuunula Suura المسد mu اللوغندية okuva mu الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
Verse 1
ﮈﮉﮊﮋﮌ
ﮍ
1. Mu Hadith eri mu kitabo kya Bukhari Nabbi yagenda ku Batwhahu naakuba wuuli abantu bangi bajja nga balowooza nti waliyo ebya maguzi, Nabbi bweyatandika okubabuulira ebikwata ku Katonda, Abu Lahbi naakasuka e mikono nga bwagamba nti kino kyotukunganyirizza era kyotuyitidde? Zikirira. Katonda kwe kumwanukula mu ssura eno naagamba nti: (Gizikirire e mikono gya Abu Lahbi (gyawuuba), era ddala yenna yazikirira.
Verse 2
ﮎﮏﮐﮑﮒﮓ
ﮔ
2. Eby'obugaggabwe tebimugasizza, wadde n’ebirala bye yafuna, (nga e kitiibwa).
Verse 3
ﮕﮖﮗﮘ
ﮙ
3. Ajja kwesonseka mu muliro ogubumbujja.
Verse 4
ﮚﮛﮜ
ﮝ
4. Ne mukyalawe omwetissi w’enku (naye bwatyo).
Verse 5
ﮞﮟﮠﮡﮢ
ﮣ
5. Nga mu nsingoye mulimu omuguwa omulange.
تقدم القراءة