ﯩ
surah.translation
.
ﰡ
1. Abange mmwe abakkiriza temufuulanga abalabe bange era abalabe ba mmwe mikwano gyammwe egy'omunda, so nga baawakanya amazima agaabajjira okuva ewa Katonda ne bagobaganya omubaka awamu nammwe (okuva mu Makkah), olwokuba nti mukkiriza Katonda omulezi wa mmwe. Bwe muba mufulumye olw'okulwana mu kkubo lyange era nga munoonya okusiima kwange, (temukukutanga ne mubabuulira ebyama byammwe) nga mukolagana nabo mu ngeri y'ekyama ate nga nange manyi ebyo bye mukisa ne byemwolesa. Oyo yenna akikola mu mmwe aba avudde ku kkubo ettuufu.
2. Bwe babagwikiriza awantu wonna boolesa obulabe gye muli ne babagalulira emikono gyabwe (mu kubalwanyisa), era ne baboolekeza ennimi zaabwe (mu kubavuma) mu ngeri embi. Era nga beegomba nti singa mukaafuwadde.
3. Enganda zammwe wadde abaana ba mmwe tebagenda kubagasa ku lunaku lw'enkomerero. Katonda agenda kulamula wakati wa mmwe, anti Katonda alabira ddala ebyo bye mukola.
4. Mazima mulina ekyokulabirako ekirungi ekya Nabbi Ibrahim n'abakkiriza abaali naye, mu kiseera we baagambira bannaabwe nti mazima ffe tubesammudde n'ebyo bye musinza ebitali Katonda (ali omu). Tubawakanyizza era waliwo wakati waffe nammwe obulabe n'obukyayi obw'olubeerera, mpozzi nga mukkirizza Katonda ali omu. Okugyako ekigambo kya Ibrahim kye yagamba kitaawe oluberyeberye nti nja kwegayirira ddala Katonda akusonyiwe, era sirina kintu kyonna kyenyinza kukugasa ewa Katonda. Ayi Katonda waffe ggwe wekka gwetwesiga. Era tukwenenyerezza. Era gyoli gyetujja okudda.
5. Ayi Mukama Katonda waffe totufuula kikemo eri abo abaagaana okukkiriza era tusonyiwe ayi mukama waffe, anti mazima ggwe nantakubwa ku mukono, assa buli kintu mussa lyakyo.
6. Mazima mulina ekyokulabirako ekirungi ku bo (Nabbi Ibrahim n'abakkiriza abaali naye) ekyo kiri eri buli asuubira okufuna e mpeera okuva ewa Katonda ku lunaku lw'enkomerero. Naye oyo yenna anaaba akyuse (naava ku kukkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero), mazima ddala Katonda yye talina kye yetaaga okuva eri bitondebye, atenderezebwa bulijjo.
7. Wabula Katonda asobola okussa wakati wa mmwe ne be muwalaggana nabo e nkolagana ennungi. Anti Katonda muyinza, era Katonda musonyiyi omusaasizi.
8. Katonda tabagaana ku kolagana naabo ababa tebabalwanyisizza olw'eddiini, era abatabagobaganya mu nsi yammwe mutuuke okuba nga temubayisa bulungi n'okubakolera obwenkanya, anti mazima Katonda ayagala abenkanya.
9. Mazima ddala Katonda abagaana okukolagana naabo abaabalwanyisa olw'eddiini, ne babagobaganya okuva mu nsi yammwe, ne bakola kinene nnyo mu kubagobaganya. Oyo yenna akolagana nabo, abo nno be balyazamanyi.
10. Abange mmwe abakkiriza singa abakyala abakkiriza babajjira nga basenguse mubagezesenga. Yye Katonda obukkiriza bwabwe aba abumanyi, bwe mukakasa nti bakkiriza temubaddizanga abakafiiri, abakyala bano tebali Halali ku bakafiiri abo nga n'abakafiiri abo bwe batali halali ku bakyala abo, wabula bo abasajja (Abakafiiri) mubaddize bye baawaayo mu kubawasa, olwo nno tekiba kibi bwe mubawasa nga mubawadde amahare gaabwe. Temwesiba ku kuwoowa okwekikafiiri kwe mwakola nabo. Mubasabe babaddize byemwawaayo nga nabo bwe basobola okusaba bye bawaayo. Ebyo nno kwe kulamula kwa Katonda kwabalamuza. Anti Katonda mumanyi nnyo ateeka buli kintu mussa lyakyo.
11. Singa omukyala w'omu ku mmwe ava mu busiramu nadda mu bukafiiri kemulwanagana nabo ne mumala mufunayo eminyago muteekwa okusasula abo abaddukwako bakyala baabwe ekigero kyekyo kye bawaayo nga babawasa. Bulijjo muteekwa okuba nga mutya Katonda oyo gwemukkiriza.
12. Owange ggwe Nabbi abakkiriza abakyala bwebajja gyoli nga bakuba ekirayiro mu maasogo, nti tebagenda kugatta ku Katonda kintu kyonna, era nga tebagenda kubba, wadde okwenda oba okutta abaana baabwe, era nti tebagenda kuwaayiriza nga bajingirira wakati w'emikono gyabwe n'amagulu gaabwe, nga era bwe batagenda kukujeemera mu kukola ekirungi kyonna, naawe nno bawe obukakafu era wegayirire Katonda abasonyiwe, anti mazima ddala Katonda musonyiyi nnyo omusaasizi.
13. Abange mmwe abakkiriza temukwanagana n'abantu Katonda beyasunguwalira. Anti bo tebalina ssuubi ku lunaku lw'enkomerero, nga abakafiiri bwebatalina ssuubi ku bikwata ku bantu abali emagombe.