ﮕ
surah.translation
.
1. Kino kirango ekiva ewa Katonda n’omubakawe, eri abo be mwakola nabo e ndagaano, mu bagatta e bintu e birala ku Katonda.
2. (Kati muweereddwa e ddembe ddembe) kale mutambule mu nsi e bbanga lya myezi ena, era mukimanye nti mazima ddala mmwe temuyinza kulemesa Katonda, era ddala, nga bulijjo Katonda aswaza abakaafiiri.
3. Era kuno kulangirira okuva eri Katonda n’omubakawe, okuteekwa okutuusibwa eri abantu, ku lunaku olukulu olwa Hijja, nti mazima Katonda amenyeewo e ndagaano zonna ezaakolebwa n'abo abagatta ku Katonda e bintu e birala, n’omubakawe bwatyo azimenyeewo, naye singa mwenenya ekyo kye kirungi gye muli, wabula singa mugaana mumanye nti mazima mmwe temusobola kulemesa Katonda, era (ggwe Muhammad) abo abaakaafuwala bawe amawulire ag’ebibonerezo e biruma.
4. Okugyako abo be mwakola nabo e ndagaano mu bagatta ku Katonda e bintu e birala, oluvanyuma ne batamenya katundu konna mu ndagaano eyo, era nebatayamba muntu yenna abalwanyisa. (abo) mubajjulize e ndagaano yaabwe okutuusa e kiseera kya bwe lwe kiggwako, anti mazima ddala Katonda ayagala nnyo abamutya.
5. Emyezi egy'emizizo bwegiggwako, mutte abo abagatta e birala ku Katonda, wonna wemubagwikiriza, era mubawambe, era mubataayize, era mubateege mu buli kkubo, kyokka bwe beenenya, nebayimirizaawo e sswala, nebatoola zzaka, olwo nno mubaleke, anti mazima Katonda musonyiyi, musaasizi.
6. Singa omuntu yenna mu abo abagatta ku Katonda e bintu e birala akusaba okumuwa obubudamu, bumuwe, kimuyambe okuwulira e bigambo bya Katonda, oluvanyuma mutuuse mu kifo waabeerera mu mirembe, ekyo nno lwa kuba nti mazima bbo bantu abatamanyi.
7. Kisoboka kitya okubaawo e ndagaano wakati w’a bagatta ku Katonda e bintu e biralala, ne wakati wa Katonda n’omubaka we! mpozzi abo be mwakola nabo e ndagaano mu kifo awali omuzikiti ogw’e mizizo, kale e bbanga lye bamala nga beesimbu gye muli nammwe muteekwa okubeera abeesimbu gye bali mazima Katonda ayagala abamutya.
8. Ngeriki (bwe wayinza okubaawo e ndagaano wakati wa mmwe nabo) so nga bwe baba babawangudde tebafa ku ndagaano wadde oluganda lwe mulina nabo, babasiimiikiriza n’ebigambo bya bwe, so nga e mitima gy’abwe tegiri nammwe ng’ate abasinga obungi mu bo, boonoonyi.
9. Batunda e bigambo bya Katonda omuwendo ogwa layisi (ku nsi) ekyabaviirako okuziyiza (abantu) ku kkubo lya Katonda, mazima bo bibi ebyo bye baali bakola.
10. Tebafa ku mukkiriza yenna keebe ndagaano oba oluganda, era abo be baasukka e nsalo (za Katonda).
11. Naye (awamu n'ekyo) bwe baba beenenyezza (nebava ku bikolwa ebyo) ne bayimirizaawo e sswala nebawa zzaka, olwo nno baba bafuuse baganda ba mmwe mu ddiini, era bulijjo tunnyonnyola mu bulambulukufu e bigambo byaffe eri abantu abamanyi (abeegasa nabyo).
12. (Wabula ate) bwe bamenya e birayiro bya bwe, oluvanyuma lw'endagaano gye baakola, nebajerega e ddiini ya mmwe, olwo nno mulwanyise abakungu mu bukaafiiri, anti mazima bbo, tebakuuma birayiro, balyoke beekomeko.
13. Kiki ekibagaana okulwanyisa abantu abamenya e ndagaano zaabwe, nebaagala n’okugoba omubaka (mu Makkah), ate nga bo bennyini b’e baabasosonkereza omulundi ogwasooka, abaffe mutya batye, Katonda yaasaanira okuba nga mumutya bwe muba nga ddala muli bakkiriza.
14. Mubalwanyise, Katonda ababonereze n’emikono gya mmwe, era abakkakkanye era mmwe abataase ku bo, aweweeze ekyo ekiri mu mitima gya bakkiriza.
15. Era amalewo obukyayi bw’emitima gya bwe, era Katonda akkirize okwenenya kw’oyo gwaba ayagadde, bulijjo Katonda muyitirivu w’a kumanya, mugoba nsonga.
16. Abaffe, musuubidde okuba nga mulekebwa (nemutagezesebwa), Katonda abe nga amanya abo abaalafuubana mu mmwe (olw'ediini), nebateeteerawo wa mukwano yenna atali Katonda, oba omubakawe, oba abakkiriza, bulijjo Katonda amanyidde ddala ebyo bye mukola.
17. Abagatta ku Katonda e bintu e birala tebakkirizibwa kuzimba mizikiti gya Katonda, nga nabo bennyini beewaako obujulizi nti bakaafiiri, abo e mirimu gya bwe gyonna mifu, era nga mu muliro mwe bagenda okutuula obugenderevu.
18. Mazima ddala azimba e mizikiti gy’a Katonda, yooyo akkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero, n’ayimirizaawo e sswala, n'atoola zzaka, era n’atatya okugyako Katonda, abo nno be bookubeera mu balungamu.
19. Muddira mutya okuwa ba Hajji amazzi n’okulabirira omuzikiti ogw’e mizizo ne mukyenkanya n'oyo akkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero! era naalafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, tebayinza kwenkana mu maaso g’a Katonda, era bulijjo Katonda talungamya bantu beeyisa bubi.
20. Abo abakkiriza, nebasenguka, era ne balafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nga bakozesa e mmaali yaabwe n'emyoyo gyabwe, be basinga amadaala ag’a waggulu ewa Katonda, era abo, bo be b'okwesiima.
21. Mukama omulabirizi waabwe abasanyusa nga bwagenda okubawa okusaasira, n’okusiima ebiva gyali, era abawe e jjana, mwe balifunira e byengera e bitakoma.
22. Baakubeera mu zo olubeerera, mazima Katonda yekka yaalina e mpeera e nsukkulumu.
23. Abange mmwe abakkiriza, bakadde ba mmwe ne baganda ba mmwe, temubafuulanga mikwano gya mmwe egy'omunda, kavuna bakulembeza obukaafiiri ku bukkiriza, oyo yenna mu mmwe abafuula mikwanogye ab'omunda, abo nno be beeyisa obubi.
24. Gamba nti bakadde ba mmwe n’abaana ba mmwe, ne baganda ba mmwe, ne bemwafumbiriganwa nabo, n’aboluganda lwa mmwe, n’ebyobugagga bye mukungaanya, n’ebyobusuubuzi bye mutya okudiba kwabyo, n’amayumba agabasanyusa, ebyo byonna bwe biba nga bye mwagala e nnyo okusinga Katonda n’omubakawe, n’okulafuubana okuweereza mu kkubolye, olwo nno mulindirire okutuusa Katonda lwanaaleeta e kiragirokye, era Katonda talungamya bantu boonoonyi.
25. Mazima Katonda yabataasa mu bifo bingi, ne ku lunaku lw'olutalo lwe Hunaini, obungi bwa mmwe bwe bwabasigula nebutabagasa kintu kyonna. Ensi yabafundirira awamu n’obugazi bwayo n’ekyaddako mwakyuka ne mussaako kakokola tondeka nnyuma.
26. Oluvanyuma Katonda yassa obuteefu ku mubakawe, ne ku bakkiriza era nassa amagye gemutaalaba, era naabonereza abo abaakaafuwala. Era nga bulijjo empeera y’abakafiiri bwetyo bweba.
27. Oluvanyuma lw'ekyo Katonda akkiriza okwenenya kw'oyo gwaba ayagadde, era bulijjo Katonda musonyiyi, musaasizi.
28. Abange mmwe abakkiriza (mukimanye nti), mazima abagatta ku Katonda e bintu e birala bajama, tebasembereranga omuzikiti ogw’emizizo oluvanyuma lw’omwaka gwabwe guno. Bwe muba mutidde bwavu, Katonda bwanaaba ayagadde ajja kubagaggawaza nga aggya mu bigabwabye, anti mazima Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga.
29. Mulwanyise abo abatakkiriza Katonda, wadde olunaku lw'enkomerero. Era nga tebaziza ebyo Katonda n’omubakawe bye baafuula Haramu. Era nebatagoberera ddiini entuufu, nga bava mu abo abaaweebwa e kitabo, okutuusa nga bawadde omusolo nga buli omu yaagweweera, balabike nga bakkakkanyiziddwa.
30. Abayudaaya baagamba nti Uzairu mwana wa Katonda, ate Abanaswara ne bagamba nti Masiya mwana w’a Katonda, ekyo kigambo kyabwe kye boogera n’emimwa gyabwe, nebifaanana e kigambo ky'abo abaakaafuwala oluberyeberye. Katonda yabakolimira, bawugulwa batya (okuva ku mazima)!.
31. Bafuula ba kabona baabwe n’a basosodooti okuba abasinzibwa, nebaleka Katonda. Mu ngeri y’emu ne Masiya mutabani wa Mariam baamufuula bwe batyo, so ng’ate tebaalagirwanga okugyako okusinza Katonda omu. Tewali kisinzibwa kyonna okugyako ye, musukkulumu nnyo kw'ebyo bye bamugattako.
32. Baagala okuzikiza e kitangaala ky’a Katonda, nga bakozesa e mimwa gyabwe, ne Katonda takkiriza okugyako okujjuza ekitangaalakye, newaakubadde nga abakafiiri tebayagala.
33. Katonda, yye yooyo eyatuma omubakawe nga amuwadde obulungamu n’eddiini ey’amazima, abe ng’a agiraga nga bweri waggulu we ddiini e ndala zonna newaakubadde nga abagatta ku Katonda e bintu e birala tebakyagala.
34. Abange mmwe abakkiriza, mazima bangi mu ba kabona, n’a basosodooti balya e mmaali y’abantu mu bukyamu, era nebaziyiza abantu okutuuka ku kkubo lya Katonda. N’abo bonna abakungaanya zaabu ne feeza ne batabiwaayo mu kkubo lya Katonda, basanyuse n’ebibonerezo ebiruma ennyo.
35. Ku lunaku (e mmaali eyo) lwe liyengerezebwa mu muliro Jahannama, e byenyi byabwe nembiriizi zaabwe n’emigongo gyabwe nebyokebwa nayo, (nga bwe bakomekkerezebwa nti) bino bye mwetegekera, mukombe ku bukaawu bw'ebyo, bye mwaterekanga.
36. Mazima omuwendo gw'emyezi ew’a Katonda giri emyezi kkumi n'ebiri, bwe kityo bwe kiri mu biwandiiko bya Katonda, okuva ku lunaku Katonda lwe yatonda e ggulu omusanvu ne nsi. Ena ku gyo gy’amizizo, eyo nno y’e ddiini e nnambulukufu, temweyisanga bubi mu gyo, era mulwanyise abagatta ku Katonda e bintu e birala bonna, nga nabo bwe babalwanyisa mwenna, mumanye nti mazima Katonda bulijjo abeera n’a bamutya.
37. Mazima okuwaanyisa e myezi egy'emizizo kyongera bukaafiiri, babuzibwa nakyo abo abaakaafuwala nga bakkiriza okugirwaniramu mu mwaka, ate omwaka omulala nebagiziza, basobole okujjuza omuwendo gwe myezi Katonda gye yaziza, mu kukola ekyo nebaba nga bafuula Halali Katonda kye yafuula Haramu. Ebikolwa byabwe e bibi bya balabikira okuba nga bye birungi, nga bulijjo Katonda talungamya bantu bakaafiiri.
38. Abange mmwe abakkiriza mwabaaki! bwe babagamba nti mufulume mulafuubane mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, muwulira nga muzitoye ne musalawo kutuula ku ttaka, musazeewo kugenda na bulamu bwansi okusinga e nkomerero! naye obulamu bwensi bwe bugeraageranyizibwa ku bw'enkomerero tebuba, okugyako kantu katono nnyo.
39. Bwemutagenda (ku lutalo) (Katonda) agenda kubabonereza e bibonerezo e biruma ennyo, ate asseewo abantu abalala mu kifo kya mmwe, era temuyinza ku mutuusaako kabi konna, nga bulijjo Katonda muyinza wa buli kintu.
40. Bwe mutamutaasa (Nabbi Muhammad), mazima Katonda yamutaasa mu kiseera abakaafiiri bwe baamufulumya nga y’omu ku babiri, webaabeerera mu mpuku, mu kiseera weyagambira munne nti tonakuwala mazima Katonda ali wamu naffe, awo nno Katonda naamussaako obutebenkevubwe, era naamudduukirira neggye lye mutaalaba. E kigambo ky'abo abaakaafuwala n’akifuula ekya wansi, ssi nga ekigambo kya Katonda kyo kye kya waggulu, bulijjo Katonda ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.
41. Mufulume n’ebyokulwanyisa e bitonotono oba e bizito, mulafuubane nga muweereza mu kkubo lya Katonda, nga mukozesa e mmaali ya mmwe nemy’oyo gya mmwe, ekyo nno ky’ekirungi gye muli, bwe muba nga mumanyi.
42. Singa byali byanfuna nga biri kumpi, nga n’olugendo lwangu, baalikugoberedde, naye olugendo lwabayitirirako era bajja kulayira Katonda nga bagamba nti, singa twabadde tusobola twandigenze na mmwe, mukwogera ekyo nebaba nga bazikiriza myoyo gyabwe, anti Katonda amanyi nti mazima bo balimba.
43. Katonda akusonyiwe (Ggwe Muhammad) lwaki wabakkiriza okusigala n’otalinda kumala kumanyira ddala ab'amazima, era n’omanya abalimba.
44. Abo abakkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero, tebayinza kukusaba kubaggyako luwalo lwa kugenda kulafuubana mu kkubo lya Katonda, nga bakozesa e mmaali yabwe, n’emyoyo gyabwe, era Katonda amanyidde ddala abo abamutya.
45. Mazima abo abatakkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero, be bakusaba okubakkiriza obutagenda ku lutabaalo, n’emitima gyabwe gibuusabuusa, bonna mu kubuusabuusa kwabwe mwebabeera nga tebayinza kusalawo.
46. Singa baali baagadde kugenda ku lutalo, baalirwetegekedde okwetegeka okwetaagisa, naye Katonda teyayagala kugenda kwa bwe, n’olwekyo n’atabasobozesa, olwo nno nebalangirira nti, musigale n’abasigadde.
47. Singa baagendera mu mmwe, tebandibongedde okugyako bizibu, era bandibungeesezza e ngambo mu mmwe, nga babaagaliza akabi, ate nga ne mu mmwe mwandibaddemu ababawuliriza, Katonda amanyi nnyo ebikwata ku bantu abeeyisa obubi.
48. Mazima baayagala dda okukuleetera akabi ne bakutabangulira e bintu, okutuusa amazima lwe gajja n’ekigambo kya Katonda nekyeyoleka, nga nabo tebaagala.
49. Mu bo mulimu omuntu agamba nti, nsaba onzikirize nneme kugenda ku lutalo, era tonteeka mu kikemo, abange abo nno mu kikemo mwennyini mwe baagwa, mazima omuliro Jahannama gwetoolodde abakaafiiri.
50. Bwotuukibwako e kirungi, kibanakuwaza, ate bw’otuukibwako e kibi, bagamba nti, ffe ekyo twakirabirawo ne tukyekeengera, olwo nno nebadda mu maka gaabwe nga basanyufu.
51. (Ggwe Muhammad) gamba nti tewali kitutuukako okugyako Katonda kye yatuwandiikako, yye, ye mutaasa waffe, abakkiriza Katonda yekka gwe bateekwa okwesiga,
52. Gamba (ggwe Muhammad), mulina kye musuubira okututuukako ekitali e kimu ku birungi e bibiri (okuwangula olutalo oba okuwangulwa netuyingira e jjana), ng’ate ffe tubalindiridde Katonda abatuusaako ebibonerezo okuva gyali, oba abibatuseeko ng’abiyisa ku mikono gyaffe, kale mulindirire naffe tulindirira wamu na mmwe.
53. Gamba (ggwe Muhammad), kamuweeyo mu mmaali ya mmwe mu ngeri y’akyeyagalire oba ey’obuwaze, (okugaba kwa mmwe okwo) tekugenda kukkirizibwa kuva gye muli, anti mazima ddala mmwe muli abantu aboonoonyi.
54. Tewali kyagaanyisa kuwaayo kwabwe kukkirizibwa, okugyako okuba nti, mazima ddala bo baagyemera Katonda n’omubakawe, era tewali lwe bagenda kusaala okugyako nga bagayaavu, era tebawaayo okugyako lwa buwaze.
55. Emmaali yaabwe n’abaana baabwe tebikuyigula ttama, anti mazima Katonda ayagala kubabonereza nabyo mu bulamu obw'ensi, era batuuke okussa omukka ogusembayo nga bakaafiiri.
56. Era balayira Katonda nti, mazima bo ba mu mmwe, naye ssi ba mu mmwe, mazima bo, bantu batiitiizi.
57. Singa bafuna obuddukiro, oba e mpuku, oba e kifo aweekukumwa, bandidduse okugenda gye kiri nga baduma.
58. Ate mu bo mulimu abakusongamu e mimwa ku nsonga ya saddaaka, bwe baweebwako basiima, ate bwe bataweebwa, olwo nno nebasunguwala.
59. Singa bamatira n'ekyo Katonda n’omubakawe kye baabawa, era ne bagamba nti Katonda waffe atumala, Katonda ajja kutuwa mu bigabwabye e bingi n’omubakawe bwatyo, anti mazima ddala ffe ewa Katonda gye tuyaayaanira okudda.
60. Mazima ddala saddaaka (zzaka) eweebwa abaavu, n’abanaku, n’abagikolako, naabo e mitima gyabwe egisikirizibwa, (abaakasiramuka), ne mu kununula abaddu, n’abo amabanja begatuuse mu bulago, ne mu kulafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, n’omutambuze, ebyo byonna nga y'engereka y’a Katonda, era bulijjo Katonda amanyi nnyo, mugoba nsonga.
61. Era mu bo, mulimu abo abanyiiza Nabbi nga bagamba nti, yye awuliriza buli kimu, gamba nti awuliriza lwa bulungi bwa mmwe, akkiriza Katonda, era yeesiga abakkiriza, era yye kya kusaasira eri abo abakkiriza mu mmwe, bo abo abanyiiza omubaka wa Katonda, bagenda kutuukwako e bibonerezo e biruma.
62. Babalayirira Katonda babasanyuse, so nga Katonda n’omubaka beebasinga okusaanira okusanyusibwa singa (abantu abo) babadde bakkiriza.
63. Abaffe, tebamanyi nti mazima ddala omuntu eyeesimba mu Katonda n’omubakawe, mazima wa kuyingizibwa omuliro Jahannama, nga w’akubeera mu gwo bugenderevu, obwo bwe buswavu obuyitirivu.
64. Abannanfunsi beekengera okussibwako e Ssura, nga ebategeeza ebiri mu mitima gyabwe, gamba (ggwe Nabbi Muhammad nti), mugira mubiyita eby'olusaago, mazima Katonda ajja kwanika ebyo bye mwekengera.
65. Singa obabuuza (lwaki bajerega abakkiriza), bajja kugambira ddala nti, mazima twabadde mu lwali na kuzannya, gamba (ggwe Muhammad) Katonda, n’ebigambobye n’omubakawe, bye mwabadde mujerega!.
66. Temwetonda mazima mukaafuwadde oluvanyuma lw’obukkiriza bwa mmwe, bwe tusonyiwa e kitundu ku mmwe (olw'okwetonda), tuba tulina okubonereza e kitundu e kirala ekiteetonze, olw'okuba nti mazima bo baali boonoonyi.
67. Abannanfunsi abasajja n’abannanfusi abakazi beebamu, balagira okukola e mpisa e mbi, ne bagaana (abantu) okukola e mpisa e nnungi, era bafunya e mikono gyabwe (bakodo) beerabira Katonda naye naabalekerayo, mazima abannanfusi, bo be boonoonyi.
68. Abannanfusi abasajja n’abannanfusi abakyala, n’abakaafiiri, Katonda ya balagaanyisa omuliro Jahannama, baakugubeeramu obugenderevu, ggwo gwe gw'okubamala era Katonda yabakolimira era balissibwako e bibonerezo eby'olubeerera.
69. Bafaananako nga abo abaaliwo oluberyeberye lwa mmwe, baali ba maanyi nnyo okusinga mmwe, era nga beebasinza e mmaali n’abaana, olwo nno ne beeyagala olw'ebyo bye baafuna nga nammwe bwe mweyagadde olw'ebyo bye mufunye, nga abaabakulembera bwe beeyagala olw'ebyo bye baafuna, era ne mudda mu kukuba olwali nga bali lwe baalimu, abo nno e mirimu gya bwe gyayonooneka ku nsi ne ku nkomerero, era abo be b'okufaafaaganirwa.
70. Abaffe e kigambo ky'abo abaabakulembera tekyabatuukako! abantu ba Nuuhu, n’aba A’adi, n’a ba Thamud, n’abantu ba Ibrahim, n’abantu b’o mu kitundu kye Madiyana, n’abantu b’o mu bitundu ebyavuunikibwa (aba Nabbi Luutu)ababaka baabwe baabajjira n’ebigambo bya Katonda e binnyonnyofu, oluvanyuma lw'ebyo Katonda si ye yabayisa obubi, naye bbo bennyini be beeyisa obubi.
71. Abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi, abamu mikwano gya bannaabwe, balagira okuyisa obulungi, ne baziyiza okuyisa obubi, era ne bayimirizaawo e sswala ne batoola zzaka, era ne bagondera Katonda n’omubakawe, abo Katonda ajja kubasaasira. Anti mazima ddala Katonda nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.
72. Katonda yalagaanyisa abakkiriza abasajja, n’abakkiriza abakazi e jjana ezikulukutiramu e migga, b’akubeera mu zo bugenderevu, era baliweebwa e bisulo e birungi mu jjana ez’olubeerera, nga n'ekisingira ddala, bagenda kufuna okusiima okuva ewa Katonda, era ekyo kwe kwesiima okusukkulumu.
73. Owange ggwe Nabbi, lwanyisa abakaafiiri, n’abannanfusi era obakaluubirize, era obuddo bwa bwe muliro Jahannama, era buddo bubi nnyo.
74. Balayira Katonda nti tebabyogerangako, naye nga mazima baayatula e kigambo ky'obukaafiiri, olwo nno nebafuuka abakaafiiri oluvanyuma lw'okuba nti baali basiraamu, nebagezaako nnyo okukola kye baali tebasobola kutuukiriza (eky'okutta Nabbi), tewali kyabakozesa mpalana okugyako okuba nti Mukama Katonda n’omubakawe baabagonnomolako e bigabwa bya Katonda, kale nno singa beenenya kiba kirungi gye bali, naye bwe batakikola Katonda agenda ku babonereza olubonereza oluluma ennyo ku nsi, ne ku nkomerero, era nga tebalina ku nsi mukuumi yenna oba mutaasa.
75. Era mu bo mulimu abo abaalagaanyisa Katonda nga bagamba nti, singa atuwa mu bigabwabye, mazima tujja kusaddaakako era tujja kubeerera ddala mu balongoofu.
76. Bwe yabawa ku bigabwabye, baabikodowalira, nebava ku kiragaanye, mu kukola ekyo nebaba nga baava ku ndagaano.
77. N’olwekyo ekyaddirira Katonda nannyikiza obunnanfusi mu mitima gy’abwe, okutuusa ku lunaku lwe balimusisinkana, olw'okuba nti baayawukana ku kye baalagaanyisa Katonda, ne ku lw'ebyo bye baali balimbisa.
78. Abaffe tebaamanya nti mazima Katonda amanyi e byama byabwe n’emboozi zaabwe ez’olwatu, era nga mazima amanyidde ddala e byekusifu.
79. Abo abavumirira abakozi b’obulungi mu bakkiriza olw'okuwaayo saddaaka, era nebavumirira n'abo abatasobola kufuna okugyako akatono, nekibatuusa n’okubagyegya, Katonda abaziimuula era bagenda kussibwako e bibonerezo e biruma.
80. Koobeegayiririre oba tobeegayiririra, nebwonaabeegayiririra e mirundi nsanvu Katonda tagenda kubasonyiwa, ekyo nno lwa kuba nti mazima bbo, baawakanya Katonda n’omubakawe, era nga bulijjo Katonda talungamya bantu boonoonyi.
81. Abaayawukana ku Nabbi baasanyuka olw'okusigala nga batudde, nga baawukanye ku mubaka w’a Katonda, nebatamwa okulwana ne mmaali yaabwe, n’emyooyo gyabwe mu kkubo lya Katonda, era nebagamba bannaabwe temugezaako nemugenda mu bbugumu, bagambe nti omuliro Jahannama gwe gusinga okwokya singa babadde bategeera.
82. Kale nno basaana baseke kitono (mu bulamu obw'ensi), ate bakaabe nnyo (ku nkomerero), nga y'empeera gye bagenda okusasulwa olw'ebyo bye baali bakola.
83. Singa Katonda anaakuzza eri e kibinja mu bo (e Madinah), nebakusaba okufuluma (ku lutabaalo), bagambe nti temugenda kuddayo kufuluma nange, era temugenda kulwanyisa mulabe yenna nga muli nange, mazima mmwe mwasalawo obutagenda omulundi ogwasooka, kale mubeere naabo abaanjawukanako.
84. Era tosaaliranga oyo yenna aba afudde mu bo, era toyimiriranga ku kabbuliye, anti mazima bbo baagyemera Katonda n’omubakawe, era ne bafa nga boonoonyi.
85. Obungi bwe mmaali yaabwe n’abaana baabwe tebukwewuunyisa. Katonda kyagenderera mu byo kubabonereza kuno ku nsi, era batuuke okufa nga bali ku bukaafiiri.
86. Essura bwe ssibwa nga ebalagira nti mukkirize Katonda, era mulafuubane mu kuweereza mu kkubolye nga muli n’omubakawe, abagagga mu bo bakusaba obasonyiwe, nebagamba nti, tuleke tubeere n’abatagenze.
87. Baasiima okubeera awamu n’abaasigala. Emitima gyabwe negizibikirwa, ne baba nga tebasobola kutegeera.
88. Naye mazima omubaka n’abo abakkiriza abali awamu naye balafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nga bakozesa e mmaali yaabwe, n’emyoyo gyabwe, era abo balina obulungi, era abo bbo be balituuka ku buwanguzi.
89. Katonda yabategekera e jjana ezikulukutiramu e migga, baakubeeramu bugenderevu, ekyo nno kwe kwesiima okusuffu.
90. Abawarabu ba nnamalungu ne bajja eri Nabbi nga beetonda, babe nga bakkirizibwa obutagenda ku lutalo, ate abo abaalimbisa Katonda n’omubakawe, bo baatuula butuuzi (awatali kuwa nsonga yonna), abo abaakaafuwala mu bo, bagenda kutuukwako e bibonerezo ebiruma ennyo.
91. Abanafu n’abalwadde, n’abo abatasobola kufuna kye bawaayo, tewali kibavunaanwa kasita baba nga bakola ku lwa Katonda n’omubakawe, abakozi b’obulungi (ng’abo) tewali wooyita kubassaako musango, nga bulijjo Katonda musonyiyi, musaasizi.
92. Era tewali musango ne kw'abo abakujjira obafunire engeri gy’obatwalamu ku lutalo, noogamba nti sirina ngeri gye mbatwalamu, nebava wooli ng’amaaso gaabwe gakulukuta amaziga olw'ennaku y’okuba nti tebayinza kufuna kye bawaayo.
93. Mazima okuvunaana, kubeera kw'abo abaakusaba obutagenda ate nga bagagga, baasalawo babe naabo abasigadde, Katonda nassa e nvumbo ku mitima gyabwe, tebayinza kumanya (nsonga ntuufu).
94. (Abo abaabaawukanako ku lutalo lwe Tabuk) bajja kubeetondera (nga balimba), bwe munaaba muzzeeyo gye bali bagambe (gwe Nabbi Muhammad) nti temwetonda tetujja kukkiriza kwetonda kwa mmwe, anti mazima Katonda yatutegeeza ebibakwatako, Katonda ajja kulaba ebikolwa bya mmwe n'omubakawe ajja kubiraba, oluvanyuma muli baakuzzibwa eri omumanyi w'ebyekwese n'ebyolwatu, olwo nno Katonda alyoke abategeeze ebyo bye mwali mukola (ku nsi).
95. (Abo abaakwawukanako ku lutalo lwe Tabuk) bajja kubalayirira Katonda bwe munaaba muzzeeyo gye bali muleme kubaako bye mubanenya, kale mubaleke anti mazima bo banyoomebwa nga n'obuddo bwa bwe muliro Jahannama nga y'empeera y'ebyo bye baali bakola.
96. Babalayirira balyoke babasiimiikirize naye bwe munaaba mukkiriza okusiimiikiriza kwabwe, mazima ye Katonda takkiriza kusiimiikiriza kwa bantu aboonoonyi.
97. Ba nnamalungu be basinga obukaafiiri n'obunnanfusi era be basinga obutamanya bikomo bya Katonda bye yassa ku Mubakawe, Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga.
98. Mu ba nnamalungu mulimu abo abalaba kye baba bawaddeyo kyonna mu kkubo lya Katonda nga kufiirwa era nga babaagaliza bizibu naye nga e bizibu bya kutuuka ku bo, (sso si ku mmwe), Katonda awulira nnyo era muyitirivu wa kumanya.
99. Era mu ba nnamalungu mulimu abakkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero era nga ne bye baba bawaddeyo mu kkubo lya Katonda babibala nga bya kubatuusa ku kusiima kwa Katonda n'omubaka okubasabira (obulungi). Kituufu ebyo bye baba bawaddeyo bibatuusa ku kusiima kwa Katonda, Katonda ajja kubayingiza (e jjana) ekifo ky'okusaasirakwe.Anti mazima Katonda musonyiyi nnyo musaasizi.
100. N'abo abaasookera ddala okukkiriza mu baasenguka okuva e Makkah ne ba Answari (abaataasa Nabbi) n'abo abaabagoberera mu kukola obulungi, Katonda yabasiima nabo ne bamusiima, era Katonda yabateekerateekera e jjana ezikulukutiramu e migga nga baakubeera mu zo olubeerera, okwo nno kwe kwesiima okusukkulumu.
101. Ne mw'abo ababeetoolodde mu ba nnamalungu mulimu abannanfusi ne mu batuuze be Madinah mulimu abaagugubira ku bunnanfusi, nga ggwe tobamanyi, ffe nno tubamanyi. Tujja kubabonereza e mirundi e biri (kuno ku nsi n'okubaswaza n'ebibonerezo byo mu Kabuli oluvanyuma lw'okufa), oluvanyuma baakuzzibwa eri e bibonerezo e bisuffu.
102. (Waliwo) N'abalala abakkiriza e bibi byabwe, baatabula e mirimu e mirungi n'emirala e mibi. Ob'olyawo Katonda ajja kubasonyiwa (olw'okwetonda kwa bwe) anti mazima Katonda muyitirivu wa kusonyiwa era muyitirivu wa kusaasira.
103. (Abo abeetonda mu bo) gya mu mmaali yaabwe Saddaaka obatukuze era obalongoose nayo. Era basabire (Katonda abasonyiwe) anti mazima okusaba kwobasabira mirembe gye bali, Katonda awulira nnyo mumanyi nnyo.
104. Tebamanyi nti mazima Katonda yye, yakkiriza okwenenya kwa baddube era nti yakkiriza Saddaaka era nti mazima Katonda yye yakkiriza okwenenya era omusaasizi ennyo.
105. Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) nti mukole, Katonda ajja kulaba e mirimu gya mmwe n’omubakawe n’abakkiriza era nga muli ba kuzzibwa eri omumanyi w'ebitalabikako n'ebirabikako olwo alyoke abategeeze, ebyo bye mwali mukola.
106. (N'abalala mw'abo abaakwawukanako ku lutalo lwe Tabuk) baalekerwa kusalawo kwa Katonda, oba agenda kubabonereza oba alikkiriza okwenenya kwa bwe. Mazima Katonda mumanyi nnyo mugobansonga.
107. N'abo (Abannanfusi) abaateekawo omuzikiti ogw'obulabe n’olwobukaafiiri, era n’olwokwawulayawula mu bakkiriza n’olwokutegekera oyo eyalwanyisa Katonda n'omubakawe oluberyeberye, era bajja kulayirira ddala nti tetulina kigendererwa okugyako obulungi, so nga Katonda amanyi nti mazima bo balimbira ddala.
108. Bulijjo toyimiriranga (Ggwe Nabbi) okusaalira mu gwo, mazima omuzikiti ogwazimbibwa ku musingi ogw'okutya Katonda kuntandikwa gw'oteekwa okusaalirangamu, mu muzikiti ogwo mulimu abasajja abaagala okwetukuza, anti bulijjo Katonda ayagala abeetukuza.
109. Abaffe oyo eyatandika omusingi gw'ekizimbekye ku lw'ekigendererwa ky'okutya Katonda n'okusiimakwe yaasinga obulungi oba oyo eyatandikawo omusingi gw'ekizimbekye ku nsonda y'ekifunvu nekimusuula mu muliro Jahannama, Katonda talungamya bantu beeyisa bubi.
110. Ekizimbe Abannanfusi kye baazimba kijja kusigala nga kya kubuusabuusa mu mitima gya bwe okutuusa okufa kwa bwe, Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga.
111. Mazima Katonda yagula ku bakkiriza obulamu bwa bwe ne mmaali ya bwe nga ddala agenda kubasasulamu jjana olw'okuba nti balwana mu kkubo lya Katonda ne batta era nga nabo battibwa eyo nga ndagaano gye yeekakasaako mu Taurat mu Injil ne mu Kur’ani ate ani ayinza okutuukiriza e ndagaano ye okusinga Katonda, kale nno musanyuke n'obuguzi bwe mugulaana era okwo kwe kwesiima okusukkulumu.
112. (Abagwa mu kiti ekyo) beebo abeenenyeza Katonda abasinza Katonda abatendereza Katonda, abatambula mu nsi ku lw'okuweereza Katonda abakutama ku maviivi ne bavunnama ku ttaka (nga basaala) abalagira e mpisa e nnungi era abaziyiza amayisa amabi, era abeekuumira ku mateeka ga Katonda, era sanyusa abakkiriza.
113. Nabbi tekimugwanira wadde abakkiriza okwegayiririra abagatta ku Katonda e kintu e kirala, ne bwe baba b'aluganda olw'o kumpi kasita kimala okubeeyolekerera ddala nti mazima bo ba mu muliro.
114. Okwegayirira kwa Ibrahim kulwa kitaawe tekyaliwo okugyako olw'endagaano gye yamuwa, naye bwe yamala okukitegeera ddala nti mazima yye (kitaawe) mulabe wa Katonda yamwegaana, (Ibrahim yalina okugezaako nga bwasobola okwegayirira Katonda asaasire kitaawe), anti Ibrahim bulijjo yali muyitirivu wa kusaba na kuloopa nsongaze zonna ewa Katonda era nga wa kisa nnyo.
115. Katonda teyali waakubuza bantu oluvanyuma lw'okubalungamya okugyako nga amaze okubannyonnyola ebyo bye bateekwa okwewala. Anti mazima Katonda mumanyi wa buli kintu.
116. Mazima Katonda bubwe obufuzi bwe ggulu (omusanvu) ne nsi, awa obulamu era natt, ng'oggyeko Katonda temulina mukuumi wadde omutaasa.
117. Mazima Katonda yakkiriza okwenenya kwa Nabbi n'okwa ba Muhajiriina (abaasenguka) n'okwa ba Answar (abaabudamya) abo abaamugoberera mu kiseera ekizibu oluvanyuma lw'okusemberera emitima gya'bamu ku bo okukyuka, olwo nno n'abasonyiwa anti mazima yye bulijjo wa kisa musaasizi era yakkiriza okwenenya.
118. Era yakkiriza okwenenya kw'abasatu abo abataagenda ku lutabaalo okutuusa ensi lwe yabafundirira awamu n'obugazi bwayo, nabo bennyini nebafunda olw'okweraliikirira, nebatuuka okulowooza nti tewali kuwona Katonda okugyako nga omuntu azze gyali, oluvanyuma Katonda yabaddiramu basobole okwenenya. Anti mazima Katonda yye akkiriza okwenenya musaasizi.
119. Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda era mubeere wamu n'a b'amazima.
120. Kyali tekisaanira bantu be Madinah neba nnamalungu ababeetoolodde okwawukana ku mubaka wa Katonda (ku lutabaalo) n'okuba nti beeyagala okusinga bwe bamwagala, ekyo nno lwa kuba nti mazima bo tewali nyonta wonna lwe baluma, wadde okukoowa, wadde e njala, nga bali mu kulafuubana okuweereza mu kkubo lya Katonda era tewali kigere kyonna, kye batambula ekinyiiza abakaafiiri, era tewali buzibu bwonna bwe batuusa ku mulabe, okugyako nga kibawandiikibwako nga omulimu omulungi. Mazima ddala bulijjo Katonda tayonoona mpeera ya bantu balongoosa.
121. Era tebawaayo kiweebwayo kyonna kitono oba kinene era tebamalaako lusenyi lwonna okugyako nga kibawandikibwakonga kirungi. Olwo nno Katonda alyoke abasasule e birungi e bisukkuluma kw'ebyo bye baakola.
122. Abakkiriza tebateekwa bonna kufuluma kugenda (kulafuubana mu kkubo lya Katonda) naye singa mu buli bantu muvaamu e kibinja ne bagenda bakuguka mu kumanya e ddiini olwo nno bagende babuulirire abantu baabwe nga bakomyewo gye bali ekyo nno kibasobozese okwekeka (ebitakkirizibwa).
123. Abange mmwe abakkiriza mulwanyise abakaafiiri abo ababaliraanye bateekwa bawulire obuzito obuva mu mmwe, era mukimanye nti mazima ddala Katonda bulijjo abeera wamu n'abamutya.
124. Bulijjo essuula bweba nga essiddwa, mu bo mulimu abagamba nti ani mu mmwe (e ssuula) eno gweyongedde obukkiriza, wabula bo abakkiriza eba ebongedde obukkiriza era baba bali mu ssanyu.
125. Naye abo abalina obulwadde mu mitima gya bwe ebongera bubi ku bubi bwa bwe nebatuuka okufa nga nabo bakaafiiri.
126. Abaffe tebakiraba nti mu buli mwaka bagezesebwa omulundi gumu oba ebiri, oluvanyuma ne bateenenya wadde okuba abeebuulirira.
127. Era e ssuula bweba essiddwa abamu batunula ku bannaabwe (nga bagamba nti) abaffe waliwo omuntu yenna abalaba olwo nno ne beemulula, Katonda yakyusa e myoyo gya bwe kubanga bo bantu abatategeera.
128. Omubaka yabajjira nga ava mu mmwe mwennyini nga kimuzitoowerera nnyo ekyo ekibakaluubiriza abalumirwa nnyo, era eri abakkiriza bonna wa kisa musaasizi.
129. Wabula kebava ku ebyo, gwe (Nabbi Muhammad) gamba nti Katonda ammala, tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako yye, yye gwenneesiga era yye ye mufuzi wa Arish ey'ekitiibwa.