ﯓ
surah.translation
.
ﰡ
1. Swad. Ndayidde Kur’ani ejjudde okujjukiza.
2. Wabula abaakaafuwala bali mu kwekuza na kuwalaaza mpaka.
3. Emirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe, abaatuuka okukuba ebiwoobe (nga banoonya okutaasibwa), naye nga tewakyali buwonero.
4. Nebeewuunya okuba nga omutiisa abajjira ng'ava mu bo, era abakaafiiri ne bagamba nti ono mulogo omulimba (awedde emirimu).
5. Abaffe abasinzibwa abangi abafudde omu! mazima ekyo kintu ekyewunyisa ennyo.
6. Ekibinja kya bakungu mu bo nekigenda (nga kikunga abantu) nti: mugende mu maaso era mugumiikirize mulemere ku ba katonda ba mmwe.
7. Mazima kino (eky'okubaggya ku ba katonda ba mmwe) kkobaane (Muhammad mwayagalira okuyita abaggye ku nsinza yammwe), kino tetukiwulirangako mu nzikiriza (ey'abagoberezi ba Issa) eyasembayo, kino tekiri okugyako kiyiiye (buyiiya).
8. Muffe fenna yye (Muhammad) yassiddwaako obubaka! wabula (ekibaleetera obuzibu) lwa kuba bo bali mu kubuusabuusa okubuulirira kwange wabula (bakola ekyo) lwa kuba tebannakomba ku bibonerezo byange.
9. Oba (kyebava beeyisa bwe batyo) lwakuba balina amawanika g'okusaasira kwa Mukama omulabirizi wo, nantakubwa ku mukono, omugabi.
10. Oba bo balina obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi, bwe kiba bwekityo, kale baleke bakozese kyonna kyebasobola bafuneyo byebaagala.
11. Bo, ggye eriri awo lya kuwangulwa, libalibwa mu bibinja (ebyawangulwa).
12. Mazima oluberyeberye lwabwe abantu ba Nuhu ne A-adi ne Farawo nannyini nkondo baalimbisa.
13. Ne ba Thamud n’abantu ba Luut n’abantu b’omukibira, ebyonno bye bibinja (ebyogeddwaako mu Aya 11).
14. Tewali muntu yenna mwabo okugyako nga yalimbisa ababaka, olwo nno ebibonerezo byange nebikakata (ku bo).
15. Era abo tebalindirira okugyako lubwatuka lumu (oluliba olw'amaanyi) nga telwetaaga kuddibwamu mulundi mulala.
16. Era (abatakkiriza) bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe twanguyirize omugabo gwaffe (ogw'ebibonerezo) ng'olunaku lw'okubalibwa terunnatuuka.
17. (Katonda agamba Nabbi Muhammad nti:) gumikiiriza ku bye boogera ojjukire omuddu waffe Dauda eyalina amaanyi amasuffu (awamu n'ekyo) yali adda nnyo eri Katonda.
18. Mazima ffe twagonza ensozi neziba nga zitendereza awamu naye olweggulo n’obudde nga busaasaana.
19. Era twagonza n’ebinyonyi nga biri mu bibinja (byabyo) buli kimu ku byo nga kigondera Dauda (nebitendereza nga bwatendereza).
20. Era twanyweza obufuzibwe era netumuwa okumanya ensonga n’okusalawo ekituufu ku bigambo ebiba byogeddwa.
21. Abaffe amawulire g’abaakaayana bwe baawalampa ekisenge (Dauda mweyasinzizanga) gaakutuukako.
22. Bwe baayingira Dauda weyali naabekanga nebagamba nti: totya (ffe) tuli abakaayana ababiri ng'omu kuffe asobezza munne, kale lamula wakati waffe n’amazima teweekubiira era otulage enkola entuufu.
23. Mazima muganda wange ono alina endiga kyenda mu mwenda ng’ate nze nnina endiga emu, ate angamba nti gimpe ngikulundire ate nga ansinga ebigambo.
24. (Dauda) naagamba nti: mazima akuyisizza bubi bwakusabye endiga yo agigatte ku ndigaze, ate nga bangi mu bagatta emirimu basobya bannaabwe, okugyako abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu wabula ate abo batono, Dauda naamanya nti mazima tumugezesezza neyeegayirira Mukama omulabiriziwe naakutama ku maviivi neyeemenya era nadda eri Katonda.
25. Olwo nno ekyo netukimusonyiwa, era mazima alina gye tuli ekifo ekyo ku mwanjo n’obuddo obulungi.
26. Owange Dauda mazima ffe twakufuula omusigire ku nsi, lamula wakati wa bantu mu mazima era togobereranga okwagala (kwo) nekukubuza okuva ku kkubo lya Katonda, mazima abo abaabula nebava ku kkubo lya Katonda, balifuna ebibonerezo ebikakali olw'ebyo ebyabeerabiza olunaku lw'okubalibwa.
27. Eggulu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi, tetwabitonda nga bya lusaago, eyo ndowooza yaabo abaakaafuwala, kale nno okubonaabona okw'omuliro kuliba ku abo abaakaafuwala.
28. Oba (basuubira nti) abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu, tulibayisa nga aboonoona mu nsi, oba abatya Katonda betuliyisa nga aboonoonyi!.
29. (Kur’ani eno) kitabo twakissa gyoli nga kya mukisa babe nga beekenneenya ebigambo byakyo era ab'amagezi agakola babe nga beebuulirira.
30. Era twagabira Dauda Sulaiman, yali muddu mulungi, (anti) mazima yye yali adda nnyo eri Katonda.
31. Jjukira bwe yayanjulirwa mu kiseera eky'olweggulo enfaraasi ezirabika obulungi nga ziyimiridde (ate) empenyusi (bwe ziba zidduse).
32. Naagamba nti mazima nze nkulembezza okwagala ebirungi ku kutendereza Mukama omulabirizi wange (nenzira mu kutunuulira enfaraasi) okutuusa enjuba lwebuliddeyo!.
33. (Oluvanyuma yagamba nti) muzinkomezeewo, olwo nno naatandika okuzisala amagulu n'ensingo (naasaddaaka ennyama yaazo).
34. Era mazima twagezesa Sulaiman netuteeka omubiri (ogutaliimu bulamu) ku nnamulondo ye, (naye) oluvanyuma yeenenya.
35. Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nsonyiwa ongabire obwakabaka obutalisaanira mulala yenna oluvanyuma lwange, (anti) mazima ggwe mugabi.
36. Olwo nno netumugondeza empewo nga etambula ku lw'ekiragirokye mu ngeri ya mirembe neegenda wonna waaba asazeewo.
37. Era twamugondeza Sitane (nga mu zo mwalimu) enkugu mu kuzimba n'endala nga zibbira mu nnyanja.
38. Era nga ne (Sitane) endala zisibiddwa ku njegere (anti zo zaagaana okukola).
39. Netumugamba (nti) okwo kwe kugaba kwaffe, kale gabako oba omme (nga bwolaba) awatali kubuuzibwa.
40. Era mazima (Sulaiman) alina gye tuli ekifo kya ku mwanjo n’obuddo obulungi.
41. Era jjukira omuddu waffe Ayub bwe yakoowoola Mukama omulabirizi we (naagamba nti) mazima nze Sitane andeEtedde ennaku n’obuzibu (Ayi Mukama nkusaba omponye).
42. (Katonda naamugamba nti) samba ettaka n'ekigerekyo awo amazzi negafukula era ne bamugamba nti amazzi gano mannyogovu g'a kunaaba na kunywa (lye ddagala erikuweereddwa).
43. Era netumuwa (nga tuzzaawo) abantu be era awamu nabo (netumuwa) abalinga bo (ebyo byonna) nga kusaasira okuva gyetuli era nga kubuulirira eri abo abalina amagezi.
44. Era (n'alagirwa nti) kwata ekisaaganda ky'obuti olwo nno okimukubise (mukyalawo) anti bwotyo bwe walayira obenga tomenye kilayiro kyo, mazima ffe twamusanga (Ayub) nga mugumiikiriza (yye) muddu mulungi, anti mazima yye adda nnyo eri Katonda.
45. Era jjukira abaddu baffe Ibrahim ne Ishaak ne Yakub abaalina amaanyi n’okulengera ewala.
46. Mazima ffe twabaawula n'enkizo ey’okujjukira e nyumba ey’olubeerera (enkomerero).
47. Era mazima bo gye tuli ba mu baawule abalondemu.
48. Era jjukira Ismail ne Eliyasa-a ne Zul kifuli, nabuli omu kwabo wa mu balondemu.
49. Kuno kujjukiza, era mazima ddala abatya Katonda bagenda kufuna obuddo obulungi.
50. (Obuddo obwo buliba) Janna ez’emirembe, nga kulwabwe emiryango (gyazo) giriba miggule.
51. Balibeera beesigamye nga bali mu zo, nga bwe batumya mu zo ebibala ebingi nga bya njawulo n'eby'okunywa.
52. Era baliba balina abakyala abakkakkamu ab'amaaso ab'emyaka egyenkana.
53. (Baligambibwa nti) kino (kye mutuseeko) kyekyo kye mwalagaanyisibwa okuweebwa ku lunaku lw'okubalibwa.
54. Mazima ebyo kwe kugabiririra kwaffe tekuyinza kukalira.
55. Ekyo kyekyo, naye mazima abeewagguzi balifuna obuddo obubi.
56. Nga muliro Jahannama gwe balyesonseka naye buliba buliri bubi ddala.
57. Kino (kye balimu bye bibonerezo ebiruma ennyo) kale balibikombako nga nabyo mazzi agookya n'amasira ag'olusaayisaayi.
58. Ne (bibonerezo) ebirala ebiringa ebyo ebyengeri ez'ejawulo (nabyo biribatuukako).
59. (Buli aboonoonyi abapya lwe banaaleetebwanga mu muliro, nga abasookayo bagambibwa nti:) kino kibinja kyesozze omuliro awamu nammwe (olwo abalisangwamu bagambe nti) abo tebaanirizibwa (tebalina mirembe) mazima bo beesozze muliro.
60. (Abaagoberera) baligamba (abaasooka) nti wabula mmwe, mmwe mutaanirizibwa, mmwe mwabituleetera, bugenda kuba butuulo bubi.
61. Baligamba nti: ayi Mukama omulabirizi waffe oyo eyatuleetera bino mwongere ebibonerezo eby'okuba mu muliro nga bibazziddwamu.
62. Era (aboonoonyi) baligamba nti lwaki tetulaba bantu betwali tubalira mu babi!.
63. Abaffe twabafuula eky'okujeeja (so nga baali balungi) oba amaaso ge gatabalaba.
64. Mazima ebyo (ebyogeddwa) ddala (okwo kwe kuliba) okuyombagana kw'abantu bo mu muliro.
65. Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) mazima nze ndi mutiisa era tewali kisinzibwa kyonna mu butuufu okugyako Katonda ali omu nantalemwa.
66. Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi, nantakubwa ku mukono, omusonyiyi ennyo.
67. Bagambe nti kyo (kye mbagamba) kigambo kikulu ddala.
68. (Ate) mmwe kye mwawukanako.
69. Sibangako na kumanya kwonna ku bikwata ku bakungu ab'awaggula webakaayanira, (ba Malayika bwe beemulugunya nga baagala Katonda baaba asindika ku nsi mu kifo kya Adam).
70. Ssaatumirwa kirala kyonna okugyako (okuba) nti mazima ddala nze ndi mutiisa ow'olwatu.
71. Jjukira ekiseera Mukama omulabirizi wo bwe yagamba ba Malayika, nti mazima nze nja kutonda omuntu nga mugya mu kadongo.
72. Bwe nnaamala okukola engeri nga bwanabeera era nemmufuuwamu omwoyo oguva gyendi, kale mubutame nga mumuvunnamira.
73. Olwo nno ba Malayika bonna nga bali wamu baavunnama.
74. Okugyako Ibliis yeekuluntaza naaba mu bakaafiiri.
75. (Katonda) naagamba nti owange Ibliis kiki ekikugaanye okuvunnamira oyo gwe nnatonda n’omukono gwange abaffe wetwala nti oli wa kitiibwa (okusinga Adam), oba lwakuba nti bulijjo oli mu ba kiwagi ku Katonda.
76. (Ibliis) naagamba nti: nze mmusinga, wantonda mu muliro ate (yye) noomutonda mu kadongo.
77. (Katonda) naagamba nti: kale gifulume (e jjana) mazima ggwe ogobeddwa (era oli mukolimire).
78. Era mazima okakaseeko ekikolimo kyange okutuusa ku lunaku lw'okusasulwa.
79. (Ibliis) naagamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange nindiriza okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa.
80. (Katonda) naagamba nti: mazima ggwe oli mu balindiriziddwa.
81. Okutuuka ku lunaku olw'ekiseera ekimanyiddwa.
82. (Ibliis) naagamba nti: ndayira ekitiibwa kyo njakubabuliza ddala bonna.
83. Okugyako abaddu bo abalondobemu mu bo.
84. (Katonda) naagamba nti: ago nno g'emazima, era nga bulijjo njogera mazima.
85. Ddala ngenda kujjuza omuliro Jahannama (nga nguteekamu) ggwe n'abo bonna abakugondera mu bo.
86. Gamba (ggwe Muhammad nti ekyokubatuusaako obubaka) sikibasabirako mpeera, era nga bwe ssiri mu beetumiikiriza.
87. (Kur’ani) yyo teri okugyako okuba nti kya kubuulirira eri ebitonde.
88. Era ekigambo kyayo mujja kukimanyira ddala oluvanyuma lw'ekiseera kitono.