ترجمة سورة الليل

الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية
ترجمة معاني سورة الليل باللغة اللوغندية من كتاب الترجمة اللوغندية - المؤسسة الإفريقية للتنمية .

1. Ndayira ekiro bwe kiba kibisse (e nsi).
2. Ndayira n'obudde bwemisana bwe buba nga bwetadde.
3. Ndayira oyo eyatonda ekisajja n’ekikazi.
4. Mazima ddala okulafuubana kwa mmwe si kwe kumu.
5. N'olwekyo, omuntu awaayo ekintu kyonna ng’atya Katonda.
6. Nakkiriza e birungi. (ebiva mu kukkiriza Katonda).
7. Tujja kumwanguyiza e kkubo erimutuusa eri obwangu.
8. Ate oyo akodowala ne yeegaggasa (ng’alowooza nti ebiri ewa Katonda tabyetaaga).
9. N’alimbisa obubaka obwakkira ku Nabbi Muhammad.
10. Tujja kumwanguyiza okutuuka eri obuzibu.
11. N’obugaggabwe tebugenda kumugasa ng’ayingidde okuzikirira (olw’ebikolwa bye ebibi)
12. Mazima kuli ku ffe okulungamya.
13. Era mazima ebikwata ku nkomerero ne nsi biri mu buyinza bwaffe.
14. Mbeekesa omuliro ogubumbujja.
15. Taliguyingira okugyako oyo omwonoonefu ennyo.
16. Oyo alimbisa (e bigambo bya Katonda) n'ayawukana (ku kugondera n'okukkiriza Katonda).
17. So nga oyo asinga okutya Katonda, ajja kugwesambisibwa.
18. Oyo awaayo ku by'alina ng’anoonya okwetukuza eri Katonda (so si bandabe oba okwatiikirira)
19. Nga tewali n'omu alina kiyinza ku musasulwa.
20. Wabula okunoonya okusiimwa ewa mukamaawe owa waggulu ennyo.
21. Mazima ddala ajja kusiima (ky’anaasasulwa).
Icon