Okuvvuunula Suura الزلزلة mu اللوغندية okuva mu الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
Verse 1
ﮅﮆﮇﮈ
ﮉ
1. E nsi bweriba eyuguumizziddwa oluyuguuma lwayo.
Verse 2
ﮊﮋﮌ
ﮍ
2. E nsi n'efulumya (nga ewandula) ebyo byonna ebigirimu.
Verse 3
ﮎﮏﮐﮑ
ﮒ
3. Omuntu aligamba nga yeebuuza nti! ebadde ki?
Verse 4
ﮓﮔﮕ
ﮖ
4. Ku lunaku olwo egenda kuttottola ebigambo byonna ebikwata ku ebyo ebyakolerwanga ku yo.
Verse 5
ﮗﮘﮙﮚ
ﮛ
5. Nti mazima Katonda y'aliba agiragidde okwogera ebyo.
Verse 6
ﮜﮝﮞﮟﮠﮡ
ﮢ
6. Abantu ku lunaku olwo baliva mu kabbuli zaabwe nga bali mu bibinja babe nga balagibwa e mirimu gyabwe.
Verse 7
ﮣﮤﮥﮦﮧﮨ
ﮩ
7. Omuntu eyakola omulimu omulungi gwonna kagube mutono gutya agenda kugulaba.
Verse 8
ﮪﮫﮬﮭﮮﮯ
ﮰ
8. N'omuntu eyakola omulimu omubi gwonna kagube mutono gutya agenda kugulaba.
تقدم القراءة