سورة هود

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية

Okuvvuunula Suura هود mu اللوغندية okuva mu الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية

1. Alif Laam Raa, ekitabo kino e bigambo by'akyo byasengekebwa oluvanyuma nebinnyonnyolwa mu bujjuvu okuva ewa Katonda akola buli kintu ng’asinziira ku nsonga ng’ate amanyi mu bujjuvu buli kintu.
2. Kitegeeza abantu nti temusinzanga kintu kyonna wabula Katonda yekka mazima nze gye muli ndi mutiisa (ku bibonerezo bye) era omusanyusa (olw'emperaye eri abalongoosa).
17. Abaffe balimbisa oyo (Muhammad) ku bunnyonnyofu obuva ewali Mukama omulabiriziwe, era nga abusoma omujulizi (Jiburilu) ava ewa Katonda nga n'oluberyeberyelwe waliwo ekitabo kya Musa nga kiraga ekkubo era nga kusaasira, abo (Muhammad n'abantube) bagikkiriza ate ebibiina byonna ebitagikkiriza omuliro y'endagaano yaabwe, tobeeranga mu kugibuusabuusaamu, mazima yyo ge mazima agavudde ewa Mukama omulabiriziwo. Naye ddala abantu abasinga obungi tebakkiriza.
28. Nuhu naagamba nti abange bantu bange mulaba mutya singa mba ndi ku bunnyonnyofu obuva ewa Mukama omulabirizi wange era nampa okusaasira okuva gyali naye mmwe ekyo ne mutakiraba, abaffe tusobola okukibawaliriza ng’ate mmwe temukyagala.
29. Era abange mmwe abantu bange (kye mbagamba) si kibasabirako sente, empeera yange teri wantu wonna okugyako ewa Katonda (era nnyaniriza abo bonna ababa bangoberedde) era siri nze w'akugoba abo abakkiriza (ne bwe bataba ba bitiibwa) mazima ddala bo baakusisinkana Mukama omulabirizi waabwe naye mazima ddala nze mbabala mmwe nga muli bantu abatamanyi.
37. Kale kola eryato nga naffe tukutunuulidde era okole okusinziira ku ndagirira yaffe era toyogera nange ku bikwata ku abo abeeyisa obubi, mazima ddala bo baakufiira mu mazzi.
40. (Baabeera bwe batyo) okutuusa ekiragiro kya ffe lwe kyajja ettanuuru neefukumuka amazzi netugamba (Nuhu) nti pakira mu lyo, ngojja mu buli mutindo gwabiramu bibiri bibiri, ekisajja n'ekikazi, era pakiramu abantu b'o mu maka go okugyako oyo eyakakatako edda ekigambo (ekyokuzikirira) era pakiramu buli yenna eyakkiriza, wabula tewaali bakkiriza baali naye okugyako batono.
41. (Nuhu) naagamba nti mulinnye e lyato, okutambula kwa lyo n'okuyimirira kwa lyo byonna bibeewo ku lwe linnya lya Katonda, mazima Mukama omulabirizi wange musonyiyi musaasizi.
44. (Ng'ebitonde bimaze okuzikirira) waalangirirwa nti owange ttaka mira amazzi naawe ggulu lekera awo okutonnyesa enkuba era amazzi gaakalira ensonga neekoma awo eryato neritereera ku lusozi oluyitibwa Juudi era newalangirirwa nti okwesamba okusaasira kwa Katonda kubeere ku bantu abeeyisa obubi.
45. Nuhu n'akoowoola Mukama omulabiriziwe naagamba nti Mukama omulabirizi wange mazima Mutabani wange y'omu ku bo mu maka gange era mazima endagaano yo ya mazima era ggwe osinga abalala bonna okugoba e nsonga.
48. Newalangirirwa nti owange Nuhu kka (ove mu lyato), ebiva gye tuli, gibe mirembe na mikisa ku ggwe, ne ku bibiina bya bantu ebiri naawe ne ku bibiina bya bantu betujja okweyagaza mu nsi, oluvanyuma ebibonerezo ebiruma ennyo bibatuukeko okuva gye tuli.
52. Era abange bantu bange, mwegayirire Mukama omulabirizi wa mmwe, oluvanyuma mwenenye mudde gyali, ajja kubasindikira okuva mu bire waggulu enkuba etonnya ngeddingana, era abongere amaanyi ku maanyi ga mmwe, era temukyukanga nemuva ku ekyo ne muba aboonoonyi.
54. (Okusinziira ku ebyo by'oyogera) tetulina kye tugamba okugyako nti abamu ku ba katonda baffe be bakuliko mu ngeri eyo embi. (Hudu) naagamba nti era mazima nze njuliza Katonda na mmwe mujulire nti ddala nze ndi wala n'ebyo bye mugatta ku Katonda.
57. Bwe munaava ku ekyo mazima nze mmaze okubatuusaako ekyo kye nnatumwa nakyo era Mukama omulabirizi wange mu kifo kya mmwe ajja kussaawo abantu abalala abatali mmwe, era temulina kabi kemugenda kumutuusaako. Mazima Mukama omulabirizi wange buli kyonna ekikolebwa akilondoola (tewali kimubuuka).
59. Abantu abo ab'ekibiina kya A’di baawakanya ebigambo bya Mukama omulabirizi waabwe ne bajeemera ababakabe ne bagoberera ekigambo kya buli eyeekuza awalaaza empaka.
64. Abange bantu bange eno engamiya evudde wa Katonda nga kabonero gye muli (okukakasa obwa Nabbi bwange), n'olwekyo mugireke erye ebiri mu nsi ya Katonda, temugezaako ne mugituusaako akabi konna nekibaviirako okutuukibwako ebibonerezo ebya mangu.
65. (Nebamuwakanya era) nebagifumita olwo nno ye (Swaleh) kwe kubagamba, mweggalire mu mayumba gammwe okumala ennaku ssatu (zokka), eyo ndagaano etalimbisibwa.
67. Abo nno abeeyisa obubi ne batuukibwako olubwatuka (olw'amanyi) olwo nno nebakeesa nga mirambo egigangalamye mu mayumba gaabwe.
68. (Engeri gye baazikirizibwamu) baali nga abatawangalirangako mu go, abange mazima abantu b'ekika kya Thamud baawakanya Mukama omulabirizi omulezi waabwe, abange abantu ba Thamud babeere wala nnyo n'okusaasira kwa Katonda.
69. Mazima ababaka baffe (Ba Malayika) bajja eri Ibrahim n'amawulire ag'essanyu, nti (Yye ne Mukyalawe bajja kuzaala omwana Ishaka) ne bamugamba nti mirembe naye naabagamba (ng’abaddamu) nti mirembe, waayitawo akaseera katono naabaleetera ennyana enjokye.
71. Nga mukyala wa Ibrahim (Sarah) ayimiridde (abawulira) naaseka (nga yeewuunya olw'ebyo bye yawulira) olwo nno ne tumuwa amawulire ag'essanyu ag'okuba nti ajja kuzaala Ishaka ate nga n’oluvanyuma lwa Ishaka wajja kuzaalibwayo Yakub (omuzzukulu).
72. (Omukyala Sarah bwe yamala okufuna amawulire g’okuzaala Ishaka) naagamba (nga bwe yewuunya) nti: gano nga mawano nze (Sarah) ngenda kuzaala omwana nga ndi mukadde bwe nti nga n'ono baze kinvinvi, mazima kino kintu ekye wuunyisa nnyo.
73. (Ba Malayika) ne bagamba nti: butya bwe weewuunya ekiragiro kya Katonda! okusaasira kwa Katonda n'emikisagye bibeere ku mmwe abantu benju (ya Ibrahim). Mazima Katonda atenderezebwa nnyo wa kitiibwa nnyo.
74. Ensisi bwe yamala okuggwa ku Ibrahim, ng’amaze n'okufuna amawulire ag'essanyu, yagenda mu maaso nga atukaayanya (nga awolereza) abantu ba luutu.
75. Mazima Ibrahim yali wa kisa nnyo ate nga asaba nnyo Katondawe era nga amwenenyeza ku buli nsonga.
80. (Luutu) naagamba nti (neegomba) singa mbadde nina amaanyi ku mmwe, oba empagi engumu gyensobola okwesigamako, (abantu abasobola okuntaasa).
81. (Ba Malayika) nebagamba nti owange Luutu ffe tuli babaka ba Mukama omulabiriziwo (abo) tebajja kukutuukako, tambula n'abantubo mu kitundu ky'ekiro, era takyuka omu ku mmwe (naatunula emabega, genda n'abantubo) okugyako Mukyalawo, anti mazima kiri nti ajja kutuukwako ebinaatuuka ku bali. Mazima ekiseera ekibalagaanyisiddwa bwe budde bw'oku makya, obudde bw'oku makya tebuli kumpi!.
82. (Ekitundu mwe baali babeera), ekiragiro kyaffe bwe kyajja, waggulu wa kyo wetwazza wansi era netukiwandagazaako amayinja amakole mu bbumba ejjokye nga gajjira kumukumu.
83. (Amayinja ago) nga malambe okuva ewa Mukama omulabiriziwo, ekibonerezo ng'ekyo tekiri wala ku buli abo bonna abeeyisa obubi.
84. Ate abe Madiyana twabatumira Muganda waabwe Swaibu naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda temulinaawo kirala kyonna kye mulina kusinza ekitali yye, temukendeezanga ebipimo ne minzani, mazima nze mbalaba nga musigala muli bulungi (bwe muba temukendeezezza mu bipimo ne minzani). Era mazima nze mbatiiriddeko ebibonerezo by'olunaku olugenda okwetooloola buli kimu.
86. Ebilekeddwa Katonda (nga oggyeko byayogedde wa ggulu ebitaliimu kukumpanya bantu) bye birungi gye muli bwe muba nga muli bakkiriza. Era nze siri kalondoozi ku mmwe.
88. Naagamba nti abange bantu bange mulaba nti singa mbadde ku bulungamu obwava ewa Mukama omulabirizi wange, nampa ne Riziki ennungi ate nnyinza okubaleka (nessibagambako) ate era saagala kubaawukanako nenzira ku ebyo bye mbagaana sirina kyengenderera kyonna okugyako okulongoosa nga bwemba nsobodde, era okulungama kwange tekuli okugyako ewa Katonda yye gwenneekwasiza era gyali gyengenda okudda.
90. Era musabe Mukama omulabirizi wa mmwe ekisonyiwo olwo nno mwenenye okudda gyali mazima Mukama omulabirizi wange musaasizi mwagazi nnyo (wa bitondebye).
92. Naagamba nti abange bantu bange ekika kyange kye ky'ekitiibwa gye muli okusinga Katonda ne mutuuka okumussa emabega wa mmwe nga mumukubye amabega mazima Mukama omulabirizi wange yeetoolodde byonna bye mukola.
95. Nebaba nga abatagabeerangamu, abange abantu be Madiyana babeere wala nnyo n'okusaasira kwa Katonda nga abantu ba Thamud bwe beesamba okusaasira kwa Katonda.
100. Ebyo bye bimu ku bigambo ebikwata ku bitundu bye twazikiriza, tubikutegeeza ggwe (Muhammad), mu byo mulimu ebikyaliwo nga n'ebirala byasaanawo.
Verse 104
104. Era tetululindiriza okugyako okutuuka ku kiseera kya lwo ekigere.
117. Mukama omulabiriziwo tabangako wa kuzikiriza ebitundu mu bulyazaamaanyi nga ate abantu baabyo bakozi ba bulungi.
119. Okugyako oyo Mukama omulabiriziwo gwaba asaasidde. N'olwekyo kyeyava abatonda, era kyakakata ekigambo kya Mukama omulabiriziwo nti ngenda kujjuza omuliro Jahannama nga nzija mu majinni n'abantu okutwalira awamu.
تقدم القراءة